Essuula 62
Moloni ayanguwa okugenda okuyamba Pakolani mu nsi ya Gidiyoni; Aboobwakabaka abagaana okulwanirira ensi yaabwe battibwa; Pakolani ne Moloni beddiza Nefayika; Abalamani bangi beegatta ku bantu ba Amoni; Tiyankamu atta Amolooni era oluvannyuma naye attibwa; Abalamani bagobwa okuva mu nsi, era emirembe ne giteekebwawo; Keramani addayo mu buweereza era azimba ekkanisa. Nga mu mwaka gwa 62–57 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era Kaakano olwatuuka Moloni bwe yali afunye ebbaluwa eno omutima gwe gwafuna obuvumu, era yajjula essanyu eringi ennyo olw’obwesigwa bwa Pakolani, nti naye teyali muli wa nkwe eri eddembe n’ebiruubirirwa eby’ensi ye.
2 Naye era yakungubaga nnyo olw’obubi bw’abo abaali bagobye Pakolani mu ntebe y’obulamuzi, weewaawo, mu bufunze olw’abo abaali bajeemedde ensi yaabwe era ne Katonda waabwe.
3 Era olwatuuka Moloni yatwala omuwendo gw’abasajja omutono, okusinziira ku bwetaavu bwa Pakolani, era naawa Leki ne Tiyankamu obuduumizi bw’eggye lye eryali lisigaddeyo, era y’atambula okwolekera ensi ya Gidiyoni.
4 Era yayimusa bendera ey’eddembe mu buli kifo kyonna kye yayingirangamu, era y’afuna eggye lyonna lye yasobolanga okufuna mu ntambula ze zonna ng’ayolekera ensi ya Gidiyoni.
5 Era olwatuuka enkumi n’enkumi zaakuŋŋaanira ku bendera ye ey’eddembe, era baakwata ebitala byabwe okulwanirira eddembe lyabwe, olwo baleme okutwalibwa mu buddu.
6 Era bw’atyo, Moloni bwe yali akuŋŋaanyizza wamu buli musajja yenna gwe yali asobodde okufuna mu kutambula kwe kwonna, yajja mu nsi ya Gidiyoni; era n’agatta amagye ge n’aga Pakolani ne bafuuka b’amaanyi nnyo, nga b’amaanyi n’okusinga abasajja ba Pakasi, eyali kabaka w’abali bakyewaggula abo abaali bagobye abasajja b’eddembe mu nsi ya Zalakemula era nga baali batute ensi.
7 Era olwatuuka Moloni ne Pakolani baaserengeta n’amagye gaabwe mu nsi y’e Zalakemula, era baagenda okulumba ekibuga, ne basisinkana abasajja ba Pakasi, ddala ne batuuka n’okulwana.
8 Era laba, Pakasi yattibwa era abasajja be ne batwalibwa ng’abasibe, era Pakolani n’azzibwa ku ntebe ye ey’obulamuzi.
9 Era abasajja ba Pakasi baafuna okuwozesebwa kwabwe, okusinziira ku mateeka, era n’ab’obwakabaka abaali batwaliddwa ne basuulibwa mu kkomera; era ne battibwa okusinziira ku tteeka; weewaawo, abo abasajja ba Pakasi n’ab’obwakabaka, buli oyo yenna eyagaananga okukwata ebyokulwanyisa mu kulwanirira ensi yaabwe, naye ate nga agirwanyisa, battibwanga.
10 Era bwe kityo kyali kyetaagisa amateeka gano okuteekebwa mu nkola ku lw’obukuumi bw’ensi yaabwe; weewaawo, era na buli oyo yenna eyasangibwanga ng’agaanye okukuuma eddembe lyabwe yattibwanga mu bwangu okusinziira ku mateeka.
11 Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’amakumi asatu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi; Moloni ne Pakolani nga bamaze okuzzaawo emirembe mu nsi ya Zalakemula, mu bantu baabwe bennyini, nga bamaze okuleetawo okufa kw’abo bonna abataali besimbu eri ensonga ey’eddembe.
12 Era olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, Moloni mbagirawo yalagira obugabirizi busindikibwe, era n’eggye ly’abasajja kakaaga okusindikibwa eri Keramani, okumuyambako mu kukuuma ekitundu ekyo eky’ensi.
