Essuula 53
Abasibe Abalamani bakozesebwa okunyweza ekibuga Kyengera; Okwewaggula mu Baneefi kuviirako obuwanguzi bw’Abalamani; Keramani akwasibwa obuduumizi obw’embulakalevu enkumi bbiri batabani b’abantu ba Amoni. Nga mu mwaka gwa 64–63 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka baateekawo abakuumi ku basibe b’Abalamani, era baabawaliriza okugenda okuziika abafu baabwe, weewaawo, era n’abafu b’Abaneefi abattibwa; era Moloni yabateekako abasajja okubakuuma bwe baalinga bagenda okukola emirimu gyabwe.
2 Era Moloni yagenda mu kibuga e Muleki ne Leki, n’addira obuduumizi bw’ekibuga n’abukwasa Leki. Kaakano laba, Leki ono yali musajja eyali ne Moloni mu kitundu ekisinga obunene eky’entalo ze zonna; era yali musajja nga Moloni, era baasanyukiranga mu bukuumi bw’omu eri munne; weewaawo, baali baagalana, era nga baagalibwa abantu bonna aba Neefi.
3 Era olwatuuka Abalamani bwe baamala okuziika abafu baabwe era n’abafu b’Abaneefi, baatambuzibwa okuddayo mu nsi Kyengera; era Tiyankamu, ku biragiro bya Moloni, yalagira nti batandike okukola mu kusima oluwonko okwetooloola ensi, oba ekibuga, Kyengera.
4 Era yabalagira okuzimba bbugwe ow’emiti munda w’ebbibiro by’oluwonko; era batuuma ettaka okuva mu luwonko okubutuuma ku bbugwe ow’emiti; era bwe batyo bwe baalagira Abalamani okukola okutuusa okwetoolooza ekibuga ky’e Kyengera okwetooloolwa ne bbugwe omugumu ow’emiti n’obudongo, okutuuka ku buwanvu obusukkiridde.
5 Era ekibuga kino ne kifuuka ekigo ekikyasinze ebbanga lyonna okuva olwo; era mu kibuga kino baakuuma abasibe b’Abalamani; weewaawo, ddala munda wa bbugwe gwe baali babazimbisizza n’emikono gyabwe. Kaakano Moloni yawalirizibwa okulagira Abalamani okukola emirimu, kubanga kyali kyangu okubakuuma nga bali ku mirimu gyabwe; era yayagala amagye ge gonna gabeerewo lw’anaakola olulumba ku Balamani.
6 Era olwatuuka bw’atyo Moloni yali afunye obuwanguzi ku limu ku magye agasinga obunene ag’Abalamani, era yali afunye obuyinza ku kibuga kya Muleki, ekyali ekimu ku bifo by’Abalamani ebyali bisinga okuba eby’amaanyi mu nsi ya Neefi; era bw’atyo ate yali azimbye ekigo okukuuma abasibe be.
7 Era olwatuuka teyaddamu kugezaako lutalo na Balamani mu mwaka ogwo, naye yakozesa abasajja be mu kwetegekera olutalo, weewaawo, ne mu kuzimba ebigo okwekuuma Abalamani, weewaawo, era ate n’okununula bakazi baabwe n’abaana baabwe okuva eri enjala n’ebibonoobono, era n’okufunira amagye gaabwe emmere.
8 Era kaakano olwatuuka amagye g’Abalamani, ku nnyanja ey’ebugwanjuba, mu bukiika obwa ddyo, Moloni bwe yali taliiwo olw’enkwe mu Baneefi, ezaaleetawo obutakkaanya wakati waabwe, gaali gafunye embavu eri Abaneefi, weewaawo, ne kiba nti baali bafunye obuyinza ku bibuga byabwe ebiwerako mu kitundu ekyo eky’ensi.
9 Era bwe kityo olw’obubi wakati waabwe, weewaawo, olw’obutakkaanya n’enkwe wakati waabwe baateekebwa mu mbeera esinga okuba ey’obulabe.
