Scriptures
Aluma 52


Essuula 52

Amolooni asikira Amalikaya nga kabaka w’Abalamani; Moloni, Tiyankamu, era ne Leki bakulembera Abaneefi mu lutalo olw’obuwanguzi eri Abalamani; Ekibuga kya Muleki kyeddizibwa, era Yakobo Omuzolamu attibwa. Nga mu mwaka gwa 66–64 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano, olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi abiri mu mukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, laba, Abalamani bwe baazuukuka ku makya agasooka mu mwezi ogw’olubereberye, laba, baasanga Amalikaya ng’afudde mu weema ye yennyini; era ne balaba nga Tiyankamu mwetegefu okubaggulako olutalo ku lunaku olwo.

Era kaakano, Abalamani bwe baalaba kino baatya; ne basazaamu enteekateeka yaabwe okutambula nga badda mu nsi y’e bukiika obwa kkono, era ne badda emabega n’eggye lyabwe lyonna mu kibuga Muleki, nga banoonya okwetasa mu bigo byabwe.

Era olwatuuka muganda wa Amalikaya yalondebwa okuba kabaka w’abantu; era erinnya lye lyali Amolooni; bw’atyo kabaka Amolooni, muganda wa kabaka Amalikaya, yalondebwa okufuga mu kifo kye.

Era olwatuuka y’alagira abantu be okusigaza ebibuga ebyo, bye baali bawambye okuyita mu kuyiwa omusaayi; kubanga baali tebatwalangako kibuga kyonna okuggyako okuyita mu kuyiwa omusaayi omungi.

Era kaakano, Tiyankamu yalaba nti Abalamani baali bamalirivu okusigaza ebibuga ebyo bye baali bawambye, era n’ebitundu ebyo eby’ensi bye baali bezzizza; era olw’okulaba obunene bw’omuwendo gwabwe, Tiyankamu yalowooza nti tekyali kirungi okugezaako okubalumba mu bigo byabwe.

Naye yakuuma abasajja be okwetooloola, ng’alinga eyeteekerateekera olutalo; weewaawo, era ddala yali yeetegekera okwerwanako gye bali, ng’atumbiiza bbugwe okwetooloola n’okuteekateeka ebifo eby’ekiddukiro.

Era olwatuuka yasigala bw’atyo nga yeetegekera olutalo okutuusa Moloni lwe yasindika omuwendo omunene ogw’abasajja okunyweza eggye lye.

Era Moloni ate yamuweereza ebiragiro nti alina okusigaza abasibe bonna abaagwa mu mikono gye; kubanga ng’Abalamani bwe baali batutte abasibe abangi, olwo asobole okusigaza abasibe bonna ab’Abalamani ng’ekinunulo kyabo Abalamani be baali batutte.

Era ate yamuweereza ebiragiro nti alina okunywereza ddala ensi y’e Kyengera, era n’okunyweza ekkubo effunda eryali ligenda mu nsi eyo mu bukiika obwa kkono, si kulwa ng’Abalamani bafuna akatundu ako we basinziira okubeera n’obuyinza okubatulugunya ku buli ludda.

10 Era Moloni ate yamuweereza obubaka gy’ali, ng’ayagala nti yandibande mwesigwa mu kukuuma ekitundu ekyo eky’ensi, era nti anoonye buli mukisa okutuntuza Abalamani mu kitundu ekyo, kasita anaabeera nga akyali mu buyinza, nti oba oli awo ayinza okuwatanya oba mu ngeri yonna okuddamu nate okweddiza ebibuga ebyo ebyaggibwa mu mikono gyabwe; era nti ate yandinywezezza obukuumi n’okugumya ebibuga ebyetoolodde, ebyali bitagudde mu mikono gy’Abalamani.

11 Era ate yamugamba nti, naalizze gy’oli, naye laba, Abalamani batulumbye ku nsalo ez’ensi ku nnyanja ey’ebugwanjuba; era laba, ŋŋenda okubalwanyisa, n’olwekyo sisobola kujja gy’oli.

12 Kaakano, kabaka (ye Amolooni) yali avudde mu nsi ya Zalakemula, era yali ategezezza nnaabagereka ebikwata ku kufa kwa muganda we, era yali akuŋŋaanyizza omuwendo omunene ogw’abasajja, era yagenda aswakidde okulwanyisa Abaneefi ku nsalo ku mabbali g’ennyanja ey’ebugwanjuba.