13 Era ate yalagira eggye ly’abasajja kakaaga, nga balina emmere ey’ekigero emala, okusindikibwa eri amagye ga Leki ne Tiyankamu. Era olwatuuka kino kyakolebwa okunyweza eby’okwerinda eri Abalamani mu nsi.
14 Era olwatuuka Moloni ne Pakolani, baaleka omuwendo omunene ogw’abasajja mu nsi ya Zalakemula, ne baakwata olugendo lwabwe n’ekibinja ekinene eky’abasajja ne boolekera ensi ya Nefayika, nga bamalirivu okuwangula Abalamani mu kibuga ekyo.
15 Era olwatuuka bwe baali batambula okwolekera ensi, bawaamba omuwendo munene ogw’abasajja b’Abalamani, era ne batta bangi ku bo, era ne batwala obugabirizi bwabwen’ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo.
16 Era olwatuuka oluvannyuma nga bamaze okubatwala, babalagira okulagaana endagaano nti tebaliddamu kukwata byakulwanyisa byabwe eby’olutalo okulwanyisa Abaneefi.
17 Era bwe baalagaana endagaano eno babaweereza okubeera n’abantu ba Amoni, era baali nga enkumi nnya mu muwendo abaali batattiddwa.
18 Era olwatuuka bwe baali bamaze okubaweerezzaayo baatambula okwolekera ensi ya Nefayika. Era olwatuuka bwe baali batuuse mu kibuga ky’e Nefayika, basiimba weema zaabwe awatereevu mu lusenyi lw’e Nefayika, oluli okumpi n’ekibuga ky’e Nefayika.
19 Kaakano Moloni yali ayagala nnyo Abalamani baveeyo bajje mu lutalo okubalwanyisa, awatereevu mu lusenyi; naye Abalamani, nga bamanyi ku buvumu bwabwe obw’amaanyi ennyo, era nga balaba obungi bw’emiwendo gyabwe, n’olwekyo tebetantala kuvaayo kubalwanyisa; n’olwekyo tebatutabaala ku lunaku olwo.
20 Era ekiro bwe kyatuuka, Moloni n’afuluma mu kizikiza mu budde obw’ekiro, n’ajja waggulu wa bbugwe okuketta ekitundu ekyo eky’ekibuga Abalamani mwe baali baguumbye n’eggye lyabwe.
21 Era olwatuuka baali ku luuyi olw’ebuvanjuba, olw’omulyango oguyingira; era bonna baali beebase. Era kaakano Moloni yaddayo eri eggye lye, era n’abalagira okutegeka mu bwangu emiguwa egy’amaanyi n’amadaala, ebinasuulibwa wansi okuva waggulu wa bbugwe okuyingira mu kitundu eky’omunda ekya bbugwe.
22 Era olwatuuka Moloni n’alagira abasajja be okutambula bajje waggulu ku bbugwe, era bakke wansi mu kitundu ekyo eky’ekibuga, weewaawo, ddala ku luuyi olw’ebugwanjuba, Abalamani gye bataaguumba n’amagye gaabwe.
23 Era olwatuuka bonna bassibwa wansi mu kibuga ekiro, nga bakozesa emiguwa gyabwe egy’amaanyi n’amadaala gaabwe; bwe gatyo amakya bwe gaatuuka bonna baali munda wa bbugwe ow’ekibuga.
24 Era kaakano, Abalamani bwe baazuukuka ne balaba ng’amagye ga Moloni gali munda wa bbugwe, baatya nnyo, ddala okutuusa nti badduka nga bayita mu kkubo awayingirirwa.
25 Era kaakano Moloni bwe yalaba nga badduka okuva mu maaso ge, n’alagira abasajja be okugenda babalwanyise, era batta bangi, ne bazingiza abalala bangi, ne babatwala ng’abasibe; era abasigalawo ku bo ne baddukira mu nsi ya Moloni, eyali ku nsalo ezaali ku lubalama lw’ennyanja.
26 Bw’atyo Moloni ne Pakolani bwe baali bafunye obuyinza ku kibuga ky’e Nefayika awatali kufiirwa muntu n’omu; era waaliwo bangi ku Balamani abattibwa.
