Essuula 28
Abalamani bawangulwa mu lutalo olw’amaanyi ennyo; Enkumi n’enkumi zittibwa; Ababi bateekebwa mu mbeera ey’obuyinike okutakoma; abatuukirivu bafuna essanyu eritakoma. Nga mu mwaka gwa 77–76 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka abantu ba Amoni bwe bamala okubukala mu nsi ya Yasoni, n’ekkanisa nayo okuteekebwawo mu nsi ya Yasoni, n’amagye g’Abaneefi nga gali bulindaala okwetooloola ensi ya Yasoni, weewaawo, mu nsalo zonna ezeetoolodde ensi ya Zalakemula; laba amagye g’Abalamani gaali gagoberedde baganda baabwe mu lukoola.
2 Era bwe kityo waabaawo olutalo sinziggu; weewaawo, ddala olumu nga olwo olutamanyibwangako mu bantu bonna mu nsi okuva mu kiseera Leki lwe yava e Yerusaalemi; weewaawo, era enkumi n’enkumi z’Abalamani battibwa ne basaasaanira ebweru w’ensi.
3 Weewaawo, era ate waaliwo okuttibwa okw’ekitalo mu bantu ba Neefi; wabula, Abalamani baagobebwa ne basaasaanyizibwa, era abantu ba Neefi ne bakomawo nate mu nsi yaabwe.
4 Era kaakano kino kye kyali ekiseera lwe waaliwo okwekubagiza n’okukungubaga okw’amaanyi okwawulirwa mu nsi yonna, mu bantu bonna aba Neefi;
5 Weewaawo, okukaaba kwa bannamwandu abakungubagira babbaabwe, era ate n’okwa ba taata abakungubagira batabani baabwe, era n’omwana ow’obuwala olwa mwannyina, weewaawo, mwannyina ku lwa kitaabwe; era bwe kityo omulanga ogw’okukungubaga gwawulirwa mu bo bonna, nga bakungubaga olw’ab’eŋŋanda zaabwe abaali battiddwa.
6 Era kaakano mazima ddala luno lwali lunaku lwa nnaku; weewaawo, ekiseera eky’okwefumiitiriza, era ekiseera eky’okusiiba ennyo n’okusaba.
7 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri bantu ba Neefi;
8 Era eno y’ennyinyonnyolwa ya Amoni ne baganda be, entambula zaabwe mu nsi ya Neefi, okubonaabona kwabwe mu nsi, ennaku yaabwe, era n’ebiboonobono byabwe, era n’essanyu lyabwe eritannyonnyolekeka, era n’ennyaniriza n’obukuumi bw’ab’oluganda mu nsi ya Yasoni. Era kaakano Mukama, Omununuzi w’abantu bonna, awe emyoyo gyabwe omukisa emirembe gyonna.
9 Era eno y’ennyinyonnyolwa y’entalo n’enkaayana masekkati g’Abaneefi, era ate n’entalo wakati w’Abaneefi n’Abalamani; era omwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi guweddeko.
10 Era okuva mu mwaka ogw’olubereberye okutuuka ku gw’ekkumi n’etaano wabaddewo okuzikirizibwa okw’obulamu bw’abantu enkumi n’enkumi; weewaawo, kireeseewo ekikolwa eky’entiisa eky’okuyiwa omusaayi.
11 Era emirambo egy’enkumi n’enkumi giteekeddwa wansi mu ttaka, ng’ate emirambo egy’enkumi n’enkumi givundira mu ntuumu ku lukalu lw’ensi; weewaawo, era enkumi n’enkumi zikungubaga olw’okufiirwa ab’eŋŋanda zaabwe, kubanga balina ensonga okutya, okusinziira ku bisuubizo bya Mukama, nti baweereddwayo mu mbeera ey’obuyinike obutakoma.
12 Nga enkumi n’enkumi z’abalala mu mazima bakungubaga olw’okufiirwa ab’eŋŋanda zaabwe, naye basanyuka era ne bajaganya olw’essuubi, era ddala bamanyi, okusinziira ku bisuubizo bya Mukama, nti bazuukizibwa okubeera ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, mu mbeera ey’essanyu eritakoma.
13 Era bwe tutyo tulaba obutafaanagana bw’omuntu bwe buli obw’amaanyi olw’ekibi n’okusobya, era n’amaanyi ga setaani, agajja olw’enteekateeka ez’obukuusa ze yayiiya okuteeka emitima gy’abantu mu katego.
14 Era bwe tutyo tulaba okukowoola okw’amaanyi okw’obunyiikivu bw’abantu okukola mu nnimiro ez’emizabbibu eza Mukama; era bwe tutyo tulaba ensonga ennene ey’ennaku, era n’okusanyuka; ennaku olw’okufa n’okuzikirizibwa mu bantu, era n’essanyu olw’ekitangaala kya Kristo eri obulamu.