Scriptures
Aluma 51


Essuula 51

Abaakabaka banoonya okukyusa amateeka era bateekewo kabaka; Pakolani n’ab’eddembe bawagirwa eddoboozi ly’abantu; Moloni awaliriza abaakabaka okulwanirira ensi yaabwe oba okuttibwa; Amalekaya n’Abalamani bawamba ebibuga by’ebigo bingi; Tiyankamu azzaayo olulumba lw’Abalamani era n’atta Amalikaya mu weema ye. Nga mu mwaka gwa 67–66 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri bantu ba Neefi, nga bamaze okussaawo emirembe wakati w’abantu ba Leki n’abantu ba Moliyantoni ku bikwata ku nsi zaabwe, era nga batandise omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano mu mirembe;

Wabula, tebaawangaaza mirembe gya nkomeredde mu nsi, kubanga waatandikawo oluyombo mu bantu ku bikwata ku ssabalamuzi Pakolani; kubanga laba, waaliwo ekitundu eky’abantu abaali baagala obuwayiro obumu obutonotono mu obw’amateeka bukyusibwe.

Naye laba, Pakolani teyayagala kukyusa wadde okukkiriza amateeka okukyusibwa; n’olwekyo, teyawuliriza abo abaali basindise amaloboozi gaabwe n’ekiwandiiko eky’okusaba kwabwe ebyekuusa ku kukyusa amateeka.

N’olwekyo, abo abaali baagala amateeka gakyusibwe baamusunguwalira, era ne baagala aleme kuddamu kubeera ssabalamuzi mu nsi; n’olwekyo wabaawo oluyombo olw’ebbugumu ku nsonga eyo, naye nga si lwa kuyiwa musaayi.

Era olwatuuka abo abaali baagala Pakolani aggibwe ku ntebe ey’obulamuzi baayitibwanga abaakabaka, kubanga baali baagala amateeka gakyusibwe mu ngeri ey’okusuula enfuga ey’eddembe n’okussaawo kabaka eri ensi.

N’abo abaali baagala Pakolani asigale nga ye ssabalamuzi ow’ensi ne baatuumibwa erinnya ly’ab’eddembe; era bwetyo bwe yali enjawukana wakati waabwe, kubanga ab’eddembe baali balayidde oba nga balagaanye endagaano okukuuma eddembe lyabwe ery’obwebange n’emiganyulo egy’eddiini yaabwe olw’enfuga ey’eddembe.

Era olwatuuka ensonga eno ey’okukaayana kwabwe yagonjoolwa n’eddoboozi ly’abantu. Era olwatuuka eddoboozi ly’abantu ne lijja nga liwagira ab’eddembe, era Pakolani n’asigaza entebe y’obulamuzi, ekyaleeta essanyu eringi mu baganda ba Pakolani era n’abantu bangi ab’ebbeetu, abo ate abaasirisa abaakabaka, nti baali tebakyetantala kuwakanya wabula kyali kibakakatako okukuuma ensonga y’eddembe.

Kaakano abo abaali bawagira bakabaka baali baazaalibwa mu bugagga, era nga bafuba okubeera bakabaka; era nga bawagirwa abo abaali banoonya okufuna obufuzi n’obuyinza eri abantu.

Naye laba, kino kyali kiseera kizibu nnyo olw’ennyombo nga ezo okubeera mu bantu ba Neefi; kubanga laba, Amalikaya yali azzeemu okusiikuula emitima gy’abantu b’Abalamani eri abantu b’Abaneefi, era yali akuŋŋaanya abalwanyi okuva mu bitundu byonna eby’ensi ye, ng’abawa ebyokulwanyisa, era nga yeetegekera olutalo n’obunyiikivu bwonna; kubanga yali alayidde okunywa omusaayi gwa Moloni.

10 Naye laba, tujja kulaba nti ekisuubizo kye kye yakola ky’ali kya mu bwangu; wadde nga kyali kityo, yeetegekera ye n’amagye ge okujja okulwana n’Abaneefi.

