Scriptures
Aluma 8


Essuula 8

Aluma abuulira era n’abatiza mu Mereki; Agaanibwa mu Amonayika era n’avaayo; Malayika amulagira akomewo era alangirire okwenenya eri abantu; Ayanirizibwa Amuleki, era bombi babuulira mu Amonayika. Nga mu mwaka gwa 82 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka Aluma n’akomawo okuva mu nsi y’e Gidiyoni, oluvannyuma lw’okuyigiriza abantu b’e Gidiyoni ebintu bingi ebitayinza kuwandiikibwa, ng’amaze okussaawo entegeka y’ekkanisa, okusinziira nga bwe y’akola mu nsi ey’e Zalakemula, weewaawo, y’addayo eri ennyumba ye mu Zalakemula okwewummuzaako okuva ku mirimu gye yali akoze.

Era bwe gutyo omwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi obw’abalamuzi eri abantu ba Neefi bwe gwakomekkerezebwa.

Era olwatuuka mu ntandikwa ey’omwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi obw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, nti Aluma yagenda okuva mu kifo ekyo n’akwata olugendo lwe n’ayolekera mu nsi ey’e Mereki, ku luuyi olw’ebugwanjuba bw’omugga Sidoni, ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ensalo ez’olukoola.

Era yatandika okuyigiriza abantu mu nsi ey’e Mereki ng’asinziira ku ntegeka entukuvu eya Katonda, mwe yali ayitiddwa; era yatandika okuyigiriza abantu mu nsi yonna ey’e Mereki.

Era olwatuuka abantu ne bajja gy’ali mu nsalo zonna ez’ebitundu ebyali ku ludda olw’olukoola. Era ne babatizibwa mu nsi yonna;

Mu ngeri nti yali amaze omulimu gwe e Mereki n’agenda, era n’atambula olugendo lwa nnaku ssatu mu bukiika obwa kkono obw’ensi ey’e Mereki; era n’atuuka mu kibuga ekyali kiyitibwa Amonayika.

Kaakano ye yali empisa ya bantu ba Neefi okuyita ensi zaabwe, era n’ebibuga byabwe, era n’ebyalo byabwe, weewaawo, n’obwalo bwabwe bwonna obutono, nga basinziira ku linnya ly’oyo eyasooka okubisengamu; era bwe kityo bwe kyali ku nsi ey’e Amonayika.

Era olwatuuka Aluma bwe yali nga azze mu kibuga eky’e Ammonayika yatandika okubuulira ekigambo kya Katonda gye bali.

Kaakano Setaani yali awambye emitima gy’abantu b’ekibuga eky’e Amonayika; n’olwekyo tebawuliriza bigambo bya Aluma.

10 Wabula Aluma yakola nnyo mu mwoyo, ng’alajanira Katonda mu kusaba okw’amaanyi, nti ayiwe omwoyo gwe ku bantu abaali mu kibuga; nti era amukkirize asobole okubabatiza olw’okwenenya.

11 Kyokka, baakakanyaza emitima gyabwe, nga bamugamba nti: Laba, tukimanyi nti ggwe Aluma; era tukimanyi nti oli kabona ow’oku ntikko eri ekkanisa eyo gye watandika mu bitundu ebingi eby’ensi, okusinziira ku bulombolombo bwo; era tetuli ba kkanisa yo, era tetukkiririza bulombolombo bwa busirusiru bwe butyo.

12 Era kaakano tukimanyi nti kubanga tetuli ba kkanisa yo tukimanyi nti tolina buyinza ku ffe; era wawaddeyo entebe ey’obulamuzi eri Nefayika; n’olwekyo si ggwe ssabalamuzi gye tuli.

13 Kaakano abantu bwe baali nga boogedde bino, era nga bawakanyizza ebigambo bye byonna, era ne bamuvuma, era ne bamuwandulira amalusu, era ne balagira agobebwe okuva mu kibuga kyabwe, n’avaayo mu kifo ekyo era n’akwata olugendo lwe n’ayolekera ekibuga ekyali kiyitibwa Alooni.

14 Era olwatuuka bwe yali ng’atambulira eyo, ng’azitoowereddwa n’ennaku, ng’awaguza okuyita mu kubonaabona okungi era n’okulumwa ennyo okw’omwoyo, olw’obubi bw’abantu abaali mu kibuga Amonayika, olwatuuka Aluma bwe yali ng’azitoowereddwa ennaku, laba malayika wa Mukama n’alabika gy’ali, ng’agamba nti:

15 Oweereddwa omukisa, Aluma; n’olwekyo, yimusa omutwe gwo era ojaganye, kubanga olina ensonga enkulu okujaganya; kubanga obadde mwesigwa mu kukuuma ebiragiro bya Katonda okuva mu kiseera ekyo kye wafuniramu obubaka bwo obwasooka okuva gy’ali. Laba, nze wuuyo eyabwogera gy’oli.

