Scriptures
Aluma 32


Essuula 32

Aluma ayigiriza abaavu abaali bakkakanyiziddwa ebibonoobono byabwe; okukkiriza lye ssuubi mu ekyo ekitalabika nga eky’amazima; Aluma awa obujulizi nti bamalayika baweereza eri abasajja, abakazi, n’abaana; Aluma ageraageranya ekigambo ku nsigo; Eteekwa okusimbibwa n’okugabirirwa; Awo n’ekula okufuuka omuti ebibala eby’obulamu obutaggwawo kwe binogebwa. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka ne bagenda, era ne batandika okubuulira ekigambo kya Katonda eri abantu, nga bayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne mu mayumba gaabwe; weewaawo, era ddala baabuulira ekigambo ne ku nguudo zaabwe.

Era olwatuuka oluvannyuma lw’okukola ennyo mu bo, baatandika okufuna obuwanguzi mu lubu lw’abantu abaavu; kubanga laba, bagobebwanga okuva mu makuŋŋaaniro olw’engoye zaabwe embi;

N’olwekyo tebakkirizibwanga kuyingira mu makuŋŋaaniro gaabwe okusinza Katonda, nga baboolebwa olw’okutwalibwa ng’abagwagwa; n’olwekyo baali baavu; weewaawo, batwalibwa baganda baabwe nga abatalina mugaso; n’olwekyo baali baavu mu bintu eby’ensi; era baali baavu mu mutima.

Kaakano, Aluma bwe yali ng’ayigiriza era n’okwogera eri abantu ku lusozi Onida, ne wajjawo enkuyanja y’abantu gy’ali, nga bebo be tubadde twogerako, abaali abaavu mu mutima, olw’obwavu bwabwe mu bintu eby’ensi.

Era bajja eri Aluma; era oyo eyali akulembedde mu bo n’amugamba: Laba, baganda bange bano banaakola batya, kubanga banyoomebwa abantu bonna olw’obwavu bwabwe, weewaawo, n’okusingira ddala bakabona baffe; kubanga batugobye mu makuŋŋaaniro gaffe ge tufubye ennyo okuzimba n’emikono gyaffe; era bagatugobyemu olw’obwavu bwaffe obusukkiridde; era tetulina kifo we tusinziza Katonda waffe; era laba, tunaakola tutya?

Era kaakano Aluma bwe yawulira bino, n’amukyukira, amaaso ge amangu ago ne gamutunuulira, era n’alaba n’essanyu lingi; kubanga yalaba ng’okubonyaabonyezebwa kwabwe kwali kubakkakkanyirizza ddala, era nga baali beteefuteefu okuwulira ekigambo.

N’olwekyo teyaddamu nate kwogera kintu kirala kyonna eri enkuyanja y’abantu endala; naye yagolola omukono gwe, n’ayogera eri abo beyalaba, abaali baboneredde ddala, era n’abagamba:

Ndaba nga mwetowazza mu mutima; era bwe kiba bwe kityo, muweereddwa omukisa.

Laba muganda wammwe agambye nti, tunakola tutya? kubanga tugobeddwa mu makuŋŋaaniro gaffe, nti tetukyayinza kusinza Katonda waffe.

10 Laba mbagamba, mulowooza nti temuyinza kusinza Katonda okuggyako mu makuŋŋaaniro gammwe gokka?

11 Era n’ekirala, nnandibuuzizza, mulowooza nti mulina kusinza Katonda omulundi gumu gwokka mu ssabbiiti?

12 Mbagamba nti, kirungi nti mugobeddwa mu makuŋŋaaniro gammwe, mulyoke mwetoowaze, era mulyoke muyige amagezi; kubanga kyetaagisa muyige amagezi; kubanga olw’okuba mugobeddwa, ne munyoomebwa baganda bammwe olw’obwavu bwammwe obususse, nti muleeteddwa mu bwetoowaze obw’omutima; kubanga kibadde kyetaagisa mmwe okuleetebwa okubeera abetoowaze.

13 Era kaakano, kubanga muwaliriziddwa okuba abetoowaze muweereddwa omukisa; kubanga omuntu oluusi, singa awalirizibwa okubeera omwetoowaze, agezaako okwenenya; era kaakano amazima ddala, buli yenna ayenenya anaafuna okusaasirwa; era oyo afuna okusaasirwa era n’anyiikira okutuuka ku nkomerero y’omu alirokolebwa.

14 Era kaakano, nga bwe nnagambye, olw’okuba mwawalirizibwa okuba abetoowaze mwaweebwa omukisa, temulowooza nti ba mukisa okusingawo abeetoowaliza ddala olw’ekigambo?

