Essuula 6
Mukama ajja kuzzaawo Isiraeri mu nnaku ez’oluvannyuma; Ensi ejja kwokebwa n’omuliro; Abantu balina okugoberera Kristo okwewala ennyanja ey’omuliro n’obuganga. Nga 544–421 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, laba, baganda bange, nga bwe nabagamba nti nja kuwa obunnabbi, laba, buno bwe bunnabbi bwange; nti ebintu nnabbi ono Zenosi bye yayogera, ebikwata ku nnyumba ya Isiraeri, nga mu ekyo yabageraageranya ku muti ogw’omuzeyituuni ogw’asimbibwa, mazima ddala birina okutuukirira.
2 Era olunaku lw’anaddamu okuteeka omukono gwe nate omulundi ogw’okubiri okuzza abantu be, lwe lunaku, weewaawo, ddala omulundi ogusembayo, nti abaweereza ba Mukama baligenda mu maanyi ge, okugabirira era n’okusalira ennimiro ye ey’emizabbibu; era oluvannyuma lw’ekyo enkomerero mu bbanga ttono ejja.
3 Era nga ba mukisa abo abakoze n’obunyiikivu mu nnimiro ye ey’emizabbibu; era nga bakolimiddwa abo abaligobebwa mu bifo byabwe ebibagwanidde! Era ensi elyokebwa n’omuliro.
4 Era nga ajjude okusaasira Katonda waffe gye tuli, kubanga ajjukira ennyumba ya Isiraeri, emirandira era n’amatabi byombi; era n’agolola gye bali emikono gye olunaku lwonna; era nga bo abantu bakakanyavu ba nsingo era abantu abanoonya eby’enfuna; naye abo bonna abataakakanyaze mitima gyabwe balirokolebwa mu bwakabaka bwa Katonda.
5 N’olwekyo, baganda bange abaagalwa, mbasaba mu bigambo nga mbitegeeza nti mwandibadde mwenenya, era mujje n’obumalirivu obujjuvu mu mutima, era munywerere ku Katonda nga bwali omwesigwa gye muli. Era ng’omukono gwe ogw’okusaasira bwe gukyagoloddwa gye muli mu kitangaala ky’olunaku, temukakanyaza mitima gyammwe.
6 Weewaawo, olwa leero, singa munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe; kubanga lwaki muba mufa?
7 Kubanga laba, oluvannyuma mmwe nga mumaze okuliisibwa ekigambo kya Katonda ekirungi olunaku lwonna, mulibala ebibala ebibi, nti mulina okutemebwa wansi era ne musuulibwa mu muliro?
8 Laba, munagaana ebigambo bino? Munagaana ebigambo bya bannabbi; era munagaana ebigambo byonna ebibadde byogerwa ebikwata ku Kristo, oluvannyuma lw’abangi okwogera ku bimukwatako; era mwegaane ekigambo ekirungi ekya Kristo, era n’amaanyi ga Katonda, era n’ekirabo eky’Omwoyo Omutukuvu, era muziyize amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu, era munyoomoole entegeka enkulu ey’okununulibwa, eyo ebateekeddwawo?
9 Mwe temumanyi nti singa munaakolanga ebintu bino, nti amaanyi g’okununulwa era n’okuzuukira, ebiri mu Kristo, bijja kubaleeta okuyimirira n’obuswavu era n’okunakuwala okw’entiisa mu maaso g’emmeeza ya Katonda ey’obulamuzi?
10 Era okusinziira ku buyinza obw’obwenkanya, kubanga obwenkanya tebuyinza kugaanibwa, mulina okugenda mu nnyanja ey’omuliro n’obuganga, ey’ennimi ez’omuliro ogutazikira, era omukka gwayo ogwambuka olubeerera, ennyanja eyo ey’omuliro n’obuganga kwe kubonyaabonyezebwa okutakoma.
11 Olwo nno, baganda bange abaagalwa, mwenenye mmwe, era muyingire munda okuyita mu wankaaki w’ekkubo ery’akanyigo, era mweyongereyo mu kkubo effunda, okutuusa lwe mulifuna obulamu obutaggwaawo.
12 Mubeere bagezigezi; kiki kye nnyinza okwogera ekisingawo?
13 Ekisembayo, mbasiibula, okutuusa lwe ndibasisinkana mu maaso g’emmeeza ya Katonda ey’obulamuzi esanyusa, emmeeza eyo ey’obulamuzi ekuba ababi encukwe era n’entiisa ennyingi. Amiina.