Scriptures
Omuni 1


Ekitabo kya Omuni

Essuula 1

Omuni, Amaloni, Kemisi, Abinadomu, ne Amaleki, buli omu mu mpalo, bakuuma ebiwandiiko; Mosiya azuula abantu ba Zalakemula, abaava e Yerusaalemi mu biseera bya Zedekiya; Mosiya afuulibwa kabaka gye bali; Abazzukulu ba Muleki e Zalakemula baali bazudde Kolyantama, eyali Omuyaledi asembayo; Kabaka Benyamini asikira Mosiya; Abantu balina okuwaayo emyoyo gyabwe nga ekiweebwayo eri Kristo; Nga mu mwaka gwa 323–130 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Laba, olwatuuka nze, Omuni, nga ndagiddwa kitange, Yalomu, nti nsaanye okuwandiika ebitonotono ku mbaati zino, okukuuma okulambikibwa kw’obuzaale bwaffe;

2 N’olwekyo, mu biseera byange, nandyagadde mmwe mumanye nti nnalwana nnyo n’ekitala okukuuma abantu bange, Abaneefi, obutagwa mu mikono gy’abalabe baabwe, Abalamani. Naye laba, nze ku lwange ndi musajja mwonoonyi, era sikuumye mateeka era n’ebiragiro bya Mukama nga bwe nandibadde nkola.

3 Era olwatuuka nga emyaka ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga gy’ali giyiseewo, era twafuna ebiro bingi eby’emirembe; era twafuna ebiro bingi eby’entalo ez’amaanyi era n’okuyiwa omusaayi. Weewaawo, era mu bufunze, emyaka ebikumi bibiri mu kinaana mw’ebiri gy’ali giyiseewo, era nga nkuumye embaati zino okusinziira ku biragiro bya bakitange; era nnaziwa mutabani wange Amaloni. Era nkola okufundikira.

4 Era kaakano nze, Amaloni, mpandiika ebintu byonna bye mpandiika, ebitono ennyo, mu kitabo kya kitange.

5 Laba, olwatuuka nga emyaka ebikumi bisatu mu abiri gy’ali giyiseewo, era ekitundu ekisinga obw’onoonefu eky’Abaneefi kyazikirizibwa.

6 Kubanga Mukama teyaalikiganyizza, oluvannyuma lw’okubakulembera okuva mu nsi y’e Yerusaalemi era n’abakuuma era n’atabaganya kugwa mu mikono gy’abalabe baabwe, weewaawo, teyaganya bigambo butakakasibwa, bye yayogera eri bakitaffe, ng’agamba nti: Bwemutaakuume biragiro byange temulikulakulana mu nsi.

7 N’olwekyo, Mukama yabakyalira mu kunyolwa okw’amaanyi; wabula, yataliza abatuukirivu baleme okuzikirizibwa, naye yabanunula okuva mu mikono gy’abalabe baabwe.

8 Era olwatuuka nnatuusa embaati eri muganda wange Kemisi.

9 Kaakano nze, Kemisi, mpandiika ebyo ebintu ebitono bye mpandiika, mu kitabo kye kimu ne muganda wange; kubanga laba, nnalaba ebisembayo bye yawandiika, nti yabiwandiika n’omukono gwe; era yabiwandiika mu lunaku lwe yabituusa gye ndi. Era oluvannyuma lw’engeri eno tukuuma ebiwandiiko, kubanga kiri bwe kityo okusinziira ku biragiro bya bakitaffe. Era nkola okufundikira.

10 Laba, nze, Abinadomu, ndi mutabani wa Kemisi. Laba, olwatuuka ne ndaba entalo n’enkaayana nnyingi wakati mu bantu bange, Abaneefi, era n’Abalamani; era nze, n’ekitala kyange, nzigyewo obulamu bw’Abalamani bangi mu kulwanirira baganda bange.

11 Era laba, ebiwandiiko by’abantu bano biyoleddwa ku mbaati eziri ne bakabaka, okusinziira ku mirembe; era simanyi kubikkulirwa kwonna okuggyako okwo okuwandiikiddwa, wadde obunnabbi; n’olwekyo, ebyo ebimala biwandiikiddwa. Era nkola okufundikira.

12 Laba, nze Amaleki, mutabani wa Abinadomu. Laba, nja kubagamba ku bintu ebikwata ku Mosiya, eyafuulibwa kabaka eri nsi ya Zalakemula; kubanga laba, ye nga alabuddwa Mukama adduke mu nsi ya Neefi, era ng’abangi singa bawuliriza eddoboozi lya Mukama balina n’abo okufuluma ensi wamu naye, okugenda mu lukoola;

13 Era olwatuuka n’akola nga Mukama bwe yali amulagidde. Era ne bava mu nsi ne bagenda mu lukoola, era n’abo bonna abaawulirizza eddoboozi lya Mukama; era bakulemberwa n’okubuulira era n’obunnabbi bungi. Era ne babuulirirwanga entakera ekigambo kya Katonda; era ne bakulemberwa amaanyi g’omukono gwe, nga bayita mu lukoola okutuuka lwe baaserengeta mu nsi eyitibwa ensi ya Zalakemula.

14 Era ne bazuula abantu, abaali bayitibwa abantu ba Zalakemula. Kati, waaliwo okusanyuka okw’amaanyi mu bantu ba Zalakemula; era ne Zalakemula yasanyuka nnyo eby’ensusso, kubanga Mukama yali asindise abantu ba Mosiya n’embaati ez’ekikomo ezaaliko ebiwandiiko eby’Abayudaaya.

