Scriptures
Yakobo 7


Essuula 7

Seremu yeegaana Kristo, awakana ne Yakobo, alagira bamulage akabonero, era akubwa Katonda; Bannabbi bonna boogedde ku Kristo n’Omutango gwe; Abaneefi baawangaala ennaku zaabwe ng’abataayaaya, baazaalibwa mu kubonaabona, era baakyayibwa Abalamani. Nga 544–421 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka oluvannyuma lw’emyaka egimu okuyitawo, ne wajja omusajja mu bantu ba Neefi, nga erinnya lye Seremu.

2 Era olwatuuka n’atandika okubuulira mu bantu, era n’okulangirira gye bali nti tewalibeerawo Kristo. Era n’abuulira ebintu bingi ebyali ebibalaata eri abantu; era kino yakikola olwo asobole okusiguukulula enjigiriza ya Kristo.

3 Era y’akola n’obunyiikivu asobole okubuza emitima gy’abantu, mu ngeri nti yabuza emitima mingi; era ng’amanyi nti nze, Yakobo, nnalina okukkiriza mu Kristo eyali alina okujja, yafuba nnyo okufuna omukisa okutuuka gye ndi.

4 Era yali muyivu, nti yalina okumanya okutuukiridde okw’olulimi lw’abantu; n’olwekyo, yakozesanga okubalaata kungi nnyo, era n’amaanyi mangi ag’okwogera, okusinziira ku maanyi ga setaani.

5 Era yalina essuubi ery’okunnyenya okuva mu kukkiriza, wadde nga waaliwo okubikkulirwa kungi n’ebintu bingi bye nnali ndabye ebikwata ku bintu bino; Kubanga mazima ddala nnali ndabye bamalayika, era nga bampeerezza. Era nate, nnali mpulidde eddoboozi lya Mukama nga lyogera gye ndi buli kigambo kye, buli luvannyuma lwe kiseera; n’olwekyo, nnali sisobola kunyeenyezebwa.

6 Era olwatuuka n’ajja gye ndi, era mu ngeri eno n’ayogera gye ndi, ng’agamba nti: Ow’oluganda Yakobo, nfubye nnyo okufuna omukisa nsobole okwogerako gy’oli; kubanga mpulidde era nate mmanyi nti ggwe ogenda wano na wali, ng’obuulira ekyo ggwe kyoyita enjiri, oba enjigiriza ya Kristo.

7 Era obuzizza bangi ku abantu bano nti basobya ekkubo lya Katonda ettuufu, era tebakuuma tteeka lya Musa nga ly’ekkubo ettuufu; era okyusa etteeka lya Musa n’olifuula okusinza kw’ekitonde ky’ogamba nti kirijja emyaka ebikumi bingi mu maaso. Era kaakano laba, nze, Seremu, nnangirira gy’oli nti kino kivvoola; kubanga tewali muntu yenna amanyi ku bintu ng’ebyo; kubanga tosobola kwogera ku bintu bigenda kujja. Era oluvannyuma lw’engeri eno Seremu yampakanya.

8 Naye laba, Mukama Katonda yayiwa Omwoyo we mu mmeeme yange, mu ngeri nti nnamuleetera okusoberwa mu bigambo bye byonna.

9 Era ne mmugamba nti: Ggwe wegaana Kristo oyo alijja? N’agamba nti: Singa wabaawo Kristo, sandimwegaanye; naye nkimanyi nti teri Kristo, era tabaangawo, era talibaawo.

10 Era ne mmugamba nti: Okkiriza ggwe ebyawandiikibwa? N’agamba nti, weewaawo.

11 Era ne mmugamba nti: Awo tobitegeera; kubanga mazima ddala bijulira Kristo. Laba, nkugamba nti tewali n’omu ku bannabbi awandiise, wadde okuwa obunnabbi, okuggyako okwogera ebikwata ku Kristo ono.

12 Era kino si kye kyokka; kirabisiddwa gye ndi, kubanga mpulidde era ne ndaba; era kirabisiddwa gye ndi n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu; n’olwekyo, mmanyi singa tewabaawo mutango gukolebwa abantu bonna balina okubula.

13 Era olwatuuka yaŋŋamba nti: Ndaga akabonero olw’amaanyi gano ag’Omwoyo Omutukuvu, mw’omanyidde ebingi ennyo.

14 Era ne mmugamba nti: Kiki kyendi nti nsaanye okukema Katonda okukulaga akabonero ku kintu ky’omanyi nti kituufu? So nga ate ggwe ojja kukigaana, kubanga ggwe oli wa setaani. Wabula, si kwagala kwange kwe kuba kukolebwa; naye singa Katonda anaakukuba, leka ako kabeere akabonero gy’oli nti alina amaanyi, wonna mu ggulu era ne mu nsi; era nate, nti Kristo alijja. Era okwagala kwo, Ayi Mukama, kukolebwe, so si okwange.

