Scriptures
Yakobo 5


Essuula 5

Yakobo ajuliza Zenosi okusinziira ku lugero lw’emiti emizeyituuni ogw’asimbibwa n’ogw’omu nsiko; gyefaanaanyiriza ku Isiraeri era n’ab’amawanga; okusaasaana era n’okukunŋŋaana kwa Isiraeri biragiddwa; Eby’okulabirako bikolebwa eri Abaneefi era n’Abalamani era n’ennyumba yonna eya Isiraeri; Ab’amawanga bajja kuyungibwa ku Isiraeri; n’oluvannyuma ennimiro y’emizabbibu ejja kwokebwa. Nga 544–421 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Mulabe, baganda bange, mwe temujjukira kuba nga mwasoma ebigambo bya Nnabbi Zenosi, ebyo bye yayogera eri ennyumba ya Isiraeri, ng’agamba nti:

2 Wuliriza, Ayi ggw’ennyumba ya Isiraeri, era muwulire ebigambo byange, nnabbi wa Mukama.

3 Kubanga laba, bw’atyo Mukama bw’ayogera, ndikugeraageranya ggwe, Ayi ennyumba ya Isiraeri, okufaananako ng’omuzeyituuni ogw’asimbibwa, omuntu gwe yatwala era n’alabirira obulungi mu nnimiro ye ey’emizabbibu; era ne gukula, era ne gukaddiwa era ne gutandika n’okuvunda.

4 Era olwatuuka mukama w’ennimiro y’emizabbibu yagenda, era n’alaba ng’omuti gwe ogw’omuzeyituuni gutandise okuvunda; era n’agamba nti: Nja kugusalira, era ngukoole, era ngugabirire, nti ob’olyawo guyinza okumera amatabi amato era amagonvu, era ne gutasaanawo.

5 Era olwatuuka n’agusalira, era n’agukoola, era n’agugabirira ng’ekigambo kye bwe kyali.

6 Era olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku nnyingi ne gutandika okussaako amatabi amatonotono era amagonvu; naye laba, entikko yagwo enkulu y’atandika okusaanawo.

7 Era olwatuuka omukulu w’ennimiro y’emizabbibu yakiraba, era n’agamba omuweereza we nti: Kinnakuwaza nti nnyinza okufiirwa omuti guno; n’olwekyo, genda omenye amatabi okuva ku muzeyituuni ogw’omu nsiko, era ogaleete wano gye ndi; era tujja kumenyako amatabi ago amakulu agatandise okuwotoka, era tujja kugasuula mu muliro gasobole okwokebwa.

8 Era laba, bw’ayogera Mukama w’ennimiro y’emizabbibu, nziggyawo mangi ku matabi gano amato era amagonvu, era nja kugayunga ku kifo kyonna kye njagala; era si kikulu nti bwe kiba bwe kityo nti omulandira gw’omuti guno gujja kuzikirira, nsobole okwekuumira ebibala byagwo; n’olwekyo, nja kutwala amatabi gano amato era amagonvu, era nja kugayunga ku kifo kyonna kye njagala.

9 Twala ggwe amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko, ogayunge mu, mu kifo ky’ago; era gano ge mmenyeeko nja kugasuula mu muliro era ngookye, olwo galeme okutaataaganya ettaka ly’ennimiro yange ey’emizabbibu.

10 Era olwatuuka omuweereza wa Mukama w’ennimiro y’emizabbibu y’akola okusinziira ku kigambo kya Mukama w’ennimiro y’emizabbibu, era n’ayungako amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko.

11 Era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’asobozesa gukoolebwe, era n’okusalirwa, era n’okugabirirwa, ng’agamba omuweereza we: Kinnuma nti nnina okufiirwa omuti guno; n’olwekyo, ob’olyawo nsobole okukuuma emirandira gyagwo nti gireme okusaanawo, nti olwo nsobole okugyekuumira, ekintu kino nkikoze.

