Scriptures
Aluma 38


Ebiragiro bya Aluma eri mutabani we Sibulooni.

Mulimu essuula 38.

Essuula 38

Sibulooni yayigganyizibwa olw’obutuukirivu; Obulokozi buli mu Kristo, nga ye bulamu n’ekitangaala eky’ensi; Fuga okwegomba kwo kwonna. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.

Mutabani wange, tega okutu eri ebigambo byange, kubanga nkugamba nti, ddala nga bwe nnagamba Keramani, nti kasita onaakuumanga ebiragiro bya Katonda ojja kukulaakulana mu nsi; era bw’otakuumenga biragiro bya Katonda oliboolebwa okuva mu maaso ge.

Era kaakano, mutabani wange, nkakasa nti nja kuba n’essanyu lingi mu ggwe, olw’obunywevu bwo n’obwesigwa mu Katonda; kubanga nga bw’otandikidde mu buvubuka bwo okutunuulira Mukama Katonda wo, ddala bwe ntyo bwe nsuubira nti ojja kweyongera okukuuma ebiragiro bye; kubanga wa mukisa oyo anyiikira okutuuka ku nkomerero.

Nkugamba, mutabani wange, nti nnafuna dda essanyu lingi mu ggwe, olw’obwesigwa bwo n’obunyiikivu bwo, n’obugumiikiriza bwo obugundiivu mu bantu b’Abazolamu.

Kubanga mmanyi nga wali mu busibe; weewaawo, era ate mmanyi nti wakubibwa amayinja olw’ekigambo; era ebintu bino byonna wabiyitamu n’obugumiikiriza kubanga Mukama yali naawe; era kaakano omanyi nti Mukama yeyakuwonya.

Era kaakano mutabani wange, Sibulooni, nandyagadde ojjukire, nti bw’onateeka obwesige bwo mu Katonda ddala bw’otyo olinunulibwa okuva mu kugezesebwa kwo, era n’okutawanyizibwa kwo, era n’okubonaabona kwo, era oliyimusibwa ku lunaku olw’enkomerero.

Kaakano, mutabani wange, saalyagadde olowooze nti ebintu bino mbimanyi ku lwange, naye Omwoyo wa Katonda ali mu nze y’ammanyisa ebintu bino; kubanga singa nnali sizaaliddwa Katonda sanditegedde bintu bino.

Naye laba, Mukama mu kusaasira kwe okungi yatuma malayika we okulangirira gye ndi nti nnina okukomya omulimu ogw’okuzikiriza mu bantu be; weewaawo, era ndabye malayika maaso ku maaso, era n’ayogera nange, era eddoboozi lye lyali nga okubwatuka, era lya kankanya ensi yonna.

Era olwatuuka nnamala ennaku ssatu n’ebiro bisatu mu bulumi obusinga okuba obw’amaanyi ennyo n’okunakuwala okw’omwoyo; era tewali lwe nnafuna okusonyiyibwa kw’ebibi byange, okutuusa lwe nnawajagira Mukama Yesu Kristo okusaasirwa. Naye laba, nnamuwanjagira era ne nfuna emirembe eri omwoyo gwange.

Era kaakano, mutabani wange, nkugambye kino osobole okuyiga amagezi, olwo olyoke oyigire ku nze nti tewali ngeri ndala oba kkubo omuntu mwayinza okulokolebwa, okuggyako mu Kristo yekka era n’okuyita mu ye. Laba, ye bulamu n’ekitangaala ky’ensi. Laba, ye kigambo eky’amazima n’obutuukirivu.

10 Era kaakano, nga bw’otandise okuyigiriza ekigambo era bwe ntyo ddala nandyagadde weyongere okuyigiriza; era nandyagadde obeere munyiikivu era omuteefu mu bintu byonna.

11 Laba nti tokulumbalidde mu malala; weewaawo, laba nti tewegulumiriza mu magezi go, wadde amaanyi go amangi.

12 Kozesanga obuvumu, naye si buwaze; era ate laba nti ofuga okwegomba kwo kwonna, osobole okujjuzibwa okwagala; laba nti wewala obugayaavu.

13 Tosaba ng’Abazolamu bwe bakola, kubanga olabye nti basaba okuwulirwa abantu, era batenderezebwe olw’amagezi gaabwe.

14 Togamba: Ayi Katonda, nkwebaza nti tusinga baganda baffe; wabula gamba nti: Ayi Mukama, sonyiwa obutasaanira bwange, era ojjukire baganda bange n’obusaasizi; weewaawo, kkiriza obutasaanira bwo mu maaso ga Katonda ebiseera byonna.

15 Era Mukama awe omwoyo gwo omukisa, era akwanirize ku lunaku olw’enkomerero mu bwakabaka bwe, okutuula wansi mu mirembe. Kaakano genda, mutabani wange, era oyigirize eri abantu bano ekigambo. Beera wa mazima. Mutabani wange, weeraba.