Essuula 30
Koliko, omulabe wa Kristo, asekerera Kristo, Omutango, era n’omwoyo ogw’obunnabbi; Ayigiriza nti tewaliyo Katonda, tewali kugwa kwa muntu mu kibi, tewali kibonerezo kya kibi, era tewali Kristo; Aluma awa obujulizi nti Kristo ajja kujja era nti ebintu byonna biraga nti waliyo Katonda; Koliko ayagala bamulage akabonero era aziba omumwa; Setaani yalabikira Koliko nga malayika era n’amuyigiriza ky’alina okwogera; Koliko bamulinnyirira n’afa. Nga mu mwaka gwa 76-74 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Laba, kaakano olwatuuka ng’abantu ba Amoni bamaze okuteekebwa mu nsi ya Yasoni, weewaawo, era ate oluvannyuma ng’Abalamani bagobeddwa mu nsi, era nga n’abafu baabwe baziikiddwa abantu b’ensi;
2 Kaakano abafu baabwe tebaabalibwa olw’emiwendo gyabwe eminene; era n’abafu b’Abaneefi tebaabalibwa; naye olwatuuka nga bamaze okuziika abafu baabwe, era n’oluvannyuma lw’ennaku ez’okusiiba, n’okukungubaga, n’okusaba, (era nga kyali mu mwaka ogw’ekkumi n’omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi) ne watandika okubaawo emirembe egitatadde mu nsi yonna.
3 Weewaawo, era abantu ne bafuba okukuuma ebiragiro bya Mukama; era baali banyiikivu nnyo mu kutuukiriza emikolo emitukuvu egya Katonda, okusinziira ku mateeka ga Musa; kubanga baayigirizibwa okukuuma amateeka ga Musa okutuusa nga gatuukiridde.
4 Era bwe batyo abantu tebaalina kutaataaganyizibwa kwonna mu mwaka gwonna ogw’ekkumi n’omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.
5 Era olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, waaliwo emirembe egitatadde.
6 Naye olwatuuka ku nkomerero y’omwaka ogw’ekkumi n’omusanvu, awo wajjawo omusajja mu nsi ya Zalakemula, era yali mulabe wa Kristo, kubanga yatandika okubuulira abantu ng’awakanya obunnabbi obwali bwogeddwa bannabbi, obukwata ku kujja kwa Kristo.
7 Kaakano tewaali tteeka ligaana nzikiriza ya muntu; kubanga kyali kikontanira ddala n’ebiragiro bya Katonda nti walina okubaawo etteeka eriyinza okuleeta abantu okuyisibwa mu ngeri etali ya kyenkanyi.
8 Kubanga bwe kityo ekyawandiikibwa bwe kyogera: Londawo leero gw’onoweereza.
9 Kaakano singa omuntu yabanga ayagala okuweereza Katonda, lyalinga ddembe lye; oba ka tugambe, singa yali akkiririza mu Katonda lyalinga ddembe lye okumuweereza; naye bwe yalinga tamukkiririzaamu tewaaliwo tteeka liyinza kumubonereza.
10 Wabula bwe yattanga yabonerezebwanga na kufa; era ate bwe yanyaganga n’abonerezebwanga; era ate singa yabbanga yabonerezebwanga; era ate singa yabanga ayenze y’abonerezebwanga; weewaawo, olw’obubi buno bwonna baabonerezebwanga.
11 Kubanga waaliwo etteeka nti abantu balamulwenga okusinziira ku misango gyabwe. Wabula, tewaaliwo tteeka liwakanya nzikiriza ya muntu; n’olwekyo, omuntu yabonerezebwanga olw’emisango gye yali akoze; n’olwekyo abantu bonna baayisibwanga kyenkanyi.
