Ebigambo bya Momoni
Essuula 1
Momoni afunza embaati ennene eza Neefi; Ateeka embaati entono wamu n’embaati endala; Kabaka Benyamini ateekawo emirembe mu nsi. Nga mu mwaka 385 ogwa Mukama waffe.
1 Era kaakano nze, Momoni, nga nnaatera okuwaayo ekiwandiiko kyembadde nkola mu mikono gya mutabani wange Moloni, laba nnerabiddeko kyenkana okusaanawo kwonna okw’abantu bange, Abaneefi.
2 Era nga wayise emyaka ebikumi bingi oluvannyuma lw’okujja kwa Kristo mpaayo ebiwandiiko bino mu mikono gya mutabani wange; Era kindetera okulowooza nti ajja kulaba okuzikirizibwa kwonna okw’abantu bange. Naye Katonda ayambe asobole okubiwona, olwo asobole okuwandiika ebitonotono ku bibakwatako, era n’ebitonotono ku bikwata ku Kristo, ob’olyawo olunaku olumu basobole okukiganyulwamu.
3 Era kaakano, njogera ebitonotono ku bikwata kw’ebyo bye mpandiise; Kubanga oluvannyuma lw’okukola obufunze bw’ebyo ebyali ku mbaati za Neefi, okutuuka ku bufuzi bwa kabaka ono, Benyamini, Amaleki gwe yayogeddeko, nnanoonyereza mu biwandiiko ebyali bimpeereddwa mu mikono gyange, era ne nsanga embaati zino, ezalimu ennyinyonnyola entono eya bannabbi, okuva ku Yakobo okukka wansi okutuuka ku kufuga kwa kabaka ono Benyamini, era n’ebigambo bingi ebya Neefi.
4 Era ebintu ebiri ku mbaati zino binsanyusa, olw’obunnabbi obw’okujja kwa Kristo; era bakitange nga bamanyi nti bingi ku byo bituukiriziddwa; weewaawo, era nange nkimanyi nti ebintu bingi nga bwe bibadde biweebwako obunnabbi ebitukwatako okutuuka ku lunaku luno bituukiriziddwa, era nga bingi ebisukka ku lunaku luno mazima ddala biteekwa okutuukirira;
5 N’olwekyo, nnalonda ebintu bino, okumaliriza ekiwandiiko kyange ku zo, ebisigadde ku kiwandiiko kyange kye ndiggya ku mbaati za Neefi; era siyinza kuwandiika kitundu kya kikumi eky’ebintu by’abantu bange.
6 Naye laba, nditwala embaati zino, eziriko obunnabbi buno era n’okubikkulirwa, era nziteeke wamu n’ebiwandiiko byange ebisigaddewo, kubanga byo bya nkizo nyo gye ndi; era nkimanyi nti bijja kuba bya nkizo eri baganda bange.
7 Era kino nkikola olw’ekigendererwa eky’amagezi; kubanga bwe kityo kinnumiriza, okusinziira ku nkola y’Omwoyo wa Mukama ali mu nze. Era kati, ebintu byonna sibimanyi; naye Mukama amanyi byonna ebigenda okujja; n’olwekyo, akolera mu nze okusinziira ku kwagala kwe.
8 Era okusaba kwange eri Katonda kukwata ku baganda bange, nti basobole okudda nate eri okumanya Katonda, weewaawo, okununulibwa kwa Kristo; basobole okuddamu nate okuba abantu abasanyufu.
9 Era kaakano nze, Momoni, ŋŋenda mu maaso n’okumaliriza ekiwandiiko kyange, kye nziggya ku mbaati za Neefi; era nkikola okusinziira ku kumanya era n’okutegeera Katonda kw’ampadde.
10 N’olwekyo, olwatuuka nga Amaleki amaze okuwaayo embaati zino mu mikono gya kabaka Benyamini, y’azitwala n’aziteeka wamu n’embaati endala, ezaliko ebiwandiiko ebyajjanga bisikirwa okuva eri bakabaka, okuva ku mulembe okutuuka ku mulembe okutuuka ku biro bya kabaka Benyamini.
11 Era zaasikirwa okuva ku kabaka Benyamini, okuva ku mulembe okutuuka ku mulembe okutuuka lwe bigudde mu mikono gyange. Era nze, Momoni, nsaba Katonda nti zisobole okukuumibwa okuva mu kiseera kino okweyongerayo. Era nkimanyi nti zijja kukuumibwa; kubanga waliwo ebintu ebikulu ebiwandiikiddwa ku zo, abantu bange ne baganda baabwe balisalirwa omusango ku lunaku olwo olukulu era olusembayo, okusinziira ku kigambo kya Katonda ekiwandiikiddwa.
12 Era kati, ku bikwata ku kabaka ono Benyamini; yalina enkaayana mu bantu be bennyini.
13 Era olwatuuka amagye g’Abalamani ne gakka okuva mu nsi ya Neefi, okulwanagana n’abantu be. Naye laba, kabaka Benyamini n’akuŋŋaanya amagye ge, era n’ayimirira okulwanagana n’abo; era yalwana n’amaanyi g’omukono gwe, n’ekitala kya Labani.
14 Era mu maanyi ga Mukama baalwanyisa abalabe baabwe, okutuuka lwe batta enkumi n’enkumi z’Abalamani. Era olwatuuka baalwanyisa Abalamani okutuuka lwe babagoba mu nsi zonna ez’obusika bwabwe.
15 Era olwatuuka oluvannyuma lw’okubeerawo ba Kristo ab’obulimba, era n’emimwa gyabwe gy’ali ggigaddwa, era ne babonerezebwa okusinziira ku bikolwa byabwe;
16 Era oluvannyuma lw’okubeerawo bannabbi ab’obulimba, n’ababuulizi ab’obulimba era n’abasomesa mu bantu, era bano bonna nga babonerezebwa okusinziira ku bikolobero byabwe; era oluvannyuma lw’okubaawo enkaayana nnyingi n’enjawukana eri Abalamani, laba, olwatuuka kabaka Benyamini, ng’ayambibwako bannabbi abatukirivu abaali mu bantu be;
17 Kubanga laba, kabaka Benyamini yali musajja mutukirivu, era yafuga abantu be mu butuukirivu; era mu nsi mwalimu abantu bangi abatukirivu, era bayogera ekigambo kya Katonda n’amaanyi era n’obuyinza; era baakangula nga ku maloboozi olw’obukakanyavu bw’ensingo obw’abantu;
18 N’olwekyo, ng’ayambibwako bano, kabaka Benyamini, ng’akola n’amaanyi gonna ag’omubiri gwe era n’obusobozi bw’omwoyo gwe bwonna, era ne bannabbi, yaddamu nate omulundi omulala okuteekawo emirembe mu nsi.