Essuula 11
Enkozesa y’ensimbi ez’Abaneefi essibwawo; Amuleki ayomba ne Zeziromu; Kristo tajja kulokola bantu mu bibi byabwe; Abo bokka abasikira obwakabaka obw’omu ggulu be balokolebwa; Abantu bonna balizuukira mu butafa; Tewali kufa oluvannyuma lw’okuzuukira. Nga mu mwaka gwa 82 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano kyali mu mateeka ga Mosiya buli muntu eyali omulamuzi w’amateeka, oba abo abaalondebwa okuba abalamuzi, okufuna empeera okusinziira ku kiseera kye baakolanga okulamula abo abaaleetebwanga mu maaso gaabwe okulamulwa.
2 Kaakano singa omuntu yali abanjibwa omulala, era naatasasula ekyo kye yali abanjibwa, yaloopebwanga eri omulamuzi; era omulamuzi yakozesanga obuyinza, n’atuma abasirikale eri omusajja oyo aleetebwe mu maaso ge; era yalamulanga omuntu okusinziira ku mateeka n’obujulizi obwamulumirizanga, era bwe kityo omuntu yawalirizibwanga okusasula ebyo bye yabanjibwanga, oba okwambulwamu engoye, oba okuboolebwa okuva mu bantu ng’omubbi era omunyazi.
3 Era omulamuzi yafunanga olw’empeera ye okusinziira ku biseera bye; sinina ya zaabu okumala olunaku, oba sinamu ya ffeeza, eyenkana sinina ya zaabu; era kino kiri okusinziira ku mateeka agaaweebwa.
4 Kaakano gano ge mannya g’ensimbi zaabwe eza zaabu ez’enjawulo, era ne ffeeza waabwe, okusinziira ku muwendo gwazo. Era amannya gaweebwa Abaneefi, kubanga tebaabalanga mu ngeri y’Abayudaaya abaali e Yerusaalemi; era tebaapimanga mu ngeri y’Abayudaaya; naye baakyusa mu mbala yabwe n’ebipimo byabwe, okusinziira ku ndowooza era n’embeera z’abantu, mu buli mulembe, okutuusa ku bufuzi bw’abalamuzi, nga bamaze okuteekebwawo kabaka Mosiya.
5 Kaakano embala eri bweti; sinina eya zaabu, siyoni eya zaabu, suumu eya zaabu, era ne limuna eya zaabu.
6 Sinamu eya ffeeza, amuna eya ffeeza, eziromu eya ffeeza, era ne onta eya ffeeza.
7 Sinamu eya ffeeza yali yenkanankana ne sinina eya zaabu, era oba ekipimo kya sayiri, era nate n’ekipimo ekya buli kika eky’emmere ey’empeke.
8 Kaakano omuwendo gwa siyoni eya zaabu gwali gukubisaamu emirundi ebiri omuwendo gwa sinina.
9 Era suumu eya zaabu yali emirundi ebiri omuwendo gwa siyoni.
10 Era limuna eya zaabu ye yali omuwendo gwazo zonna.
11 Era amuna eya ffeeza yali nnene okwenkana sinamu bbiri.
12 Era eziromu eya ffeeza yali nnene okwenkanankana sinamu nnya.
13 Era onta yali nnene okwenkanankana zonna.
14 Kaakano guno gwe muwendo gw’ebipimo ebitonotono mu mbala yaabwe;
15 Sibulooni kitundu kya sinamu; n’olwekyo, sibulooni kitundu kya kipimo kya sayiri.
16 Era sibuluumu kitundu kya sibulooni.
17 Era leeya kitundu kya sibuluumu.
18 Kaakano guno gwe muwendo gwabyo, okusinziira ku mbala yaabwe.
19 Kaakano antiyoni ya zaabu yenkanankana sibulooni ssatu.
20 Kaakano, kyali kigendererwa kya kufuna nsimbi kyokka, kubanga baafunanga empeera yaabwe okusinziira ku mirimu gyabwe, n’olwekyo, baasiikuula abantu okukola effujjo, era n’obutabanguko n’obubi obw’engeri zonna, nti basobole okufuna emirimu emingi, nti basobole okufuna ensimbi okusinziira ku misango egyaleetebwanga mu maaso gaabwe; kyebava basiikuula abantu okulumba Aluma ne Amuleki.
21 Era Zeziromu ono yatandika okubuuza Amuleki ng’agamba nti: Ononziramu ebibuuzo ebitonotono bye naakubuuza? Kaakano Zeziromu yali musajja kafulu mu nkwe za setaani, nga ayagala azikirize ekyo ekyali ekirungi; n’olwekyo, yagamba Amuleki nti: Onoddamu ebibuuzo bye naakubuuza?
22 Era Amuleki n’amugamba nti: Weewaawo, singa kiba kisinziira ku Mwoyo wa Mukama, ali mu nze; kubanga sijja kwogera kintu kyonna ekikontana n’Omwoyo wa Mukama. Era Zeziromu n’amugamba nti: Laba, wano waliwo onta mukaaga eza ffeeza, era bino byonna bye naakuwa singa oneegaana okubeerawo kw’Asinga Byonna.
23 Kaakano Amuleki n’agamba nti: Ayi ggwe omwana wa ggeyeena, lwaki onkema? Tokimanyi nti omutuukirivu takkiriza kukemebwa ng’okwo?
24 Okkiriza nti tewali Katonda? Nkugamba nti, nedda, ggwe omanyi nti waliyo Katonda, naye ggwe oyagala ensimbi okusinga ye.
