Essuula 55
Moloni agaana okuwaanyisiganya abasibe; Abakuumi b’Abalamani basendebwasendebwa okutamiira, era abasibe Abaneefi bateebwa; Ekibuga kya Gidi kitwalibwa awatali kuyiwa musaayi. Nga mu mwaka gwa 63- 62 nga Krisito tannazaalibwa.
1 Kaakano olwatuuka Moloni olw’okufuna ebbaluwa eno yeyongera okusunguwala, kubanga yamanya nti Amolooni yali amanyi bulungi obulimba bwe; weewaawo, yamanya nti Amolooni yali akimanyi nti tewaali nsonga yabwesimbu yali emuletedde okuggula lutalo ku bantu ba Neefi.
2 Era n’agamba nti: Laba, sijja kuwaanyisiganya basibe na Amolooni okuggyako nga akyusiza ekigenderwa kye, nga bwe nnambise mu bbaluwa yange; kubanga sijja kumukkiriza kubeera na buyinza bulala businga obwo bwalina.
3 Laba, manyi ekifo Abalamani gye bakuumira abantu bange be batutte ng’abasibe; era nga Amolooni bwe yalemeddwa okumpa eby’ebbaluwa yange, laba, nja kumuwa okusinziira ku bigambo byange; weewaawo, nja kuleeta okufa mu bo okutuusa lwe baneesabira emirembe.
4 Era kaakano olwatuuka Moloni bwe yali ayogedde ebigambo bino, yalagira okunoonya kukolebwe mu basajja be, nti oba oli awo yandizuula omusajja eyali omuzzukulu wa Lamani mu bo.
5 Era olwatuuka baazuulamu omu, nga erinnya lye lyali Lamani; era nga yali omu ku baweereza ba kabaka eyattibwa Amalikaya.
6 Kaakano Moloni yalagira Lamani n’omuwendo omutono ku basajja be bagende eri abakuumi abaali bakuuma Abaneefi.
7 Kaakano Abaneefi baali bakuumibwa mu kibuga Gidi; n’olwekyo Moloni yalonda Lamani n’alagira nti omuwendo omutono ogw’abasajja bagende naye.
8 Era akawungeezi Lamani y’agenda eri abakuumi abaali bakuuma Abaneefi, era laba, bamulaba ng’ajja ne bamwekengeera; naye naabagamba nti: Temutya; laba, ndi Mulamani. Laba, tutolose ku Baneefi, era beebase; era laba tutodde ku mwenge gwabwe ne tujja nagwo.
9 Kaakano Abalamani bwe bawulira ebigambo bino bamwaniriza n’esannyu; era ne bamugamba nti: Tuwe ku mwenge gwo, tunyweko; tuli basanyufu nti bwe mutyo muzze n’omwenge kubanga tukooye.
10 Naye Lamani naabagamba nti: tutereke ku mwenge gwaffe okutuusa nga tumaze okulwanagana n’Abaneefi mu lutalo. Naye enjogera eno yabongera okwagala okunywera ddala ku mwenge.
11 Kubanga, baagamba nti: Tukooye, n’olwekyo katunywe ku mwenge, era akaseera nga kayise tujja kufuna omwenge nga obugabirizi obunaatuwebwa, ogunaatuwa amaanyi okulwanyisa Abaneefi.
12 Era Lamani n’abagamba nti: Mukole nga bwe mwagala.
13 Era olwatuuka baanywa ku mwenge awatali kugaanibwa; era gwali muwoomu gye bali, n’olwekyo bagunywako awataali kugaanibwa; era gwali muka, nga gwali gwakolebwa kubeera muka.
14 Era olwatuuka baanywa era ne baba basanyufu nnyo, ere akaseera nga kayise bonna baatamiira.
15 Era kaakano Lamani n’abasajja be bwe baalaba nga bonna batamidde, era nga bali mu tulo otungi ennyo, baddayo eri Moloni ne bamubuulira ebintu byonna ebyali bibaddewo.
16 Era kaakano kino kyakolebwa nga Moloni bwe yali ategese. Era Moloni yali ateeseteese abasajjabe n’ebyokulwanyisa eby’olutalo; era yagenda mu kibuga kya Gidi, Abalamani nga bali mu tulo otungi ennyo era nga batamiivu, era n’agabira abasibe ebyokulwanyisa eby’olutalo, mu ngeri nti bonna baalina ebyokulwanyisa;
17 Weewaawo, ddala n’eri abakazi baabwe, era n’abo bonna abaana baabwe, bangi nga bwe baali basobola okukozesa ebyokulwanyisa eby’olutalo, Moloni nga amaze okukwasa abasibe abo ebyokulwanyisa; era ebintu ebyo byonna byakolebwa mu kasirise ak’amaanyi ennyo.
