Essuula 22
Alooni ayigiriza taata wa Lamoni ku butonzi, okugwa kwa Adamu mu kibi, era n’enteekateeka ey’okununulibwa okuyita mu Kristo; Kabaka n’ab’enju ye bonna bakyusibwa; Engabanya y’ensi wakati w’Abaneefi n’Abalamani ennyonnyolwa. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano, bw’atyo Amoni bwe yali ng’ayigiriza abantu ba Lamoni obutakoowa, tujja kuddayo ku nyinyonnyolwa y’Alooni ne baganda be; kubanga oluvannyuma lw’okuva mu nsi y’e Middoni yakulemberwa Omwoyo okutuuka mu nsi ya Neefi, ddala eri ennyumba ya kabaka eyali ekulira ensi yonna nga oggyeko ensi ya Isimayiri; era ye yali taata wa Lamoni.
2 Era olwatuuka n’agenda munda gy’ali mu lubiri lwa kabaka, ne baganda be, n’avunnama mu maaso ga kabaka, n’amugamba nti: Laba, Ayi kabaka, tuli baganda ba Amoni, be wanunula okuva mu kkomera.
3 Era kaakano, Ayi kabaka, bw’onaataliza obulamu bwaffe, tujja kubeera baweereza bo. Era kabaka n’abagamba nti: Muyimirire, kubanga nja kutaliza obulamu bwammwe, era sijja kukkiriza mubeere baweereza bange; naye nja kukkaatiriza nti mujja ku nsumba; kubanga nfunye okutabulwa mu birowoozo olw’okulumirirwa n’obukulu bw’ebigambo bya muganda wammwe Amoni; era njagala okumanya ensonga lwaki tavuddeyo e Middoni nammwe.
4 Era Alooni n’agamba kabaka: Laba, Omwoyo wa Mukama amuyise agende awalala; agenze mu nsi ya Isimayiri, okuyigiriza abantu ba Lamoni.
5 Kaakano kabaka n’abagamba: Kiki kino kye mwogedde ekikwata ku Mwoyo wa Mukama? Laba, kino kye kintu ekintawaanya.
6 Era nate, kiki kino Amoni kye yayogera: Singa oneenenya ojja kulokolebwa, era singa tewenenye, olisuulibwa ebbali ku lunaku olw’enkomerero?
7 Era Alooni n’amuddamu n’amugamba: Okkiriza nti waliyo Katonda? Era kabaka n’agamba nti: Nkimanyi nti Abamaleki bagamba nti waliyo Katonda, era mbawadde ebbeetu okuzimba ebifo ebitukuvu, balyoke bakuŋŋaanire wamu okumusinza. Era singa kaakano ogamba nti waliwo Katonda, laba nja kukkiriza.
8 Era kaakano Alooni bwe yawulira ebyo, omutima gwe ne gutandika okusanyuka, era n’agamba nti: Laba, mazima nga bwoli omulamu, Ayi kabaka, waliyo Katonda.
9 Era kabaka n’agamba: Katonda ye Mwoyo ogw’Amaanyi ogw’aggya bajjajjaaffe mu nsi y’e Yerusaalemi?
10 Era Alooni n’amugamba: Weewaawo, y’ogwo Omwoyo ogw’Amaanyi, era gwe gwatonda ebintu byonna mu ggulu ne mu nsi. Kino okikkiriza?
11 Era n’agamba: Weewaawo, nzikiriza nti Omwoyo ogw’Amaanyi gwe gwatonda ebintu byonna, era njagala mumbuulire ebikwata ku bintu bino byonna, era nja kukkiriza ebigambo byammwe.
12 Era olwatuuka Alooni bwe yalaba nga kabaka anakkiriza ebigambo bye, n’atandika okuva ku kutondebwa kwa Adamu, ng’asomera kabaka ebyawandiikibwa; engeri Katonda gye yatonda omuntu mu kifaananyi kye, era nti Katonda y’amuwa ebiragiro, era nti olw’okusobya, omuntu yali agudde mu kibi.
13 Era Alooni n’amunnyonnyola ebyawandiikibwa okuva ku kutondebwa kwa Adamu, n’amunnyonnyola okugwa kw’abantu mu kibi, era n’embeera yaabwe ey’omubiri era n’enteekateeka ey’okununulibwa, eyategekebwa okuva ku musingi ogw’ensi, okuyita mu Kristo, eri abo bonna abalikkiriza erinnya lye.
14 Era olw’okuba omuntu yali agudde mu kibi yali takyagwanira kintu kyonna ku lulwe; naye okubonaabona n’okufa kwa Kristo bitangirira ebibi byabwe, okuyita mu kukkiriza n’okwenenya, n’ebirala; era nti akutula emiguwa egy’okufa, nti entaana ne taba na buwanguzi, era n’obulumi bw’okufa bulina okumiribwa mu ssuubi ery’ekitiibwa; era Alooni y’annyonnyola kabaka ebintu bino byonna.
