Scriptures
Aluma 9


Ebigambo bya Aluma, era n’ebigambo bya Amuleki, ebyalangirirwa eri abantu abaali mu nsi ya Amonayika. Era nate basuulibwa mu kkomera, era banunulibwa olw’amaanyi ga Katonda ag’ekyamagero agaali mu bo, okusinziira ku kiwandiiko kya Aluma.

Mulimu essuula 9 okutuuka ku 14.

Essuula 9

Aluma alagira abantu ba Amonayika okwenenya; Mukama anabeera musasizi eri Abalamani mu nnaku ez’oluvannyuma; Singa Abaneefi banaaleka ekitangaala, bajja kuzikirizibwa Abalamani; Omwana wa Katonda ajja kujja mangu; Ajja kununula abo abeenenya, ababatiziddwa, era abalina okukkiriza mu linnya lye. Nga mu mwaka gwa 82 nga Kristo tannazaalibwa.

Era nate, nze, Aluma, oluvannyuma lw’okulagirwa Katonda nti nnina okutwala Amuleki era ne ŋŋenda mu maaso okubuulira nate eri abantu bano, oba abantu abaali mu kibuga kya Amonayika, olwatuuka bwe nnatandika okubuulira gye bali, ne batandika okukaayana nange, nga bagamba nti:

Ggwe ani? Olowooza ggwe nti tujja kukkiriza obujulizi obw’omuntu omu, newakubadde alina okubuulira gye tuli nti ensi yakuggwawo?

Kaakano tebaategeera bigambo bye baayogera; kubanga tebaamanya nti ensi yakuggwawo.

Era ne bagamba nti: Tetujja kukkiriza bigambo byo, bwo naawa obunnabbi nti ekibuga kino ekinene kinazikirizibwa mu lunaku lumu.

Kaakano tebaamanya nti Katonda yali asobola okukola ebikolwa ebyewuunyisa bwe bityo, kubanga baali bantu ba mitima emikalubo era ab’ensingo enkakanyavu.

Era ne bagamba nti: Katonda y’ani, atatuma ba buyinza okusinga ku omuntu omu mu bantu bano, okulangirira gye bali amazima g’ebintu ebinene era ebyewuunyisa bwe bityo?

Era ne bayimirira bankwate n’emikono gyabwe; naye laba, tebaakikola. Era ne nyimirira n’obuvumu okulangiririra gye bali, weewaawo, nnajulira gye bali n’obuvumu, nga ŋŋamba:

Laba, ayi mmwe omulembe omubi era ogwakyama, mwerabidde mutya ennono ya bajjajjammwe; weewaawo, nga mwerabidde mangu ebiragiro bya Katonda.

Temujjukira nti kitaffe, Leki, yaggyibwa e Yerusaalemi n’omukono gwa Katonda? Temujjukira nti bonna baakulemberwa ye okuyita mu lukoola?

10 Era mwerabidde amangu bwe mutyo emirundi emeka gye yanunula bajjajjaffe okuva mu mikono gy’abalabe baabwe, era n’abakuuma obutazikirizibwa, ddala n’emikono gya baganda baabwe bennyini?

11 Weewaawo, era singa tekyali lwa maanyi ge agatenkanika, era n’okusaasira kwe, era n’okugumiikiriza kwe okugundiivu eri ffe, mu buteewalika twandibadde twaboolebwa dda okuva ku lukalu lw’ensi nga ekiseera kino tekinnatuuka, era oba oli awo ne tuweebwayo mu mbeera ey’ennaku n’ebiwoobe ebitakoma.

12 Laba, kaakano mbagamba nti abalagira okwenenya; era okuggyako nga mwenenyezza, tewali ngeri yonna gye muyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Naye laba, kino si kye kyokka; abalagidde okwenenya, oba si ekyo aggya kubazikiririza ddala okuva ku lukalu lw’ensi; weewaawo, alibakyalira mu busungu bwe, era ne mu busungu bwe obw’entiisa talibaleka.