25 Era kaakano olimbye mu maaso ga Katonda gye ndi. Waŋŋambye nti: Laba onta zino omukaaga, ez’omuwendo omunene, nja kuzikuwa; nga ate obadde okirina mu mutima gwo okuzesigaliza; era okuyaayaana kwo kubadde nti nnegaane Katonda ow’amazima era omulamu, olyoke obeere n’ensonga ey’okunzikiriza. Era kaakano laba, olw’ekibi kino ekinene ojja kufuna empeera yo.
26 Era Zeziromu n’amugamba Ogamba nti waliyo Katonda ow’amazima era omulamu?
27 Era Amuleki n’agamba nti: Weewaawo, waliyo Katonda ow’amazima era omulamu.
28 Kaakano Zeziromu n’agamba nti: Waliyo Katonda asukka mw’omu?
29 Era y’addamu nti, nedda.
30 Kaakano Zeziromu n’amugamba nate: Omanya otya ebintu bino?
31 Era n’agamba: Malayika abintegeezezza.
32 Era Zeziromu n’addamu nate: Ani oyo alijja? Ddala ye Mwana wa Katonda?
33 Era n’amugamba, weewaawo.
34 Zeziromu n’addamu nate nti: Alinunula abantu be mu bibi byabwe? Era Amuleki n’addamu n’amugamba: Nkugamba nti tajja, kubanga tekisoboka ye kwegaana kigambo kye.
35 Kaakano Zeziromu n’agamba abantu nti: Mulabe nti mujjukira ebintu bino; kubanga yagambye nti waliyo Katonda omu yekka; naye ate n’agamba nti Omwana wa Katonda alijja, naye tajja kulokola bantu be; nga gyobeera alina obuyinza okulagira Katonda.
36 Kaakano Amuleki n’amugamba nate nti: Laba olimbye, kubanga oyogera nti njogedde nga alina obuyinza okulagira Katonda kubanga ŋŋambye nti tajja kulokola bantu be mu bibi byabwe.
37 Era mbagamba nate nti tayinza kubalokola mu bibi byabwe; kubanga siyinza kwegaana kigambo kye, era ayogedde nti tewali kintu ekitali kirongoofu kiyinza kusikira bwakabaka obw’omu ggulu; n’olwekyo, muyinza mutya okulokolebwa, okuggyako nga musikidde obwakabaka obw’omu ggulu? N’olwekyo, temuyinza kulokolebwa mu bibi byammwe.
38 Kaakano Zeziromu n’amugamba nate: Omwana wa Katonda ye Kitaffe ow’Olubeerera yennyini?
39 Era Amuleki n’amugamba: Weewaawo, y’oyo yennyini Kitaffe ow’Olubereera ow’eggulu n’ensi, n’ebintu byonna ebiri mu byo; ye ntandikwa n’enkomerero, y’asooka era asembayo;
40 Era alijja mu nsi okununula abantu be; era alyetikka ebisobyo by’abo abakkiriza erinnya lye; era bano be balifuna obulamu obutaggwaawo, era obulokozi tebujja eri mulala yenna.
41 N’olwekyo ababi basigala nga awatabadde kununulibwa, okuggyako okusumululwa kw’emiguwa egy’okufa; kubanga laba, olunaku lujja bonna lwe balizuukira mu bafu era bayimirire mu maaso ga Katonda, era balamulwe okusinziira ku bikolwa byabwe.
42 Kaakano, waliwo okufa okuyitibwa okufa okw’omubiri; era okufa kwa Kristo kulisumulula emiguwa egy’okufa kuno okw’omubiri, nti bonna balizuukira okuva mu kufa kuno okw’omubiri.
43 Omwoyo n’omubiri binaddamu okubeera awamu mu ngeri etuukiridde; byonna ebitundu eby’omubiri n’ennyingo bijja kuzzibwawo mu kibago kyabyo eky’obutonde, nga bwe tuli kaakano mu kiseera kino; era tujja kuleetebwa okuyimirira mu maaso ga Katonda, nga tutegeera nga bwe tutegeera kaakano, era nga tulina okujjukira okulungi okw’okulumirizibwa okw’ebisobyo byaffe kwonna.
44 Kaakano, okuzzibwawo kuno kulituuka eri bonna, wamu abakulu n’abato, wamu abaddu n’ab’eddembe, wamu abasajja n’abakazi, wamu ababi era n’abatuukirivu; era ddala tewalibeerawo wadde oluviiri lw’emitwe gyabwe olubula; naye buli kintu kirikomezebwawo mu nsengeka yaakyo etuukiridde, nga bwe kiri kaakano, oba mu mubiri, era bajja kuleetebwa basimbibwe mu maaso g’emmeeza ya Kristo Omwana, era ne Katonda Kitaffe, era n’Omwoyo Omutukuvu, nga ye Katonda omu ow’Olubeerera, balamulwe okusinziira ku bikolwa byabwe, oba birungi oba bibi.
45 Kaakano, laba, njogedde nammwe ku bikwata ku kufa okw’omubiri ogufa, era n’ebikwata ku kuzuukira kw’omubiri ogufa. Mbagamba nti omubiri guno ogufa guzuukizibwa mu mubiri ogutafa, oguva mu kufa, ddala okuva mu kufa okusooka okutuuka mu bulamu, obutaddamu kufa nate; emyoyo gyabwe nga gyegatta n’emibiri gyabwe, nga tegiriddamu kwawukana; bwe kityo ne gufuuka obw’omwoyo era obutafa, nti tebaliddamu kulaba kuvunda.
46 Kaakano, Amuleki bwe yafundikira ebigambo bino abantu ne batandika nate okwewuunya, era ne Zeziromu n’atandika okukankana. Era bwe bityo byakoma awo ebigambo bya Amuleki, oba bino bye byonna bye mpandiise.