16 Era laba, ntumiddwa okukulagira oddeyo mu kibuga eky’e Amonayika, era oddemu obuulire nate eri abantu b’ekibuga; weewaawo, babuulire. Weewaawo, bagambe nti, okuggyako nga beenenyezza Mukama Katonda ajja kubazikiriza.

17 Kubanga laba, bali ku kawefube mu kiseera kino basobole okusaanyaawo eddembe ly’abantu bo, (kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama) ekikontana n’amateeka, era n’ennamula, era n’ebiragiro by’awadde eri abantu be.

18 Kaakano olwatuuka oluvannyuma nga Aluma amaze okufuna obubaka bwe okuva eri malayika wa Mukama, amangu ddala y’addayo mu nsi ey’e Amonayika. Era n’ayingira ekibuga nga ayita mu kubbo eddala, weewaawo, mu kkubo eriri ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo obw’ekibuga eky’e Amonayika.

19 Era bwe yali ng’ayingira ekibuga yali muyala, era n’agamba omusajja nti: On’awa omuweereza wa Katonda omuwombeefu ku ky’okulya?

20 Era omusajja n’amugamba nti: Nze ndi Muneefi, era mmanyi nti oli nnabbi omutuukirivu owa Katonda, kubanga ye ggwe omusajja malayika gwe yayogeddeko mu kwolesebwa: Ojja kusembeza. N’olwekyo, genda nange mu nnyumba yange era nja kukuwa ku mmere yange; era nkimanyi nti ojja kuba omukisa gye ndi era n’ennyumba yange.

21 Era olwatuuka omusajja n’amusembeza mu nnyumba ye; era omusajja yali ayitibwa Amuleki; era n’aleeta omugaati n’ennyama era n’abiteeka mu maaso ga Aluma.

22 Era olwatuuka Aluma n’alya omugaati era n’akutta; era n’awa Amuleki n’ennyumba ye omukisa, era neyebaza Katonda.

23 Era bwe yamala okulya n’akutta n’agamba Amuleki nti: Nze Aluma, era nze kabona ow’oku ntikko eri ekkanisa ya Katonda mu nsi yonna.

24 Era laba, mpitiddwa okubuulira ekigambo kya Katonda mu bantu bano bonna, okusinziira ku mwoyo ogw’okubikkulirwa n’obunnabbi; era nnali mu nsi eno era ne batasobola kunzikiriza, naye ne bangoba era mbadde nnaatera okusegulira ekibuga kino emirembe gyonna.

25 Naye laba, ndagiddwa okukyusa nate era mpe obunnabbi eri abantu bano, weewaawo, era n’okuwa obujulizi ku bo ku bikwata ku bubi bwabwe.

26 Era kaakano, Amuleki, kubanga ompadde eky’okulya era onnyanirizza, oweereddwa omukisa; kubanga nnali muyala, kubanga mbadde nsiibye ennaku nnyingi.

27 Era Aluma yabeerawo okumala ennaku nnyingi ne Amuleki nga tannatandika kubuulira eri abantu.

28 Era olwatuuka abantu beyongerera ddala mu bubi bwabwe.

29 Era ekigambo kyajja eri Aluma, nga kigamba nti: Genda; era nate oyogere eri omuweereza wange Amuleki, genda owe obunnabbi eri abantu bano, nga ogamba nti; Mwenenye mmwe, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, okuggyako nga mwenenyezza nja kukyalira abantu bano mu busungu bwange; weewaawo, era sijja kukomya busungu bwange obw’amaanyi.

30 Era Aluma n’agenda, era ne Amuleki, mu bantu, okulangirira ebigambo bya Katonda gye bali; era baali bajjudde Omwoyo Omutukuvu.

31 Era baali balina obuyinza obwabaweebwa, mu ngeri nti baali tebasobola kusibibwa mu makomera; so kyali tekisoboka nti omuntu yenna ayinza okubatta; wadde nga kyali kityo tebaakozesa maanyi gaabwe okutuusa nga basibibwa emiguwa era ne basuulibwa mu kkomera. Kaakano, kino kyakolebwa Mukama asobole okulaga amaanyi ge mu bo.

32 Era olwatuuka ne bagenda ne batandika okubuulira era n’okuwa obunnabbi eri abantu, okusinziira ku mwoyo era n’amaanyi Mukama bye yali abawadde.