Essuula 3
Abalongoofu mu mutima bafuna ekigambo kya Katonda ekisanyusa; Obutuukirivu bw’Abalamani businga obw’Abaneefi; Yakobo alabula ku bwenzi, obukaba, na buli kibi. Nga 544–421 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Naye laba, nze, Yakobo, nandyagadde okwogera gye muli abalongoofu mu mutima. Mutunuulire Katonda n’ebirowoozo ebitayugayuga, era mumusabe n’okukkiriza okusukkiridde, era alibabudaabuda mu kubonaabona kwammwe, era aliwolereza ensonga zammwe, era n’awereza wansi obwenkanya eri abo abafuba okubazikiriza.
2 Abange, mmwe mwenna abalongoofu mu mutima, muyimuse emitwe gyammwe mutwale ekigambo kya Katonda ekisanyusa, era mulye ku kwagala kwe; kubanga musobola, singa ebirowoozo byammwe biba binywevu, olubeerera.
3 Naye, zibasanze, zibasanze, mmwe abatali balongoofu mu mitima, abacaafu leero mu maaso ga Katonda; kubanga okuggyako nga mwenenyezza ensi ekolimiddwa ku lwammwe; era n’Abalamani, abatali bacaafu nga mmwe, wadde nga bakolimiddwa n’ekikolimo eky’obunakuwavu, bajja kubatuntuza ddala okutuusa ku kuzikirizibwa.
4 Era ekiseera kijja mangu, nti okuggyako nga mwenenyezza, balitwala ensi ey’obusika bwammwe, era Mukama Katonda aliggya abatuukirivu okuva mu mmwe.
5 Laba, Abalamani baganda bammwe, be mukyawa olw’obucaafu bwabwe n’ekikolimo ekizze ku nsusu zaabwe, batuukirivu nnyo okusinga mmwe; kubanga tebeerabiranga kiragiro kya Mukama, ekyaweebwa kitaffe; nti baalina okubeera n’omukazi omu yekka, era n’abazaana tebalina kuba wadde n’omu, era tebalina kwenda.
6 Era kaakano, ekiragiro kino kye bafuba okukuuma; n’olwekyo, olw’okufuba kuno, mu kukuuma ekiragiro kino, Mukama Katonda tajja kubazikiriza, wabula ajja kubasaasira; era olunaku lumu balifuuka abantu ab’omukisa.
7 Laba, babbaabwe baagala abakazi baabwe, era n’abakazi baabwe baagala babbaabwe; ne babbaabwe era n’abakazi baabwe baagala abaana baabwe; era n’obutakkiriza bwabwe n’obukyayi bwabwe gye muli buliwo olw’ebibi bya bakitaabwe; n’olwekyo, mmwe mubasinga kwenkana ki, mu maaso g’Omutonzi wammwe omukulu?
8 Ayi baganda bange, ntya nti okuggyako nga mwenenyezza ebibi byammwe nti ensusu zaabwe zijja kweruka okusinga ezammwe, bwe munaaleetebwa n’abo mu maaso ga nnamulondo ya Katonda.
9 N’olwekyo, ekiragiro kye mbawa, kye kigambo kya Katonda, mulemenga nate okubavvoola olw’obuzikivu bw’ensusu zaabwe; so nate temubavvoola olw’obucaafu bwabwe; naye mujjukirenga obucaafu obwammwe, era mujjukire nti obucaafu bwabwe bwajja ku lwa bakitaabwe.
10 N’olwekyo, mujjukirenga abaana bammwe, n’engeri mmwe gye munnakuwazizza emitima gyabwe olw’ekyokulabirako kye mwabalaga; era nate, mujjukire nti muyinza, olw’obucaafu bwammwe, okuleeta abaana bammwe mu kuzikirizibwa, era n’ebibi byabwe bittikkibwe ku mitwe gyammwe ku lunaku olw’enkomerero.
11 Abange ab’oluganda, muwulirize ebigambo byange; muzuukuse obusobozi bw’emyoyo gyammwe; mwegagamule mulyoke musisimuke okuva mu tulo otw’okufa; era mwesumulule okuva mu bulumi bwa ggeyeena muleme okufuuka bamalayika eri setaani, okusuulibwa mu nnyanja eyo ey’omuliro n’obuganga nga kwe kufa okw’okubiri.
12 Era kaakano nze, Yakobo, nnayogera ebintu ebirala bingi eri abantu ba Neefi, nga mbalabula ku bwenzi era n’obukaba, era na buli kika kya kibi, nga mbabuulira ebiva mw’ebyo eby’entiisa.
13 Era ekitundu ekimu eky’ekikumi eky’ebikolwa by’abantu bano, kati abaali batandise okuba abangi, tekisoboka kuwandiikibwa ku mbaati zino; naye ebikolwa byabwe bingi biwandiikiddwa ku mbaati ennene, era n’entalo zaabwe, era n’obukuubagano bwabwe, era n’obufuzi bwa bakabaka baabwe.
14 Embaati zino ziyitibwa embaati za Yakobo, era zakolebwa omukono gwa Neefi. Era nange nfundikira okwogera ebigambo bino.