Scriptures
Aluma 19


Essuula 19

Lamoni afuna ekitangaala eky’obulamu obutaggwaawo era alaba omununuzi; Ab’enju ye bawuniikirira, era bangi balaba bamalayika; Amoni akuumibwa mu ngeri ey’ekyamagero; Abatiza bangi era n’atandikawo ekkanisa mu bo. Nga mu mwaka gwa 90 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku bbiri n’ebiro bibiri baali banaatera okutwala omubiri gwe bagugalamize mu ntaana, gye baali bakoze olw’ekigendererwa eky’okuziika abafu baabwe.

Kaakano nnabagereka olw’okuba yawulirako ku ttutumu lya Amoni, n’olwekyo yatumya ng’ayagala ajje munda gye yali.

Era olwatuuka Amoni yakola nga bwe yali alagiddwa, era n’ayingira eri nnabagereka, era n’ayagala okumanya kye yali amwagaza okukola.

Era n’amugamba nti: Abaweereza ba baze bammanyisizza nti ggwe oli nnabbi wa Katonda Omutukuvu, era nti olina amaanyi okukola emirimu mingi egy’amaanyi mu linnya lye;

N’olwekyo, bwe kiba bwe kityo, nandyagadde oyingire munda olabe baze, kubanga agalamiziddwa ku kitanda kye okumala akabanga ka nnaku bbiri n’ebiro bibiri; era abamu bagamba nti si mufu, naye abalala bagamba nti mufu era awunya, era nti alina okuteekebwa mu ntaana; naye ku lwange, gye ndi tawunya.

Kaakano, kino Amoni kye yali ayagala, kubanga yakimanya nti kabaka Lamoni yali wansi w’amaanyi ga Katonda; yakimanya nti eggigi eriddugavu ery’obutakkiriza lyali liggibwawo mu ndowooza ye, era ekitangaala ekyamulisa endowooza ye; nga kye kyali ekitangaala eky’ekitiibwa kya Katonda; ekyali ekitangaala ekirungi eky’obulungi bwe; weewaawo, ekitangaala kino kyali kitadde essanyu nga eryo mu mwoyo gwe, ekire eky’ekizikiza nga kiggiddwawo, era ekitangaala eky’obulamu obutaggwaawo nga kikoleezeddwa mu mwoyo gwe, weewaawo, yakimanya nti kino kyali kiwangudde omubiri gwe ogw’obutonde, era nga atwaliddwa mu Katonda.

N’olwekyo, nnabagereka kye yali ayagala okuva gyali kye kyokka naye kye yali ayagala. N’olwekyo, yayingira okulaba kabaka nga nnabagereka bwe yali ayagala akole; era n’alaba kabaka, era yakimanya nti teyali mufu.

Era n’agamba nnabagereka: Si mufu, naye yeebakidde mu Katonda, era enkeera ajja kugolokoka nate; n’olwekyo temumuziika.

Era Amoni n’amugamba Okkiriza kino? Era n’amugamba nti: Sibadde na bujulizi bwonna okuggyako kigambo kyo, n’ekigambo ky’abaweereza baffe; wadde nga kiri kityo nzikiriza nti kijja kuba nga bwoyogedde.

10 Era Amoni n’amugamba nti: Oweereddwa omukisa olw’okukkiriza kwo okusukkulumu; Nkugamba nti, nnyabo, tewannabaawo kukkiriza kwa maanyi bwe kutyo mu bantu bonna ab’Abaneefi.

11 Era olwatuuka y’alindirira ku mabbali g’ekitanda kya bba, okuva akaseera ako n’okutuuka ekiseera ekyo enkeera Amoni kye yali awadde mwe yalina okugolokokera.

12 Era olwatuuka y’agolokoka, ng’ebigambo bya Amoni bwe byali; era bwe yasituka, y’agolola omukono gwe eri omukazi, n’agamba: Lyebazibwenga erinnya lya Katonda, era oweereddwa omukisa.

13 Kubanga amazima ddala nga bwoli omulamu, laba, ndabye Omununuzi wange; era alijja, era alizaalibwa omukazi, era alinunula abantu bonna abakkiririza mu linnya lye. Kaakano, nga ayogedde ebigambo bino, omutima gwe gwali gugezze munda mu ye, era n’addamu okuzirika olw’essanyu; era nnabagereka naye n’azirika, olw’okujjuzibwa Omwoyo.