13 Era bw’atyo yali afuba okutulugunya Abaneefi, era n’okusendasenda ekitundu ky’amagye gaabwe eri ekitundu ekyo eky’ensi, ng’ate yali alagidde abo be yali alesse okutwala ebibuga bye yali awambye, nti nabo batulugunyize Abaneefi ku nsalo ku lubalama lw’ennyanja ey’ebuvanjuba, era batwale ensi zaabwe kasita babeera nga beebalina obuyinza, okusinziira ku buyinza bw’amagye gaabwe.

14 Era bwe batyo Abaneefi bwe baali mu mbeera ezo ez’obwerinde ku nkomerero y’omwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

15 Naye laba, olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi abiri mu musanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, Tiyankamu, ku kiragiro kya Moloni; eyali ataddewo amagye okukuuma ensalo z’ebukiika obwa ddyo n’obugwanjuba obw’ensi, era nga yali atandise okutambula okwolekera ensi y’e Kyengera, olwo asobole okuyamba Tiyankamu n’abasajja be okuddamu okweddiza ebibuga bye baali bafiiriddwa;

16 Era olwatuuka Tiyankamu yali afunye ebiragiro okulumba ekibuga ekya Muleki, era n’okukyeddiza singa kyali kisoboka.

17 Era olwatuuka Tiyankamu n’akola enteekateeka okukola olulumba ku kibuga kya Muleki, era atambule n’eggye lye okulwanyisa Abalamani; naye yalaba nga tekisoboka kubawangula nga bali mu bigo byabwe; n’olwekyo kyeyava aleka enteekateeka ze n’addayo nate mu kibuga e Kyengera, okulindirira okujja kwa Moloni, asobole okufuna amaanyi eri eggye lye.

18 Era olwatuuka Moloni n’atuuka n’eggye lye mu nsi y’e Kyengera, ku nkomerero y’omwaka ogw’amakumi abiri mu musanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri bantu ba Neefi.

19 Era ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu munaana, Moloni ne Tiyankamu ne bassenkulu ab’eggye bangi baatuula mu lukiiko okuteesa ku nsonga ey’olutalo; kiki kye baalina okukola okusobozesa Abalamani okuvaayo okubalwanyisa; oba basobole okubasikiriza mu ngeri emu okuva mu bigo byabwe, balyoke bafune omukisa okweddiza ekibuga Muleki.

20 Era olwatuuka baasindika ababaka eri eggye ly’Abalamani, eryakuumanga ekibuga ekya Muleki, eri omukulembeze waabwe, erinnya lye Yakobo, nga baagala aveeyo n’amagye ge okubasisinkana awatereevu mu lusenyi wakati w’ebibuga byombi. Naye laba, Yakobo, eyali Omuzolamu, teyayinza kuvaayo na ggye lye okubasisinkana awatereevu mu lusenyi.

21 Era olwatuuka Moloni, nga takyalina ssuubi lya kubasisinkana wansi w’obukwakkulizo bw’obwekanya, n’olwekyo, yasalawo ku nteekateeka asobole okusendasenda Abalamani okuva mu bigo byabwe.

22 Kyeyava alagira Tiyankamu okutwala omuwendo mutono ogw’abasajja era batambule okukkirira okumpi n’olubalama lw’ennyanja; era Moloni n’eggye lye, ekiro, ne batambula mu lukoola, mu bugwanjuba bw’ekibuga Muleki; era bwe batyo, enkeera, abakuumi b’Abalamani bwe baakimanyako ekya Tiyankamu, badduka ne bakibuulira Yakobo, omukulembeze waabwe.

23 Era olwatuuka amagye g’Abalamani ne gatambula okulumba Tiyankamu, nga balowooza nti olw’omuwendo gwabwe basinga Tiyankamu olw’obutono bw’omuwendo gwe. Era Tiyankamu bwe yalaba amagye g’Abalamani nga gafuluma okumulumba n’atandika okudda emabega nga bw’akkirira ku lubalama lw’ennyanja, mu bukiikakkono.

24 Era olwatuuka Abalamani bwe baalaba ng’atandise okudduka, ne bafuna obuvumu ne babagoberera n’amaanyi. Era Tiyankamu bw’atyo bwe yali ng’aggyawo Abalamani abaali babawondera naye nga buteerere, laba, Moloni yalagira ekitundu ky’eggye lye eryali naye okutambula okudda mu kibuga, era bakitwale.