15 Weewaawo, oyo eyeetoowaliza ddala, era ne yeenenya ebibi bye, era n’anyiikira okutuuka ku nkomerero, yomu aliweebwa omukisa; weewaawo, aliba wa mukisa nnyo n’okusinga abo abawalirizibwa okuba abetoowaze olw’obwavu bwabwe obusukkiridde.

16 N’olwekyo, baweereddwa omukisa abo abeetoowaza nga tebawaliriziddwa kwetoowaza; oba kale, mu ngeri endala, wa mukisa oyo akkiririza mu kigambo kya Katonda, era n’abatizibwa awatali bukakanyavu bwa mutima, weewaawo, awatali kuleetebwa kumanya kigambo, oba wadde okuwalirizibwa okumanya, nga tebannakkiriza.

17 Weewaawo, waliwo bangi abagamba nti: Singa onaatulaga akabonero okuva mu ggulu, olwo tujja kumanya obukakkafu; olwo tukkirize.

18 Kaakano mbuuza, kuno kukkiriza? Laba, mbagamba nti, nedda; kubanga omuntu singa abeera amanyi ekintu aba talina nsonga lwaki akkiriza, kubanga abeera akimanyi.

19 Era kaakano, akolimiddwa kyenkana ki oyo amanya okwagala kwa Katonda era n’atakukola, okusinga oyo akkiriza obukkiriza, oba alina obubeezi ensonga okukkiriza, era n’agwa mu kusobya?

20 Kaakano ku kintu kino mulina okusalawo. Laba, mbagamba nti, kiri ku mukono ogumu nga bwe kiri ne ku mulala; era bwe kiribeera eri buli muntu yenna okusinziira ku bikolwa bye.

21 Era kaakano nga bwe nnagambye ku bikwata ku kukkiriza; okukkiriza si kwe kuba n’okumanya okutuukiridde ku bintu; n’olwekyo singa muba n’okukkiriza muba musuubira ebintu ebitalabika, nga bya mazima.

22 Era kaakano, laba, mbagamba, era nandyagadde mujjukire, nti Katonda musaasizi eri bonna abakkiriza mu linnya lye; n’olwekyo yegomba, okusookera ddala, mulina okukkiriza, weewaawo, ddala eri ekigambo kye.

23 Era kaakano, amanyisa ekigambo kye okuyita mu bamalayika eri abasajja, weewaawo, si basajja bokka wabula ate n’abakazi. Kaakano kino si kye kyokka; abaana abato balina ebigambo ebibaweereddwa emirundi mingi, ebitabulatabula abagezigezi n’abayivu.

24 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, nga bwe mwagadde okumanya okuva gye ndi kiki kye mulina okukola kubanga mubonyeebonye era mugobeddwa; kaakano ssaagala mulowooze nti njagala kubasalira musango wabula nsinziira ku ekyo kyokka eky’amazima;

25 Kubanga sitegeeza nti mmwe mwenna mubadde muwalirizibwa okwetoowaza; kubanga nzikkiririza ddala nti waliwo abamu mu mmwe abasobola okwetoowaza, ka babeere nga bali mu mbeera etya.

26 Kaakano, nga bwe nnagambye ku bikwata ku kukkiriza; nti tekwali kumanya okutuukiridde; ddala bwe kiri ne ku bigambo byange. Temusobola kumanya bukakafu bwabyo mu kusooka, mu ngeri etuukiridde, nga era n’okukkiriza bwe kutali kumanya okutuukiridde.

27 Naye laba, bwe munaazuukuka era ne mukozesa obusobozi bwammwe, ddala eri okugezesa ebigambo byange, ne mukozesa akatundu ak’okukkiriza, weewaawo, ne bwe kiba nga kye mulina okukola kwe kwagala okuba n’okukkiriza, kale muleke okwagala kuno kukole mu mmwe, ddala okutuusa nga mukkiriza mu ngeri nti musobola okuwa ekitundu ky’ebigambo byange ekifo.

28 Kaakano, ekigambo tujja kukigeraageranya ku nsigo. Kaakano, singa muwaayo ekifo, olwo ensigo esobole okusimbibwa mu mitima gyammwe, laba, bw’enebeera ensigo entuufu, oba ensigo ennungi, singa temugisuula n’eva mu mmwe olw’obutakkiriza bwammwe, nti munaaziyiza Omwoyo wa Mukama, laba, ejja kutandika okugejja munda mu mitima gyammwe; era bwe munaawulira okugejja kuno, mujja kutandika okugamba munda mu mmwe nti; kiteekwa okuba nga eno nsigo nnungi, oba nti ekigambo kirungi, kubanga kitandise okugaziya emmeeme yange; weewaawo, kitandise okutangaaza entegeera yange, weewaawo, kitandise okunsanyusa.

29 Kaakano laba, kino tekiyinza kwongera okukkiriza kwammwe? Mbagamba nti weewaawo; Wabula tekikuze kutuuka ku kumanya okutuukiridde.

