Ekitabo kya Enosi
Essuula 1
Enosi asaba n’amaanyi era afuna okusonyiyibwa kw’ebibi bye; Eddoboozi lya Mukama lijja mu birowoozo bye, nga lisuubiza obulokozi eri Abalamani mu lunaku olulijja mu biseera eby’omu maaso; Abaneefi baafuba okukomyawo Abalamani okuva mu kwonoona; Enosi asanyukira Omununuzi we. Nga mu mwaka gwa 420 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Laba, olwatuuka nze, Enosi, nga mmanyi kitange nti yali musajja mutuukirivu; kubanga yanjigiriza ebikwata ku lulimi lwe, era n’okusinziira ku nkuzibwa ne mu kubuuliriranga kwa Mukama; era erinnya lya Katonda wange lyebazibwe olw’ekyo.
2 Era nja kubabuulira ku bumegganyi bwe nnalina mu maaso ga Katonda, nga si nnafuna kusonyiyibwa bibi byange.
3 Laba, nnagenda okuyigga ensolo mu bibira; era ebigambo bye nnali mpulidde entakera kitange ng’ayogera ebikwata ku bulamu obutaggwaawo, n’essanyu ly’abatuukirivu, byannyikira mu mutima gwange.
4 Era emmeeme yange yalumwa enjala; era ne nfukamira mu maaso g’Omutonzi wange, ne muwanjagira mu kusaba okw’amaanyi n’okwegayirira olw’emmeeme yange; era olunaku lwonna nnamuwanjagira; weewaawo, era ekiro bwe kyajja nneyongera okuyimusa eddoboozi lyange waggulu ne lituuka mu ggulu.
5 Era awo eddoboozi ne linzijira nga ligamba nti: Enosi, ebibi byo bikusonyiyiddwa, era oliweebwa omukisa.
6 Era nze Enosi, nnamanya nti Katonda tayinza kulimba; n’olwekyo, okulumirizibwa ekibi kwe nnalina kwaggibwawo.
7 Era ne ŋŋamba nti: Mukama, kikoleddwa kitya?
8 Era n’aŋŋamba nti: Olw’okukkiriza kwo mu Kristo, oyo gw’otowulirangako wadde okulaba. Era emyaka mingi giriyitawo nga tannaba kweyoleka mu mubiri; n’olwekyo, genda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.
9 Kati, olwatuuka bwe nnawulira ebigambo bino nnatandika okwagaliza baganda bange embeera ennungi, Abaneefi; n’olwekyo, nnawaayo emmeeme yange yonna eri Katonda ku lwabwe.
10 Era bwe ntyo nga nfuba mu mwoyo, laba, eddoboozi lya Mukama ne lijja nate mu birowoozo byange, nga ligamba nti: Nja kukyalira baganda bo nga nsinziira ku bunyiikivu bwabwe mu kukuuma ebiragiro byange. Mbawadde ensi eno, era nsi ntukuvu; era sigikolimira okuggyako olw’obubi; n’olwekyo, nja kukyalira baganda bo nga bwe ŋŋambye; era n’ensobi zaabwe naazikkakkanya n’okunyolwa ku mitwe gyabwe.
11 Era oluvannyuma nze, Enosi, nga mmalirizza okuwulira ebigambo bino, okukkiriza kwange kwatandika obutanyenyezebwa mu Mukama; ne musaba n’okulafubaana okungi okumala ekiseera ekiwanvu ennyo ku lwa baganda bange, Abalamani.
12 Era olwatuuka nga mmalirizza okusaba n’okukola n’obunyiikivu bwonna, Mukama n’aŋŋamba nti: Nja kukuwa okusinziira ku kuyayaana kwo, olw’okukkiriza kwo.
13 Era kaakano laba, kuno kwe kwali okuyayaana kwe nnalina okuva gy’ali; nti singa kinaaba bwe kityo, nti abantu bange, Abaneefi, banaagwa mu kusobya, era ne bazikirizibwa mu ngeri yonna, era Abalamani tebasaana kuzikirizibwa, olwo Mukama Katonda akuume ekiwandiiko ky’abantu bange, Abaneefi; weewaawo, bwe kiba nga kiri kityo olw’amaanyi g’omukono gwe omutukuvu, nti olunaku lumu mu biseera ebijja kirisoboka okuleetebwa eri Abalamani, nti, ob’olyawo, basobole okuleetebwa eri obulokozi;
14 Kubanga mu kiseera kino okufuba kwaffe kwali kwa bwereere mu kubakomyawo mu kukkiriza okwa nnamaddala. Era ne balayira mu busungu bwabwe nti, singa kyali kisoboka, baalisaanyizzaawo ebiwandiiko byaffe naffe, era nate n’obulombolombo bwonna obwa bajjajjaffe.
