Scriptures
Yakobo 1


Ekitabo kya Yakobo
Muganda wa Neefi

Ebigambo eby’okubuulira kwe eri baganda be. Awuniikiriza omusajja afuba okusiguukulula enjigiriza ya Kristo. Ebigambo ebitonotono ebikwata ku byafaayo by’abantu ba Neefi.

Essuula 1

Yakobo era ne Yusufu bafuba okusendasenda abantu okukkiririza mu Kristo era n’okukuuma ebiragiro bye; Neefi afa; Obubi bumerukawo mu Baneefi. Nga mu mwaka gwa 544–421 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kubanga laba, lwatuuka nga emyaka ataano mu etaano gy’ali giyiseewo okuva mu kiseera Leki nga avudde mu Yerusaalemi; n’olwekyo, Neefi yawa nze, Yakobo, ekiragiro ekikwata ku mbaati entono, ebintu bino kwe byoleddwa.

2 Era n’ampa nze, Yakobo, ekiragiro nti mpandiike ku mbaati zino ebitonotono ku bintu bye nnalaba ng’eby’omuwendo ennyo; nti siwandiika, okuggyako ekitono ennyo, ku bikwata ku byafaayo by’abantu bano abayitibwa abantu ba Neefi.

3 Kubanga yaŋŋamba nti ebyafaayo by’abantu be birina okuyolebwa ku mbaati ze endala, era nti nteekeddwa okukuuma embaati zino ne nzikwasa ezzadde lyange, okuva ku mulembe okudda ku mulala.

4 Era singa waaliwo okubuulira okutukuvu, oba okubikkulirwa okw’amaanyi, oba okuwa obunnabbi, nti nteekeddwa okuyola emitwe gyabyo emikulu ku mbaati zino, era mbiwandiikako nga bwe kisoboka, ku lwa Kristo, n’olw’abantu baffe.

5 Kubanga olw’okukkiriza n’okweraliikirira okungi, ddala twali tubikkuliddwa ebikwata ku bantu baffe, ebyali bigenda okubatuukako.

6 Era naffe nate twafuna okubikkulirwa kungi, era n’omwoyo gw’obunnabbi obw’amaanyi; n’olwekyo, twamanya ku Kristo n’obwakabaka bwe, ebiteekeddwa okujja.

7 N’olwekyo kyetuva tufuba ennyo mu bantu baffe, tulyoke tubasendesende okujja eri Kristo, bagabane ku bulungi bwa Katonda, balyoke bayingire mu kiwummulo kye, ekitali ekyo ayinza okulayira mu busungu bwe baleme okuyingira, nga bwe yasunguwala mu nnaku ez’okukemebwa ng’abaana ba Isiraeri bali mu lukoola.

8 N’olwekyo, twagala Katonda atuyambe tusobole okusendasenda abantu bonna obutajeemera Katonda, okumusunguwaza, wabula nti abantu bonna bakkiririze mu Kristo, era bafumiitirize okufa kwe, era baboneebone n’omusaalaba gwe era n’okwetikka ensonyi z’ensi; n’olwekyo, nze, Yakobo, ntwala obuvunaanyizibwa okutuukiriza ekiragiro kya muganda wange Neefi.

9 Kati Neefi y’atandika okukaddiwa, era n’alaba nga yali wakufa mangu; n’olwekyo kyeyava afuka amafuta ku musajja okubeera kabaka era omufuzi w’abantu be kati, okusinziira ku bufuzi bwa bakabaka.

10 Abantu olw’okwagala ennyo Neefi, nga yali mukuumi wabwe ow’amaanyi, nga yakozesa ekitala kya Labani mu bukuumi bwabwe, era n’olw’okukola mu nnaku ze zonna olw’ebyembeera byabwe:

11 N’olwekyo, abantu baayagala okusigaza erinnya lye okumujjukiranga. Era buli eyali agenda okufuga mu kifo kye yayitibwanga abantu nti, Neefi ow’okubiri, Neefi ow’okusatu, n’okweyongerayo, okusinziira ku bufuzi bwa bakabaka; era bwe batyo bwe baayitibwanga abantu, kababeere ab’erinnya lyonna.

12 Era olwatuuka Neefi n’afa.

13 Kati abantu abatali Balamani baali Baneefi; wadde kiri kityo, baayitibwanga Abaneefi, Abayakobo, Abayusufu, Abazolamu, Abalamani, Abalemweri, n’Abayisimayiri.

14 Naye nze, Yakobo, okuva n’akaakano sijja kubawula na mannya gano, wabula nja kubayita Abalamani abafuba okuzikiriza abantu ba Neefi, era n’abo mikwano gya Neefi nja kubayita Abaneefi, oba abantu ba Neefi, okusinziira ku bufuzi bwa bakabaka.

15 Era kati olwatuuka abantu ba Neefi, wansi w’obufuzi bwa kabaka ow’okubiri, baatandika okukakanyaza emitima gyabwe, era ne beenyigira mu bikolwa ebibi, ng’okufaananako Dawudi ow’edda eyeegomba abakazi n’abazaana abangi, era nate Sulemaani, mutabani we.

16 Weewaawo, era n’abo ne batandika okunoonya zaabu ne ffeeza omungi, era ne batandika okwetwalira waggulu mu ngeri ey’amalala.

17 N’olwekyo nze, Yakobo n’abawa ebigambo bino nga bwe nnabayigiriza mu yeekaalu, nga mmaze okusooka okuweebwa eky’okukola okuva eri Mukama.

18 Kubanga nze, Yakobo, ne muganda wange Yusufu twali tutongozeddwa okuba bakabona n’abasomesa b’abantu bano, n’omukono gwa Neefi.

19 Era twagulumiza obuweereza bwaffe eri Mukama, nga tutwala obuvunaanyizibwa, nga twetikka ebibi by’abantu ku mitwe gyaffe singa tetwabayigiriza kigambo kya Katonda n’obunyiikivu bwonna; n’olwekyo, olw’okukola n’amaanyi gaffe omusaayi gwabwe guleme okujja ku byambalo byaffe; bwe kitaba ekyo omusaayi gwabwe gwandijja ku byambalo byaffe, era tetwandisangiddwa nga tetulina mabala ku lunaku olw’enkomerero.