Scriptures
Yalomu 1


Ekitabo kya Yalomu

Essuula 1

Abaneefi bakuuma etteeka lya Musa, beesunga okujja kwa Kristo, era bakulaakulana mu nsi; Bannabbi bangi bakola omulimu ogw’okukuumira abantu mu kkubo ery’amazima. Nga mu mwaka gwa 399–361 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kaakano laba, nze, Yalomu, mpandiika ebigambo bitonotono okusinziira ku kiragiro kya kitange Enosi, nti olulyo lwaffe lusobole okukuumibwa.

2 Era olw’okuba embaati zino ntono, era olw’okuba ebintu bino biwandiikiddwa olw’ekigendererwa eky’okuganyulwa kwa baganda baffe Abalamani, n’olwekyo, kibadde kyetagisa nti mpadiike kitono; naye sijja kuwandiika bintu bya bunnabbi bwange, wadde okubikkulirwa kwange. Kuba ki kye nsobola okuwandiika ekisinga ba kitange bye bawandiise? Olw’okuba tebabikkuliddwa nteekateeka ya bulokozi? Mbagamba nti, Weewaawo; era kino kimmala.

3 Laba, kyetaagisa nti bingi birina okukolebwa wakati mu bantu bano, kubanga olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, era n’okuba ng’amatu gaabwe maggale, era n’obuzibe bw’endowooza zaabwe, era n’obukakanyavu bw’ensingo zaabwe; wabula, Katonda wa kisa nnyo gye bali, era nga tanabazikiriza okuva ku lukalu olw’ensi.

4 Era bangi mu ffe abalina okubikkulirwa okungi, kubanga bonna si ba nsingo nkakanyavu. Era nga abangi bwe batali ba nsingo nkakanyavu era nga balina okukkiriza, balina okussa ekimu n’Omwoyo Omutukuvu, ayolesa eri abaana b’abantu, okusinziira ku kukkiriza kwabwe.

5 Era kaakano, laba, emyaka ebikumi bibiri gy’ali giyiseewo, era abantu ba Neefi baali beeyongedde amaanyi mu nsi. Baafuba okukuuma etteeka lya Musa n’olunaku lwa ssabbiiti nga lutukuvu eri Mukama. Era tebaayonoona; era tebavvoola. Era amateeka g’ensi gaali makakali nnyo.

6 Era baali basaasaanidde mu bitundu bingi ku lukalu lw’ensi, era n’Abalamani n’abo. Era baali bangi nnyo okusinga ab’Abaneefi bwe baali; era nga baagala nnyo ettemu era baanywanga n’omusaayi ogw’ensolo.

7 Era olwatuuka bajja emirundi mingi okutw󠅋aŋŋanga ffe, Abaneefi, okulwana. Naye bakabaka baffe n’abakulembeze baffe baali basajja ba maanyi mu kukkiriza kwa Mukama; era bayigiriza abantu empenda za mukama; n’olwekyo, twaziyiza Abalamani ne tubagobera ddala okuva mu nsi zaffe, era ne tutandika okunyweza ebibuga byaffe, oba buli kifo kyonna eky’obusika bwaffe.

8 Era ne tweyongera nnyo obungi, era ne tubuna ku nsi, era ne tugaggawala nnyo olwa zaabu, era ne ffeeza, era ne mu bintu eby’omuwendo, era ne mu kukola ebibajje ebirungi mu miti, mu bizimbe, era ne mu byuma, era ne mu kyuma ekya kkalwe, era n’ekyuma ekya lwera, n’ekikomo, era ne ppuwa, nga tukola ebikozesebwa ebya buli ngeri okulima ettaka, n’ebyokulwanyisa mu lutalo; weewaawo, akasaale akasongovu ak’obwogi, era n’ekiwaawo, era n’omuwunda, n’effumu, n’okwetegekera kwonna okw’olutalo.

9 Era bwe tutyo bwe twali abetegefu okusisinkana Abalamani, tebaatuuka ku buwanguzi eri ffe. Naye ekigambo kya Mukama ne kikakasibwa, kye yayogera eri bajjajjaffe, ng’agamba nti: Kasita munaakuumaanga ebiragiro byange munaakulakulana mu nsi.

10 Era olwatuuka bannabbi ba Mukama ne batiisatiisa abantu ba Neefi, okusinziira ku kigambo kya Katonda, nti singa tebaakuuma biragiro, naye ne bagwa mu nsobi, banaazikirizibwa okuva ku lukalu lw’ensi.

11 N’olwekyo, bannabbi, era ne bakabona, era n’abasomesa, baakola n’obunyiikivu, nga bakubiriza abantu n’obugumiikiriza bwonna okuba abanyiikivu; nga bayigiriza etteeka lya Musa, era n’ekigendererwa lwaki lyaweebwa; nga babasendasenda okulindirira Masiya, era n’okumukkiririzaamu nga eyali yajja edda. Era mu ngeri eno baabayigiriza.

12 Era olwatuuka nti bwe baakola bwe batyo babaziyiza obutazikirizibwa ku nsi; kubanga baafumita emitima gyabwe n’ekigambo, olutatadde nga babasiikuula okwenenya.

13 Era olwatuuka emyaka ebikumi bibiri mu asatu mu munaana gy’ali giyiseewo; oluvannyuma lw’engeri y’entalo, era n’okun󠅋eneŋŋana, era n’okweruumaluuma, okumala ebbanga eddene.

14 Era nze, Yalomu, siwandiika bisingawo, kubanga embaati ntono. Naye laba, baganda bange, muyinza okukebera ku mbaati endala eza Neefi; kubanga laba, ku zo ebiwandiiko by’entalo zaffe biyoleddwa, okusinziira ku biwandiiko bya bakabaka, oba ebyo bye balagira biwandiikibwe.

15 Era embaati zino nziwaayo mu mikono gya mutabani wange Omuni, nti zikuumibwe okusinziira ku biragiro bya bajjajjange.