12 Era omulabe wa Kristo ono, erinnya lye lyali Koliko, (era amateeka teegayinza kumukwata) y’atandika okubuulira abantu nti tewasobola kubaawo Kristo. Era yabuulira bw’atyo ng’agamba nti:
13 Abange mmwe abasibiddwa wansi w’essuubi ery’obusirusiru n’ery’obutaliimu nsa, lwaki mwesiba ekikoligo n’ebintu eby’obusirusiru bwe bityo? Lwaki munoonya Kristo? Kubanga tewali muntu ayinza kumanya kintu kyonna ekigenda okujja.
14 Laba, ebintu bino bye muyita obunnabbi, bye mwogera nti byasikizibwanga bannabbi abatukuvu, laba, bwe bulombolombo bwa bajjajjammwe obw’ekisirusiru.
15 Mumanya mutya obutuufu bwabyo? Laba, temuyinza kumanya bintu bye mutalaba; n’olwekyo temuyinza kumanya nti walibaawo Kristo.
16 Mulindirira era ne mugamba nti mulaba okusonyiyibwa ebibi byammwe. Naye laba, kiva ku birowoozo ebitabanguddwa eddalu; era okulaluka kuno okw’ebirowoozo byammwe kujja olw’obulombolombo bwa ba kitammwe, obubatwala mu kukkiriza ebintu ebitali bituufu.
17 Era n’ebirala bingi eby’engeri eyo yabyogera gye bali, ng’abagamba nti tewayinza kubaawo mutango gukolebwa olw’ebibi by’abantu, naye buli muntu yabeerangawo mu bulamu buno okusinziira ku ndabirira ey’ekitonde; n’olwekyo buli muntu yakulaakulananga okusinziira ku magezi ge ag’enjawulo, era nti buli muntu yawangulanga okusinziira ku maanyi ge; era buli muntu kye y’akolanga tegwalinga musango.
18 Era bw’atyo yababuulira, n’abuzaabuza emitima gy’abangi, ng’abaleetera okuyimusa emitwe gyabwe mu bubi bwabwe, weewaawo, ng’abuzaabuza abakazi bangi, era n’abasajja, okukola obwenzi; ng’abagamba nti omuntu bwe yafanga, eyo ye yali enkomerero ye.
19 Kaakano omusajja ono yagenda mu nsi ya Yasoni, okubuulira ebintu bino mu bantu ba Amoni, abaali babaddeko abantu b’Abalamani.
20 Naye laba baali bagezi okusinga bangi ku Baneefi; kubanga baamukwata, ne bamusiba, ne bamutwala mu maaso ga Amoni, eyali kabona ow’oku ntikko eri abantu abo.
21 Era olwatuuka n’alagira afulumizibwe okuva mu nsi. Era n’asomoka n’ajja mu nsi y’e Gidiyoni, era nabo n’atandika okubabuulira; nga wano teyafunawo buwanguzi bungi, kubanga yakwatibwa n’asibibwa n’atwalibwa mu maaso ga kabona ow’oku ntikko, n’eri ssabalamuzi ow’ensi.
22 Era olwatuuka kabona ow’oku ntikko n’amugamba nti: Lwaki otalaaga nga bw’okyamya amakubo ga Mukama? Lwaki oyigiriza abantu bano nti tewajja kubaawo Kristo, okutaataganya essanyu lyabwe? Lwaki ovumirira obunnabbi bwonna obwa bannabbi abatukuvu?
23 Kaakano erinnya lya kabona ow’oku ntikko lyali Giddona. Era Koliko n’amugamba nti: Kubanga siyigiriza bulombolombo bwa bajjajjaabo obw’obusirusiru, era olw’okuba siyigiriza bantu bano bennyini okwesibira wansi w’emikolo egitali gy’abutuukirivu n’ebikolebwa eby’obusirusiru ebyateekebwawo bakabona ab’edda, okuwamba obuyinza n’okuwa ebiragiro mu bukyamu gye bali, okubakuumira mu butamanya, nti baleme okuyimusa emitwe gyabwe, wabula okukkakkanyizibwa okusinziira ku bigambo byo.
24 Mugamba nti abantu bano balina eddembe. Laba, ŋŋamba nti bali mu busibe. Mugamba nti obunnabbi obwo obw’edda bwa mazima. Laba, ŋŋamba nti temumanyi nti bw’amazima.