11 Kaakano amagye ge tegaali g’amaanyi nnyo nga bwe gaali nnazikuno, olw’enkumi n’enkumi ezaali zittiddwa omukono gw’Abaneefi; naye newakubadde nga bafiirwa nnyo, Amalikaya yali akuŋŋaanyizza eggye eddene mu ngeri eyeewuunyisa, ne kiba nti teyatya kuserengeta mu nsi ya Zalakemula.

12 Weewaawo, ddala Amalikaya yennyini yaserengeta, nga akulembedde Abalamani. Era kyaliwo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu etaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi; era mu kiseera kye kimu mwe baali batandikidde okugonjoola ensonga ez’okukaayana kwabwe ku bikwata ku ssabalamuzi, Pakolani.

13 Era olwatuuka abasajja abaayitibwanga abaakabaka bwe baawulira nti Abalamani baserengeta okulwana nabo, baali basanyufu mu mitima gyabwe; era ne bagaana okukwata ebyokulwanyisa, kubanga baali basunguwalidde nnyo ssabalamuzi, era n’abantu ab’ebbeetu, nti tebaali baakukwata byakulwanyisa kulwanirira nsi yaabwe.

14 Era olwatuuka Moloni bwe yalaba kino, era ate n’alaba nti Abalamani baali bajja ku nsalo z’ensi, yasunguwala nnyo olw’obukakanyavu bw’abantu abo be yali akoze nabo n’obunyiikivu obungi okukuuma; weewaawo, yasunguwala nnyo; emmeeme ye yajjula obusungu gye bali.

15 Era olwatuuka y’aweereza ekiwandiiko eky’okusaba, n’eddoboozi ly’abantu, eri omufuzi w’ensi, ng’ayagala akisome, era amuwe (ye Moloni) obuyinza okuwaliriza bakyewaggula abo balwanirire ensi yaabwe oba okubatta.

16 Kubanga yafaayo nnyo nga akulembeza okumalawo enkaayana ezo n’okwewaggula okwo mu bantu; kubanga laba, kino okutuusa kaakano kye kibadde kivaako okuzikirizibwa kwabwe kwonna. Era olwatuuka kya kkirizibwa okusinziira ku ddoboozi ly’abantu.

17 Era olwatuuka Moloni y’alagira nti eggye lye ligende okulwanyisa abaakabaka abo, akkakkanye amalala gaabwe n’obukungu bwabwe era abenkanyenkanye n’ettaka, ekitali ekyo balina okukwata ebyokulwanyisa bawagire ensonga ey’eddembe.

18 Era olwatuuka amagye gaatambula okugenda gabalwanyise; era ne bakkakkanya amalala gaabwe n’obukungu bwabwe, ne kiba nti bwe baasitulanga ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo okulwanyisa abasajja ba Moloni baatemebwanga okugwa wansi ne benkanyankanyizibwa ne ttaka.

19 Era olwatuuka waaliwo enkumi nnya ku bakyewaggula abo abaatemwa okugwa wansi n’ekitala; era kw’abo abakulembeze baabwe abatattibwa mu lutalo baatwalibwa ne basuulibwa mu kkomera, kubanga tewaaliwo budde bwa kuwozesebwa kwabwe mu kiseera kino.

20 Era abaasigalawo ku bakyewaggula abo, mu kifo ky’okukubwa bagwe wansi ku ttaka n’ekitala, beewaayo ku lw’omutindo ogw’ebbeetu, era baawalirizibwa okuwanika bendera ey’ebbeetu ku minaala gyabwe, ne mu bibuga byabwe, n’okukwata ebyokulwanyisa okulwanirira ensi yaabwe.

21 Era bw’atyo Moloni yakomya abasajja abo abaakabaka, nti tewaaliwo muntu yenna amanyiddwa olw’erinnya lya baakabaka; era bw’atyo yakomya obukakanyavu n’amalala g’abantu abo abeeyitanga ab’omusaayi gw’obukungu; naye bakkakkanyizibwa wansi okwetoowaza nga baganda baabwe, era n’okulwanirira eddembe lyabwe n’obuvumu okuva mu buddu.

22 Laba, olwatuuka Moloni bwe yali bw’atyo ng’atawulula entalo n’enkaayana mu bantu be bennyini, n’okubassa wansi w’emirembe n’obugunjufu, era ng’akola amateeka okwetegekera olutalo eri Abalamani, laba, Abalamani baali bazze mu nsi ya Moloni, eyali ku nsalo ku lubalama lw’ennyanja.

