Essuula 4
Bannabbi bonna baasinza Kitaffe mu linnya lya Kristo: Ibulayimu okuwaayo Isaaka nga sadaaka kyali kyefaananyiriza Katonda era n’omwana we omu yekka: Abantu balina okutabagana eri Katonda nga bayita mu Mutango: Abayudaaya bajja kugaana ejjinja ery’omusingi. Nga 544–421 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano laba, kyatuukirira nti nze, Yakobo, nga mmaze okuweereza abantu bange okuyita mu kigambo, (era siyinza kuwandiika okuggyako ebitono ku bigambo byange, olw’obuzibu obw’okuyola ebigambo byaffe ku mbaati) era tukimanyi nti ebintu bye tuwandiika ku mbaati birina okusigalawo;
2 Naye buli bintu byonna bye tuwandiika ku kintu kyonna nga oggyeko ku mbaati kiteekwa okusaanawo era n’okubula; Naye tusobola okuwandiika ebigambo ebitonotono ku mbaati, ebijja okuwa abaana baffe, era ne baganda baffe abaagalwa, okumanya okutono kubitukwatako, oba kubikwata ku bakitaabwe.
3 Kaakano mu kintu kino tusanyuka; era tufuba bukubirire okuyola ebigambo bino ku mbaati, nga tusuubira nti baganda baffe abaagalwa n’abaana baffe bajja kubifuna n’emitima egy’okwebaza, era n’okubitunulira nti bayinza okuyiga n’essanyu so si n’ennaku, wadde n’okunyooma, ku bikwata ku bazadde baabwe abaasooka.
4 Kubanga, olw’ekigendererwa kino tuwandiise ebintu bino, nti bamanye nti twali tumanyi ku Kristo, era twalina essuubi ery’ekitiibwa kye emyaka ebikumi n’ebikumi bingi nga tannajja; era si ffe ffekka abaali n’essuubi ery’ekitiibwa kye, naye ne bannabbi abatuukirivu bonna abaaliwo nga ffe tetunaba kubaawo.
5 Laba, bakkiririza mu Kristo era ne basinza Kitaffe mu linnya lye, era naffe tusinza Kitaffe mu linnya lye. Era olw’ekigendererwa kino tukuuma etteeka lya Musa, nga litunuza emyoyo gyaffe gy’ali; era olw’ensonga eno kitwalibwa ng’ekintu ekituukirivu kye tulina okukola, era nga bwe kyagerekebwa eri Ibulayimu mu lukoola okugondera ebiragiro bya Katonda mu kuwaayo omwana we Isaaka, nga kino kye kyefaanyirizaako ekya Katonda n’Omwana we omu yekka.
6 N’olwekyo, tunoonya bannabbi, era tulina okubikkulirwa kungi era n’omwoyo w’obunnabbi; era nga tulina abajulizi bano bonna tufuna essuubi, era n’okukkiriza kwaffe ne kuba nga tekukyanyenyezebwa, mu ngeri nti tusobolera ddala okulagira mu linnya lya Yesu n’emiti gyennyini ne gitugondera, oba ensozi, oba amayengo g’ennyanja.
7 Wadde nga kiri kityo, Mukama Katonda atulaga obunafu bwaffe era tumanye nti olw’ekisa kye, era n’obwetoowazebwe obw’amaanyi eri abaana b’abantu, nti tulina amaanyi okukola ebintu bino.
8 Laba, mikulu era gya kitalo emirimu gya Mukama. Nga tebunonyezeka obuziba bw’obwekusifu bwe; era tekisoboka nti omuntu ayinza okuzuula amakubo ge gonna. Era tewali muntu amanyi makubo okuggyako nga kimubikkuliddwa gy’ali; n’olwekyo, ab’oluganda, temunyoomanga kubikkulirwa kwa Katonda.