13 Laba, temujjukira bigambo bye yayogera eri Leki, ng’agamba nti: Kasita munaakuumanga ebiragiro byange, mujja kukulaakulana mu nsi? Era nate kigambibwa nti: Kasita mutaakuumenga biragiro byange munasalibwako okuva mu maaso ga Mukama.

14 Kaakano nnandyagadde mujjukire, nga bwe kiri nti Abalamani tebakuumye biragiro bya Katonda, basalibwako okuva mu maaso ga Mukama. Kaakano tulaba nti ekigambo kya Mukama kikakasiddwa mu kintu kino, era Abalamani baasalibwako okuva mu maaso ge okuviira ddala ku ntandikwa ey’okusobya kwabwe mu nsi.

15 Wadde nga kiri kityo mbagamba nti, kiribeera kalekaleko gye bali ku lunaku olw’okulamulwa okusinga mmwe, bwe munaasigala mu bibi byammwe, weewaawo, era ddala kalekaleko eri bo mu bulamu buno okusinga mmwe, okuggyako nga mwenenyezza.

16 Kubanga waliwo ebisuubizo bingi ebiweereddwa Abalamani; kubanga olw’ennono za bakitaabwe kye kyabaviirako okusigala mu mbeera yaabwe ey’obutamanya; n’olwekyo Mukama ajja kubeera wa kisa gye bali era awangaaze okubeerawo kwabwe mu nsi.

17 Era luliba olwo balileetebwa okukkiririza mu kigambo kye, era n’okumanya obukyamu bw’ennono za bajjajjaabwe; era bangi ku bo balirokolebwa, kubanga Mukama ajja kubeera wa kisa eri bonna abakoowoola erinnya lye.

18 Naye laba, mbagamba nti singa munalemera mu bubi bwammwe ennaku zammwe teziriwanvuyizibwa mu nsi, kubanga Abalamani bajja kusindikibwa gye muli; era bwe muteenenye balijja mu kiseera nga temumanyi, era mulikyalirwa n’okusaanirawo ddala; era kinaasinziira ku busungu bwa Mukama obw’entiisa.

19 Kubanga taabaleke kubeerawo mu bubi bwammwe, muzikirize abantu be. Mbagamba nti nedda; yandireka Abalamani balyoke bazikirize abantu be bonna abayitibwa abantu ba Neefi, singa kyali kisoboka nti bayinza okugwa mu bibi era n’okusobya, oluvannyuma lw’okuba n’ekitangaala ekingi ennyo n’okumanyisibwa okuyitiridde ebyabaweebwa Mukama Katonda waabwe;

20 Weewaawo, oluvannyuma lw’okubeera abantu ba Mukama abaganzi ennyo bwe batyo; weewaawo, oluvannyuma lw’okuganja okusinga buli ggwanga lyonna, ekika, olulimi, oba abantu; oluvannyuma lw’okubeera nga bamanyisibwa byonna, okusinziira ku kuyayaana kwabwe, n’okukkiriza kwabwe, n’okusaba, olw’ebyo ebibaddewo, n’ebiriwo, n’ebigenda okujja;

21 Oluvannyuma lw’okukyalirwa Omwoyo wa Katonda; oluvannyuma lw’okunyumya ne bamalayika, era n’oluvannyuma lw’eddoboozi lya Mukama okwogerako gye bali; era nga balina omwoyo ogw’obunnabbi, era n’omwoyo ogw’okubikkulirwa, era n’ebirabo bingi, ng’ekirabo eky’okwogera ennimi, n’ekirabo eky’okubuulira, n’ekirabo eky’Omwoyo Omutukuvu, n’ekirabo eky’okuvvuunula;