12 N’olwekyo, kwata ekkubo ogende; labirira omuti, era ogugabirire, okusinziira ku bigambo byange.

13 Era gano nja kugateeka mu kitundu ekisembayo ekyemmanga w’ennimiro yange ey’emizabbibu, mu kifo kyonna kye njagala, si kikulu gy’oli; era nkikola nsobole okukuuma olw’okuganyulwa amatabi ag’obutonde ag’omuti; era nate, nti nsobole okutereka ebibala by’agwo okutuusa mu kiseera eky’obwetaavu, gye ndi; kubanga kinnakuwaza nti nnina okufiirwa omuti guno era n’ebibala by’agwo.

14 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu yakwata ekkubo lye n’agenda, era n’akweka amatabi ag’obutonde ag’omuzeyituuni ogw’asimbibwa mu bitundu ebisembayo wakyemmanga w’ennimiro y’emizabbibu, agamu mu kimu era n’amalala mu kirala, okusinziira ku kwagala era n’okusiima kwe.

15 Era olwatuuka ekiseera ekiwanvu kyayitawo, era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza we nti: Jangu, tuserengete mu nnimiro y’emizabbibu, tulyoke tukole mu nnimiro y’emizabbibu.

16 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu, era n’omuweereza, bakkirira mu nnimiro y’emizabbibu okukola. Era olwatuuka omuweereza n’agamba mukama we nti: Laba, tunula wano; laba omuti.

17 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’atunula era n’alaba omuti ogwo amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko kwe gaali gayungiddwa; era gwali gukuze era nga gutandise okubala ebibala. Era n’alaba nti gwali mulungi; era n’ebibala byagwo byali bifaananako ng’ebibala eby’obutonde.

18 Era n’agamba omuweereza: Laba, amatabi ag’omuti ogw’omu nsiko gatutte amazzi ag’omulandira gw’agwo, nti omulandira gw’agwo gwaleeta amaanyi mangi; era olw’amaanyi amangi ag’omulandira gw’agwo amatabi ag’omu nsiko galeese ebibala ebirungi. Kaakano, singa tetwayungako matabi gano, omuti ogwo gwandifudde. Era kaakano, laba, nja kweterekera ebibala bingi, ebyo omuti ogwo bye gubaze; era ebibala byagwo ndibitereka okutuusa mu kiseera eky’obwetaavu, gye ndi nze kennyini.

19 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza nti: Jjangu, tugende mu kitundu ekisembayo ekyemmanga w’ennimiro y’emizabbibu, era tulabe singa amatabi ag’obutonde ag’omuti tegaleese bibala bingi nago, nti nsobole okutereka ebibala by’ago okutuusa mu kiseera eky’obwetaavu, gye ndi nze kennyini.

20 Era olwatuuka ne bagenda mukama waabwe gye yali yakweka amatabi ag’obutonde ag’omuti, era n’agamba omuweereza nti: Laba gano; era n’alaba agaasooka nti gaali gabaze ebibala bingi; era n’alaba nti kyali kirungi. Era n’agamba omuweereza nti: Twala ebimu ku bibala by’ago, era obiterekere ekiseera eky’obwetaavu, nti nsobole okukyekuumira nze kennyini; kubanga laba, bwe yaŋŋamba, ekiseera kino ekiwanvu ngulabiridde, era gubaze ebibala bingi.

21 Era olwatuuka nti omuweereza n’agamba mukama we nti: Ggwe oze otya wanno okusimba omuti guno, oba ettabi lino ery’omuti? Kubanga laba, kino kye kyali ekifo ekisinga obubi mu ttaka lyonna ery’ennimiro yo ey’emizabbibu.

22 Era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’amugamba nti: Tompabula; Nnamanya nti kino kyali kifo kibi eky’ettaka; n’olwekyo, nnayogera gy’oli nti, Nkirabiridde ekiseera kino ekiwanvu, era ggwe olaba nti kibaze ebibala bingi.

