Essuula 43
Aluma ne batabani be babuulira ekigambo; Abazolamu n’abalala bakyewaggula Abaneefi bafuuka Abalamani; Abalamani balwanagana n’Abaneefi mu lutalo; Moloni awa Abaneefi ebyambalo eby’olutalo eby’okwekuuma; Mukama amanyisa Aluma ku enteekateeka z’Abalamani; Abaneefi balwanirira amaka gaabwe, eddembe, ab’omu maka gaabwe, n’eddiini; Amagye ga Moloni ne Leki gazingiza Abalamani. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka batabani ba Aluma baagenda mu bantu, okulangirira ekigambo gye bali. Era Aluma, naye, ye yennyini, teyasobola kuwummula, era naye yagenda.
2 Kaakano tetujja kwogera bisingawo ku bikwata ku kubuulira kwabwe, okuggyako nti baabuulira ekigambo, era n’amazima, okusinziira ku mwoyo ogw’obunnabbi n’okubikkulirwa; era babuulira okusinziira ku nsengekebwa ya Katonda entukuvu eyo gye baayitibwamu.
3 Era kaakano nkomawo ku nnyinyonyolwa ey’entalo wakati w’Abaneefi n’Abalamani, mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi.
4 Kubanga laba, olwatuuka Abazolamu baafuuka Abalamani; n’olwekyo, mu ntandikwa y’omwaka ogw’ekkumi n’omunaana abantu b’Abaneefi baalaba nti Abalamani baali bajja okubalwanyisa; n’olwekyo baakola enteekateeka ez’olutalo; weewaawo, bakuŋŋaanyiza wamu amagye gaabwe mu nsi ya Yasoni.
5 Era olwatuuka Abalamani bajja n’enkumi zaabwe; era bajja mu nsi ya Antiyonamu, nga eno y’ensi y’Abazolamu; era omusajja eyayitibwanga Zerakemuna ye yali omukulembeze waabwe.
6 Era kaakano, ng’Abamaleki bwe baali ab’endowooza eyali esinga okuba embi era ey’ettemu okusinga Abalamaani bwe baali, mu bo era ku lwabwe bennyini, n’olwekyo, Zerakemuna yalonda bassenkulu ab’eggey eri Abalamani, era bonna baali Bamaleki n’Abazolamu.
7 Kaakano kino yakikola asobole okukuuma obukyayi bwabwe eri Abaneefi, olwo asobole okubaleeta mu kugondera okutuukiriza kw’ebigendererwa bye.
8 Kubanga laba, ebigendererwa bye byali bya kusiikuula Balamani okunyiigira Abaneefi; kino yakikola asobole okuwamba obuyinza obungi ku bo, era n’okusobola okufuna obuyinza ku Baneefi ng’abaleeta mu buddu.
9 Era kaakano ekigendererwa ky’Abaneefi kyali kya kulwanirira bibanja byabwe, n’amayumba gaabwe, n’abakazi baabwe, n’abaana baabwe, basobole okubakuuma okuva eri emikono gy’abalabe baabwe; era ate basobole n’okukuuma eddembe lyabwe ery’obwebange n’okuganyulwa kwabwe, weewaawo, era n’ebbeetu lyabwe, balyoke basinze Katonda okusinziira ku kwagala kwabwe.
10 Kubanga baali bakimanyi nti singa banaagwa mu mikono gy’Abalamani, nti buli yenna anasinza Katonda mu mwoyo ne mu mazima, Katonda ow’amazima era omulamu, Abalamani baakumuzikiriza.
11 Weewaawo, era ate baali bamanyi obukyayi obusukkiridde obw’Abalamani eri baganda baabwe, abaali abantu ba Anti-Neefi-Leki, abaali bayitibwa abantu ba Amoni; era nga tebasobola kukwata byakulwanyisa, weewaawo, baali baalagaana endagaano era nga tebasobola kugimenya; n’olwekyo, singa baba bagudde mu mikono gy’Abalamani baali bakusanyizibwaawo.
12 Era Abaneefi tebabaleka kusanyizibwawo; n’olwekyo baabawa ettaka okuba eky’obusika kyabwe.
13 Era abantu ba Amoni baawa Abaneefi ekitundu ekinene eky’obugagga bwabwe okuwanirira amagye gaabwe; Era bwe batyo Abaneefi ne bawalirizibwa, bokka, okugumira okulwanyisa Abalamani, abaali abazzukulu ba Lamani ne Lemweri abegasse awamu, era ne batabani ba Isimayeri, era n’abo bonna Abaneefi abaali baayabulira eggwanga lyabwe, abaali Abamaleki n’Abazolamu, era n’abazzukulu ba bakabona ba Nuuwa.