14 Kaakano Amoni bwe yalaba Omwoyo wa Mukama nga ayiibwa ku Balamani okusinziira ku ssaala ze, baganda be, abaali baviiriddeko okukungubaga ennyo mu Baneefi, oba mu bantu bonna aba Katonda olw’obutali butuukirivu bwabwe n’obulombolombo bwabwe, yakkakkana ku maviivi ge, n’atandika okuyiwa emmeeme ye mu kusaba n’okwebaza eri Katonda olw’ebyo bye yali akoledde baganda be; era naye yajjula essanyu ery’ensusso; era bwe batyo bonna abasatu baali bagudde ku ttaka.

15 Kaakano, abaweereza ba kabaka bwe baalaba nga bagudde, nabo ne batandika okuwanjagira Katonda, kubanga okutya Mukama kwali kubatuuseeko nabo, kubanga be baabo abaali bayimiridde mu maaso ga kabaka ne bamuwa obujulizi ku maanyi ga Amoni amangi.

16 Era olwatuuka bakowoola erinnya lya Mukama, mu maanyi gaabwe, ddala okutuusa nga bonna bagudde ku ttaka, okuggyako omukazi omu Omulamani, erinnya lye eyali Abisi, olw’okuba nga yali yakyusibwa dda eri Mukama okumala emyaka mingi, olw’ennyinyonnyolwa ey’okwolesebwa okw’ekitalo okwa kitaawe;

17 Bw’atyo, olw’okuba yali yakyusibwa okudda eri Mukama, era n’akisirikira, n’olwekyo, bwe yalaba nga abaweereza ba Lamoni bonna nga bagudde ku ttaka, era ne mukama we, nnabagereka, era ne kabaka, era ne Amoni nga yeeyaze ku ttaka, yakimanya nti gaali maanyi ga Katonda; era yakozesa omukisa ogwo, amanyise eri abantu ebyali bituusewo mu bo, nti bwe balaba kino ekibaddewo kyandibaviirako okukkiririza mu maanyi ga Katonda, n’olwekyo yadduka okuva nju ku nju, nga akimanyisa eri abantu.

18 Era ne batandika okwekuŋŋaanyiza wamu ku nnyumba ya kabaka. Era ne bajja enkuyanja, era ekyabewuunyisa, baalaba kabaka, era ne nnabagereka, era n’abaweereza baabwe nga beeyaze ku ttaka, era bonna nga bagalamidde awo nga kyenkana balinga abafudde; era ate bwe beetegereza Amoni, era laba, yali Muneefi.

19 Era kaakano abantu baatandika okwemulugunya mu bo bennyini; abamu nga bagamba nti kyali kibi ekinene ekyali kibatuuseeko, oba eri kabaka n’ab’enju ye, kubanga yali akkirizza Omuneefi okusigala mu nsi.

20 Naye abalala ne babanenya, nga bagamba: Kabaka yaleese ekibi kino ku b’enju ye, kubanga yatta abaweereza be abaalina ebisibo byabwe ebyasaasanyizibwa ku mazzi ga Sebusi.

21 Era ate ne banenyezebwa abasajja abo abayimiriranga ku mazzi ga Sebusi ne basaasaanya ebisibo ebyali ebya kabaka, kubanga baali banyiivu eri Amoni olw’omuwendo gwe yali asse ogwa baganda baabwe ku mazzi ga Sebusi, nga alwanirira ebisibo bya kabaka.

22 Kaakano, omu ku bo, muganda we eyattibwa n’ekitala kya Amoni, nga munyiivu byansusso eri Amoni, yasowolayo ekitala kye n’agenda asobole okukitemesa Amoni, okumutta; era bwe yayimusa ekitala okumutta, laba, n’agwa n’afa.

23 Kaakano tulaba nga Amoni yali tasobola kuttibwa, kubanga Mukama yali agambye Mosiya, kitaawe nti: Nja kumutaliza, era bwe kiribeera eri ye okusinziira ku kukkiriza kwo; n’olwekyo, Mosiya yamukwasa Mukama.