23 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza we nti: Tunula wano; laba nsimbye ettabi eddala ery’omuti nalyo; era okimanyi nti ekifo kino eky’ettaka kyali kibi nnyo n’okusinga ekyasooka. Naye, laba omuti. Ngulabiridde ekiseera kino ekiwanvu, era gubaze ebibala bingi; n’olwekyo, bikuŋŋaanye, era nabyo obiterekere ekiseera eky’obwetaavu, nti nsobole okubyekuumira gye ndi nze kennyini.

24 Era olwatuuka nti Mukama w’ennimiro y’emizabbibu yaddamu n’agamba omuweereza we nti: Tunula wano, era laba ettabi eddala nalyo, lye nsimbye; laba nti nalyo ndirabiridde, era libaze ebibala.

25 Era n’agamba omuweereza nti: Tunula wano era laba lino erisembayo. Laba, lino lyo ndisimbye mu kifo ekirungi eky’ettaka; era ndirabiridde ekiseera kino ekiwanvu, era ekitundu kyokka eky’omuti kye kibaze ebibala ebirungi, era ekitundu ekirala eky’omuti kibaze ebibala eby’omu nsiko; laba, ngabiridde omuti guno ng’era bwe nkoze ku mirala.

26 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza nti: Menyako amatabi agatabaze bibala birungi, era ogasuule mu muliro.

27 Naye laba, omuweereza n’amugamba nti: Leka tugusalire, era tugukoole, era tugugabirire okumala akaseera akawanvuko, nti ob’olyawo gunaabala ebibala ebirungi gy’oli, olwo osobole okubitereka olw’okwerinda ekiseera eky’obwetaavu.

28 Era olwatuuka nti Mukama w’ennimiro y’emizabbibu era n’omuweereza wa Mukama w’ennimiro y’emizabbibu, balabirira ebibala byonna eby’ennimiro y’emizabbibu.

29 Era olwatuuka ekiseera ekiwanvu kyali kiyiseewo, era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza we nti: Jjangu, tukkirire mu nnimiro y’emizabbibu, nti tukole nate mu nnimiro y’emizabbibu. Kubanga laba, ekiseera kisemberera, era enkomerero ejja mu bwangu; n’olwekyo, nnina okutereka ebibala eby’ekiseera eky’obwetaavu, gye ndi nze kennyini.

30 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu era n’omuweereza bakkirira mu nnimiro y’emizabbibu; era ne batuuka ku muti amatabi gaagwo ag’obutonde agaali gamenyeddwako, era nga amatabi ag’omu nsiko gaali gayungiddwa mu bifo by’ago; era laba ebibala ebya buli ngeri byali bizitooweredde omuti.

31 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu yalya ebimu ku bibala, buli kika ky’ebibala okuva ku bisinga obungi okutuuka ku bitono. Era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba nti: Laba, ebbanga lino ery’ekiseera ekiwanvu lye tugabiridde omuti guno, era nneterekedde ebibala ebingi eby’omu kiseera eky’obwetaavu.

32 Naye laba, ku mulundi guno gubaze ebibala bingi, era tewali n’ekimu ku byo ekirungi. Era laba, kuliko ebibala ebibi ebya buli ngeri; era tegulina kyenguganyulwamu, wadde nga tukoze emirimu gyaffe gyonna; era kaakano kinnakuwaza nti nnina okufiirwa omuti guno.

33 Era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza nti: Tunaakola ki eri omuti, nsobole okuddamu nate okwekuumira ebibala byagwo ebirungi gye ndi nze kennyini?

34 Era omuweereza n’agamba mukama we nti: Laba, kubanga ggwe waguyunga ku matabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko galabiridde emirandira, nti ne gisigala nga miramu era ne gitafa; n’olwekyo ggwe olaba nti gakyali malungi.

35 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza we nti: Omuti sirina kintu kyonna kyenguganyulwamu, era n’emirandira gyagwo sirina kintu kyonna kyengiganyulwamu kasita guba nga gulibala ebibala ebibi.