15 Era olwatuuka bwe nnali nze, Yakobo, nga njogedde ebigambo bino, amaanyi ga Mukama ne gajja ku ye, okutuuka nti yagwa wansi ku ttaka. Era olwatuuka yalabirirwa okumala ebbanga ery’ennaku ezaali ennyingi.

16 Era olwatuuka n’agamba abantu nti: Mukuŋŋaanire wamu enkeera, kubanga ndiwakufa; n’olwekyo, njagala okwogera eri abantu nga si nnafa.

17 Era olwatuuka enkeera ebibinja byakuŋŋanira wamu; era n’ayogera mu bulambulukufu gye bali era ne yegaana ebintu bye yali abayigirizizza, era n’ayatula Kristo, era n’amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu, era n’obuweereza bwa bamalayika.

18 Era yayogera mu bulambulukufu gye bali, nti yali alimbiddwa amaanyi ga setaani. Era yayogera ku ggeyeena, ne ku butaliggwaawo, era n’okubonerezebwa okw’olubeerera.

19 Era n’agamba nti: Ntya si kulwa nga nkoze ekibi ekitasonyiyikika, kubanga nnimbye eri Katonda; kubanga nneegaana Kristo, era ne ŋŋamba nti nnakkiriza ebyawandiikibwa; era mazima ddala bimujjulira. Era kubanga bwe ntyo nnimbye eri Katonda ntya nnyo nti omusango gwange gujja kuba gwa ntiisa; naye njatula eri Katonda.

20 Era olwatuuka ng’amaze okwogera ebigambo bino yali takyasobola kwogera bisingawo, era n’awaayo obulamu bwe.

21 Era ekibinja bwe kyalaba nti ayogedde ebintu bino bwe yali nga anaatera okuva mu bulamu, kyabawuniikiriza nnyo nnyini; okutuuka nti amaanyi ga Katonda gabakkako, era batendewererwa era baagwa wansi ku ttaka.

22 Kaakano, ekintu kino kyampa essanyu nze, Yakobo, kubanga nnali nkisabye okuva eri kitange eyali mu ggulu; kubanga yali awulidde okukaaba kwange era n’addamu essaala yange.

23 Era olwatuuka emirembe era n’okwagala kwa Katonda byaddizibwawo nate mu bantu; era ne bettanira ebyawandiikibwa, era ne bataddamu kuwuliriza bigambo bya musajja ono omubi.

24 Era olwatuuka engeri nnyingi zaali ziyiiyiziddwa okukomyawo era n’okuzzaayo Abalamani eri okumanya amazima; naye byonna byali bya bwereere, kubanga baasanyukiranga mu ntalo era n’okuyiwa omusaayi, era baalina obukyayi obw’olubeerera gye tuli, baganda baabwe. Era ne bafuba n’amaanyi g’ebyokulwanyisa byabwe okutusaanyawo olutatadde.

25 N’olwekyo, abantu ba Neefi benyweza eri bo n’ebyokulwanyisa byabwe, era n’amaanyi gaabwe gonna, nga beesiga Katonda era olwazi olw’obulokozi bwabwe; n’olwekyo, baafuuka nate, abawanguzi b’abalabe baabwe.

26 Era olwatuuka nze, Yakobo, ne ntandika okukaddiwa; era olw’okuba ebiwandiiko by’abantu bano byawandiikibwa ku mbaati za Neefi endala, n’olwekyo, nkomekkereza ekiwandiiko kino, nga nnangirira nti mbiwandiise nsinziira ku ntegeera yange, nga ŋŋamba nti ekiseera kyali kituyiseeko, era nga obulamu bwaffe bwayitawo okufananako ng’ekirooto, ffe olw’okubeera abawuubaavu era abantu abanyiikivu, abatambuze, abaagobebwa okuva e Yerusaalemi, abazaalibwa mu nnaku, mu lukoola, era nga twakyayibwa baganda baffe, ekyaleetawo entalo era n’enkaayana; n’olwekyo, twakungubaga nnyo ennaku zaffe.

27 Era nze, Yakobo, nnalaba nga mu bbanga ttono natera okukka mu ntaana yange; n’olwekyo, n’agamba mutabani wange Enosi: Twala embaati zino. Era n’amugamba ebintu muganda wange Neefi bye yali yandagira, era n’asuubiza okugondera ebiragiro. Era nkola enkomerero y’okuwandiika kwange ku mbaati zino, okuwandiika okwo okubadde okutono; era eri omusomi nsiibula, nga nsuubira nti bangi ku baganda bange bayinza okusoma ebigambo byange. Ab’oluganda, Omukama abeere na mmwe.