Scriptures
Yakobo 2


Essuula 2

Yakobo avumirira okwagala eby’obugagga, amalala, n’obutali bulongoofu; Abantu bayinza okunoonya obugagga okuyamba bannaabwe; Mukama alagira nti tewali musajja mu Baneefi ayinza kuba na bakazi basukka mu omu; Mukama asanyukira obulongoofu bw’abakazi. Nga mu mwaka gwa 544–421 Nga Kristo tannazaalibwa.

1 Ebigambo Yakobo, muganda wa Neefi, bye yayogera eri abantu ba Neefi, oluvannyuma lw’okufa kwa Neefi:

2 Kaakano, baganda bange abaagalwa, nze Yakobo, okusinziira ku buvunaanyizibwa bwe nnina eri Katonda, okugulumiza obuweereza bwange n’obwegendereza, era n’okweggyako ebibi byammwe ku byambalo byange, nyambuka mu yeekaalu olunaku olwa leero ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda.

3 Era mmwe mwennyini mukimanyi nti n’okutuusa kati mbadde munyiikivu mu buweereza obw’okuyitibwa kwange; naye nze leero nzitoowereddwa n’okuyaayaana okuyitiridde era n’okweraliikirira olw’ebyembeera ey’emyoyo gyammwe okusinga bwe mbadde okutuusa kati.

4 Kubanga laba, n’okutuusa kati, mubadde bawulize eri ekigambo kya Mukama, kye nnabawa.

5 Naye laba, mumpulirize, era mukimanye nti olw’obuyambi bw’Omutonzi ow’amaanyi ow’eggulu era n’ensi nsobola okubabuulira ebikwata ku birowoozo byammwe, nti mutandise okukolera mu kibi, ekibi ekirabika nga kizira nnyo gye ndi, weewaawo, era ekizira eri Katonda.

6 Weewaawo, kyennyamiza emmeeme yange era kinviirako okuswala n’ensonyi mu maaso g’Omutonzi wange, nti nteekwa okuwa obujulizi ku bubi bw’emitima gyammwe.

7 Era nate kinnennyamiza nti nnina okukozesa obuvumu bungi obw’okwogera ku mmwe, mu maaso g’abakazi bammwe era n’abaana bammwe, bangi ku bo balina ebirowoozo ebiteefu era ebirongoofu era eby’obukkakkamu mu maaso ga Katonda, ekintu ekisanyusa eri Katonda;

8 Era kirowoozebwa gye ndi nti bazze wano okuwulira ekigambo kya Katonda ekisanyusa, weewaawo, ekigambo ekiwonya emmeeme ey’ebisago.

9 N’olwekyo, kizitoowerera emmeeme yange nti mpalirizibwa, olw’ekiragiro ekikambwe kye nfunye okuva eri Katonda, okubabuulirira okusinziira ku bikolobero byammwe, okusajjula ebiwundu by’abo abali mu bulumi, mu kifo ky’okubudaabuda n’okuwonya ebiwundu byabwe; era n’abo abatafunye biwundu, mu kifo ky’okulya ku kigambo kya Katonda ekisanyusa bategeddwa ebiso okufumita emyoyo gyabwe n’okulumya ebirowoozo byabwe ebigonvu.

10 Naye, newakubadde ng’omulimu muzibu, nnina okukola okusinziira ku biragiro bya Katonda ebikambwe, era mbabuulire ebikwata ku bubi bwammwe n’ebikolwa ebizira, mu maaso g’abalongoofu mu mutima, era n’alina omutima ogumenyese, era wansi w’okufumitibwa kw’eriiso lya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.

11 N’olwekyo, nteekwa okubabuulira amazima ng’ekigambo kya Katonda nga bwe kiri. Kubanga laba, nga bwe neebuuzizza ku Mukama, bwe kityo ekigambo kyajja gye ndi, nga kyogera nti: Yakobo, genda mu yeekaalu enkeera, era olangirire ekigambo kye naakuwa eri abantu bano.

12 Era kaakano laba, baganda bange, kino kye kigambo kye nnangirira gye muli, nti bangi ku mmwe mutandise okunoonya zaabu, era ne ffeeza, era na buli kika ky’amayinja ag’obugagga ag’omuwendo, mu nsi eno, ensi ensuubize gye muli era n’eri ezzadde lyammwe, omuli ebyo mu bungi.

13 Era omukono gw’obugabirizi gubasanyukidde nnyo, nti mufunye obugagga bungi; era kubanga abamu ku mmwe mufunye bingi okusinga ebya baganda bammwe mukulumbadde mu malala ag’emitima gyammwe, era ne mukakanyaza ensingo era n’okulalambaza emitwe olw’engoye zammwe ez’ebbeeyi ennene, ne muyigganya baganda bammwe kubanga mulowooza nti mubasinga.

14 Era kaakano, baganda bange, mulowooza nti Katonda anaabawolereza mu kintu kino? Laba, mbagamba nti Nedda. Naye abasalira omusango, era bwe munaanywerera mu bintu ebyo ebibonerezo bye mu bwangu bijja gye muli.

15 Abange, singa abalaga nti asobola okubafumita, era n’olutunula lw’eriiso lye lumu asobola okubakuba okufuuka enfuufu!

16 Abange, singa abaggya mu kibi kino n’ekikolwa ekizira. Era, Abange, singa muwuliriza ekigambo ky’ebiragiro bye, era ne mutakkiriza amalala gano ag’emitima gyammwe okusaanyaawo emyoyo gyammwe!

