Enyinnyonnyolwa ey’okubuulira kwa Alooni, Muloki era ne baganda babwe, eri Abalamani.
Mulimu essuula 21 okutuuka ku 25.
Essuula 21
Alooni ayigiriza Abamaleki ku Kristo ne ku Mutango gwe; Alooni ne baganda be basibibwa mu Middoni; Oluvannyuma lw’okununulibwa kwabwe, bayigiriza mu makuŋŋaaniro era ne bakyusa bangi; Lamoni awa abantu mu nsi ya Isimayiri eddembe ery’okusoma eddiini. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano Amoni ne baganda be bwe beeyawulamu ku nsalo z’ensi y’Abalamani, laba Alooni yakwata olugendo lwe ng’ayolekera ensi Abalamani gye bayitanga, Yerusaalemi, nga yatuumibwa okusinziira ku buzaaliranwa bwa bakitaabwe; Era yali walako nga eyunga ku nsalo za Momoni.
2 Kaakano Abalamani n’Abamaleki era n’abantu b’omu Amulooni baali bazimbye ekibuga ekinene, ekyali kiyitibwa Yerusaalemi.
3 Kaakano Abalamani ku lwabwe baali bakakanyavu ekimala, naye Abamaleki n’Abamulooni baali basingawo obukalubo; n’olwekyo baaviirako Abalamani okuba nga bakakanyaza emitima gyabwe, ne beeyongera okunnyikira ennyo mu bubi n’ebikolobero byabwe.
4 Era olwatuuka Alooni n’ajja mu kibuga e Yerusaalemi, era yasooka kubuulira nga yatandika n’Abamaleki. Era yatandika okubabuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe, kubanga baali bazimbye amakuŋŋaaniro okusinziira ku kabondo k’Abanekooli; kubanga bangi ku Bamaleki n’Abamulooni baali bagoberera akabondo k’Abanekooli.
5 N’olwekyo, Alooni bwe yayingira mu limu ku makuŋŋaaniro gaabwe okubuulira eri abantu, era bwe yali ayogera gye bali, laba awo ne wasituka Omumalaki n’atandika okukaayana naye, ng’agamba nti: Biki ebyo byojulidde? Olabye malayika? Lwaki bamalayika ffe tebatulabikira? Laba abantu bano si balungi ng’abantu bo?
6 Ggwe nate ogamba nti, okuggyako nga twenenyeza tujja kuzikirira. Omanyi otya ekirowoozo n’ekigendererwa eky’emitima gyaffe? Omanyi otya nti tulina ensonga okwenenya? Omanyi otya nti tetuli bantu batuukirivu? Laba, tuzimbye ebifo ebitukuvu, era tukuŋŋaanira wamu okusinza Katonda. Tukkiriza nti Katonda ajja kulokola abantu bonna.
7 Kaakano Alooni n’amugamba: Okiriza nti Omwana wa Katonda alijja okununula abantu okuva mu bibi byabwe?
8 Era omusajja n’amugamba: Tetukkiriza nti olina kyomanyi ku kintu ekyo. Tetukkiririza mu bulombolombo buno obw’obusirusiru. Tetukkiriza nti omanyi ebintu ebirijja, era tetukkiriza nti bakitammwe era ne bakitaffe baali bamanyi ebikwata ku bintu bye boogera, ku ebyo ebirijja.
9 Kaakano Alooni yatandika okubabikkulira ebyawandiikibwa ebikwata ku kujja kwa Kristo, era ate n’ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, era nti tewayinza kubaayo kununulibwa kw’abantu okuggyako okuyita mu kufa n’okubonaabona kwa Kristo, era n’omutango ogw’omusaayi gwe.
10 Era olwatuuka bwe yatandika okunnyonnyola ebintu bino gye bali ne bamunyiigira, era ne batandika okumuŋŋoola; era ne batawuliriza bigambo bye yayogera.
11 N’olwekyo bwe yalaba nga tebawuliriza bigambo bye, n’ava mu kkuŋŋaaniro lyabwe, era n’ajja ku kyalo ekyayitibwanga Ani-Anti, era eyo gye yasanga Muloki nga abuulira ekigambo gye bali; era ate ne Amma ne baganda be. Era baali bakaayana n’abangi ku by’ekigambo.
12 Era olwatuuka ne balaba ng’abantu baali ba kukakanyaza mitima gyabwe, n’olwekyo ne bavaayo ne bajja mu nsi e Middoni. Era baabuulira ekigambo eri abangi, era batono abakkiriza ebigambo bye bayigiriza.
13 Wabula, Alooni era n’omuwendo ogw’abamu ku baganda be baatwalibwa ne basuulibwa mu kkomera, era abasigalawo ku bo ne badduka okuva mu nsi y’e Middoni ne bagenda mu bitundu ebyali byetooloddewo.
14 Era abo abasuulibwa mu kkomera babonyaabonyezebwa ebintu bingi, era baanunulibwa omukono gwa Lamoni ne Amoni, era baalisibwa n’okwambazibwa.
15 Era baddayo nate okulangirira ekigambo, era bwe batyo bwe baanunulibwa omulundi ogw’asooka okuva mu kkomera; era bwe batyo bwe baali babonyebonye.
16 Era bagendanga yonna gye baakulemberwanga Omwoyo wa Mukama, nga babuulira ekigambo kya Katonda mu buli kkuŋŋaaniro ly’Abamaleki, oba mu buli kibiina eky’Abalamani gye bakkirizibwanga.
17 Era olwatuuka Mukama n’atandika okubawa omukisa, mu ngeri nti baaletera bangi okumanya amazima; weewaawo, baamatiza bangi ku bibi byabwe, ne ku bulombolombo bwa bajjajjaabwe, obutaali butuufu.
18 Era olwatuuka Amoni ne Lamoni ne bakomawo okuva mu nsi y’e Middoni okudda mu nsi ya Isimayiri, nga ye yali ensi ey’obusika bwabwe.
19 Era kabaka Lamoni teyakkiriza Amoni kumuweereza oba okubeera omuweereza we.
20 Naye yalagira wabeewo amakuŋŋaaniro gazimbibwe mu nsi ya Isimayiri; era yalagira abantu be, oba abantu abaali wansi w’obufuzi bwe, okukuŋŋaanira wamu.
21 Era yabasanyukirako, era n’abayigiriza ebintu bingi. Era yalangirira gye bali nti baali bantu abaali wansi we, era nti baali bantu ba ddembe, nti baalina eddembe okuva eri okunyigirizibwa kwa kabaka, kitaawe; kubanga nti kitaawe yali amuwadde okufuga abantu abaali mu nsi ya Isimayiri, era mu nsi zonna okugyetooloola.
22 Era n’alangirira gye bali nti basobole okuba n’eddembe ery’okusinza Mukama Katonda waabwe nga bwe baagala, mu buli kifo kyonna kye baalimu, singa kiba nga kiri mu nsi eyali wansi w’obufuzi bwa kabaka Lamoni.
23 Era Amoni yabuulira abantu ba kabaka Lamoni; Era olwatuuka yabayigiriza ebintu byonna ebikwata ku bintu ebyekuusa ku butuukirivu. Era yabakubirizanga buli lunaku, n’obunyiikivu bwonna; era ne bassaayo omwoyo ku kigambo kye, era baali bayayaana okukuuma ebiragiro bya Katonda.