23 Era olwatuuka Abaneefi tebaali ba maanyi kimala mu kibuga kya Moloni; n’olwekyo Amalikaya y’abagoba, n’atta bangi. Era olwatuuka Amalikaya y’atwala ekibuga, weewaawo, y’atwala ebigo byabwe byonna.

24 Era abo abadduka okuva mu kibuga kya Moloni bajja mu kibuga kya Nefayika; era ate abantu b’ekibuga kya Leki bakuŋŋaana, era ne bakola enteekateeka era baali beetegefu okw󠅋aŋŋanga Abalamani okulwana.

25 Naye olwatuuka Amalikaya n’atakkiriza Balamani kugenda kulumba kibuga kya Nefayika okulwana, naye n’abakuumira emmanga ku lubalama lw’ennyanja, n’aleka abasajja mu buli kibuga okukikuuma n’okukirwanirira.

26 Era bw’atyo n’agenda mu maaso, ng’awamba ebibuga bingi, ekibuga Nefayika, era n’ekibuga Leki, era n’ekibuga Moliyatoni, era n’ekibuga Omuneeri, era n’ekibuga Gidi, era n’ekibuga Muleki, ebyo nga byonna byali ku nsalo ez’ebuvanjuba ku lubalama lw’ennyanja.

27 Era bwe batyo Abalamani bwe baafuna, olw’obukuusa bwa Amalikaya, ebibuga ebingi bwe bityo, nga bayita mu magye bgaabwe agaali gatabalika, byonna nga binywezeddwa nnyo mu ngeri y’ebigo bya Moloni; byonna byawa obunywevu Abalamani.

28 Era olwatuuka ne batambula okutuuka ku nsalo ez’ensi Kyengera, nga bagoba Abaneefi mu maaso gaabwe era nga batta bangi.

29 Naye olwatuuka Tiyankamu yabasisinkana, oyo eyali asse Moliyantoni era eyali ayimirizza okweyongerayo okw’abantu be bwe yali adduka ekibabu.

30 Era olwatuuka yayimiriza okweyongerayo okw’Amalikaya naye, bwe yali atambula n’eggye lye eringi, asobole okutwala ensi y’e Kyengera, era n’ensi eyo mu bukiika obwa kkono.

31 Naye laba y’afuna okuggwamu essuubi olw’okugobwa Tiyankamu n’abasajja be, kubanga baali balwanyi abatawunyikamu; kubanga buli musajja wa Tiyankamu yasukkulumanga Abalamani mu maanyi gaabwe ne mu bukugu bwabwe obw’olutalo, mu ngeri nti baafuna enkizo ku Abalamani.

32 Era olwatuuka baabatulugunya, mu ngeri nti baabatta ddala okutuuka ekiro. Era olwatuuka Tiyankamu n’abasajja be baasimba weema zaabwe mu nsalo z’ensi ey’e Kyengera; era Amalikaya yasimba weema ze mu nsalo ku lubalama lw’ennyanja, era mu ngeri eno bwe baagobebwa.

33 Era olwatuuka ekiro bwe kyatuuka, Tiyankamu n’omuweereza we bebbirira ne bafuluma ekiro, ne bagenda mu nkambi ya Amalikaya; era laba, otulo twabasukkulumako olw’obukoowu bwabwe obungi, obwali buva ku kutegana n’ebbugumu ery’emisana.

34 Era olwatuuka Tiyankamu yebbirira mu nkukutu nagenda mu weema ya kabaka, n’afumita olunyago mu mutima gwe; era yaleetera kabaka okufa mbagirawo nti teyazuukusa baweereza be.

35 Era y’addayo eri enkambi ye mu kyama, era laba, abasajja be baali beebase, era n’abazuukusa n’ababuulira byonna bye yali akoze.

36 Era yalagira amagye ge okuyimirira bulindaala, si kulwa nga Abalamani bazuukuka ne bajja okubalumba.

37 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi; era bwe zityo ennaku za Amalikaya bwe zaakoma.