25 Era bwe batyo bwe baakola, era ne batta abo bonna abaali basigaddewo okukuuma ekibuga, weewaawo, abo bonna abaali abagaanyi okuwaayo eby’okulwanyisa byabwe eby’olutalo.

26 Era bwe kityo Moloni yali afunye ekibuga Muleki n’ekitundu ky’eggye lye, ate yatambula n’abasigaddewo okusisinkana Abalamani nga bakomawo okuva okuwondera Tiyankamu.

27 Era olwatuuka Abalamani baawoondera Tiyankamu okutuusa lwe baatuuka okumpi n’ekibuga Kyengera, era awo ne basisinkana Leki n’eggye ettono, eryali lisigaddewo okukuuma ekibuga Kyengera.

28 Era kaakano laba, bassenkulu b’Abalamani ab’eggye bwe baalaba Leki n’eggye lye nga lijja okubalwanyisa, ne badduka mu kutabulwa okungi, oba oli awo Leki yandidduka n’abasooka okufuna ekibuga Muleki; kubanga baali bakooye olw’okutambula kwabwe, era abasajja ba Leki baali tebakooye.

29 Kaakano Abalamani tebaamanya nti Moloni yali ali mabega waabwe n’eggye lye; era kyokka kye baali batya yali Leki n’abasajja be.

30 Kaakano Leki yali tayagala kubayisa okutuusa lwe banaasisinkana Moloni n’eggye lye.

31 Era olwatuuka ng’Abalamani tebannaddayo nnyuma ewala baali beetooloddwa Abaneefi, n’abasajja ba Moloni ku ludda olumu, era n’abasajja ba Leki ku ludda olulala, bonna abataali bakoowu era nga bajjudde amaanyi; naye Abalamani baali bakoowu olw’okutambula kwabwe okuwanvu.

32 Era Moloni yalagira abasajja be okubalumba okutuusa nga bawaddeyo ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo.

33 Era olwatuuka Yakobo, olw’okuba omukulembeze waabwe, olw’okuba ate Omuzolamu, era nga alina endowooza ey’obutawangulwa, yakulembera Abalamani okugenda mu lutalo n’obusungu obuyitiridde okwaŋŋanga Moloni.

34 Moloni olw’okuba yali mu kkubo lyabwe lye baali batambuliramu, n’olwekyo Yakobo yali mumalirivu okubatta ateme oluwenda olumutuusa mu kibuga e Muleki. Naye laba, Moloni n’abasajja be baali ba maanyi nnyo; n’olwekyo tebaawa Balamani mwaganya kuyitawo.

35 Era olwatuuka baalwana ku njuyi zombi n’obusungu obuyitiridde; era waaliwo bangi abattibwa ku njuyi zombi; weewaawo, era Moloni yafuna ebisago ne Yakobo yattibwa.

36 Era Leki yabalumba okuva emabega waabwe nga bwabagoba n’obusungu obungi ennyo n’abasajja be ab’amaanyi, olwo Abalamani ne bawaayo ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo; era abaasigalawo, nga basobeddwa nnyo, tebamanya wakudda oba okukuba.

37 Kaakano Moloni bwe yalaba okutabulwa kwabwe, yabagamba nti: Singa munaleeta ebyokulwanyisa byammwe eby’olutalo ne mubiwaayo, laba tujja kulekera awo okuyiwa omusaayi gwammwe.

38 Era olwatuuka Abalamani bwe baawulira ebigambo bino, bassenkulu baabwe ab’eggye, abo bonna abatattibwa, baavaayo ne basuula wansi ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo ku bigere bya Moloni, era nate baalagira abasajja baabwe nti nabo bakole kye kimu.

39 Naye laba, waaliwo bangi abagaana; era abo abagaana okuwaayo ebitala byabwe baakwatibwa ne basibibwa, era ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo ne bibaggibwako, era baawalirizibwa okutambula ne baganda baabwe okugenda mu nsi Kyengera.

40 Era kaakano omuwendo gw’abasibe abaatwalibwa gwasukka omuwendo gw’abo abaali battiddwa, weewaawo, okusinga abo abaali battiddwa ku njuyi zombi.