22 Weewaawo, era n’oluvannyuma lw’okununulibwa Katonda okuva mu nsi y’e Yerusaalemi, n’omukono gwa Mukama; oluvannyuma lw’okutaasibwa okuva eri enjala, era n’obulwadde, era n’endwadde eza buli ngeri yonna; era oluvannyuma lw’okweyongera amaanyi mu lutalo, nti baleme okuzikirizibwa; oluvannyuma lw’okuggyibwa mu buddu emirundi n’emirundi, era oluvannyuma lw’okukuumibwa era n’okubeezebwawo okutuusa kaakano; era bakulaakulanyiziddwa okutuusa nga bagagga mu bintu ebya buli ngeri;

23 Era kaakano laba mbagamba, nti singa abantu bano, abafunye emikisa emingi bwe gityo okuva eri omukono gwa Mukama, banaasobya ekikontana n’ekitangaala era n’okumanya kwe balina, mbagamba nti singa kiba bwe kityo, singa bagwa mu kusobya, kyandiba kalekaleko nnyo ddala eri Abalamani okusinga eri bo.

24 Kubanga laba, ebisuubizo bya Mukama biweereddwa Abalamani, so si mmwe bwe musobya; kubanga Mukama teyasuubiza mu ngeri etegerekeka era n’alangirira ddala, nti singa munaamujeemera nti mulizikiririzibwa ddala okuva ku lukalu lw’ensi?

25 Era kaakano olw’ensonga eno, nti muleme okuzikirizibwa, Mukama atumye malayika we okukyalira bangi ku bantu be, nga alangirira gye bali nti balina okugenda ne balangirira n’amaanyi eri abantu bano, nga bagamba nti: Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde;

26 Era ennaku si nnyingi okuva kaakano Omwana wa Katonda lw’alijja mu kitiibwa kye; era ekitiibwa kye kiriba ekitiibwa eky’eyazaalibwa omu yekka Kitaffe, ajjudde ekisa, obwenkanya, era n’amazima, ajjudde obugumiikiriza, okusaasira, era n’okugumiikiriza okugundiivu, ayanguwa okuwulira emiranga gy’abantu be era n’okuddamu okusaba kwabwe.

27 Era laba, ajja okununula abo abalibatizibwa olw’ okwenenya, olw’okukkiriza mu linnya lye.

28 N’olwekyo, mutegeke ekkubo lya Mukama, kubanga ekiseera kisembedde nti abantu bonna banaakungula empeera ey’emirimu gyabwe, okusinziira ku ekyo kye babadde; singa baliba abatuukirivu balikungula obulokozi obw’emyoyo gyabwe, okusinziira ku maanyi n’okununulibwa kwa Yesu Kristo; era singa baliba ababi balikungula okukomezebwa okw’emyoyo gyabwe, okusinziira ku maanyi n’okuwambibwa kwa setaani.

29 Kaakano laba, lino ly’eddoboozi lya malayika, nga lirangirira eri abantu.

30 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, kubanga muli baganda bange, era musaanidde okuba abaagalwa, era mulina okukola ebikolwa ebituukana n’okwenenya, kubanga kirabika nti emitima gyammwe gikalubye nnyo eri ekigambo kya Katonda, era nga kirabika nti muli bantu ababuze era abaagwa.

31 Kaakano olwatuuka nze, Aluma, olwamala okwogera ebigambo bino, laba, abantu ne bansunguwalira kubanga nnabagamba nti baali abantu ab’emitima emikalubo era ab’ensingo enkakanyavu.

32 Era ate olw’okuba nnabagamba nti baali abantu ababuze era abagudde bansunguwalira, ne baagala okunkwata n’emikono gyabwe, balyoke bansuule mu kkomera.

33 Naye olwatuuka Mukama teyabakkiriza kuntwala mu kiseera ekyo era bansuule mu kkomera.

34 Era olwatuuka Amuleki n’agenda n’ayimirira, era naye n’atandika okubuulira gye bali. Era kaakano ebigambo bya Amuleki byonna tebiwandiikiddwa, wabula ekitundu ku bigambo bye biwandiikiddwa mu kitabo kino.