27 Kaakano olwatuuka bangi ku Balamani abaali abasibe baali baagala okwegatta ku bantu ba Amoni era bafuuke abantu ab’eddembe.
28 Era olwatuuka bonna nga bwe baali baagala, kya baweebwa nga bwe baali baagala.
29 N’olwekyo, abasibe b’Abalamaani bonna beegatta ku bantu ba Amoni, era ne batandika okukola ennyo, okukabala ettaka, nga balima emmere ey’empeke ey’engeri zonna, n’ebisibo n’amagana ebya buli kika; era bwe batyo Abaneefi bwe baggyibwako omugugu omunene; weewaawo, okutuuka nti baggyibwako abasibe bonna ab’Abalamani.
30 Kaakano olwatuuka Moloni, oluvannyuma lw’okufuna ekibuga ky’e Nefayika, oluvannyuma lw’okutwala abasibe bangi, ekyakendeeza ennyo amagye g’Abalamani ekisukkiridde, era oluvannyuma lw’okufuna Abaneefi abaali batwaliddwa ng’abasibe, ekyawa eggye lya Moloni amaanyi eby’ensusso; n’olwekyo Moloni yava mu nsi ya Nefayika n’agenda mu nsi ya Leki.
31 Era olwatuuka Abalamani bwe baalaba nga Moloni ajja okubalwanyisa, ne baddamu okutya ne badduka okuviira eggye lya Moloni.
32 Era olwatuuka Moloni n’eggye lye babawondera okuva kibuga ku kibuga, okutuusa lwe baasisinkanibwa Leki ne Tiyankamu; era Abalamani ne badduka okuva eri Leki ne Tiyankamu, okutuukira ddala ku nsalo okumpi n’olubalama lw’ennyanja, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ya Moloni.
33 Era amagye g’Abalamani gonna gaali gakuŋŋaanye wamu, okukkakkana ngagonna gaali mu kibinja kimu mu nsi ya Moloni. Kaakano Amolooni, kabaka w’Abalamani, naye yali nabo.
34 Era olwatuuka Moloni ne Leki ne Tiyankamu baguumba n’amagye gaabwe okwetooloola ensalo z’ensi ya Moloni, okutuusa nti Abalamani baali beetooloddwa ku nsalo ezaali okumpi n’olukoola mu bukiikaddyo, era ne ku nsalo ezaali okumpi n’olukoola ku luuyi olw’ebuvanjuba.
35 Era bwe batyo baguumba ekiro. Kubanga laba, Abaneefi n’Abalamani nabo baali bakooye olw’okutambula okw’amaanyi; n’olwekyo tebaasalawo ku magezi gonna mu budde obw’ekiro, okuggyako Tiyankamu; kubanga yali munyiivu bya nsusso eri Amolooni, kubanga yakitwala nti Amolooni, ne Amalikaya muganda we, be baali baviiriddeko olutalo luno olw’amaanyi era olw’awangaala wakati waabwe n’Abalamani, olwali luviiriddeko entalo nnyingi n’okuyiwa omusaayi, weewaawo, n’enjala ennyingi ennyo.
36 Era olwatuuka Tiyankamu mu busungu bwe yagenda ku nkambi y’Abalamani, yawalampa bbugwe w’ekibuga n’akka wansi. Era yagendayo n’omuguwa, okuva kifo ku kifo, okukkakkana nti yazuula kabaka; era yamukasukira effumu, eryamufumita okumpi n’omutima. Naye laba, kabaka yazuukusa abaweereza be nga tannafa, okukkakkana nga baawondera Tiyankamu, ne bamutta.
37 Kaakano olwatuuka Leki ne Moloni bwe baamanya nti Tiyankamu yali mufu baali banakuwavu bya nsusso; kubanga laba, yali musajja eyali alwanye n’obuzira ku lw’ensi ye, weewaawo, mukwano gw’eddembe ow’amazima; era yali ayise mu bibonoobono ebikambwe bingi nnyo. Naye laba, yali afudde, era ng’agenze mu kkubo mu eriyingira ettaka.