14 Kaakano abazzukulu abo baali bangi nnyo, kumpi, nga n’Abaneefi bwe baali; era bwe batyo Abaneefi baali bavunaanyizibwa ku ky’okulwanagana ne baganda baabwe, ddala n’okutuuka okuyiwa omusaayi.
15 Era olwatuuka amagye g’Abalamani bwe gaali gakuŋŋaanidde wamu mu nsi y’Antiyonamu, laba, amagye g’Abaneefi gaali meteefuteefu okubasisinkana mu nsi ya Yasoni.
16 Kaakano, omukulembeze w’Abaneefi, oba omusajja eyali alondeddwa okuba ssenkulu ow’eggye eri Abaneefi; kaakano ssenkulu ow’eggye yatwala obuduumizi bw’amagye gonna ag’Abaneefi; era erinnya lye lyali Moloni.
17 Era Moloni y’atwala obuduumizi bwonna, era n’obufuzi obw’entalo zaabwe era yalina emyaka abiri mu etaano gyokka we yalondebwa okuba ssenkulu ow’eggye eri amagye g’Abaneefi.
18 Era olwatuuka y’asisinkana Abalamani ku nsalo za Yasoni, era abantu be baali bakutte ebitala, era n’ebyambe, n’ebyokulwanyisa eby’engeri zonna eby’olutalo.
19 Era amagye g’Abalamani bwe gaalaba ng’abantu ba Neefi, oba nti Moloni, yali ateeseteese abantu be n’ebyambalo ebyomubifuba era n’engabo zaabwe ez’omu mikono, weewaawo, era n’engabo okuzibira emitwe gyabwe, era nga baali bambadde engoye eŋŋumu;
20 Kaakano eggye lya Zerakemuna lyali teryetegese na kintu kyonna nga ekyo; baalina bitala byabwe byokka n’ebyambe byabwe, emitego gyabwe n’obusaale bwabwe, amayinja gaabwe n’envumuulo zaabwe; era baali bukunya, okuggyako eddiba eryali lisibiddwa mu biwato byabwe; weewaawo, bonna baali bukunya, okuggyako Abazolamu n’Abamaleki;
21 Naye tebaalina byambalo byamubifuba, wadde engabo; n’olwekyo, baatya nnyo amagye g’Abaneefi olw’ennyambala yabwe, wadde nga omuwendo gwabwe gwali gusingira wala ogw’Abaneefi.
22 Laba, kaakano olwatuuka tebetantala kulwanyisa Baneefi mu nsalo za Yasoni; n’olwekyo baava mu nsi ya Antiyonamu ne bayingira mu lukoola, era ne bakwata olugendo lwabwe okwetoloola mu lukoola, beeyongerayo nga badda eri ensibuko y’omugga Sidoni, olwo basobole okujja mu nsi ya Manti era beddize ensi; kubanga tebaalowooza nti amagye ga Moloni gajja kumanya wa gye baali bagenze.
23 Naye olwatuuka, amangu ddala nga bakagenda mu lukoola Moloni yasindika abakessi mu lukoola okusimba amaaso okwekkaanya enkambi yaabwe; era Moloni, ate, ng’amanyi ku bunnabbi bwa Aluma, y’atuma abasajja abamu gyali, ng’ayagala yebuuze ku Mukama oba amagye g’Abaneefi gagende okwerwanako eri Abalamani.
24 Era olwatuuka ekigambo kya Mukama ne kijja eri Aluma, era Aluma n’ategeeza ababaka ba Moloni, nti amagye g’Abalamani gaali gatambula okwetoloola mu lukoola, olwo basobole okujja mu nsi ya Manti, olwo basobole okutandika obulumbaganyi ku kitundu ky’abantu ekyali kisinga obunafu. Era ababaka abo baagenda ne batuusa obubaka eri Moloni.
25 Kaakano Moloni, ng’alese ekitundu ku ggye lye mu nsi ya Yasoni, si kulwa nga mu ngeri yonna ekitundu ky’Abalamani kijja mu nsi eyo era ne batwala ekibuga, y’atwala ekitundu ku ggye lye ekyali kisigadde ne bagenda mu nsi ya Manti.