24 Era olwatuuka enkuyanja y’abantu bwe yalaba ng’omusajja yali agudde n’afa, oyo eyayimusa ekitala okutta Amoni, okutya kwajja ku bonna, era tebagezaako wadde okugolola emikono gyabwe okumukwatako oba omu ku abo abaali bagudde; era ne batandika okwewuunya nate mu bo bennyini ekiyinza okuba nga kye kivuddeko amaanyi gano amangi, oba ebintu bino byonna kye biyinza okutegeeza.

25 Era olwatuuka mwalimu bangi mu bo abaagamba nti Amoni ye yali Omwoyo ogw’Amaanyi, era n’abalala baagamba nti yatumibwa Omwoyo ogw’Amaanyi;

26 Naye abalala ne babanenya bonna, nga bagamba nti yali kikekenke, eyali asindikiddwa, okuva mu Baneefi okubabonyaabonya.

27 Era waliwo abamu abaagamba nti Amoni yatumibwa Omwoyo ogw’Amaanyi okubabonyaabonya olw’obubi bwabwe; era nti yali Omwoyo ogw’Amaanyi ogw’akuumanga bulijjo Abaneefi, ogwa banunulanga olubeerera okuva mu mikono gyabwe era baagamba nti Omwoyo guno ogw’Amaanyi gwe gwali gusaanyizzaawo baganda baabwe abangi ennyo, Abalamani.

28 Era bwe kutyo okukaayana bwe kwatandika okubeera okw’amaanyi ennyo mu bo. Era bwe baali bwe batyo nga bakaayana, omuweereza omukazi eyaviirako enkuyanja y’abantu okukuŋŋaanyizibwa awamu yajja, era bwe yalaba okukaayana okwali mu nkuyanja y’abantu yali mwennyamivu nnyo, n’atuuka n’okuyiwa amaziga.

29 Era olwatuuka n’agenda n’akwata nnabagereka ku mukono, nti oba oli awo asobole okumusitula okuva ku ttaka; era amangu ddala nga yaakamukwata ku mukono gwe n’asituka n’ayimirira ku bigere bye, era n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, ng’agamba nti: Ayi Yesu omulungi, antaasizza okuva mu ggeyeena ey’entiisa! Ayi Katonda omulungi, saasira abantu bano!

30 Era bwe yamala okwogera bino, n’anyweza ebibatu bye, ng’ajjudde essanyu, ng’ayogera ebigambo bingi ebitaategeerekeka; era bwe yamala okukola kino, n’akwata kabaka, Lamoni, ku mukono, era laba n’asituka n’ayimirira ku bigere bye.

31 Era ye, amangu ago, ng’alabye okukaayana mu bantu be, yagenda mu maaso era n’atandika okubanenya, era n’okubayigiriza ebigambo bye yali awulidde okuva mu kamwa ka Amoni; era bonna nga bwe baawulira ebigambo bye bakkiriza, era ne bakyusibwa okudda eri Mukama.

32 Naye mu bo mwalimu bangi abataawuliriza bigambo bye; n’olwekyo beetambulira ne bavaawo.

33 Era olwatuuka Amoni bwe yasituka era naye y’aweereza gye bali, ate era n’abaweereza ba Lamoni bonna bwe baakola; era bonna ne balangirira eri abantu ekintu kye kimu; nti emitima gyabwe gyali gikyusiddwa; nti baali tebakyalina kirowoozo kuddamu kukola kibi.

34 Era laba, bangi baalangirira eri abantu nti baali balabye bamalayika era nga banyumizza nabo; era bwe batyo baali bababuulidde ebintu bya Katonda, n’obutuukirivu bwe.

35 Era olwatuuka waaliwo bangi abakkiririza mu bigambo byabwe; era bonna nga bwe bakkiriza babatizibwa; era ne bafuuka abantu abatuukirivu, era ne batandikawo ekkanisa mu bo.

36 Era bwe gutyo omulimu gwa Mukama bwe gwatandika mu Balamani; bw’atyo Mukama yatandika okuyiwa Omwoyo gwe ku bo; era tulaba nga omukono gwe gugoloddwa eri abantu bonna abalyenenya era ne bakkiririza mu linnya lye.