Essuula 33
Zenosi yayigiriza nti abantu balina okusaba n’okusinza mu bifo byonna, era nti ebibonerezo bya Katonda biggyiddwawo olw’Omwana; Zenoka yayigiriza nti okusaasira kuweebwa olw’Omwana; Musa yali yayimusa mu ddungu akabonero ak’Omwana wa Katonda. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano Aluma oluvannyuma olw’okwogera ebigambo bino, ne batuma gy’ali nga baagala okumanya oba balina kukkiririza mu Katonda omu, basobole okufuna ebibala bino bye yali ayogeddeko, oba engeri gye balina okusimbamu ensigo, oba ekigambo kye yali ayogeddeko, kye yagamba nti kiteekwa okusimbibwa mu mitima gyabwe; oba mu ngeri ki gye balina okutandika okukozesa okukkiriza kwabwe.
2 Era Aluma n’abagamba: Laba, mugambye nti mubadde temusobola kusinza Katonda wammwe kubanga mugobebwa mu makuŋŋaaniro gammwe. Naye laba, mbagamba bwe muba mulowooza nti temuyinza kusinza Katonda, mukola ensobi y’amaanyi, era musaanidde okwekenneenya ebyawandiikibwa; bwe mulowooza nti bibayigirizza kino, temubitegeera.
3 Mujjukira okusoma kw’ebyo Zenosi, nabbi ow’edda, bye y’ayogera ebikwata ku kusaba oba okusinza?
4 Kubanga yagamba: Oli musaasizi, ayi Katonda, kubanga owulidde okusaba kwange, ddala ne bwe nnali mu lukoola; weewaawo, wali wakisa bwe nnasaba olw’abo abaali abalabe bange, era n’obazza gye ndi.
5 Weewaawo, ayi Katonda, era wali wakisa gye ndi bwe nnakwegayirira mu nnimiro yange; bwe nnakwegayirira mu kusaba kwange, era wampulira.
6 Era nate, Ayi Katonda, bwe nnaddayo mu nnyumba yange wampulira mu kusaba kwange.
7 Era bwe nnagenda mu kisenge kyange eky’ekyama, ayi Mukama, ne nkusaba, wampulira.
8 Weewaawo, oli wakisa eri abaana bo bwe bakwegayirira, okuwulirwa ggwe so si abantu, era on’abawuliranga.
9 Weewaawo, ayi Katonda, obadde wakisa gye ndi, n’owulira emiranga gyange wakati mu bibiina byo.
10 Weewaawo, era wampulira ate ne bwe nnali nga ngobeddwa era nga nnyoomeddwa abalabe bange; weewaawo, wawulira emiranga gyange, era wali munyiivu eri abalabe bange, era wabakyalira mu busungu bwo n’okuzikirizibwa okw’amangu.
11 Era wampulira olw’ebibonoobono byange n’obwesimbu bwange; era kiri bwe kityo olw’okuba Omwana wo nti bw’otyo obadde wakisa gye ndi, n’olwekyo naakuwanjagira mu kubonaabona kwange kwonna, kubanga mu ggwe mwe muli essanyu lyange; kubanga oggyewo ebibonerezo byo gye ndi, olw’Omwana wo.
12 Era kaakano Aluma n’abagamba: Mukkiriza ebyawandiikibwa ebyo abo ab’edda bye baawandiika ?
13 Laba, bwe muba nga mukikola, mulina okukkiriza Zenosi bye yayogera; kubanga, laba y’agamba nti: Oggyewo ebibonerezo byo olw’Omwana wo.
14 Kaakano laba, baganda bange, kambuuze oba musomye ebyawandiikibwa? Bwe muba nga mubisomye, muyinza mutya obutakkiriza byekuusa ku Mwana wa Katonda?
15 Kubanga tekiwandiikiddwa nti Zenosi yekka ye yayogera ku bintu bino, wabula ne Zenoka naye yayogera ku bintu bino;
16 Kubanga laba, y’agamba nti: Oli munyiivu, ayi Mukama, n’abantu bano, kubanga balemeddwa okutegeera okusaasira kwo kw’obawadde olw’Omwana wo.
17 Era kaakano, baganda bange, mukiraba nti nnabbi ow’okubiri ow’edda awadde obujulizi ku Mwana wa Katonda, era olw’okuba abantu baalemwa okutegeera ebigambo bye baamukuba amayinja okutuusa okufa.
18 Naye laba, kino si kye kyokka; Bano si be bokka aboogedde ku Mwana wa Katonda.
19 Laba, yayogerwako Musa; weewaawo, era laba akabonero kayimusibwa mu lukoola, na buli muntu yenna eyakatunulangako asobole okuba omulamu. Era bangi baatunula ne baba abalamu.
20 Naye batono abategeera amakulu g’ebintu ebyo, era kino olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe. Naye waaliwo bangi abaali abakakanyavu ennyo nti tebaasobola kutunula, n’olwekyo baazikirira. Kaakano ensonga lwaki tebaatunula eri nti baali tebakkiriza nti kyali kisobola okubawonya.
21 Ayi baganda bange, singa muba musobola okuwonyezebwa olw’okutunula obutunuzi n’amaaso gammwe, nti mulyoke muwonyezebwe, temwalitunudde mangu, oba mwandibadde mukakanyaza emitima gyammwe mu butakkiriza, era ne mugayaala, ne mutayinza kulaba n’amaaso gammwe, olwo mulyoke muzikirire?
22 Bwe kiba bwe kityo, zijja kuba zibasanze; naye bwe kitaba bwe kityo, awo mutunule n’amaaso gammwe era mutandike okukkiririza mu Mwana wa Katonda, nti alijja okununula abantu be, era nti alibonaabona era afe okutangirira ebibi byabwe; era nti alizuukira nate okuva mu bafu, ekirituukiriza okuzuukira, olwo abantu bonna baliyimirira mu maaso ge, okulamulwa ku lunaku olw’enkomerero era olw’okulamulwa, okusinziira ku bikolwa byabwe.
23 Era kaakano, baganda bange, njagala musimbe ekigambo kino mu mitima gyammwe, era nga bwe kitandiikiriza okugejja era ddala bwe mutyo mukigabirire n’okukkiriza kwammwe. Era laba, kijja kufuuka omuti, nga kimera mu mmwe okutuuka mu bulamu obutaggwaawo. Era awo Katonda abayambe emigugu gyammwe gibeere miwewufu, okuyita mu ssanyu ly’Omwana we. Era ddala bino byonna musobola okubikola bwe muba nga mwagadde. Amiina.