26 Era y’alagira abantu bonna abali mu kitundu ekyo eky’ensi bakuŋŋaanire wamu okulwanagana n’Abalamani, okulwanirira ettaka lyabwe n’ensi yaabwe, eddembe lyabwe ery’obwebange n’ebbeetu lyabwe; n’olwekyo baali beetegefu eri ekiseera eky’okujja kw’Abalamani.
27 Era olwatuuka Moloni n’alagira eggye lye nti lirina okwekweka mu kiwonvu ekyali okumpi n’olubalama olw’omugga Sidoni, ekyali ku luuyi olw’ebugwanjuba obw’omugga Sidoni mu lukoola.
28 Era Moloni yateeka abakessi okwetooloola, olwo asobole okumanya ddi enkambi y’Abalamani lwe najja.
29 Era kaakano, nga Moloni bwe yamanya ekigendererwa ky’Abalamani, nti kyali kigendererwa kyabwe okusaanyawo baganda baabwe, oba okubakaka era n’okubaleeta mu buddu olwo basobole okweteerawo obwakabaka mu nsi yonna;
30 Era ate kubanga yamanya nti ekigendererwa ky’Abaneefi kyali kukuuma bibanja byabwe kyokka, n’eddembe lyabwe, n’ekkanisa yaabwe, n’olwekyo teyakirowooza kuba kibi nti yalina okubalwanirira ng’asala amagezi n’okuwatanya; n’olwekyo, yazuula okuva ku bakessi be kubbo ki Abalamani lye baalina okukwata.
31 N’olwekyo, yagabanyamu eggye lye era ekitundu n’akireeta mu kiwonvu, era n’abakweka ku luuyi olw’ebuvanjuba, era ne ku bukiika obwa ddyo obw’olusozi Lipula;
32 Era eryasigalawo yalikweka mu kiwonvu eky’ebugwanjuba, ku luuyi olw’ebugwanjuba obw’omugga Sidoni, era bwatyo n’okukkirira mu nsalo ez’ensi Manti.
33 Era bw’atyo ng’amaze okuteeka eggye lye we yali ayagala, yali mwetegefu okubasisinkana.
34 Era olwatuuka Abalamani bajja waggulu mu bukiika obwa kkono obw’olusozi, nga eyo ekitundu ku ggye lya Moloni we lyali likwekeddwa.
35 Era Abalamani bwe baali bayise ku lusozi Lipula, era nga bazze mu kiwonvu, era nga batandise okusomoka omugga Sidoni, eggye eryali likwekeddwa ku bukiika obwa ddyo bw’olusozi, eryakulemberwa omusajja nga erinnya lye lyali Leki, era n’akulembera eggye lye n’azingiza Abalamani ebuvanjuba okuva ennyuma wabwe.
36 Era olwatuuka Abalamani, bwe baalaba Abaneefi nga bajja gye bali okuva ennyuma wabwe, babakyukira era ne batandika okulwanagana n’eggye lya Leki.
37 Era omulimu gw’okutta gwatandika ku njuyi zombi, naye gwali gwa ntiisa nnyo ku ludda lw’Abalamani, kubanga obwereere bwabwe bwali bubikkuddwa eri okukubibwa okw’amaanyi okuva eri Abaneefi n’ebitala byabwe n’ebyambe byabwe, ekyaleeta okufa kumpi ku buli lukuba.
38 Ate ku ludda olulala, wabangawo buli luvannyuma lwa kiseera omuntu eyagwanga mu Baneefi, olw’ebitala byabwe n’okuvaamu omusaayi, nga bo baali basabike ebitundu eby’omubiri ebisinga obukulu, oba ebitundu eby’omubiri ebisinga obukulu nga byali bisabikiddwa okuva eri okukubwa kw’Abalamani, olw’ebyambalo byabwe ebyomubifuba, n’engabo zaabwe ez’omu mikono, n’ebyambalo byabwe ebyokumitwe; era bwe batyo Abaneefi bwe bagenda mu maaso n’omulimu ogw’okutta mu Balamani.
39 Era olwatuuka Abalamani baatya, olw’okuzikirizibwa okw’amaanyi mu bo, ddala okutuusa bwe batandika okudduka nga boolekera omugga Sidoni.
40 Era baagobererwa Leki n’abasajja be; era ne bagobebwa Leki munda mu mazzi ga Sidoni, era ne basomoka amazzi ga Sidoni. Era Leki n’asigaza amagye ge ku lubalama lw’omugga Sidoni galeme kusomoka.
41 Era olwatuuka Moloni n’eggye lye baasisinkana Abalamani mu kiwonvu, ku ludda olulala olw’omugga Sidoni, era ne batandika okubalumba n’okubatta.