36 Wadde kiri kityo, nkimanyi nti emirandira mirungi, era olw’ekigendererwa kyange ngireseewo; era olw’amaanyi gaagyo amangi okutuusa kati gibaze, okuva mu matabi ag’omu nsiko, ebibala ebirungi.

37 Naye laba, amatabi g’omu nsiko gakuze era ne gasinga n’emirandira gyago; era olw’okuba nti amatabi g’omu nsiko gawangudde emirandira gyago, kwe kubala ebibala ebibi bingi; era olw’okuba gubaze ebibala bingi ebibi ennyo kyova olaba nti gutandise okusaanawo; era amangu ddala gunateera okwengerera, olwo gusuulibwe mu muliro, okuggyako nga tulina kye tugukoledde okusobola okugukuuma.

38 Era olwatuuka olwo Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza we nti: Tukkirire mu bitundu by’ennimiro y’emizabbibu ebisembayo wammanga, era tulabe oba amatabi ag’obutonde nago gabaze ebibala ebibi.

39 Era olwatuuka ne bakkirira mu bitundu ebisembayo ebyemmanga eby’omu nnimiro y’emizabbibu. Era olwatuuka ne balaba nti ebibala by’amatabi ag’obutonde nabyo byali byonoonese nate; weewaawo, eby’ago agaasooka era n’ag’okubiri era n’ago agaasembayo; era byonna byali byonoonese.

40 Era ebibala eby’omu nsiko eby’ago agaasembayo byali bisinze ekitundu eky’omuti ekyabalanga ebibala ebirungi, okutuuka ku ssa nti ettabi lyali liwotose era nga lifudde.

41 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’akaaba, era n’agamba omuweereza nti: Kiki ekisingawo kye nnandikoze ku nnimiro yange ey’emizabbibu?

42 Laba, nnakimanya nti ebibala byonna eby’ennimiro y’emizabbibu, okuggyako bino, byali byonoonese. Era kaakano gino egyali gibaziza ebibala ebirungi nagyo gyonoonese; era kaakano emiti gyonna egy’ennimiro yange egy’emizabbibu tegikyalina mugaso okuggyako okutemebwa wansi era ne gisuulibwa mu muliro.

43 Era laba guno ogusembayo, ogwo ettabi lyagwo eriwotose, ggwe nnasimba mu kifo ekirungi eky’ettaka; weewaawo, ddala n’ekyo ekyali ekyenkizo gye ndi okusinga ebitundu ebirala byonna eby’ettaka ly’ennimiro yange ey’emizabbibu.

44 Era nawe olabye nti nnatema ekyo ekyali kitaataaganya ekitundu kino eky’ettaka, olwo nsobole okusimba omuti guno mu kifo kyagwo.

45 Era olaba ekitundu kyagwo kibaze ebibala ebirungi, era n’ekitundu kyagwo ne kibala ebibala eby’omu nsiko; era olw’okuba samenyako matabi gaagwo era n’okugasuula mu muliro, laba, gabuutikidde ettabi eddungi nti liwotookerera.

46 Era kaakano, laba, newakubadde okulabirira kwonna kwe tukoze eri ennimiro yange ey’emizabbibu, emiti gyayo gyeyongedde okwonooneka, nti tegikyabala bibala birungi; era gino nnali nsuubira okugitaliza, okweterekera ebibala eby’ekiseera eky’obwetaavu, gye ndi nze kennyini. Naye, laba, gifuuse nga omuzeyituuni ogw’omu nsiko, era tegirina mugaso gwonna okuggyako okutemebwa ne gisuulibwa mu muliro; era kinnakuwaza nti nnina okugifiirwa.

47 Naye kiki kye nnandikoze ekisingawo mu nnimiro yange ey’emizabbibu? Mpeddemu amaanyi mu mukono gwange, nti sigirabiridde? Nedda, nnagigabirira, era nnakoola, era nnagisalira, era ngiteseemu obusa; era ngolodde omukono gwange kumpi olunaku lwonna, era enkomerero esemberera okutuuka. Era kinnakuwaza nti nnina okutema emiti gyonna egy’ennimiro yange ey’emizabbibu, era ngisuule mu muliro olwo gyokebwe. Ani oyo ayonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu?