15 Era olwatuuka Alooni bwe yamala okumunnyonnyola ebintu bino, kabaka n’agamba nti: Nkole ki nsobole okufuna obulamu buno obutaggwaawo bw’oyogeddeko? Weewaawo, nkole ki ndyoke nzaalibwe Katonda, omwoyo guno omubi okuggibwa mu kifuba kyange, era nfune Omwoyo we, ndyoke nzijule essanyu, nneme okusuulibwa ebbali ku lunaku olw’enkomerero? Laba, yagamba, naawaayo byonna bye nnina, weewaawo, naaleka obwakabaka bwange, olwo ndyoke nfune essanyu lino ery’amaanyi.
16 Naye Alooni n’amugamba nti: Bw’oba oyagala ekintu kino, bw’onaavunnamira Katonda, weewaawo, bw’oneenenya ebibi byo byonna, n’ovunnamira Katonda, era n’okoowoola erinnya lye mu kukkiriza, nga okkiriza nti onoofuna, olwo onoofuna essuubi ly’oyaayanira.
17 Era olwatuuka Alooni ng’amalirizza okwogera ebigambo bino, kabaka n’avunnama mu maaso ga Mukama, ku maviivi ge; weewaawo, ddala ne yeyala ku ttaka, n’awanjaga nnyo, ng’agamba:
18 Ayi Katonda, Alooni antegeezezza nti waliyo Katonda; era singa wabaayo Katonda, era bw’oba oli Katonda, nkusaba ggwe ontegeeze, era naaleka ebibi byange byonna okukumanya, era ndyoke nzuukizibwe okuva mu bafu, era ndokolebwe ku lunaku olw’enkomerero. Era kaakano kabaka ng’amalirizza okwogera ebigambo bino, y’akubibwa n’abeera ng’afudde.
19 Era olwatuuka abaweereza be ne badduka ne babuulira nnabagereka byonna ebyali bituuse ku kabaka. Era n’ayingira eri kabaka; era bwe yamulaba ng’agalamidde ng’alinga afudde, ne Alooni ne baganda be nga bayimiridde nga balinga be baali bamuviiriddeko okugwa, n’abasunguwalira, n’alagira abaweereza be, oba abaweereza ba kabaka, babatwale babatte.
20 Kaakano abaweereza baali balabye ekyaviirako kabaka okugwa, n’olwekyo tebeetantala kussa mikono gyabwe ku Alooni ne baganda be; era ne beegayirira nnabagereka nga bagamba: Lwaki olagira okutta abasajja bano, ate nga olaba omu ku bo atusinga ffenna amaanyi? N’olwekyo tujja kugwa mu maaso gaabwe.
21 Kaakano nnabagereka bwe yalaba okutya kw’abaweereza naye n’atandika okutya ennyo, sikulwa ng’akabi kamutuukako. Era n’alagira abaweereza be bagende bayite abantu, balyoke batte Alooni ne baganda be.
22 Kaakano Alooni bwe yalaba obumalirivu bwa nnabagereka, ye, nate ng’amanyi obukakanyavu bw’emitima gy’abantu, n’atya sikulwa nga enkuyanja y’abantu ekuŋŋaana, ne wabaawo enkaayana ez’amaanyi n’okutabuka mu bo; n’olwekyo kyeyava agolola omukono gwe n’ayimusa kabaka okuva ku ttaka, era n’amugamba: Yimirira. Era n’ayimirira ku bigere bye, n’addamu amaanyi.
23 Kaakano kino kyakolebwa mu maaso ga nnabagereka n’abangi ku baweereza. Era bwe baakiraba ne beewuunya nnyo, era ne batandika okutya. Era kabaka n’ayimirira, n’atandika okubayigiriza. Era y’abayigiriza, mu ngeri nti ab’omu nnyumba ye bonna baakyuka ne badda eri Mukama.
24 Kaakano waaliwo enkuyanja y’abantu nga ekuŋŋaanye olw’ekiragiro kya nnabagereka, era ne wabalukawo okwemulugunya okw’amaanyi mu bo olw’Alooni ne baganda be.
25 Naye kabaka n’ayimirira mu bo n’abayigiriza. Era ne bakkakkana eri Alooni n’abo abaali naye.
26 Era olwatuuka kabaka bwe yalaba ng’abantu bakkakkanye, n’alagira Alooni ne baganda be okuyimirira mu masekkati g’enkuyanja y’abantu, era awo bababuulire ekigambo.