15 Laba, olwatuuka Mosiya yakizuula nti abantu ba Zalakemula baava e Yerusaalemi mu kiseera ekyo Zeddekiya, kabaka wa Yuda, lwe yatwalibwa mu buwambe e Babulooni.

16 Era batambula mu lukoola, era baaleetebwa n’omukono gwa Mukama okusomoka amazzi amangi, okutuuka mu nsi Mosiya gye yabazuulira; era baali babeera eyo okuva mu kiseera ekyo.

17 Era mu kiseera ekyo Mosiya mwe yabazuulira, baali beyongedde obungi eby’ensusso. Wabula, baali bafunye entalo nnyingi era n’enkaayana ez’amaanyi, era battibwanga n’ekitala buli luvannyuma lwa kiseera; era nga n’olulimi lwabwe lwali lwonooneddwa; Era baali tebaleese biwandiiko mu kujja; era ne beegaana okubeerawo kw’Omutonzi waabwe; era Mosiya, wadde abantu ba Mosiya, tebaasobola kubategeera.

18 Naye olwatuuka Mosiya kyeyava alagira nti balina okusomesebwa ku lulimi lwe. Era olwatuuka oluvannyuma nga bamaze okusomesebwa ku lulimi lwa Mosiya, Zalakemula yawa okulambikibwa kw’obuzaale bwa ba kitaabwe, okusinziira ku kujjukira kwe; era kwawandiikibwa, naye si mu mbaati zino.

19 Era olwatuuka abantu ba Zalakemula, n’aba Mosiya, beegatta wamu; era Mosiya n’alondebwa okuba kabaka waabwe.

20 Era olwatuuka mu biro bya Mosiya, waaliwo ejjinja eddene eryamuleetebwa nga liriko ebyayolebwako; era yavunula ebigambo ebyayolebwako n’amaanyi ga Katonda.

21 Era ne biwa enyinnyonnyolwa y’omuntu omu Kolyantama, era n’okuttibwa kw’abantu be. Era Kolyantama yazuulibwa abantu ba Zalakemula; era n’abeera n’abo okumala ebbanga lya myezi mwenda.

22 Era byayogera ebigambo ebitonotono ebikwata ku bakitaabe. Era abazadde be abaasooka bajja okuva ku munaala, mu kiseera Mukama we yatabulira olulimi lw’abantu; era okubonerezebwa kwa Mukama kwa bagwira okusinziira ku nnamula ye, ey’obwenkanya; era amagumba gaabwe gasaasaanidde mu nsi ey’omu bukiikaddyo.

23 Laba, nze, Amaleki, nnazaalibwa mu biro bya Mosiya; era mbaddewo mu bulamu ne ntuuka okulaba okufa kwe; era Benyamini, mutabani we, afuga mu kifo kye.

24 Era laba, ndabye, mu biro bya kabaka Benyamini, olutalo olw’amaanyi era n’okuyiwa omusaayi omungi wakati w’Abaneefi n’Abalamani. Naye laba, Abaneefi baafuna emikisa mingi nnyo egy’okubawangula; weewaawo, okutuusa nti kabaka Benyamini yabagoba mu nsi ya Zalakemula.

25 Era olwatuuka ne ntandika okukaddiwa; era, nga sirina zzadde lyonna, era nga mmanyi kabaka Benyamini okuba omuntu omwenkanya mu maaso ga Mukama, n’olwekyo, kyenaava mukwasa embaati zino, nga nkubiriza abantu bonna okujja eri Katonda, Omutukuvu wa Isiraeri, era bakkiririze mu kuwa obunnabbi, era ne mu kubikkulirwa, era ne mu kuweereza kwa bamalayika, era ne mu kirabo ky’okwogera ennimi, era ne mu kirabo eky’okuvvuunula ennimi, era ne mu bintu byonna ebirungi; kubanga tewali kintu kirungi okuggyako nga kiva eri Mukama: era n’ekyo ekibi kiva eri setaani.

26 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, nandyagadde mujje eri Kristo, Omutukuvu wa Isiraeri, era mugabane ku bulokozi bwe, n’amaanyi g’okununulibwa kwe. Weewaawo, mujje gy’ali, era muweyo emyoyo gyammwe gyonna ng’ekiweebwayo gy’ali, era mweyongere okusiiba n’okusaba, era mugumiikirize okutuuka ku nkomerero; era nga Mukama bw’ali omulamu mujja kulokolebwa mmwe.

27 Era kaakano nnandibadde njogera ob’olyawo ku bikwata ku muwendo ogwayambuka mu lukoola okudda mu nsi ya Neefi; kubanga waaliwo omuwendo omunene abaali baagala okweddiza ensi ey’obusika bwabwe.

28 N’olwekyo, bayambuka mu lukoola. Era omukulembeze waabwe nga musajja ow’ekiwago era ow’amaanyi, era omusajja omukakanyavu w’ensingo, n’olwekyo yatanula okaayana mu bo; era bonna ne battibwa, okuggyako ataano, mu lukoola, era ne baddayo nate mu nsi ya Zalakemula.

29 Era olwatuuka batwala n’abalala omuwendo ogwali guwerako, ne bakwata nate olugendo lwabwe mu lukoola.

30 Era nze, Amaleki, nnalina muganda wange, naye yagenda n’abo; era okuva olwo sidangamu kumanya bibakwatako. Era ndi kumpi okugalamira mu ntaana yange; era embaati zino zijjudde. Era nkola okufundikira kw’okwogera kwange.