10 Era kaakano laba, nnina kye nnaligambye ku bantu ba Amoni, abaali, mu lubereberye, Abalamani; naye olwa Amoni ne baganda be, oba okusingawo olw’amaanyi n’ekigambo kya Katonda, baali bakyusiddwa okudda eri Mukama; era baali baaleteddwa emmanga mu nsi ya Zalakemula, era okuva olwo baali bakuumibwa Abaneefi.
11 Era olw’ekirayiro kyabwe baali baziyiziddwa okukwatira baganda baabwe ebyokulwanyisa; kubanga baali balayidde obutaddamu kuyiwa musaayi nate; era okusinziira ku kirayiro kyabwe bandizikiridde; weewaawo, bandyewaddeyo bokka okugwa mu mikono gya baganda baabwe, singa si kulumirirwa n’okwagala okuyitiridde Amoni ne baganda be kwe baalina gye bali.
12 Era olw’ensonga eno baserengesebwa mu nsi ya Zalakemula; era baali okuva edda bakuumibwanga Abaneefi.
13 Naye olwatuuka bwe baalaba akabi, era n’ebibonoobono n’ebikankano ebingi Abaneefi bye baayisibwangamu ku lwabwe, ne bakwatibwa ekisa era ne baagala okukwata ebyokulwanyisa mu kulwanirira ensi yaabwe.
14 Naye laba, bwe baali banaatera okukwata ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, ne baalemesebwa olw’okusendebwasendebwa kwa Keramani ne baganda be, kubanga baali banaatera okumenya ekirayiro kye baali bakoze.
15 Era Keramani yatya nti tomanya singa bakola batyo basobola okufiirwa emyoyo gyabwe; n’olwekyo abo bonna abaali balagaanye endagaano eno baawalirizibwa okulaba baganda baabwe nga bayita mu bibonoobono bino, mu mbeera zaabwe embi mu kiseera kino.
16 Naye laba, olwatuuka baalina abaana ab’obulenzi bangi, abaali batalagaanye ndagaano nti tebajja kukwata byakulwanyisa byabwe eby’olutalo okwekuuma abalabe baabwe; n’olwekyo baakuŋŋaana wamu mu kiseera kino, bonna abaali basobola okukwata ebyokulwanyisa, era beeyitanga Abaneefi.
17 Era ne balagaana endagaano okulwanirira eddembe ly’Abaneefi, weewaawo, okukuuma ensi okutuusa okuwaayo obulamu bwabwe; weewaawo, ddala baalagaana nti tebajja kufiirwa ddembe lyabwe, naye bajja kulwana mu mbeera zonna okukuuma Abaneefi na bo bennyini okuva mu buddu.
18 Kaakano laba, waaliwo enkumi bbiri ku bavubuka abo, abalagaana endagaano eno ne bakwata ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo okulwanirira ensi yaabwe.
19 Era kaakano laba, nga bwe batabangako kizibu eri Abaneefi nnazikuno, baafuuka kati mu kiseera kino nate ab’obuyambi obw’amaanyi; kubanga baakwata ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, era ne baagala Keramani abeere omukulembeze waabwe.
20 Era bonna baali bavubuka, era baali abavumu ennyo olw’obumalirivu, era n’olw’amaanyi n’okwenyigira mu mirimu; naye laba, kino si kye kyokka; baali basajja abaali ab’amazima ebiseera byonna mu kintu kyonna kye babasigiranga.
21 Weewaawo, baali basajja ba mazima n’okufaayo, kubanga baali bayigiriziddwa okukuuma ebiragiro bya Katonda n’okutambulira mu bwesimbu mu maaso ge.
22 Era kaakano olwatuuka Keramani yakulembera abalwanyi be enkumi bbiri embulakalevu, okulwanirira abantu mu nsalo z’ensi ku luuyi olw’ebukiika obwa kkono ku nnyanja ey’ebugwanjuba.
23 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’amakumi abiri mu omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.