9 Kubanga laba, olw’amaanyi g’ekigambo kye omuntu yajja ku nsi, ensi eyatondebwa n’amaanyi g’ekigambo kye. N’olwekyo, Katonda nga bwe yasobola okwogera ensi neeba, era n’ayogera era n’omuntu n’atondebwa, Abange, olwo, lwaki tasobola kulagira nsi, oba omulimu gw’emikono gye mu maaso gaayo, okusinziira ku bigendererwa n’okwagala kwe?
10 N’olwekyo, ab’oluganda, temunoonyanga okubuulirira Mukama, wabula okufuna okubuulirirwa okuva mu mukono gwe. Kubanga laba, mmwe mwennyini mumanyi nti abuulirira mu magezi, era ne mu bwenkanya, era ne mu kusaasira okw’amaanyi, eri emirimu gye gyonna.
11 N’olwekyo, ab’oluganda abaagalwa, tutabagane naye nga tuyita mu mutango gwa Kristo, Omwana we omu yekka, era mmwe mulyoke mufune okuzuukira, okusinziira ku maanyi g’okuzuukira agali mu Kristo, era mwanjulwe ng’ebibala ebisooka ebya Kristo eri Katonda, nga mulina okukkiriza, era nga mufunye essuubi eritabuusibwa ery’ekitiibwa mu ye nga tannaba kweyoleka mu mubiri.
12 Era kaakano, abaagalwa, temwewuunya nti mbabuulira ebintu bino; Nga lwaki tetwogera ku mutango gwa Kristo, era tufune okumanya okutuukiridde okukwata ku ye, n’okutuuka ku kumanya okw’okuzuukira era n’ensi enejja?
13 Mulabe, baganda bange, oyo awa obunnabbi, mumuleke awe obunnabbi olw’ekigendererwa ky’abantu okutegeera; kubanga Omwoyo ayogera amazima era talimba. N’olwekyo, ayogera ku bintu nga bwe biri ddala, era n’ebintu nga bwe bijja ddala okuba; n’olwekyo, ebintu bino byolesebwa gye tuli mu bwerufu, olw’obulokozi bw’emyoyo gyaffe. Naye laba, tetuli bajulizi kyokka mu bintu ebyo; kubanga Katonda nate yabyogera eri ne bannabbi ab’edda.
14 Naye laba, Abayudaaya baali bantu bakakanyavu ba nsingo; era banyooma ebigambo eby’obwerufu, era ne batta bannabbi, era ne banoonya ebintu bye bataasobola kutegeera. N’olwekyo, olw’obuzibe bwabwe, obuzibe obwo obwajja olw’okutunula okusukka ekigendererwa, baali bateekeddwa okugwa; kubanga Katonda yaggyewo obwerufu bwe okuva gye bali, era n’abawa ebintu bingi bye batasobola kutegeera, olw’okubanga baakyegwanyiza. Era olw’okubanga baakyegwanyiza Katonda akikoze, nti basobole okusirittuka.
15 Era kaakano nze, Yakobo, nnuŋŋamizibwa Omwoyo okutuuka nti mpa obunnabbi; kubanga ntegeera olw’enkola z’Omwoyo ali mu nze, nti olw’okusirittuka kw’Abayudaaya, bajja kugaana ejjinja lye bayinza okuzimbako okuba n’omusingi omunywevu.
16 Naye laba, okusinziira ku byawandiikibwa, ejjinja lino lirifuuka ekkulu, era erisembayo, era omusingi gwokka omukakafu, Abayudaaya kwe basobola okuzimba.
17 Era kaakano, abaagalwa bange, kisoboka kitya nti bano, oluvannyuma lw’okugaana omusingi omukakafu, basobola okuguzimbako, nti gufuuka ejjinja lyabwe eddene ery’oku nsonda?
18 Mulabe, baganda bange abaagalwa, nja kubikkula ekyama kino gye muli; bwe mba si kikoze, mu buli ngeri yonna, nfuna okunyeenyezebwa okuva mu bunywevu bwange mu mwoyo, era ne nsirittuka olw’okweraliikirira kwange okusukkiridde gye muli.