Scriptures
Aluma 13


Essuula 13

Abantu bayitibwa nga bakabona ab’oku ntikko olw’okukkiriza kwabwe okusukkulumu n’ebikolwa ebirungi; Balina okuyigiriza ebiragiro; Okuyitira mu butuukirivu batukuzibwa era ne bayingira mu kiwummulo kya Mukama; Merukizeddeeki yali omu ku bano; Bamalayika balangirira amawulire ag’essanyu mu nsi yonna; Bajja kulangirira okujja kwa Kristo kwennyini. Nga mu mwaka gwa 82 nga Kristo tannazaalibwa.

Era nate, baganda bange, nja kutunuzaako ebirowoozo byammwe mu maaso ko mu kiseera Mukama Katonda lwe yawa ebiragiro bino eri abaana be; era nnandyagadde mujjukire nti Mukama Katonda yatongoza bakabona, okusinziira ku ntegeka ye entukuvu, eyali esinziira ku ntegeka y’Omwana we, okuyigiriza ebintu bino eri abantu.

Era bakabona abo batongonzebwa okusinziira ku ntegeka y’Omwana we, mu ngeri eyo abantu basobole okumanya ngeri ki ey’okulindiriramu Omwana we olw’okununulibwa.

Era eno y’engeri gye baatongozebwanga; bayitibwanga era n’okuteekateekebwa okuviira ddala ku musingi ogw’ensi okusinziira ku kumanya kwa Katonda okw’eby’omu maaso, olw’okukkiriza kwabwe okusukkulumu n’ebikolwa ebirungi; okusooka baalekebwa okulonda ekirungi oba ekibi; n’olwekyo nga balonzewo ekirungi, era n’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi ennyo, bayitibwa n’okuyitibwa okutukuvu, weewaawo, n’okuyitibwa okwo okutukuvu kwe yateekateeka awamu, era nga bisinziira, ku kununulibwa okutegekeddwa olw’abo.

Era bwe batyo bayitiddwa mu kuyitibwa kuno okutukuvu olw’okukkiriza kwabwe, ate nga abalala bagaanaanga Omwoyo wa Katonda olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe n’obuzibe bw’ebirowoozo byabwe, so nga, singa tekyali lwa kino bandibadde n’enkizo ey’amaanyi nga baganda baabwe.

Oba mu bufunze, okusooka baali benkanaankana ne baganda baabwe; bwe kityo okuyitibwa kuno okutukuvu bwe kutegekebwa okuviira ddala ku musingi gw’ensi eri abo abatalikakanyaza mitima gyabwe, nga mu kubeera era n’okuyitira mu mutango ogw’Omwana eyazaalibwa omu yekka, eyateekateekebwa;

Era bwe batyo bwe bayitibwa mu kuyitibwa kuno okutukuvu, era n’okutongozebwa mu bwakabona obw’oku ntikko obw’entegeka ya Katonda entukuvu, okuyigiriza ebiragiro bye eri abaana b’abantu, nti nabo basobole okuyingira mu kiwummulo kye;

Obwakabona buno obw’oku ntikko bwali buva ku ntegeka y’Omwana we, entegeka eyali eviira ddala ku musingi ogw’ensi; oba mu ngeri endala, eyali terina ntandikwa ya biro oba enkomerero ey’emyaka, nga yategekebwa okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna, okusinziira ku kumanya kwe okw’ebintu byonna ebiribeerawo;

Kaakano baatongozebwa okusinziira ku ngeri eno; nga bayitibwa n’okuyitibwa okutukuvu, era ne batongozebwa mu kutongozebwa okutukuvu era ne beetwalira obwakabona obw’oku ntikko obw’entegeka entukuvu, okuyitibwa okwo, n’okutongozebwa, n’obwakabona obw’oku ntikko, tebiriiko ntandikwa oba nkomerero;

Bwe batyo bafuuka bakabona ab’oku ntikko emirembe gyonna, oluvannyuma lw’entegeka ey’Omwana, eyazaalibwa omu yekka Kitaffe, atalina ntandikwa ya biro oba enkomerero ey’emyaka, ajjudde okusaasira, obwenkanya, era n’amazima. Era bwe kityo bwe kiri. Amiina.

