Scriptures
Aluma 58


Essuula 58

Keramani, Gidi, ne Teyomuna batwala ekibuga Manti mu lukujjukujju; Abalamani bavaawo; Batabani b’abantu ba Amoni bakuumibwa nga banywevu mu kulwanirira eddembe lyabwe n’okukkiriza kwabwe. Nga mu mwaka gwa 63–62 nga Kristo tannazaalibwa.

Era laba, kaakano olwatuuka ekigendererwa kyaffe ekyaddako kyali kya kufuna kibuga eky’e Manti; naye laba, tewaali ngeri yonna gye twali tuyinza okubaleetera okuva mu kibuga nga tuyita mu bibinja byaffe ebitono. Kubanga laba, baali bakyajjukira ebyo bye twali tukoze okutuusa kaakano; n’olwekyo tetwasobola kubasendasenda okuva mu bigo byabwe.

Era baali bangi nnyo okusinga eggye lyaffe nti tetwetantala kugenda kubalumba mu bigo byabwe.

Weewaawo, era kyali kyetaagisa okukozesa abasajja baffe okufuga ebitundu ebyo eby’ensi bye twali twezzizza okubeera ebyaffe; n’olwekyo kyali kyetaagisa okulindako, tusobole okufuna amagye agasingawo okuva mu nsi y’e Zalakemula era n’obugabirizi obuggya mu bungi.

Era olwatuuka bwe ntyo nnaweereza obubaka eri omufuzi w’ensi yaffe, okumumanyisa ebikwata ku nsonga z’abantu baffe. Era olwatuuka twalindirira okufuna obugabirizi n’amagye okuva mu nsi y’e Zalakemula.

Naye laba, kino kyatugasa naye kitono; kubanga Abalamani nabo baali bafuna abalwanyi bangi okuva lunaku ku lunaku, era n’obugabirizi bungi; era bwe zityo bwe zali embeera zaffe mu kiseera kino.

Era Abalamani baavangayo okutukolako obulumbaganyi buli luvannyuma lwa kiseera, nga basalawo mu lukujjukujju okutuzikiriza; wadde nga kyali kityo tetwasobola kubatabaala, olw’okwekukuma kwabwe n’ebigo byabwe.

Era olwatuuka twalinda mu mbeera zino enzibu okumala ebbanga lya myezi mingi, ddala okutuusa nga tunaatera okusaanawo olw’ebbula ly’emmere.

Naye olwatuuka twafuna emmere, eyaleetebwa ng’ekuumibwa eggye ery’abasajja enkumi ebbiri okutuyamba; era buno bwe buyambi bwokka bwe twafuna, okwekuuma wamu n’ensi yaffe obutagwa mu mikono gy’abalabe baffe, weewaawo, okulwanagana n’omulabe eyali tabalika.

Era kaakano ekyavaako okuswala kwaffe kuno, oba ensonga lwaki tebaatusindikira magye malala, tetwamanya; n’olwekyo twanakuwala era ne tujjula okutya, nti buli mu ngeri yonna ebibonerezo bya Katonda bijja ku nsi yaffe, ekivaamu okusuulibwa kwaffe n’okuzikirizibwa okw’enkomeredde.

10 N’olwekyo twasaayo emitima gyaffe mu kusaba eri Katonda, alyoke atunyweze era atununule mu mikono gy’abalabe baffe, weewaawo, era ate atuwe amaanyi tusobole okusigaza ebibuga byaffe, era n’ensi zaffe, era n’eby’obugagga byaffe, olw’okuwanirira abantu baffe.

11 Weewaawo, era olwatuuka Mukama Katonda waffe yatukyalira n’okukakasibwa nti yali wakutununula; weewaawo, mu ngeri nti yayogera mirembe eri emmeeme zaffe, n’atuwa okukkiriza okungi, era yatuleetera okubeera nti tusuubira okununulibwa nga tuyita mu ye.

12 Era twafuna obuvumu n’amagye gaffe amatono ge twali tufunye, era twali tusazeewo n’obumalirivu okuwangula abalabe baffe, n’okufuga ettaka lyaffe, n’eby’obugagga byaffe, n’abakazi baffe, n’abaana baffe, n’ensonga ey’eddembe lyaffe.