42 Era Abalamani ne baddamu okudduka okuva gye bali, nga boolekera ensi ya Manti; era ne baddamu okusisinkanibwa amagye ga Moloni.
43 Kaakano mu mbeera eno Abalamani balwana nnyo; weewaawo, Abalamani baali tebamanyibwangako kulwana na maanyi gasukiridde bungi na buvvumu bwe butyo, nedda, yadde okuviira ddala ku ntandikwa.
44 Era baaluŋŋamizibwa Abazolamu n’Abamaleki, abaali ba ssenkulu baabwe ab’eggye era ababakulembera, era ne Zerakemuna, eyali ssenkulu waabwe ow’eggye, oba omukulembeze waabwe omukulu era omuduumizi; weewaawo, baalwananga ng’ebisota, era bangi ku Baneefi battibwa ne mikono gyabwe, weewaawo, kubanga bingi ku byambalo byabwe ebyokumitwe babitemangamu bibiri, era ne bafumita bingi ku byambalo byabwe ebyomubifuba, era baatemako emikono gyabwe mingi; era bwe batyo Abalamani balwana mu bukambwe n’obusungu bwabwe.
45 Wabula, Abaneefi baali baluŋŋamizibwa ensonga esingako awo, kubanga baali tebalwanirira bwakabaka wadde obuyinza wabula baali balwanirira amaka gaabwe n’eddembe lyabwe, n’abakazi baabwe n’abaana baabwe, era n’ebyabwe byonna, weewaawo, ku lw’emikolo gyabwe egy’okusinza era n’ekkanisa yaabwe.
46 Era baali bakola ekyo kye baali bawulira nti gwe mulimu gwe baali babanjibwa Katonda waabwe; kubanga Mukama yali abagambye, era n’eri bakitaabwe, nti: Kasita munaaba nga temusingibwa musango gw’ekikolobero ekisooka, wadde eky’okubiri, temulikkiriza kuttibwa mikono gy’abalabe bammwe.
47 Era nate, Mukama agambye nti: Mujja kulwanirira amaka gammwe ddala n’okutuuka okuyiwa omusaayi. N’olwekyo ku lw’ensonga eno Abaneefi baali balwanagana n’Abalamaani, okwerwanako, era n’amaka gaabwe, era n’ettaka lyabwe, ensi yaabwe, era n’eddembe lyabwe ery’obwebange, era n’eddiini yaabwe.
48 Era olwatuuka abasajja ba Moloni bwe baalaba obukambwe n’obusungu bw’Abalamani, baali banaatera okuggwamu amaanyi era badduke okubaviira. Era Moloni, nga ategedde ekigendererwa kyabwe, y’atuma era n’azzamu emitima gyabwe amaanyi n’ebirowoozo bino; weewaawo, ebirowoozo by’ettaka lyabwe, eddembe lyabwe, weewaawo, ebbeetu lyabwe okuva mu buddu.
49 Era olwatuuka baakyukira Abalamaani, era ne bawanjaga n’eddoboozi limu eri Mukama Katonda waabwe, olw’eddembe lyabwe n’ebbeetu okuva mu buddu.
50 Era baatandika okufunvubira okulwanyisa Abalamani n’amaanyi; era mu ssaawa eyo yemu mwe bawanjagira Mukama olw’eddembe lyabwe, Abalamani ne batandika okubadduka; era baddukira ddala okutuuka ku mazzi ga Sidoni.
51 Kaakano, Abalamani baali basingako obungi, weewaawo, nga basukka emirundi ebiri ku muwendo gw’Abaneefi; wabula, baafumbiikirizibwa mu ngeri nti beekuŋŋaanyiza wamu mu kibinja kimu mu kiwonvu, ku lubalama olw’omugga Sidoni.
52 N’olwekyo amagye ga Moloni gabazingiza, weewaawo, ddala ne ku njuyi zombi ez’omugga, kubanga laba, ku luuyi lw’ebuvanjuba waaliyo abasajja ba Leki.
53 N’olwekyo Zerakemuna bwe yalaba abasajja ba Leki ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’omugga Sidoni, n’amagye ga Moloni ku luuyi olw’ebugwanjuba obw’omugga Sidoni, nga baali beetooloddwa Abaneefi, bakubwa entiisa.
54 Kaakano Moloni bwe yalaba entiisa yaabwe, n’alagira abasajja be okulekera awo okuyiwa omusaayi gwabwe.