25 Mugamba nti abantu bano boonoonefu era baagwa, olw’okusobya kw’omuzadde. Laba, ŋŋamba nti omwana talina musango olw’abazadde be.
26 Era ate mugamba nti Kristo alijja. Naye laba, ŋŋamba nti temumanyi nti walibaawo Kristo. Era nate mugamba nti alittibwa olw’ebibi by’ensi;
27 Era bwe mutyo mubuzaabuza abantu bano ne mubaleetera okugoberera obulombolombo obw’obusirusiru obwa bajjajjammwe, era okusinziira ku kwagala kwammwe; era mubakuumira wansi wammwe babagondere, ddala nga balinga abali mu busibe, mulyoke mwejalabye olw’emirimu gy’emikono gyabwe, baleme okwetantala okutunula waggulu n’obuvumu, era nti baleme okwetantala okweyagalira mu eddembe lyabwe ery’obwebange n’ebirungi ebyabaweebwa.
28 Weewaawo, tebasobola kwetantala kukozesa ekyo ekyabwe si kulwa nga banyiiza bakabona baabwe, ababasiba ekikoligo okusinziira ku kwagala kwabwe, era babaleetedde okukkiriza, nga bakozesa obulombolombo bwabwe n’ebirooto byabwe era n’okwegomba kwabwe okutaliimu n’okwolesebwa kwabwe n’ebyekusifu byabwe ebigingirire, olwo balyoke, bwe baba nga tebakoze kunsinziira ku bigambo byabwe, mbu banyiize ekitonde ekitamanyiddwa, kye bagamba nti ye Katonda; ekitonde ekitalabwangako oba ekitamanyibwangako, ekitabangawo era ekitalibaawo.
29 Kaakano kabona ow’oku ntikko ne ssabalamuzi bwe baalaba obukakanyavu obw’omutima gwe, weewaawo, bwe baalaba ng’avumira ddala Katonda, baali tebasobola kukola kwanukula kwonna eri ebigambo bye; naye ne balagira asibibwe; era ne bamuwaayo mu mikono gy’abakulu, era ne bamuweereza mu nsi y’e Zalakemula, olwo asobole okuleetebwa mu maaso ga Aluma, eyali ssabalamuzi era omufuzi w’ensi yonna.
30 Era olwatuuka bwe yaleetebwa mu maaso ga Aluma era nga ye ssabalamuzi, yagenda mu maaso mu ngeri y’emu nga bwe yakola mu nsi y’e Gidiyoni; weewaawo, yagenda mu maaso n’okuvvoola.
31 Era yasituka mu ddoboozi eriggumivu ng’akinagguka mu maaso ga Aluma, n’avumirira bakabona n’abasomesa, ng’abalumiriza okubuzaabuza abantu n’okubaleetera okugoberera obulombolombo obw’obusirusiru obwa bakitaabwe, olw’okwagala okwejalabya olw’emirimu gy’abantu.
32 Kaakano Aluma n’amugamba: Okimanyi nti tetwejalabya lwa mirimu gy’abantu bano; kubanga laba nkoze okuviira ddala ku ntandikwa ey’obufuzi bw’abalamuzi okutuusa kaakano, n’emikono gyange gyennyini olw’okweyimirizaawo kwange, wadde eŋŋendo zange nnyingi okwetooloola ensi okulangirira ekigambo kya Katonda eri abantu bange.
33 Era wadde emirimu mingi gye nkoze mu kkanisa, sifunangako wadde sinina emu olw’emirimu gyange; so tewali n’omu ku baganda bange, okuggyako kyali mu ntebe ey’obulamuzi; era olwo twafuna okusinziira ku tteeka lyokka olw’ebiseera byaffe.
34 Era kaakano, bwe tubeera nga tetufuna kintu kyonna olw’okutegana kwaffe mu kkanisa, kitugasa ki okukola mu kkanisa okuggyako okulangirira amazima, tulyoke tusanyukire mu ssanyu lya baganda baffe?