13 Era bwe tutyo twagenda n’amaanyi gaffe gonna okulwanyisa Abalamani, abaali mu kibuga kye Manti; era twasimba weema zaffe ku luuyi lw’olukoola, olwali okumpi n’ekibuga.

14 Era olwatuuka enkeera, Abalamani bwe baalaba nga tuli ku nsalo okumpi n’olukoola olwali okumpi n’ekibuga, olwo baasindika abakessi baabwe okutwetooloola basobole okuzuula omuwendo n’amaanyi g’eggye lyaffe.

15 Era olwatuuka bwe baalaba nga tetuli b’amaanyi, okusinziira ku muwendo gwaffe, era nga batya nti tujja kubazibira okufuna obugabirizi bwabwe okuggyako nga bavuddeyo okututabaala ne batutta, era ate nga baalowooza nti bayinza okutuzikiriza amangu n’eggye lyabwe eringi, n’olwekyo baatandika okukola enteekateeka okuvaayo batulwanyise mu lutalo.

16 Era bwe twalaba nga bakola enteekateeka okutulumba, laba, nnalagira Gidi, n’omuwendo gw’abasajja omutono, okwekweka mu lukoola, era ate nti Teyomuna n’omuwendo gw’abasajja omutono nabo okwekweka mu lukoola.

17 Kaakano Gidi n’abasajja be baali ku ddyo n’abalala ku kkono; era bwe batyo bwe baali bamaze okwekweka, laba, nnasigala, n’eggye lyange eryasigalawo, mu kifo ekyo kyennyini we twasooka okusimba weema zaffe okulindirira ekiseera Abalamani we banaafulumira okulwana.

18 Era olwatuuka Abalamani baavaayo n’eggye lyabwe eddene okutulwanyisa. Era bwe baali baatuuse era nga banaatera okutulumba n’ekitala, nnalagira abasajja bange, abo abaali nange, okudda emabega mu lukoola.

19 Era olwatuuka Abalamani batugoberera n’emisinde mingi, kubanga baayagala nnyo okututuukako basobole okututta; n’olwekyo batugoberera mu lukoola; era twayita mu masekkati ga Gidi ne Teyomuna, mu ngeri nti tebaazulibwa Balamani.

20 Era olwatuuka Abalamani bwe baamala okuyitawo, oba eggye bwe lyayitawo, Gidi ne Teyomuna ne basituka okuva mu bifo byabwe eby’ekyama, era ne baziyiza abakessi b’Abalamani baleme okudda mu kibuga.

21 Era olwatuuka bwe baali bamaze okubaziyiza, badduka ne bagenda mu kibuga ne balumba abakuumi abaali balekeddwa okukuuma ekibuga, okutuusa nti baabasaanyawo era ne batwala ekibuga.

22 Kaakano kino kyakolebwa kubanga Abalamani bakkiriza eggye lyabwe lyonna, okuggyako abakuumi abatono bokka, okutwalibwa mu lukoola.

23 Era olwatuuka Gidi ne Teyomuna mu ngeri eno baali bafunye ebigo byabwe. Era olwatuuka twakwata ekkubo lyaffe, oluvannyuma lw’okutambula ennyo mu lukoola bwe twali nga twolekera ensi y’e Zalakemula.

24 Era Abalamani bwe baalaba nga batambula boolekera ensi y’e Zalakemula, ne batya nnyo, olw’okutya nti waaliwo enteekateeka eyateekebwawo okubatwala mu kuzikirizibwa; n’olwekyo baatandika okudda emabega mu lukoola nate, weewaawo, ddala okudda emabega mu kkubo lye limu mwe baali baggidde.

25 Era laba, bwali kiro ne basimba weema zaabwe, kubanga bassenkulu ab’eggye ery’Abalamani baali balowoozezza nti Abaneefi bakooye olw’okutambula kwabwe; era nga balowooza nti baali bagobye eggye lyabwe lyonna n’olwekyo tebaalowooza bikwata ku kibuga ky’e Manti.

