Essuula 29
Aluma ayagala okubuulira okwenenya n’obunyiikivu nga obwa bamalayika; Mukama awa amawanga gonna abasomesa; Aluma yenyumiriza mu mulimu gwa Mukama ne mu buwanguzi bwa Amoni ne baganda be. Nga mu mwaka gwa 76 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kale singa nnali malayika, era nga nsobola okufuna okuyayaana okw’omutima gwange, nsobole okugenda njogere n’ekkondeere lya Katonda, n’eddoboozi okukankanya ensi, era n’okulangirira okwenenya eri buli muntu!
2 Weewaawo, nandirangiridde eri buli mmeeme, nga bwe kiri n’eddoboozi ery’okubwatuka, okwenenya n’enteekateeka ey’okununulibwa, nti balina okwenenya era bajje eri Katonda waffe, olwo waleme kubaawo nnaku ndala ku nsi yonna.
3 Naye laba, ndi muntu, era nsobya mu kwegomba kwange; kubanga nsaanidde okubeera omumativu n’ebintu Mukama bye y’ampa.
4 Sisaanye kulumwa olw’okwagala kwange ekiragiro eky’enkomeredde ekya Katonda omwenkanya, kubanga mmanyi nti awa abantu okusinziira ku kuyayaana kwabwe, oba nga kwesigamye ku kufa oba ku bulamu; weewaawo, nkimanyi nti agaba eri abantu, weewaawo, abawa ebiragiro ebitakyusibwa, okusinziira ku kwagala kwabwe, oba nga bya bulokozi oba eby’okuzikirizibwa.
5 Weewaawo, era mmanyi nti ebirungi n’ebibi bizze mu maaso g’abantu bonna; oyo atamanyi kirungi n’ekibi, talina musango; naye oyo amanyi ekirungi n’ekibi, aweebwa nga okuyayaana kwe bwe kuli, oba ayagala ekirungi oba ekibi, obulamu oba okufa, essanyu oba okwejjusa mu ndoowoza ye.
6 Kaakano, bwe ndaba nga mmanyi ebintu bino, lwaki nandyagadde okukola ekisinga omulimu gwe nnayitibwa?
7 Lwaki nandiyayaanye nti singa nnali malayika, nti nsobole okwogera eri enkomerero z’ensi zonna?
8 Kubanga laba, Mukama awa amawanga gonna, ag’eggwanga lyabwe n’olulimi lwabwe, okuyigiriza ekigambo kye, weewaawo, mu magezi, byonna by’alaba nga basaanidde okuba nabyo; n’olwekyo tulaba nti Mukama abuulirira mu magezi, okusinziira ku ekyo eky’obwenkanya era eky’amazima.
9 Mmanyi ekyo Mukama kye yandagira, era nkyenyumirizaamu. Ssegulumiza, naye nnenyumiriza mu ekyo Mukama kye yandagira; weewaawo, era kino kye kitiibwa kyange, olwo mpozzi nsobole okuba ekikozesebwa mu mikono gya Katonda okuleeta omuntu omu eri okwenenya; era lino lye ssanyu lyange.
10 Era laba, bwe ndaba baganda bange bangi nga ddala baboneredde, era nga bajja eri Mukama Katonda waabwe, awo emmeeme yange ejjula essanyu; awo ne nzijukira Mukama by’ankoledde, weewaawo, ddala nti awulidde okusaba kwange; weewaawo, awo nzijukira omukono gwe ogw’ekisa gwe yagolola gye ndi.
11 Weewaawo, era nange ate nzijukira obuwambe bwa bajjajjange; kubanga mazima nkimanyi nti Mukama yabanunula okuva mu busibe, era kyeyava ateekawo ekkanisa ye; weewaawo, Mukama Katonda, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yabanunula okuva mu busibe.
12 Weewaawo, bulijjo nzijukira obuwambe bwa bajjajjange; era Katonda oyo yennyini eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri y’abajja mu busibe.
13 Weewaawo, era Katonda oyo yennyini yateekawo ekkanisa ye mu bo; weewaawo, era Katonda oyo yennyini yampita mu kuyitibwa okutukuvu, okubuulira ekigambo eri abantu bano, era ampadde obuwanguzi bungi, essanyu lyange mwe lijjulidde.
14 Naye sisanyukira mu buwanguzi bwange bwokka, wabula essanyu lyange lyeyongera okujjula olw’obuwanguzi bwa baganda bange, ababadde mu nsi ya Neefi.
15 Laba, bakoze ekisukkiridde, era babaze ebibala bingi; era empeera yaabwe nga yakubeera nnene!
16 Kaakano, bwe ndowooza ku buwanguzi bwa baganda bange bano emmeeme yange etwalibwa, ddala n’okutuuka okwawukana kwayo ku mubiri, nga bwe tuyinza okugamba, essanyu lyange ly’amaanyi nnyo.
17 Era kaakano Katonda abawe bano, baganda bange, basobole okutuula mu bwakabaka bwa Katonda; weewaawo, era n’abo bonna ebibala by’okutegana kwabwe baleme kuddamu nate kufuluma, wabula basobole okumutendereza emirembe gyonna. Era Katonda akkirize kikolebwe ng’ebigambo byange bwe biri, ddala nga bwe njogedde. Amiina.