10 Kaakano, nga bwe nnagambye ku bikwata ku ntegeka entukuvu, oba obwakabona buno obw’oku ntikko, waliwo bangi abatongozebwa ne bafuuka bakabona ba Katonda ab’oku ntikko; era kyali kisinziira ku kukkiriza kwabwe okusukkulumu n’okwenenya, era n’obutuukirivu bwabwe mu maaso ga Katonda, nga basalawo okwenenya era ne bakola obutuukirivu okusinga okuzikirizibwa;

11 N’olwekyo baayitibwanga okusinziira ku ntegeka eno entukuvu, era ne batukuzibwa, era ebyambalo byabwe nga byozeddwa n’ebifuuka ebyeru okuyitira mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.

12 Kaakano bbo, oluvannyuma lw’okutukuzibwa Omwoyo Omutukuvu, ng’ebyambalo byabwe bifuuse byeru, nga birongoofu era nga tebiriiko bbala lyonna mu maaso ga Katonda, baali tebaasobola kutunuulira kibi okuggyako okwesittala; era waaliwo bangi, bangi nnyo ekisukkiridde, abafuulibwa abalongoofu era ne bayingira mu kiwummulo kya Mukama Katonda waabwe.

13 Era kaakano, baganda bange, nnandyagadde mwetowazze mu maaso ga Katonda, era mubale ebibala ebituukagana n’okwenenya, nammwe musobole okuyingira mu kiwummulo ekyo.

14 Weewaawo, mwetowazze nga abantu b’ebiro ebya Merukizeddeeki, naye eyali kabona ow’oku ntikko okusinziira ku ntegeka eno y’emu gye njogeddeko, nga naye yeettikka obwakabona obw’oku ntikko emirembe gyonna.

15 Era yali Merukizeddeeki ono y’omu Ibulayimu gwe yasasulanga ekimu eky’ekkumi; weewaawo, ddala kitaffe Ibulayimu yasasulanga ekimu eky’ekkumi eky’ekitundu kimu eky’ekkumi ku byonna bye yalina.

16 Kaakano okwawulwa kuno kwaweebwangamu ngeri eno, olwo abantu balyoke basobole okulindirira Omwana wa Katonda, nga kibeera ekimu ku ngeri y’entegeka ye, oba kibeera entegeka ye, era olwa kino basobole okumulindirira olw’okusonyiyibwa kw’ebibi byabwe, olwo balyoke bayingire mu kiwummulo kya Mukama.

17 Kaakano Merukizeddeeki ono yali kabaka w’ensi ya Salemu; era abantu be baali beyongedde okukola obubi era n’ebizira; weewaawo, bonna baali babuze; baali bajjudde obubi obw’engeri zonna;

18 Naye Merukizeddeeki oluvannyuma lw’okozesa okukkiriza okw’amaanyi ennyo, era n’afuna obuwereeza obw’obwakabona obw’oku ntikko okusinziira ku ntegeka ya Katonda entukuvu, yabuulira okwenenya eri abantu be. Era laba, beenenya; era Merukizeddeeki yateekawo emirembe mu nsi mu biro bye; n’olwekyo yayitibwanga omulangira ow’emirembe, kubanga ye yali Kabaka wa Salemu; era yafugiranga wansi wa kitaawe.

19 Kaakano, waaliwo bangi abaamusooka, era waaliwo bangi oluvannyuma nga avuddewo, naye tewali wadde eyali amusinga; n’olwekyo, ye gwe basingira ddala okwogerwako.

20 Kaakano seetaaga kuddiŋŋana nsonga; kye njogedde kinaamala. Laba, ebyawandiikibwa biri mu maaso gammwe; singa mulibikyusakyusa kwe kulibeera okuzikirizibwa kwammwe.