27 Era olwatuuka kabaka n’ayisa ekirangiriro mu nsi yonna, mu bantu be bonna abaali mu nsi ye yonna, abaali mu bitundu byonna ebyetooloddewo, ebyali bituukira ddala ku nnyanja, ku luuyi olw’ebuvanjuba era n’ebugwanjuba, era ebyali byawulwa okuva ku nsi y’e Zalakemula n’oluwannanda lw’olukoola olufunda, olwali lukiibiriza okuva ku nnyanja ebuvanjuba okutuuka ku nnyanja ebugwanjuba, era n’okwetooloola ku nsalo ku lubalama lw’ennyanja, era n’ensalo z’olukoola olwali mu bukiika obwa kkono obw’ensi y’e Zalakemula, okuyita ku nsalo za Manti, ku nsibuko y’omugga Sidoni, ogukulukuta okuva ebuvanjuba okwolekera ebugwanjuba; era bwe batyo Abalamani n’Abaneefi bwe baayawulwamu.
28 Kaakano, ekitundu eky’Abalamani ekisinga okuba eky’abagayaavu kyabeeranga mu lukoola, era nga babeera mu weema; era baali babunye olukoola ku luuyi lw’ebugwanjuba, mu nsi ya Neefi; weewaawo, era ne mu bugwanjuba obw’ensi y’e Zalakemula, ku nsalo ku lubalama lw’ennyanja, ne mu bugwanjuba obw’ensi ya Neefi, mu kifo eky’obusika bwa bajjajjaabwe obw’olubereberye, era bwe kityo nga kikwatagana n’olubalama lw’ennyanja.
29 Era nate waaliwo Abalamani bangi ku luuyi olw’ebuvanjuba ku lubalama lw’ennyanja, Abaneefi gye baali babagobedde. Era bwe batyo Abaneefi baali kumpi beetooloddwa Abalamani; wabula Abaneefi baali batuuze mu bitundu byonna eby’obukiika obwa kkono eby’ensi ebyali ku nsalo n’olukoola, ku nsibuko y’omugga Sidoni, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, okwetooloola ku ludda olw’olukoola; ku luuyi olw’obukiika obwa kkono, okutuusa lwe baatuuka mu nsi gye baayita Kyengera.
30 Era yakwatagana n’ensi gye baayita Amatongo, nga eri wala nnyo mu bukiika obwa kkono okutuuka mu nsi eyali esenzeemu abantu era ne bazikirizibwa, bannyini magumba ge twogeddeko, agazuulibwa abantu b’e Zalakemula, nga kye kifo we baasoka okugobera.
31 Era baava eyo ne bambuka waggulu okutuuka mu lukoola olw’obukiika obwa ddyo. Bwetyo ensi eyali ku luuyi olw’obukiika obwa kkono n’eyitibwa Amatongo, era n’ensi ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo n’eyitibwa Kyengera, nga lwe lukoola olujjudde ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri, ekitundu kw’ekyo ekyali kivudde ku nsi ey’obukiika obwa kkono olw’emmere.
32 Era kaakano, kaali akatemerero ka lunaku lumu lwokka n’ekitundu eri Omuneefi, ku ngyegooyego za Kyengera n’ensi Matongo, okuva ebuvanjuba okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba; era bwe kityo ensi ya Neefi n’ensi ya Zalakemula zaali kumpi zeetoolooddwa amazzi, nga waliwo oluwannanda lw’ettaka olufunda wakati w’ensi eyo mu bukiika obwa kkono n’ensi eyo mu bukiika obwa ddyo.
33 Era olwatuuka Abaneefi baali basenze mu nsi y’e Kyengera, ddala okuva ebuvanjuba okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba, era bwe batyo Abaneefi mu magezi gaabwe, n’abakuumi baabwe era n’amagye gaabwe, baali beetangidde Abalamani ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, bwe batyo baleme kuddamu kuba na ttwale ebukiika obwa kkono, balyoke baleme kubuna nsi ey’obukiika obwa kkono.
34 N’olwekyo Abalamani baali tebasobola kuba na matwale walala nga oggyeko ensi ya Neefi yokka, n’olukoola olwetooloddewo. Kaakano gano gaali magezi g’Abaneefi; olw’okuba Abalamani baali balabe baabwe, baali tebakkiriza bibonoobono byabwe ku njuyi zonna, era nate basobole okuba n’ensi gye bayinza okuddukira, okusinziira ku bwetaavu bwabwe.
35 Era kaakano nze, oluvannyuma lw’okwogera bino, nkomawo nate eri ennyinyonnyolwa ya Amoni ne Alooni, Omuneeri ne Kimuni, ne baganda baabwe.