35 Kale lwaki ogamba nti tubuulira abantu bano okufuna ensimbi, so nga ggwe, ku lulwo ggwe kennyini, okimanyi nti tetufuna nsimbi ? Era kaakano, okkiriza nti tulimba abantu bano, ekiviirako essanyu nga eryo mu mitima gyabwe?
36 Era Koliko n’amuddamu, Weewaawo.
37 Era awo Aluma n’amugamba: Okkiriza nti waliyo Katonda?
38 Era n’addamu, nedda.
39 Kaakano Aluma n’amugamba: Onaddamu okwegaana nti waliyo Katonda, era ne weegaana ne Kristo? Kubanga laba, nkugamba nti, nkimanyi nti waliyo Katonda, era ate nti Kristo alijja.
40 Era kaakano bukakafu ki bw’olina obulaga nti tewali Katonda, oba nti Kristo tajja kujja? Nkugamba nti tolina, okuggyako ekigambo kyo kyokka.
41 Naye, laba, nnina ebintu byonna nga obujulizi nti ebintu bino bya mazima; era naawe olina ebintu byonna nga obujulizi gy’oli nti bya mazima; era onabyegaana? Okkiriza nti ebintu bino bya mazima?
42 Laba, mmanyi nti okkirizza, naye olinnyiddwako omwoyo ogw’obulimba, era weggyeko Omwoyo wa Katonda aleme okuba n’ekifo mu ggwe; naye setaani alina obuyinza ku ggwe, era akutalaaza, ng’akola enkwe alyoke azikirize abaana ba Katonda.
43 Era kaakano Koliko n’agamba Aluma: Bwonandaga akabonero, nsobole okukakasa nti waliyo Katonda, weewaawo, ondage nti alina amaanyi, era awo nja kuggwaamu akakunkuna olw’amazima ag’ebigambo byo.
44 Naye Aluma n’amugamba: Obadde n’obubonero obumala; on’akema Katonda wo? On’agamba, ndaga akabonero, nga olina obujulizi bwa baganda bo bano bonna, era ate ne bannabbi abatukuvu bonna? Ebyawandiikibwa byanjuluziddwa mu maaso go, weewaawo, era ebintu byonna bitegeeza nti waliyo Katonda; weewaawo, ddala n’ensi, n’ebintu byonna ebiri ku lukalu lwayo, weewaawo, era n’entambula yaayo, weewaawo, n’emmunyeenye zonna ezitambula mu ngeri yazo ey’omwetooloolo zijulira nti waliyo Omutonzi ow’oku ntikko.
45 Era nate otalaaga, ng’obuzaabuza emitima gy’abantu bano, nga ojulira gye bali nti tewali Katonda? Era naye on’agaana abajulizi bano bonna? Era n’agamba: Weewaawo, nja kugaana, okuggyako nga onandaga akabonero.
46 Era kaakano olwatuuka Aluma n’amugamba: Laba, nnakuwadde olw’obukakanyavu bw’omutima gwo, weewaawo, nti okyawakanya omwoyo ow’amazima, olwo omwoyo gwo gulyoke guzikirizibwe.
47 Naye laba, kisingako omwoyo gwo okubula okusinga ggwe okuba ekkubo ery’okuviirako emyoyo emingi okuleetebwa wansi mu kuzikirizibwa, olw’obulimba bwo n’ebigambo byo eby’okunyumikiiriza; n’olwekyo bwonaagaana nate, laba Katonda ajja ku kukuba, olwo ozibe omumwa, olwo oleme okuddiramu ddala okwasamya akamwa ko, obutaddiramu ddala kulimbalimba abantu bano.
48 Kaakano Koliko n’amugamba: Sigaana kubaawo kwa Katonda, naye sikkiriza nti waliyo Katonda; era ate ŋŋamba nti, tomanyi nti waliyo Katonda; era bwotandaga kabonero, sijja kukkiriza.