38 Kaakano olwatuuka Moloni enkeera yagenda, era n’alumba Abalamani, okutuusa nti baabatta mu nzita ey’amaanyi ennyo; era baabagoba mu nsi; ne badduka, ddala nti tebaakomawo mu kiseera ekyo kulwannyisa Baneefi.
39 Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi; era bwe batyo baali bafunye entalo, era n’okuyiwa omusaayi, era n’enjala, era n’ebibonoobono, okumala ebbanga lya myaka mingi.
40 Era nga waali wabaddewo ettemu, n’ennyombo, era n’enjawukana, era n’obubi obw’engeri zonna mu bantu ba Neefi; wabula ku lw’abatuukirivu, weewaawo, olw’essaala z’abatuukirivu, baatalizibwa.
41 Naye laba, olw’obuwanvu bw’olutalo obwali bususse wakati w’Abaneefi n’Abalamani bangi baali bakakanyadde, olw’obuwangaanzi bw’olutalo obwali bususse ennyo; era bangi baagonda olw’ebibonoobono byabwe, okukkakkana nti beetoowaza mu maaso ga Katonda, ddala n’obwetoowaze obuviira ddala munda.
42 Era olwatuuka Moloni nga amaze okunyweza eby’okwerinda mu bitundu ebyo eby’ensi ebyali ebyangu okulumbibwa Abalamani, okutuusa nga binywezeddwa ekimala, y’addayo mu kibuga ky’e Zalakemula; ne Keramani naye yaddayo mu kifo eky’obusika bwe; era waaliwo emirembe egyateekebwawo nate mu bantu ba Neefi.
43 Era Moloni yawaayo obuduumizi bw’amagye ge mu mikono gya mutabani we, erinnya lye lyali Molonayika; era yawummulira mu nnyumba ye ey’obwannannyini olwo asobole okumala ennaku ze ezaali zisigaddeyo mu mirembe.
44 Era Pakolani yadda ku ntebe ye ey’obulamuzi; era Keramani y’addamu nate okutwala omulimu gw’okubuulira abantu ekigambo kya Katonda; olw’entalo enyingi ennyo n’enkaayana kyali kyetaagisa ebiragiro okuddamu nate okuteekebwawo mu kkanisa.
45 N’olwekyo, Keramani ne baganda be baagenda, era ne balangirira ekigambo kya Katonda n’amaanyi mangi okutuuka okumatiza abantu bangi obubi bwabwe, ekyabaleetera okwenenya ebibi byabwe era ne babatizibwa eri Mukama Katonda wabwe.
46 Era olwatuuka baddamu nate okuteekawo ekkanisa ya Katonda, mu nsi yonna.
47 Weewaawo, n’ebiragiro byakolebwanga ebikwata ku mateeka. Era abalamuzi baabwe, ne ba ssabalamuzi baabwe baalondebwanga.
48 Abantu ba Neefi ne batandika nate okuddamu okukulaakulana mu nsi, ne batandika okweyongera obungi n’okuddamu okubeera ab’amaanyi nate agasukkiridde mu nsi. Era batandika okuba abagagga ennyo.
49 Naye nga oggyeko eby’obugagga bwabwe, oba amaanyi gaabwe, oba okukulaakulana kwabwe, tebekulumbaza mu malala mu ndaba yaabwe; era tebaalwawo yadde okulwawo okujjukira Mukama Katonda waabwe; naye beetoowazanga nnyo mu maaso ge.
50 Weewaawo, bajjukiranga ebintu Mukama bye yali abakoledde bwe byali ebikulu, nti yali abanunudde okuva mu kufa, n’okuva mu miguwa, n’okuva mu makomera, era n’okuva mu bibonoobono eby’engeri zonna, era yali abanunudde okuva mu mikono gy’abalabe baabwe.
51 Era baasabanga Mukama Katonda waabwe bulijjo, ddala okutuusa nti Mukama yabawa omukisa, okusinziira ku kigambo kye, n’olwekyo baafuuka b’amaanyi nnyo era bakulaakulana mu nsi.
52 Era olwatuuka ebintu bino byonna byakolebwa. Era Keramani n’afa, mu mwaka ogw’amakumi asatu mu etaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.