26 Kaakano olwatuuka mu budde obw’ekiro, nnalagira abasajja bange baleme kwebaka, wabula batambulire mu kkubo eddala nga boolekera ensi y’e Manti.

27 Era olw’okutambula kwaffe kuno mu budde obw’ekiro, laba, enkeera twali tuyisizza Abalamani, ddala okutuusa nti twabasooka okutuuka mu kibuga Manti.

28 Era bwe kityo olwatuuka, nti mu lukujjukujju luno twawamba ekibuga Manti awataali kuyiwa musaayi.

29 Era olwatuuka amagye g’Abalamani bwe gaatuuka okumpi n’ekibuga, era baalaba nga twetegese okubasisinkana, beewuunya nnyo era ne bakubwa enkyukwe ekisukkiridde, okutuuka nti baddukira mu lukoola.

30 Weewaawo, era olwatuuka amagye g’Abalamani gadduka okuva mu kitundu kino kyonna eky’ensi. Naye laba, batutte abakazi n’abaana bangi okuva mu nsi.

31 Era ebibuga ebyo ebyali biwambiddwa Abalamani, byonna mu kiseera kino ebiri mu buyinza bwaffe; era bakitaffe n’abakazi baffe n’abaana baffe baddayo mu maka gaabwe, bonna okuggyako abo abatwaliddwa nga abasibe ne babuzibwawo Abalamani.

32 Naye laba, amagye gaffe matono okufuga ebibuga ebingi bwe bityo n’eby’obugagga ebingi bwe bityo.

33 Naye laba, twesiga Katonda waffe eyatuwa obuwanguzi ku nsi ezo, okukkakkana nga tufunye ebibuga ebyo n’ettaka eryo, eryali eryaffe.

34 Kaakano tetumanyi nsonga lwaki obufuzi tebutuwa magye gasingawo; wadde n’okutuusa kati abasajja abo abajja gye tuli tebamanyi lwaki tetufunye magye gasingako awo.

35 Laba, tetumanyi naye kisoboka okuba nti temwafuna buwanguzi, era mwatwala amagye mu kitundu ekyo eky’ensi; bwe kiba bwe kityo, tetuyayanira kwemulugunya.

36 Era bwe kitaba ekyo, laba, tutya nti waliwo olukwe mu bufuzi, olwo ne bataweereza basajja balala kutuyamba; kubanga tumanyi nti bangi okusinga abo bebaweerezza.

37 Naye, laba, si kikulu; twesiga Katonda ajja kutununula, nga oggyeko obunafu bw’amagye gaffe, weewaawo, era atununule okuva mu mikono gy’abalabe baffe.

38 Laba, guno gwe mwaka ogw’amakumi abiri mu omwenda, nga gukomekkerezebwa, era tuli mu buyinza obw’ensi zaffe; era Abalamani baddukidde mu nsi ya Neefi.

39 Era ne batabani b’abantu ba Amoni abo, be njogeddeko ennyo, bali wamu nange mu kibuga ky’e Manti; era Mukama abawaniridde, weewaawo, n’abakuuma obutattibwa na kitala, ddala okutuusa nti tewali wadde muntu n’omu attiddwa.

40 Naye laba, bafunye ebiwundu bingi; wadde nga kiri kityo bayimiriddewo nnyo mu mirembe gino Katonda mw’abafuulidde ab’eddembe; era bakakali okujjukira Mukama Katonda waabwe okuva lunaku ku lunaku; weewaawo, bafuba okukuuma amateeka ge, n’ennamula ye, n’ebiragiro bye bulijjo; era okukkiriza kwabwe kw’amaanyi mu bunnabbi obukwata ku ekyo ekigenda okujja.

41 Era kaakano, muganda wange omwagalwa, Moloni, nsaba Mukama Katonda waffe, eyatununula n’atufuula ab’eddembe, akukuumenga bulijjo mu maaso ge; weewaawo, era nsaba awe okuganja abantu bano, ddala nti osobole okufuna obuwanguzi mu kufuna oby’obugagga ebyo byonna Abalamani bye baatuggyeko, ebyaliwo olw’okuwanirirwa kwaffe. Era kaakano, laba, nfundikira ebbaluwa yange. Nze Keramani, mutabani wa Aluma.