49 Kaakano Aluma n’amugamba nti: Kino kye naakuwa ng’akabonero, nti ojja kuziba omumwa, okusinziira ku bigambo byange; era ŋŋamba nti, mu linnya lya Katonda, ojja kuzibibwa omumwa, oleme kuddiramu ddala okwogera.
50 Kaakano Aluma bwe yamaliriza okwogera ebigambo bino, Koliko naziba omumwa, nga tasobola kwogera, okusinziira ku bigambo bya Aluma.
51 Era kaakano ssabalamuzi bwe yalaba kino, n’agolola omukono gwe n’awandiikira Koliko ng’agamba nti: Okakasizza amaanyi ga Katonda? Oyo gw’obadde oyagala Aluma okulagirako akabonero ke? Wandyagadde abonyeebonye abalala, okukulaga akabonero? Laba, akulaze akabonero; era kaakano on’ayongera okukaayana?
52 Era Koliko n’agolola omukono gwe n’awandiika ng’agamba nti: Nkimanyi nti nzibye omumwa, kubanga sisobola kwogera; era nkimanyi nti tewali kintu kyonna okuggyako amaanyi ga Katonda gegayinza okundeetako kino; weewaawo, era bulijjo mmanyi nti waliyo Katonda.
53 Naye laba, setaani yannimba; kubanga yandabikira mu kifaananyi kya malayika, era n’aŋŋamba nti: Genda otaase abantu bano, kubanga bonna babuze nga bagoberera Katonda atamanyiddwa. era n’aŋŋamba nti: Tewali Katonda; weewaawo, era yanjigiriza ekyo kye nnina okwogera. Era njigirizza ebigambo bye; era mbiyigirizza kubanga bibadde bisanyusa endowooza ey’obw’omubiri; era mbiyigirizza, ddala n’okutuuka okufuna obuwanguzi obungi, mu ngeri nti nnakkiririza ddala nti byali bituufu; era olw’ensonga eno nnawakanya amazima, ddala n’okutuusa lwe nneretedde ekikolimo kino ekinene.
54 Kaakano bwe yamala okuwandiika bino, ne yeegayirira Aluma asabe Katonda, ekikolimo kimuggyibweko.
55 Naye Aluma n’amugamba: Singa ekikolimo kino kikuggyibwako wandiddamu nate okubuzaabuza emitima gy’abantu bano; n’olwekyo, kinaaba gy’oli nga Mukama bw’ayagala.
56 Era olwatuuka ekikolimo ne kitaggyibwa ku Koliko; naye yaboolebwa, n’agenda nnyumba ku nnyumba ng’asabiriza emmere ye.
57 Kaakano okumanya ebyali bituuse ku Koliko byafulumizibwa mbagirawo mu nsi yonna; weewaawo, okirangiriro kyawerezebwa ssabalamuzi eri abantu bonna mu nsi, nga kirangirira eri abo abaali bakkiririzza mu bigambo bya Koliko nti balina okwenenya amangu, si kulwa ng’ebibonerezo bye bimu bibatuukako.
58 Era olwatuuka bonna ne bakakasa obubi bwa Koliko; n’olwekyo bonna baakyusibwa nate okudda eri Mukama; era kino kyakomya obutali butuukirivu obw’engeri ya Koliko. Era Koliko yatambula nnyumba ku nnyumba, ng’asabiriza emmere okusobola okweyimirizaawo.
59 Era olwatuuka bwe yali agenda mu bantu, weewaawo, mu bantu abaali beyawudde ku Baneefi ne beeyita Abazolamu, nga bakulemberwa omusajja erinnya lye Zolamu; era bwe yali agenda mu bo, laba, yaddukirwako n’alinnyirirwa, ddala okutuusa nga afudde.
60 Era bwe tutyo tulaba enkomerero y’oyo akyamya amakubo ga Mukama; era bwe tutyo tulaba nti setaani taliwanirira abaana be ku lunaku olw’enkomerero, wabula abasikambula mangu okubatuusa wansi mu ggeyeena.