48 Era olwatuuka omuweereza n’agamba mukama we nti: Si ge malala g’ennimiro yo ey’emizabbibu; amatabi gaagyo tegasukulumye ku mirandira egyo emirungi? Era olw’okuba amatabi gayisiza emirandira gyagyo, laba gakula mangu okusinga amaanyi g’emirandira, nga getwalira amaanyi mugo. Laba, ŋŋamba, kino si kye kivaako emiti gy’ennimiro yo ey’emizabbibu okuba nga gyonoonese?

49 Era olwatuuka nti Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza nti: Katugende tuteme emiti gy’ennimiro y’emizabbibu era tugisuule mu muliro, olwo gireme okutaataaganya ettaka ly’ennimiro yange ey’emizabbibu, kubanga byonna mbikoze. Kiki kye nnandikoze ekisingawo ku lw’ennimiro yange ey’emizabbibu?

50 Naye, laba, omuweereza n’agamba Mukama w’ennimiro y’emizabbibu nti: Gisaasire ogiweeyo akaseera katono.

51 Era Mukama n’agamba nti: Weewaawo, nja kugisaasira giweeyo akaseera akatono, kubanga kinnakuwaza nti nsaanidde okufiirwa emiti gy’ennimiro yange ey’emizabbibu.

52 N’olwekyo, ka tutwale ku matabi ga gino gye nsimbye mu bitundu ebiri eky’emmanga w’ennimiro yange ey’emizabbibu, era ka tugayunge ku muti kwe gaava; era katumenye okuva ku muti amatabi ago ag’ebibala ebisinga okukaawa; era tugayunge ku matabi ag’obutonde ag’omuti mu kifo ky’ago.

53 Era kino kye nzijja okukola olwo omuti guleme okuzikirira, nti, ob’olyawo, nandyekumira emirandira gyagwo olw’ekigendererwa kyange.

54 Era, laba, emirandira gy’amatabi ag’obutonde ag’omuti gwe nnasimba mu kifo kyonna nga bwe nnayagala gikyali miramu; n’olwekyo, olw’okusobola okugitaliza olw’ekigendererwa kyange, nja kutwala ku matabi g’omuti guno, era nja kugayunga ku ganaago. Weewaawo, nja kugayunga ku matabi agaava ku nnyina w’emiti, nti nsobole okwekuumira emirandira gye ndi nze kennyini, nti bwe ginaafuuka egy’amaanyi ekimala ob’olyawo ginabala ebibala ebirungi gye ndi, era nnyinza okufuna essanyu mu bibala by’ennimiro yange ey’emizabbibu.

55 Era olwatuuka nti ne bagya ku muti ogw’obutonde ogwafuuka ogw’omu nsiko, era ne buyunga mu miti egy’obutonde, nga nagyo gy’ali gifuuse egy’omu nsiko.

56 Era ne batwala ku matabi g’emiti egy’obutonde egy’ali gifuuse egy’omu nsiko, ne bagayunga ku matabi ga nnyaabwe oyo ow’omuti.

57 Era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’agamba omuweereza nti: Tomenyako matabi ga mu nsiko okuva ku miti, okuggyako ago agasinga okukaawa; era mu gyo ojja kuyunga okusinziira kw’ekyo nze kyenjogedde.

58 Era tujja kuddamu nate okulabirira emiti gy’ennimiro y’emizabbibu, era tujja kukendeezza ku matabi gaagyo; era tujja kumenya okuva ku miti amatabi ago agengereredde, ago agalina okusaanawo, era tugasuule mu muliro.

59 Era kino nkikola, ob’olyawo, emirandira gyagyo giyinza okufuna amaanyi olw’obulungi bwagyo; era olw’enkyukakyuka y’amatabi, nti amalungi gasobole okuvvuunuka amabi.

