Essuula 40
Kristo aleeta okuzuukira kw’abantu bonna; Abafu nga batuukirivu bagenda mu kifo eky’okwesiima ate ababi ne bagenda mu kizikiza ewala okulindirira olunaku lw’okuzuukira kwabwe; Ebintu byonna bijja kuzzibwa mu bibago byabyo ebituufu era ebituukiridde mu kuzuukira. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano mutabani wange, wano waliwo ekirala kye nnandikugambye nti; kubanga ntegeera nti endowooza yo si tebenkevu ku kyekuusa ku kuzuukira kw’abafu.
2 Laba, nkugamba, nti teri kuzuukira; oba, nnandigambye, mu ngeri endala, nti guno ogufa tekigugwanidde kwambala butafa, oguvunda guno tekigugwanidde kwambala butavunda; okutuusa Kristo lw’alijja.
3 Laba, atuusaawo okuzuukira kw’abafu. Naye laba mutabani wange, okuzuukira tekunnabaawo. Kaakano, nkubikkulira ekyama; kyokka, waliwo ebyekusifu bingi ebikuumiddwa, nga tewali abimanyi okuggyako Katonda yennyini. Naye nkulaga ekintu kimu kye nnabuuzizza Katonda n’obunyiikivu ndyoke nkitegeere; kye kikwata ku kuzuukira.
4 Laba, waliwo ekiseera ekyagerebwa bonna lwe baliva mu bafu. Kaakano ekiseera kino lwe kinaatuuka tewali n’omu amanyi; naye Katonda amanyi ekiseera ekyagerebwa.
5 Kaakano, oba walibaawo ekiseera kimu, oba omulundi ogw’okubiri, oba omulundi ogw’okusatu, abantu lwe baliva mu bafu, si kikulu; kubanga Katonda amanyi ebintu bino byonna; era kimala nze okumanya nti bwe kiri; nti waliwo ekiseera ekyagerebwa bonna lwe balizuukira mu bafu.
6 Kaakano wateekwa okubaawo ebbanga wakati w’ekiseera ky’okufa n’ekiseera eky’okuzuukira.
7 Era kaakano nnandibuuzizza kiki ekituuka ku myoyo gy’abantu okuva mu kiseera kino eky’okufa okutuuka mu kiseera eky’okuzuukira ekyagerebwa?
8 Kaakano oba waliwo ebiseera ebisukka mu kimu ebyagerebwa abantu okuzuukira si kikulu; kubanga bonna tebafa mulundi gumu, era kino si kikulu; byonna biringa olunaku olumu eri Katonda, era ebiseera bye bipimibwa eri bantu bokka.
9 N’olwekyo, waliwo ekiseera ekyagerebwa eri abantu lwe balizuukira mu bafu; era waliwo ebbanga wakati w’ekiseera eky’okufa n’okuzuukira. Era kaakano, ebikwata ku bbanga lino, ekituuka ku myoyo gy’abantu kye kintu kye nnabuuzizza n’obunyiikivu eri Mukama okumanya; era kino kye kintu kye mmanyi.
10 Era ekiseera bwe kinaatuuka bonna lwe balizuukira, olwo balimanya nti Katonda amanyi ebiseera byonna ebyagererwa omuntu.
11 Kaakano, ebikwata ku mbeera y’omwoyo wakati w’okufa n’okuzuukira; Laba, kintegeezeddwa malayika, nti emyoyo gy’abantu bonna, amangu ddala nga givudde mu mubiri guno ogufa, weewaawo, emyoyo gy’abantu bonna, ka gibeere emirungi oba emibi, gitwalibwa awaka eri Katonda oyo eyagiwa obulamu.
12 Era awo kinaatuuka, nti emyoyo gy’abo abatuukirivu gisembezebwa mu mbeera ey’essanyu, eyitibwa ekifo eky’okwesiima, embeera ey’okuwummula, embeera ey’emirembe, gye baliwummulira okuva mu bunaku bwabwe bwonna ne mu kweraliikirira kwonna, n’okunyoolwa.
13 Era olwo kinaatuuka, nti emyoyo gy’ababi, weewaawo, aboonoonyi; kubanga laba, tebalina kitundu wadde omugabo ku Mwoyo wa Mukama; kubanga laba, baalondawo ebikolwa ebibi okusinga ebirungi; n’olwekyo omwoyo gwa setaani gwayingira mu bo, ne gwefuga ennyumba yaabwe; era bano alibagoba badde mu kizikiza eky’ebweru; walibaawo okukaaba, n’okuwanjaga, n’okuluma obugigi, era kino olw’okwonoona kwabwe, nga batwalibwa mu buwambe olw’okwagala kwa setaani.