15 N’olwekyo, nga mmanyi nti Mukama Katonda yali asobola okukuuma ebiwandiiko byaffe, nnamuwanjagira entakera, kubanga yali aŋŋambye nti: Buli kye naasaba mu kukkiriza, nga nzikiriza nti naafuna mu linnya lya Kristo, ndikifuna.
16 Era nnalina okukkiriza, era bwe ntyo nnawanjagira Katonda nti akuume ebiwandiiko; era yakola endagaano nange nti ajja kubireeta eri Abalamani mu kiseera kye ekituufu.
17 Era nze Enosi, nnamanya nti kijja kubaawo okusinziira ku ndagaano gye yali akoze; n’olwekyo emmeeme yange yakkakkana.
18 Mukama n’aŋŋamba nti: Bajjajjaabo n’abo bansaba ekintu kino; era kinaakolebwa gye bali ng’okukkiriza kwabwe bwe kuli; kubanga okukkiriza kwabwe kwali ng’okukwo.
19 Era kaakano olwatuuka nze, Enosi, ne ntambula mu bantu ba Neefi, nga mpa obunnabbi ku bintu ebigenda okujja, era nga njulira ku bintu bye nnali mpulidde era bye nnalaba.
20 Era mpa obujulizi nti abantu ba Neefi baafuba nnyo okukomyawo Abalamani mu kukkiriza okw’amazima mu Katonda. Naye omulimu gwaffe gwali gwa busa; obukyayi bwabwe bw’ali buggumidde, era baakulemberwa obubi bwabwe obuzaaliranwa ne bafuuka ng’ensolo, era ab’obukambwe, era abantu abalina ennyonta y’okuyiwa omusaayi, abajjudde okusinza ebifaananyi n’obucaafu; okulya ensolo enkambwe; okubeeranga mu weema, era nga bataayaaya mu lukoola n’obukete obumpi obw’amaliba mu biwato byabwe, n’emitwe gyabwe emimwe; era ng’obukugu bwabwe bw’ali mu mitego gy’obusaale, ne mu byambe, n’embazzi. Era bangi ku bo tebaalya kintu kyonna okuggyako ennyama embisi; era bafubanga entakera okutuzikiriza.
21 Era olwatuuka abantu ba Neefi baalima, ne basimba emmere ey’empeke eya buli ngeri, era n’ebibala, era n’ebiraalo by’ente, era n’ebisibo eby’ensolo ez’engeri zonna eza buli kika, era n’embuzi, n’empeewo, era n’embalaasi nnyingi.
22 Era mu ffe mwalimu bannabbi bangi nnyo. Era abantu baali bantu ba nsingo nkakanyavu, abazibu okutegeera.
23 Era tewaali kintu kyonna okuggyako obukambwe obusukkiridde, okubuulira era n’okuwa obunnabbi ku by’entalo, era n’okukaayana, era n’okuzikirizibwa, era n’okubajjukiza olutatadde okufa, era n’ebbanga ery’obutaliggwaawo, era n’ebibonerezo n’amaanyi ga Katonda, era n’ebintu bino byonna; okubasiikuula olutatadde okusobola okubakuumira mu kutya Mukama. Ngamba nti tewaali kirala okuggyako ebintu bino, era mu kwogera okutegeerekeka obulungi ennyo, ekyandibadde kibaziyiza obutakkirira mangu kutuuka mu kuzikirira. Era mu ngeri eyo bwe mpandiika ebibakwatako.
24 Era nnalaba entalo wakati w’Abaneefi era n’Abalamani mu kuyita okw’ebiro byange.
25 Era olwatuuka nnatandika okukaddiwa, era emyaka kikumi mu nsanvu mu mwenda gy’ali giyiseewo okuva mu kiseera kitaffe Leki lwe yava e Yerusaalemi.
26 Era nnalaba nga nteekwa okukkirira mu ntaana yange amangu ddala, nga mmaze okukkibwako amaanyi ga Katonda okubuulira era n’okuwa obunnabbi abantu bano, era n’okulangirira ekigambo okusinziira ku mazima agali mu Kristo. Era nkirangiridde mu biro byange byonna, era nkisanyukidde okusinga eby’ensi.
27 Era mangu ηηenda mu kifo eky’okuwummula kwange, ekiri n’Omununuzi wange; kubanga mmanyi nti mu ye mmwe naawummulira. Era nsanyukira mu lunaku omubiri gwange lwe gulyambala obutafa, era naayimirira mu maaso ge; awo ndimulaba obwenyi mu ssanyu, era aliŋŋamba nti: Jjangu gye ndi, ggwe owereddwa omukisa, waliwo ekifo ekikutegekeddwa mu nnyumba ya Kitange. Amiina.