18 Naye singa baali bazuukusizza Abalamani, laba baali batamidde era Abaneefi bandibasse.
19 Naye laba, kino Moloni si kye yali ayagala; yali tasanyukira ttemu oba okuyiwa omusaayi, naye yasanyukiranga okutaasa abantu be okuva mu kuzikirizibwa; era olw’ensonga eno aleme okweleetako obutali bwenkanya, yali tayinza kugwa ku Balamani n’abazikiriza mu butamiivu bwabwe.
20 Naye yali afunye bye yali ayagala; kubanga yali awadde abasibe abo aba Baneefi abaali munda wa bbugwe ow’ekibuga, era yali abawadde amaanyi okufuna ebitundu ebyo ebyali munda wa bbugwe.
21 Era yalagira abasajja abaali naye okuvaako katono we bali, era betooloole amagye g’Abalamani.
22 Kaakano laba kino kyakolebwa mu budde obw’ekiro, olwo nga Abalamani bwe baagolokoka ku makya ne balaba nti baali beetooloddwa Abaneefi wabweru w’ekibuga,era nti n’abasibe baabwe baali bakwasiddwa ebyokulwanyisa munda gye baali.
23 Era bwe batyo baalaba Abaneefi nga baali bafunye obuyinza ku bo; era mu mbeera nga zino baakizuula nti kyali tekibeetaagisa kulwangana na Baneefi; n’olwekyo bassenkulu baabwe ab’eggye baabalagira baweeyo ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, era babireeta ne babikasuka ku bigere by’Abaneefi, nga beegayirira okusasirwa.
24 Kaakano laba, kino Moloni kye yali ayagala. Yabatwala ng’abasibe b’olutalo, era n’atwala obuyinza eri ekibuga, era n’alagira abasibe bonna okuteebwa, abaali Abaneefi; era beegatta ku ggye lya Moloni, era baali b’amaanyi mangi nnyo eri eggye lye.
25 Era olwatuuka yalagira Abalamani, be yali atutte ng’abasibe, okugenda mu maaso n’omulimu ogw’okuzimba n’okunyweza ebigo okwetooloola ekibuga Gidi.
26 Era olwatuuka bwe yali anywezezza obukuumi mu kibuga Gidi, okusinziira nga bwe yali ayagala, yalagira abasibe be batwalibwe mu kibuga Kyengera; era nate yakuuma ekibuga ekyo n’eggye ery’amaanyi ennyo.
27 Era olwatuuka bwe baakola, wadde nga waaliwo enkwe nnyingi ez’Abalamani, okulabirira n’okukuuma abasibe bonna be baali batutte, era n’okukuuma ettaka lyonna ery’enkizo lye baali beddizza.
28 Era olwatuuka Abaneefi ne batandika nate okuba abawanguzi, ne baddamu okufuna eddembe lyabwe ery’obwebange n’ebbeetu lyabwe.
29 Emirundi mingi Abalamani baagezaako okubazingiza ekiro, naye mu kugezaako kuno baafiirwa abasibe bangi.
30 Era emirundi mingi bagezaako okuwa Abaneefi ku mwenge gwabwe, basobole okubazikiriza n’obutwa oba n’okubatamiiza.
31 Naye laba, Abaneefi tebalwawo kujjukira Mukama Katonda waabwe mu kiseera kino eky’okubonaabona kwabwe. Tebaasobola kukwatibwa mu mitego gyabwe; weewaawo, tebaanywa ku mwenge gwabwe, okuggyako nga basoose kuwa abamu ku basibe Abalamani.
32 Era bwe batyo baali beegendereza nti tewali butwa bulina kuweebwa mu bo; kubanga singa omwenge gwabwe gwandibeera obutwa eri Omulamani era ate gwandibeera obutwa n’eri Omuneefi; era bwe batyo bwe bakeberanga omwenge gwabwe gwonna.
33 Era kaakano olwatuuka kyali kyetaagisa Moloni okukola enteekateeka okulumba ekibuga Moliyantoni; kubanga laba, Abalamani baali, olw’emirimu gyabwe, banywezezza obukuumi mu kibuga Moliyantoni okutuusa lwe kyafuuka ekigo ekisukkulumu eky’amaanyi.
34 Era bayongeranga okuleeta amagye amapya mu kibuga ekyo, era n’ebikozesebwa ebipya eby’obugabirizi.
35 Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka gw’abiri mu omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.