30 Naye laba, nga ensigo bwegejja, n’emeruka, era n’etandika okukula, olwo mwandyetaaga okugamba nti ensigo nnungi; kubanga labaegejja, era n’emeruka, era n’etandika okukula. Era kaakano, laba, kino tekiinyweze okukkiriza kwammwe? Weewaawo, kijja kunyweza okukkiriza kwammwe: kubanga mujja kugamba nti nkimanyi nti eno nsigo nnungi; kubanga laba emeruse era n’etandika okukula.

31 Era kaakano, laba, mukakasa nti eno nsigo nnungi? Mbagamba nti, weewaawo; kubanga buli nsigo ebala okusinziira ku ekyo ekigifaanana.

32 N’olwekyo, singa ensigo ekula eba nnungi, naye singa tekula, laba si nnungi, n’olwekyo esuulibwa.

33 Era kaakano, laba, kubanga mugezezzaako okugezesa, era ne musimba ensigo, era n’egejja, n’emeruka, n’etandika okukula, muteekwa okumanya nti ensigo nnungi.

34 Era kaakano, laba, okumanya kwammwe kutuukiridde? Weewaawo, okumanya kwammwe kutuukiridde mu kintu ekyo, era okukkiriza kwammwe tekukola; Era kino kubanga mumanyi, kubanga mumanyi nti ekigambo kigezzezza emyoyo gyammwe, era nammwe mumanyi nti kimeze, nti okutegeera kwammwe kutandika okutangaazibwa, era endowooza yammwe etandika okugaziwa.

35 Kale nno, kino si kituufu ? Mbagamba, weewaawo, kubanga kitangaala; Era ekyo kyonna nga kitangaala, kibeera kirungi, kubanga kibeera kitegeerekeka, n’olwekyo muteekwa okumanya nti kirungi; era kaakano laba, oluvannyuma nga mugezesezza ekitangaala kino okumanya kwammwe kutuukiridde?

36 Laba mbagamba nti, nedda; so temulina kuteeka bbali kukkiriza kwammwe, kubanga mukozesezza kukkiriza kwammwe kwokka okusimba ensigo olwo musobole okugezaako okugezesa okumanya oba ensigo yali nnungi.

37 Era laba,nga omuti bwe gutandika okukula, mujja kugamba nti: Katugugabirire n’okugufaako ennyo, gusobole okufuna emirandira, gusobole okukula, era gutubalire ebibala. Era kaakano laba, bwe munagugabirira n’okufaayo okungi ennyo gujja kuleeta emirandira, era gukule, era gubale ebibala.

38 Naye singa mugayaalirira omuti, era ne mutalowooza ku ngabirirwa yaagwo, laba tegujja kuleeta mulandira gwonna; era omusana bwe gunajja negugwokya, kubanga bwe guba nga tegulina mulandira guwotoka, era mugukuulayo ne mugusuula.

39 Kaakano, kino si lwa kuba nga ensigo teyali nnungi, era si lwa kuba nti ekibala kyagwo tekyandibadde kiwoomu; naye lwa kuba nti ettaka lyammwe si ggimu, era temwagabirira muti, n’olwekyo temusobola kufuna bibala byagwo.

40 Era bwe kityo, singa temugabirire kigambo, nga mulindirira n’eriiso ery’okukkiriza eri ebibala byagwo, temulinoga bibala bya muti gwa bulamu.

41 Naye singa munaagabirira ekigambo, weewaawo, ne mugabirira omuti nga gutandiikiriza okukula, olw’okukkiriza kwammwe n’obunyiikivu obungi era n’obugumiikiriza, nga mwesunga ebibala byagwo, gujja kusimba emirandira; era laba gulibeera omuti ogw’ensulo ez’obulamu obutaggwaawo.

42 Era olw’obunyiikivu bwammwe n’okukkiriza kwammwe n’obugumiikiriza bwammwe eri ekigambo mu kukigabirira, kisobole okusimba emirandira mu mmwe, laba, ekiseera nga kiyise mulinoga ebibala byakyo, ebisinga okuba eby’omuwendo, ebiwooma okusinga ekyo kyonna ekiwooma, era ebyeru okusinga ekyo kyonna ekyeru, weewaawo, era ebirongoofu okusinga ekyo kyonna ekirongoofu; Era mulirya ku bibala bino ddala okutuusa nga mukusse, olwo muleme okulumwa enjala, wadde ennyonta.

43 Olwo, baganda bange, mulikungula empeera ez’okukkiriza kwammwe, era n’obunyiikivu bwammwe, era n’obugumiikiriza, era n’okugumiikiriza okugundiivu, nga mulindirira omuti okubala ebibala gye muli.