14 Kaakano eno y’embeera y’emyoyo gy’ababi, weewaawo, mu kizikiza, era embeera ey’ennyamiza, ey’entiisa nga balindirira obukambwe bw’ekibonerezo kya Katonda ku bo; bwe batyo basigala mu mbeera eno, ate era abatuukirivu mu kifo eky’okwesiima, okutuusa ekiseera eky’okuzuukira kwabwe.
15 Kaakano, waliwo abamu abategedde nti embeera eno ey’essanyu n’embeera eno ey’ennaku ey’omwoyo, nga okuzuukira tekunnabaawo, kwali kuzuukira okusooka. Weewaawo, nzikiriza nti kiyinza okuyitibwa okuzuukira, okuzuukizibwa kw’omwoyo oba emmeeme n’okusindikibwa kwabyo mu ssanyu oba ennaku, okusinziira ku bigambo ebyogeddwa.
16 Era laba, nate kyogeddwa, nti waliwo okuzuukira okusooka, okuzuukira kw’abo bonna abaaliwo, oba abaliwo, oba abagenda okubaawo, okutuuka ku kuzuukira kwa Kristo okuva mu bafu.
17 Kaakano, tetulowooza nti okuzuukira kuno okusooka, okwogerwako mu ngeri eno, kuyinza okuba okuzuukira kw’emyoyo n’okusindikibwa kwagyo mu ssanyu oba ennaku. Toyinza kulowooza nti kino kye kitegeeza.
18 Laba, mbagamba nti nedda; naye kitegeeza okutabagana okw’omwoyo n’omubiri, okw’abo okuva mu nnaku za Adamu okutuukira ddala ku kuzuukira kwa Kristo.
19 Kaakano, oba emyoyo n’emibiri gy’abo abogeddwako gyonna ginaddamu okutabagana omulundi gumu, ababi era n’abatuukirivu, sikyogera; leka ekyo kimale, nga ŋŋamba nti bonna bavaayo; oba mu ngeri endala, okuzuukira kwabwe kutuukawo nga tebannazuukira abo abafa oluvannyuma lw’okuzuukira kwa Kristo.
20 Kaakano, mutabani wange, sigamba nti okuzuukira kwabwe kunajja ku kuzuukira kwa Kristo; naye laba, nkiwa nga endowooza yange, nti emyoyo n’emibiri bitabagana, eby’abatuukirivu, ku kuzuukira kwa Kristo, n’okulinnya kwe mu ggulu.
21 Naye oba kibaawo ku kuzuukira kwe oba oluvannyuma, sikyogera; naye kino kye njogera, nti waliwo ebbanga wakati w’okufa n’okuzuukira kw’omubiri, era n’embeera ey’omwoyo mu ssanyu oba mu nnaku okutuusa ekiseera ekyagerebwa Katonda abafu lwe balivaayo, ne batabagana, omwoyo n’omubiri, era baleetebwe okuyimirira mu maaso ga Katonda, era balamulwe okusinziira ku bikolwa byabwe.
22 Weewaawo, kino kireeta okuzzibwawo kw’ebintu ebyo ebyayogerwako akamwa ka bannabbi.
23 Omwoyo gulizzibwa mu mubiri, era n’omubiri gulizzibwa eri omwoyo; weewaawo, era buli kitundu eky’omubiri n’enyingo biriddizibwa mu mubiri gwabyo; weewaawo, kalube oluviiri olw’oku mutwe telujja kubula; naye ebintu byonna birizzibwawo mu bibago byabyo ebituufu era ebituukiridde.
24 Era kaakano, mutabani wange, kuno kwe kuzzibwawo okwayogerwa akamwa ka bannabbi;
25 Era olwo abatuukirivu balyakayakana mu bwakabaka bwa Katonda.
26 Naye laba, okufa okw’entiisa kujja eri ababi; kubanga bafa okusinziira ku bintu ebyekuusa ku butuukirivu; kubanga si balongoofu, era tewali kintu ekitali kirongoofu kiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; naye baboolebwa, era ne baweebwayo okulya ku bibala eby’okutegana kwabwe oba emirimu gyabwe, ebibadde ebibi; era ne banywa ebikyikya eby’ekikompe eky’obukaawu.