17 Mulowooze ku baganda bammwe nga mmwe, era mwenna mumanyagane era mubeere banjulukufu n’eby’obugagga byammwe, balyoke bagaggawale nga mmwe.

18 Naye nga temunnanoonya bya bugagga, munoonye obwakabaka bwa Katonda.

19 Era oluvannyuma lw’okufuna essuubi mu Kristo mulifuna obugagga, bwe munaabunoonya; era mulibunoonya olw’ebigendererwa eby’okukola ebirungi; nga okwambaza abali obukunya, era n’okuliisa abalumwa enjala, era n’okusumulula abasibe, era n’okuwa obuweerero eri abalwadde n’abo ababonaabona.

20 Era kaakano, baganda bange, njogedde gye muli ku bikwata ku malala; era na mmwe ababonyaabonya baliraanwa bammwe, era ababayigganya olw’okuba n’amalala mu mitima gyammwe, olw’ebyo Katonda by’abawadde, mubyogerako ki?

21 Temulowooza nti ebiringa ebyo bizira eri oyo eyatonda emibiri gyonna? Era ekitonde ekimu kya muwendo mu maaso ge ng’ekirala. Era emibiri gyonna giva mu nfuufu; era olw’ekigendererwa ky’ekimu ye yabatonda, nti bakuume ebiragiro bye n’okumugulumiza olubeerera.

22 Era kaakano nkomekkereza okwogera gye muli ku bikwata ku malala gano. Era singa si bwe nnali nteekwa okwogera nammwe ku bikwata ku musango ogw’amaanyi, omutima gwange gwandisanyuse nnyo olw’okuba mmwe.

23 Naye ekigambo kya Katonda kinzitoowerera olw’emisango gyammwe egy’amaanyi. Kubanga laba, bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Abantu bano batandise okubukala mu bibi; tebategeera byawandiikibwa, kubanga bafuba okwejjereza nga bakola obwenzi, olw’ebyo ebyawandiikibwa ku Dawudi ne Sulemaani mutabani we.

24 Laba, Dawudi ne Sulemaani ddala baalina abakazi bangi n’abazaana, ekintu ekyali ekizira mu maaso gange, bw’ayogera Mukama.

25 N’olwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Nkulembedde abantu bano okuva mu nsi y’e Yerusaalemi, n’amaanyi g’omukono gwange, nti ndyoke nyimuse ettabi eggolokofu okuva mu bibala eby’enda ya Yusufu.

26 N’olwekyo, nze Mukama Katonda sijja kukkiriza bantu bano kukola ng’abo ab’edda.

27 N’olwekyo, baganda bange, mumpulire, era muwulirize ekigambo kya Mukama: Kubanga mu mmwe temuliba musajja yenna okuggyako ow’omukazi omu; era n’abazaana talibeera wadde n’omu;

28 Kubanga nze Mukama Katonda nsanyukira obulongoofu bw’abakazi. Era obwenzi buzira mu maaso gange; bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’eggye.

29 N’olwekyo, abantu bano banaakuumanga ebiragiro byange, bw’ayogera Mukama ow’eggye, oba ensi okolimirwa ku lwabwe.

30 Kubanga bwe nnaayagala, bw’ayogera Mukama ow’eggye, okweyimusizaayo ezzadde, ndiragira abantu bange; bwe kitaba ekyo banaawulirizanga ebintu ebyo.

31 Kubanga laba, nze, Mukama, ndabye ennaku, era mpulidde okukungubaga kw’abawala b’abantu bange mu nsi y’e Yerusaalemi, weewaawo, era ne mu nsi zonna ez’abantu bange, olw’obubi n’ebikolwa eby’emizizo bya babbaabwe.

32 Era sijja kukkiriza, bw’ayogera Mukama ow’eggye, nti okukaaba kw’abawala abalungi ab’abantu bano, be nnakulembera okuva mu nsi y’e Yerusaalemi, kujja gye ndi okulwanyisa abasajja b’abantu bange, bw’ayogera Mukama ow’eggye.

33 Kubanga tebajja kutwala bawala b’abantu bange mu buwambe olw’obuwombeefu bwabwe, mpozzi nga ndibakyalira n’ekikolimo eky’obunakuwavu, ddala okutuusa okuzikirizibwa; kubanga tebajja kwenda, ng’abo ab’edda, bw’ayogera Mukama ow’eggye.

34 Era kaakano laba, baganda bange, mumanyi nti ebiragiro bino byaweebwa kitaffe, Leki; n’olwekyo, mwabimanya emabegako; era mutuuse ku kusalirwa omusango ogw’amaanyi; kubanga mukoze ebyo bye mutasaanidde kukola.

35 Laba, mukoze ebibi eby’amaanyi okusinga Abalamani, baganda baffe. Mumenye emitima gy’abakazi bammwe abawombeefu, era ne mufiirwa obwesige bw’abaana bammwe, olw’ebyokulabirako byammwe ebibi mu maaso gaabwe; era n’okukaaba kw’emitima gyabwe kwambuka eri Katonda kulwa mmwe. Era olw’obukakali bw’ekigambo kya Katonda ekikka gye muli, emitima mingi gyafa, nga gifumitiddwa ebiwundu eby’amaanyi.