Scriptures
Aluma 16


Essuula 16

Abalamani basaanyaawo abantu ba Amonayika; Zolamu akulembera Abaneefi okutuuka ku buwanguzi eri Abalamani; Aluma ne Amuleki era n’abalala bangi babuulira ekigambo; Bayigiriza nti oluvannyuma lw’okuzuukira kwe Kristo ajja kulabika eri Abaneefi. Nga mu mwaka gwa 81–77 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogw’okubiri, nga waaliwo emirembe mingi mu nsi y’e Zalakemula, nga tewaaliwo ntalo wadde enkaayana okumala emyaka egiwerako, ddala n’okutuusa ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogw’okubiri mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, waaliwo omulanga ogw’olutalo ogwawulirwa mu nsi yonna.

Kubanga laba, amagye g’Abalamani gaali gayingidde ku ludda lw’olukoola, mu nsalo z’ensi, ddala mu kibuga kya Amonayika, era ne gatandika okutta abantu n’okusaanyawo e kibuga.

Era kaakano olwatuuka, Abaneefi nga tebanakuŋŋaanya ggye limala okubagoba mu nsi, baali basaanyizzaawo abantu abaali mu kibuga Amonayika, era n’abamu okwetooloola ensalo za Nuuwa, ne batwala n’abalala mu buwambe mu lukoola.

Kaakano olwatuuka Abaneefi baali bayayaana okufuna abo abaali batwaliddwa mu buwambe mu lukoola.

N’olwekyo, oyo eyali alondeddwa nga ssenkulu ow’eggye eri amagye g’Abaneefi, (era erinnya lye yali Zolamu, era yalina abaana babiri ab’obulenzi, Leki ne Aka); kaakano Zolamu ne batabani be ababiri, olw’okumanya nti Aluma ye yali kabona ow’oku ntikko eri ekkanisa, era nga baali baawulirako nti yalina omwoyo ogw’obunnabbi, n’olwekyo bagenda gyali nga baagala okumanya okuva gyali oba Mukama yandikyagadde bagende mu lukoola okunoonya baganda baabwe, abaali batwaliddwa Abalamani mu buwambe.

Era olwatuuka Aluma n’abuuza Mukama ku nsonga eyo. Era Aluma n’akomawo n’abagamba: laba Abalamani bajja kusomoka omugga Sidoni mu lukoola olw’omu bukiika obwa ddyo, ewala waggulu okusukka ensalo ez’ensi ey’e Manti. Era laba eyo gye mulibasisinkana, ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’omugga Sidoni, era eyo Mukama gy’alibaweera baganda bammwe abaatwalibwa Abalamani nga abawambe.

Era olwatuuka Zolamu ne batabani be baasomoka omugga Sidoni, n’amagye gaabwe, era ne batambula okusukka ensalo za Manti mu lukoola olw’omu bukiika obwa ddyo, ekyali ku ludda olw’ebuvanjuba obw’omugga Sidoni.

Era basisinkana amagye g’Abalamani, era Abalamani basaasaanyizibwa era ne boolekezebwa mu lukoola; era baatwala baganda baabwe abaali batwaliddwa Abalamani nga abawambe, era tewaaliwo muntu wadde n’omu kubo gwe bafiirwa kw’abo abaali batwaliddwa ng’abawambe. Era baleetebwa baganda baabwe okubeera mu nsi yaabwe.

Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’abalamuzi, nga Abalamani bagobeddwa mu nsi, era n’abantu b’e Amonayika nga bazikiriziddwa; weewaawo, buli mwoyo omulamu ogw’Abamonayika gwazikirizibwa, era n’ekibuga kyabwe ekinene, kye bagamba nti Katonda tasobola kukizikiriza, olw’obunene bwakyo.

10 Naye laba, mu lunaku lumu kyalekebwa kifuuse kifulukwa; era n’emirambo gyalibwa embwa n’ensolo ez’omu nsiko ez’omu lukoola.

11 Wabula, oluvannyuma lw’ennaku nnyingi emirambo gyabwe gya tuumibwa ku lukalu lw’ensi, era gibikkiddwako n’ekibikkwa ekimpi. Era kaakano okuwunya kwagyo kwali kw’amaanyi nnyo nti abantu tebagendayo okugibeeramu ensi ya Amonayika okumala emyaka mingi. Era yayitibwanga amatongo g’Abanekooli; kubanga baali banzikiriza ya Nekooli, abattibwa; era n’ensi zaabwe ne zisigala bifulukwa.

12 Era Abalamani tebaddamu kujja kulwanagana n’Abaneefi okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi. Era bwe kityo okumala emyaka esatu abantu ba Neefi baalina emirembe egitatadde mu nsi yonna.

13 Era Aluma ne Amuleki bagenda mu maaso nga babuulira okwenenya eri abantu mu yekaalu zaabwe, era ne mu bifo byabwe ebitukuvu, era ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, agaazimbibwa okusinziira ku nkola y’Abayudaaya.

14 Era bangi abawuliranga ebigambo byabwe, abo beebaagabanyizibwanga ku kigambo kya Katonda, awatali kusosola muntu yenna, obutasalako.

15 Era bwe batyo Aluma ne Amuleki bwe bagenda mu maaso, era n’abalala bangi abaali balondeddwa olw’omulimu, okubuulira ekigambo mu nsi yonna. Era n’okuteekebwawo okw’ekkanisa kwabuna wonna mu nsi yonna, mu kitundu kyonna okwetooloola, mu bantu bonna ab’Abaneefi.

16 Era tewaaliwo butali bwenkanya mu bo; Mukama yayiwa omwoyo gwe ku lukalu lw’ensi lwonna okuteekateeka endowooza z’abaana b’abantu, oba okuteekateeka emitima gyabwe okufuna ekigambo ekyalina okuyigirizibwa mu bo mu kiseera eky’okujja kwe;

17 Nti baleme okukakanyala eri ekigambo, nti baleme okubeera abatakkiriza, era n’okugenda mu kuzikirizibwa, naye nti basobole okufuna ekigambo n’essanyu, era ng’ettabi bwe liyungibwa ku muzabbibu omutuufu, nti basobole okuyingira mu kiwummulo kya Mukama Katonda waabwe.

18 Kaakano bakabona abo abaagenda mu bantu baabuuliranga okulwanyisa obulimba bwonna, era n’okuwuddiisa, n’obuggya, n’obutakkaanya, n’ettima, n’okuvvoola, n’okubba, obwakkondo, okunyagulula, okutemula, obwenzi, era n’engeri zonna ez’obukaba, nga balangirira nti ebintu bino tebirina kubeera bwe bityo;

19 Nga babuulira ebintu ebirina okujja mu bbanga eritali lye wala; weewaawo, nga babuulira okujja okw’Omwana wa Katonda, okubonaabona kwe era n’okufa, era n’okuzuukira kw’abafu.

20 Era bangi ku bantu babuuzanga ebikwata ku kifo Omwana wa Katonda we yalina okutuukira; era ne bayigirizibwa nti ajja kubalabikira oluvannyuma olw’okuzuukira kwe; era kino abantu bakiwuliranga n’essanyu ery’amaanyi era n’okwesiima.

21 Era kaakano oluvannyuma nga ekkanisa eteekeddwawo mu nsi yonna; nga bafunye obuwanguzi ku setaani, era n’ekigambo kya Katonda nga kibuulirwa mu bulongoofu bwakyo mu nsi yonna, era nga Mukama ayiwa emikisa gye ku bantu; bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.