60 Era olw’okuba nti nkuumye amatabi ag’obutonde n’emirandira gyago, era nga nzizemu okuyungirako amatabi ag’obutonde nate ku muti ogugazaala, era ne nkuuma emirandira egya nnyina w’emiti, nti, ob’olyawo, emiti gy’ennimiro yange ey’emizabbibu giriddamu nate okubala ebibala ebirungi; era nti ndiddamu okufuna essanyu nate mu bibala by’ennimiro yange ey’emizabbibu, era, ob’olyawo, nti ndisanyukira nnyo eby’ensusso nti nkuumye emirandira era n’amatabi g’ebibala eby’asooka;

61 N’olwekyo, gendayo, era oyite abaweereza, nti tusobole okukola n’obunyiikivu n’amaanyi gaffe mu nnimiro y’emizabbibu, nti tusobole okuteekateeka ekkubo, nti nsobole okuddamu okuleeta nate ebibala eby’obutonde, ebibala ebyo eby’obutonde ebirungi era ebisinga okuba eby’omuwendo okusinga ebibala ebirala byonna.

62 N’olwekyo, katugende era tukole n’amaanyi gaffe omulundi guno ogusembayo, kubanga laba enkomerero esemberera okutuuka, era kino kya mulundi ogusembayo nga ndisalira ennimiro yange ey’emizabbibu.

63 Yunga ku matabi; tandikira ku nkomerero gasobole okuba nga ge gasooka, era nga agaasooka gabeere agasembayo, era mukoole emiti, emikulu n’emito, egy’asooka n’egy’asembayo; era n’egy’asembayo n’egy’asooka, byonna bisobole okuliisibwa omulundi ogw’enkomerero.

64 N’olwekyo, mugikoole, era mugisalire, era mugiteekeko obusa omulundi omulala gumu, omulundi ogusembayo, kubanga enkomerero esemberera okutuuka. Era bwe kiba nti emiti gino egy’asembayo egy’akookerwa bwe girimera, era ne gibala ebibala eby’obutonde, olwo mmwe muligiteekeerateekera engeri, olwo gisobole okugimuka.

65 Era nga bwe gitandika okugimuka mmwe muliggyako amatabi agabala ebibala ebikaawa, okusinziira ku maanyi g’amatabi amalungi n’obunene bwago; era amabi ggwe toligaggyako gonna omulundi gumu, olw’okutya nti emirandira gyago giba gy’amaanyi nnyo eri emiti egy’akookerwa, era emiti egy’akookerwa gizikirira, era ne nfiirwa emiti gy’ennimiro yange ey’emizabbibu.

66 Kubanga kinnakuwaza nze okufiirwa emiti gy’ennimiro yange ey’emizabbibu; n’olwekyo mmwe muliggyako amabi ng’amalungi bwe gakula, olwo emirandira ne emitwe bisobole okwenkanankana mu maanyi, okutuusa amalungi bwe galisolooba ku mabi, era n’amabi gatemebwe okutuusa wansi era gasuulibwe mu muliro, nti galeme okutaataaganya ettaka ly’ennimiro yange ey’emizabbibu; era bwe ntyo nja kusaanyawo amabi okuva mu nnimiro yange ey’emizabbibu.

67 Era amatabi ag’omuti ogw’obutonde nja kuddamu nate okugayungira ku muti ogw’obutonde;

68 Era amatabi ag’omuti ogw’obutonde nja kugayunga ku matabi ag’obutonde ag’omuti; era bwe ntyo bwe ndigaleeta awamu nate, olwo gabale ebibala eby’obutonde, era galibeera ky’ekimu.

69 Era amabi galisuulibwa, weewaawo, ddala okuva mu ttaka lyonna ery’ennimiro yange ey’emizabbibu; kubanga laba, ku mulundi guno gwokka lwe ndisalira ennimiro yange ey’emizabbibu.

70 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’atuma omuweereza we; era omuweereza n’agenda n’akola nga Mukama bwe yamulagira, era n’aleeta abaweereza abalala; era baali batono.