21 Era kaakano olwatuuka Aluma bwe yali ng’ayogedde ebigambo bino gye bali, n’agolola omukono gwe gye bali na kyasanguza mu ddoboozi ery’omwanguka, ng’agamba nti: Kaakano kye kiseera okwenenya, kubanga olunaku lw’obulokozi lusembera kumpi;

22 Weewaawo, era’eddoboozi lya Mukama, n’akamwa ka bamalayika, likirangirira eri amawanga gonna; weewaawo, likirangirira, basobole okuba n’amawulire ag’essanyu ag’okusanyuka okw’amaanyi; weewaawo, era alangirira amawulire gano ag’essanyu mu bantu be bonna, weewaawo, ddala n’eri abo abasaasaanidde ebweru ku lukalu lw’ensi; n’olwekyo gazze gye tuli.

23 Era gamanyisiddwa gye tuli mu bigambo ebitegeerekeka, tusobole okutegeera, nti tetulina kusobya; era kino kubanga tuli bataambuze mu nsi gye tutamanyi; n’olwekyo, bwe tutyo tufunye okuganja okwa waggulu ennyo, kubanga amawulire gano ag’essanyu gatulangiriddwa mu bitundu byonna eby’ennimiro yaffe ey’emizabbibu.

24 Kubanga laba, bamalayika bakirangirira eri abangi mu kiseera kino mu nsi yaffe; era kino olw’ekigendererwa eky’okuteekateeka emitima gy’abaana b’abantu okufuna ekigambo kye mu kiseera eky’okujja kwe mu kitiibwa kye.

25 Era kaakano kyokka kye tulindirira kwe kuwulira amawulire ag’essanyu nga gaatulangirirwa okuva mu kamwa ka bamalayika, olw’okujja kwe; kubanga ekiseera kijja, tetumanyi mu bwangu bwenkana ki. Nsaba Katonda kisobole okubaawo mu kiseera kyange; naye leka ne bwe kibeerewo amangu oba mu dda, mu kyo nja kujjaganya.

26 Era kirimanyisibwa eri abantu abenkanya era abatukuvu, olw’akammwa ka bamalayika, mu kiseera eky’okujja kwe, olwo ebigambo bya bajjajjaffe bituukirizibwe, okusinziira kw’ebyo ebyogeddwa ku ye, ebyali bisinziira ku mwoyo gw’obunnabbi, ogwali mu bbo.

27 Era kaakano, baganda bange, nnandyagadde okuviira ddala ku ntobo ey’omutima gwange, weewaawo, n’okweraliikirira okw’amaanyi ennyo n’okutuuka okulumwa, nti musobole okuwuliriza ebigambo byange, era mweggyeko ebibi byammwe, era muleme okwongezaayo olunaku lw’okwenenya kwammwe;

28 Naye nti musobole okwetoowazza mu maaso ga Mukama, era mukoowoole erinnya lye ettukuvu, era mutunule enkaliriza era musabe obutakoowa, nti muleme okukemebwa okusukka kw’ekyo kye musobola okugumira, era bwe mutyo muluŋŋamizibwe Omwoyo Omutukuvu, nga mufuuka abawombeefu, abeetoowaze, abagonvu, abagumiikiriza, abajjudde okwagala era n’obukkakkamu n’okugumiikiriza okugundiivu.

29 Nga mulina okukkiriza eri Mukama; nga mulina essuubi nti mulifuna obulamu obutaggwaawo; nga mulina okwagala kwa Katonda bulijjo mu mitima gyammwe, mulyoke muyimusibwe ku lunaku olusembayo era muyingire mu kiwummulo kye.

30 Era Mukama abawe okwenenya, mulyoke muleme okuleeta obusungu bwe okubakkako, nti muleme okusibirwa wansi n’enjegere za ggeyeena, nti muleme okweretera okufa okw’okubiri.

31 Era Aluma yayogera ebigambo ebirala bingi eri abantu, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino.