Scriptures
Aluma 12


Essuula 12

Aluma ayogera eri Zeziromu; Ebyekusifu bya Katonda bisobola kuweebwa beesigwa bokka; Abantu balamulwa lwa birowoozo byabwe, enzikiriza zaabwe, ebigambo byabwe, n’emirimu gyabwe; Ababi bajja kubonaabona n’okufa okw’omwoyo; Obulamu buno obw’okufa buba mbeera ya kugezesebwa; Enteekateeka ey’okununulibwa ereeta okutuukirira kw’okuzuukira era, okuyitira mu kukkiriza, okusonyiyibwa okw’ebibi; Abeenenya balina eddembe okusaasirwa okuyitira mu oyo Omwana eyazaalibwa omu yekka. Nga mu mwaka gwa 82 nga Kristo tannazaalibwa.

Kaakano Aluma, bwe yalaba ng’ebigambo bya Amuleki bisirisizza Zeziromu, kubanga yalaba nga Amuleki amutebuse mu kulimba kwe n’okudyekadyeka amusaanyeewo, era n’okumulaba nga atandise okukankana olw’okulumirizibwa ekibi kye, yayasama akamwa ke n’atandika okwogera gy’ali, era n’okukkaatiriza ebigambo bya Amuleki, era n’okunnyonnyola ebintu ebisukkawo, oba okumanyisa ebyawandiikibwa ebisukka kw’ebyo Amuleki bye yali akoze.

Kaakano ebigambo Aluma bye yayogera eri Zeziromu byawulirwa abantu okwetooloola awo; kubanga enkuyanja y’abantu yali nnene, era y’ayogera bw’ati:

Kaakano Zeziromu, olaba nti okwatiddwa mu bulimba bwo n’obukuusa, kubanga tolimbye eri bantu bokka wabula olimbye eri Katonda; kubanga laba, amanyi ebirowoozo byo byonna, era olabye nti ebirowoozo byo bitumanyisiddwa Omwoyo we;

Era olaba nti tukimanyi nti enteekateeka yo ebadde nteekateeka ya bukujjukujju nnyo, nga bwe kiri ku bukujjukujju bwa setaani, olw’okulimba era n’okudyekadyeka abantu bano olyoke obatukyayise, batuvume n’okutugoba;

Kaakano eno ye yali enteekateeka ey’omulabe wo, era akozesezza amaanyi ge mu ggwe. Kaakano nnandyagadde ojjukire nti kye nkugamba kye ŋŋamba bonna.

Era laba mbagamba mmwe mwenna nti kano kaali katego ka mulyolyomi, ke yateekawo okukwata abantu bano, alyoke abaleete mu kufugibwa kwe, alyoke abazingirire n’enjegere ze, alyoke abasibe enjegere okutuuka mu kuzikirizibwa okw’olubeerera, okusinziira ku maanyi ag’obuwambe bwe.

Kaakano Aluma ng’ayogedde ebigambo bino, Zeziromu yatandika okukankana ennyo, kubanga yeeyongera okukakasiza ddala amaanyi ga Katonda; era nate yali amatidde nti Aluma era ne Amuleki baali bamumanyiiko, kubanga yali amatidde nti baali bategedde ebirowoozo n’ebigendererwa by’omutima gwe; kubanga baaweebwa amaanyi balyoke basobole okumanya ebintu ebyo okusinziira ku mwoyo gw’obunnabbi.

Era Zeziromu yatandika okubabuuza n’obwegendereza, asobole okumanya ebisingawo ku bikwata ku bwakabaka bwa Katonda. Era n’agamba Aluma: Kino kitegeeza ki Amuleki ky’ayogedde ku kuzuukira kw’abafu, nti bonna balizuukira okuva mu bafu, abatuukirivu n’abatali batuukirivu, era baleetebwa okuyimirira mu maaso ga Katonda okulamulwa okusinziira ku bikolwa byabwe?

Era kaakano Aluma yatandika okumunnyonnyola ebintu bino, ng’agamba nti: Bangi baweereddwa okumanya ebyekusifu bya Katonda; naye nga bateekeddwa wansi w’ekiragiro ekikakali nti tebalina kubyogera nga oggyeko okusinziira ku kitundu ky’ekigambo kyakkiriza okuwaayo eri abaana b’abantu, okusinziira ku kufaayo n’obunyiikivu bye bawaayo gy’ali.

10 Era n’olwekyo, oyo anaakakanyaza omutima gwe, naye bwatyo anaafuna ekitundu ky’ekigambo ekisembayo obutono; era n’oyo ataakakanyaze mutima gwe, eri ye aweebwa ekitundu ky’ekigambo ekisingawo, okutuusa lw’aliweebwa okumanya ebyekusifu bya Katonda okutuusa lw’alibimanya mu bujjuvu.

11 Era n’abo abanaakakanyaza emitima gyabwe, abo baweebwa ekitundu ky’ekigambo kitono okutuusa nga tewali kye bamanyi ku byekusifu bye; era awo ne batwalibwa setaani mu buwambe, era ne bakulemberwa nga bwayagala wansi mu kuzikirizibwa. Kaakano enjegere za ggeyeena kino kye zitegeeza.

12 Era Amuleki ayogedde mu bwerufu ku kufa, era n’okuzuukira okuva mu kufa kuno okutuuka mu mbeera ey’obutafa, era n’okuleetebwa mu maaso g’emmeeza ya Katonda, okulamulwa okusinziira ku mirimu gyaffe.

13 Olwo singa emitima gyaffe giba gikakanyiziddwa, weewaawo, singa tuba tukakanyazza emitima gyaffe eri ekigambo, ne kiba nga tekisangiddwa mu ffe, olwo embeera yaffe enebeera ya ntiisa, kubanga olwo tulisalirwa omusango.

14 Kubanga ebigambo byaffe biritulamula, weewaawo, ebikolwa byaffe byonna biritulamula; tetulisangibwa nga tetulina bbala; era ebirowoozo byaffe nabyo biritulamula; era mu mbeera eno ey’entiisa tetulyevaamu kutunula waggulu eri Katonda waffe; era twandibadde basanyufu singa tusobola okulagira enjazi n’ensozi okutubuutikira zitukweke okuva mu maaso ge.

15 Naye kino tekiyinza kuba; tulina okuvaayo ne tuyimirira mu maaso ge mu kitiibwa kye, ne mu maanyi ge, ne mu buyinza bwe, obukulu bwe, ne mu bufuzi bwe, ne tukkiriza mu kuswala kwaffe okutakoma nti ebibonerezo bye bya bwenkanya; nti mwenkanya mu mirimu gye gyonna, era nti musaasizi eri abaana b’abantu, era nti alina amaanyi gonna okulokola buli muntu akkiriza erinnya lye era abala ebibala ebituukagana n’okwenenya.

16 Era kaakano laba, mbagamba olwo wajja okufa, ddala okufa okw’okubiri, nga kwe kufa okw’omwoyo; olwo kye kiseera buli afiira mu bibi bye, okusinziira ku kufa kuno okw’omubiri nate era alifa okufa okw’omwoyo; weewaawo, alifa okusinziira ku bintu ebyekuusa ku butuukirivu.

17 Olwo kye kiseera okubonyaabonyezebwa kwabwe bwe kuliba ng’ennyanja ey’omuliro n’obuganga, ennimi zaagwo ezibumbujjira waggulu emirembe n’emirembe; era olwo kye kiseera lwe balisibibwa enjegere wansi eri okuzikirizibwa okw’olubeerera, okusinziira ku maanyi era n’obuwambe bwa Setaani, ye oluvannyuma lw’okubateeka mu kufugibwa kwe okusinziira ku kwagala kwe.

18 Olwo, mbagamba, baliba nga awataali kununulibwa kwakolebwa; kubanga tebayinza kununulibwa okusinziira ku bwenkanya bwa Katonda; era tebayinza kufa, kubanga wabeera tewakyaliwo kuvunda.

19 Kaakano olwatuuka Aluma ng’afundikidde okwogera ebigambo bino, abantu ne batandika okwongera okwewuunya;

20 Naye waaliwo omu Antiyona, eyali omufuzi omukulu mu bo,yavaayo era n’amugamba: Kiki kino kyoyogedde, nti omuntu alizuukira okuva mu bafu era akyusibwe okuva mu mbeera eno ey’okufa okudda mu mbeera ey’obutafa, nti omwoyo teguyinza kufa?

21 Ekyawandiikibwa kitegeeza ki, ekigamba nti Katonda yateeka bakerubi n’ekitala ekyaka omuliro ku luuyi olw’ebuvanjuba w’olusuku Edeni, ekitali ekyo abazadde baffe abaasooka baaliyingidde ne balya ku kibala eky’omuti ogw’obulamu, era ne babeera abalamu emirembe gyonna? Era bwe tutyo tulaba nti tewaaliwo mukisa gwonna gusoboka nti baalina okubeera abalamu emirembe gyonna.

22 Kaakano Aluma yamugamba: Kino kye kintu kye mbadde naateera okunnyonnyola. Kaakano tulaba nga Adamu yagwa mu kibi olw’okulya ekibala ekyagaanibwa, okusinziira ku kigambo kya Katonda; era bwe tutyo tulaba, nti olw’okugwa kwe mu kibi, abantu bonna baafuuka abantu ababuze era abagudde.

23 Era kaakano laba, nkugamba nti singa kyali kisoboka eri Adamu okulya ku kibala eky’omuti ogw’obulamu mu kiseera ekyo, tewandibaddewo kufa, era n’ekigambo kyandibadde kya busa, okufuula Katonda omulimba, kubanga yagamba nti: Singa mulya mazima ddala mulina okufa.

24 Era tulaba ng’okufa kujja ku bantu, weewaawo, okufa okwogeddwako Amuleki, kwe kufa okw’omubiri; wabula waaliwo ebbanga eryaweebwa omuntu mwasobolera okwenenya; n’olwekyo obulamu buno bwafuuka embeera ey’okugezesebwa; ekiseera eky’okwetegeka okusisinkana Katonda; ekiseera eky’okwetegeka ku lw’embeera eyo ey’olubeerera gye twogeddeko, ey’oluvannyuma lw’okuzuukira kw’abafu.

25 Kaakano, singa si nteekateeka ey’obununuzi, eyateekebwawo okuva ku musingi ogw’ensi, tewandibaddewo kuzuukira kwa bafu; naye waaliwo enteekateeka ey’okununulibwa eyateekebwawo, ejja okutuukiriza okuzuukira kw’abafu, okwogeddwako.

26 Era kaakano laba, singa kyali kisoboka nti abazadde baffe abaasooka baasobola okugenda mu maaso ne balya ku muti ogw’obulamu bandibadde bennyamivu emirembe gyonna, nga tebalina mbeera ya kwetegeka; era bwe kityo enteekateeka ey’okununulibwa yandibadde eyonooneddwa, era n’ekigambo kya Katonda kyandibadde kya busa, nga tekirina kye kikola.

27 Naye laba, si bwe kyali; naye kyatekebwateekebwa eri abantu nti balina okufa; era oluvannyuma olw’okufa, balina okulamulwa, ddala okulamulwa okwo kwe kumu kwe twogeddeko, nga y’enkomerero.

28 Era oluvannyuma Katonda bwe yamala okusalawo ebintu ebyo okujja eri omuntu, laba, olwo y’alaba nga kigwana omuntu okumanya ebikwata ku bintu nga bino bye yabategekera;

29 N’olwekyo yatuma bamalayika okwogera nabo, abaasobozesa abantu okulaba ekitiibwa kye.

30 Era okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo ne batandika okukoowoola erinnya lye; n’olwekyo Katonda yayogera n’abantu, era n’abategeeza enteekateeka ey’okununulibwa, eyategekebwa okuva ku musingi ogw’ensi; era kino yakibategeeza okusinziira ku kukkiriza kwabwe n’okwenenya era n’ebikolwa byabwe ebitukuvu.

31 N’olwekyo, yawa abantu ebiragiro, oluvannyuma olw’okusobya amateeka agasooka okusinziira ku bintu eby’ekiseera, era ne bafuuka nga bakatonda, nga bamanyi ekirungi okuva ku kibi, ne beeteeka mu mbeera ey’okukola, oba nga bateekebwa mu mbeera ey’okukola okusinziira ku kwagala n’okusiima kwabwe, oba okukola ekibi oba okukola ekirungi;

32 N’olwekyo Katonda kyeyava abawa ebiragiro, oluvannyuma olw’okubategeeza enteekateeka ey’okununulibwa, nti tebalina kukola kibi, nga awo ekibonerezo kwe kufa okw’okubiri, okwali okufa okw’olubeerera okusinziira ku byekuusa ku butuukirivu; kubanga abalinga abo enteekateeka y’okununulibwa teyinza kubeera na maanyi, kubanga emirimu egy’obwenkanya gyali tegiyinza kuzikirizibwa, okusinziira ku bulungi bwa Katonda obusukkulumu.

33 Naye Katonda yakoowoola abantu, mu linnya ly’Omwana we, (eno nga ye nteekateeka y’obununuzi eyateekebwawo) ng’agamba: Bwe mulyenenya, era ne mutakakanyaza mitima gyammwe, olwo ndifuna okusaasira gye muli, okuyitira mu Mwana wange eyazaalibwa omu yekka;

34 N’olwekyo, buli eyenenya, era n’atakakanyaza mutima gwe, aliba n’eddembe okufuna okusaasirwa okuyitira mu Mwana wange eyazaalibwa omu yekka, okusonyiyibwa ebibi bye; era bano baliyingira mu kiwummulo kyange.

35 Era oyo yenna anaakakanyaza omutima gwe n’akola obubi, laba, ndayira mu busungu bwange nti taliyingira mu kiwummulo kyange.

36 Era kaakano, baganda bange, laba mbagamba, nti singa munaakakanyaza emitima gyammwe temuliyingira mu kiwummulo kya Mukama; n’olwekyo obubi bwammwe bumusomooza n’asindika obusungu bwe eri mmwe nga mu kusomoozebwa okwasooka, weewaawo, okusinziira ku kigambo kye mu kusomoozebwa okwakasembayo nga bwe kyali mu kwasooka, okutuuka ku kuzikirizibwa okw’olubeerera okw’emyoyo gyammwe; n’olwekyo, okusinziira ku kigambo kye, okutuuka ku kufa okw’oluvannyuma, era n’okusooka.

37 Era kaakano, baganda bange, okusinziira ku nsonga nti tumanyi ebintu bino, era nga bituufu, kale twenenye, era tetukakanyaza mitima gyaffe, nti tuleme okusomooza Mukama Katonda waffe okutussizzaako obusungu bwe mu biragiro bye bino by’atuwadde omulundi ogw’okubiri; wabula tuyingire mu kiwummulo kya Katonda ekitegekeddwa okusinziira ku kigambo kye.