71 Era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu n’abagamba nti: Mugendeyo, era mukole mu nnimiro y’emizabbibu, n’amaanyi gammwe. Kubanga laba, guno gwe mulundi ogusembayo nga ndabirira ennimiro yange ey’emizabbibu; kubanga enkomerero eri kumpi, era ekiseera kijja mu bwangu; era singa mukola n’amaanyi gammwe wamu nange, mulifuna essanyu olw’ebibala bye ndyeterekera olw’ekiseera ekinajja amangu ddala.

72 Era olwatuuka abaweereza bagenda ne bakola n’amaanyi gaabwe; era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu naye n’akola wamu n’abo; era bagondera ebiragiro bya Mukama w’ennimiro y’emizabbibu mu bintu byonna.

73 Era watandika okubaawo ebibala eby’obutonde nate mu nnimiro y’emizabbibu; era n’amatabi ag’obutonde ne gatandika okukula era n’okugimuka ennyo; era n’amatabi ag’omu nsiko ne gatandika okumenyebwa nga bwe gasuulibwa ebbali; era bakuuma emirandira era n’obusanso bwagyo nga byenkanankana, okusinziira ku maanyi gaagyo.

74 Era bwe batyo baakola, n’obunyiikivu bwonna, okusinziira ku biragiro bya Mukama w’ennimiro y’emizabbibu, era n’okutuusa ng’amabi gamaze okusuulibwa ebbali okuva mu nnimiro y’emizabbibu, era Mukama yali agekuumidde olwo emiti egyo nti gy’ali gizzeemu nate okubala ebibala eby’obutonde; era gyafuuka ng’omubiri ogumu; era n’ebibala byali byenkanankana; era Mukama w’ennimiro y’emizabbibu yali yeekuumidde ebibala eby’obutonde, ekyali kisinga okuba eky’omuwendo gy’ali okuviira ddala ku ntandikwa.

75 Era olwatuuka Mukama w’ennimiro y’emizabbibu bwe yalaba ng’ebibala bye birungi, era nti ennimiro ye ey’emizabbibu nga tekyali nnyonoonefu, n’ayita abaweereza be, n’abagamba nti: Mulabe, kubanga ku mulundi guno ogusembayo tugabiridde ennimiro yange ey’emizabbibu; era mulabye nti nkoze okusinziira ku kwagala kwange; era nkuumye ebibala eby’obutonde, nti birungi, ddala nga bwe kyali mu ntandikwa. Era muli bamukisa mmwe; kubanga olw’okuba mmwe mubadde banyiikivu mu kukola nange mu nnimiro yange ey’emizabbibu, era nga mukuumye ebiragiro byange, era nga mukomezaawo gye ndi nate ebibala eby’obutonde, nti ennimiro yange ey’emizabbibu tekyali nnyonoonefu, era ebibi bisuulibwa, laba mmwe muliba n’essanyu wamu nange olw’ebibala by’ennimiro yange ey’emizabbibu.

76 Kubanga laba, okumala ebbanga eddene nja kutereka ebimu ku bibala eby’ennimiro yange ey’emizabbibu gye ndi nze kennyini nga nnerinda kiseera eky’obwetaavu, ekijja mu bwangu; era omulundi ogusembayo ngabiridde ennimiro yange ey’emizabbibu, era ne ngisalira, era ne ngikoola, era ne giteekamu obusa; n’olwekyo nja kweterekera gye ndi nze kennyini ebibala, okumala ebbanga eddene, okusinziira ku ekyo kye njogedde.

77 Era olwo ekiseera bwe kinaatuuka ebibala ebyo ebibi biriddamu okujja mu nnimiro yange ey’emizabbibu, olwo ndisobozesa ebirungi n’ebibi okukuŋŋaanyizibwa; era ebirungi ndibyekuumira, era ebibi kyendiva mbisuula mu kifo kyabyo. Era awo ekiseera ekituufu n’enkomerero bijja; era ennimiro yange ey’emizabbibu ndisobozesa eyokebwe n’omuliro.