Scriptures
Aluma 20


Essuula 20

Mukama atuma Amoni eri Middoni okununula baganda be abasibe; Amoni ne Lamoni basisinkana taata wa Lamoni, nga ye kabaka w’ekitundu ekyo kyonna; Amoni awaliriza kabaka omukadde okukkiriza okuyimbulwa kwa baganda be. Nga mu mwaka gwa 90 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka bwe baali batandiseewo ekkanisa mu nsi eyo, kabaka Lamoni n’ayagala Amoni agende naye mu nsi ya Neefi, asobole okumulaga eri kitaawe.

Era eddoboozi lya Mukama ne lijja eri Amoni, nga ligamba: Tojja kugenda ngulu mu nsi ya Neefi, kubanga laba, kabaka ajja kwagala okuggyawo obulamu bwo; naye ojja kugenda mu nsi y’e Middoni; kubanga laba, muganda wo Alooni, era ne Muloki era ne Amma bali mu kkomera.

Kaakano olwatuuka Amoni bwe yawulira bino, n’agamba Lamoni nti, laba, muganda wange ne basseruganda bali mu kkomera e Middoni, era ŋŋenda nsobole okubanunula.

Kaakano Lamoni n’agamba Amoni: Nkimanyi, mu maanyi ga Mukama osobola okukola ebintu byonna. Naye laba, nja kugenda naawe mu nsi y’e Middoni; kubanga kabaka w’ensi y’e Middoni, erinnya lye nga ye Antiyomuno, mukwano gwange; n’olwekyo ŋŋenda mu nsi y’e Middoni, nsobole okuwaaniriza kabaka w’ensi, era anaayimbula baganda bo okuva mu kkomera. Kaakano Lamoni yamugamba: Ani yakugambye nti baganda bo bali mu kkomera?

Amoni n’amugamba: Tewali n’omu aŋŋambye, okuggyako Katonda; era yaŋŋaabye: Genda onunule baganda bo, kubanga bali mu kkomera mu nsi y’e Middoni.

Kaakano Lamoni bwe yawulira kino yalagira abaweereza be okuteekateeka embalaasi ze n’amagaali ge.

Era yagamba Amoni: Jangu, nja kugenda naawe emmanga mu nsi ya Middoni, era eyo nja kwegayirira kabaka ayimbule baganda bo okuva mu kkomera.

Era olwatuuka Amoni ne Lamoni bwe baali nga batambula okugendayo, ne basisinkana taata wa Lamoni, eyali kabaka mu nsi yonna.

Era laba, taata wa Lamoni n’amugamba: Lwaki tewajja ku mbaga ku lunaku olwo olukulu lwe nnakola ekijjulo eri batabani bange, era n’eri abantu bange?

10 Era ate n’agamba: Ogenda wa n’Omuneefi ono, nga y’omu ku baana b’omulimba?

11 Era olwatuuka Lamoni n’amunnyonnyola gye yali agenda, kubanga yatya okumunyiiza.

12 Era n’amubuulira ensonga zonna ezaamulwisa mu bwakabaka bwe, obutagenda eri kitaawe ku mbaga gye yali ategese.

13 Era kaakano Lamoni bwe yamunnyonnyola ebintu bino byonna, laba, ekyamwewuunyisa, kitaawe yali munyiivu gyali, era n’agamba: Lamoni, ogenda kununula Abaneefi bano, batabani b’omulimba. Laba, yanyaga bakitaffe; era kaakano n’abaana be nabo bazze mu ffe basobole, n’obukujjukujju bwabwe era n’okulimba kwabwe, batulimbe, nti baddemu nate okutunyaga ebintu byaffe.

14 Kaakano taata wa Lamoni n’amulagira okutta Amoni n’ekitala. Era n’amulagira n’obutagenda mu nsi y’e Middoni, wabula addeyo naye mu nsi ya Isimayiri.

15 Naye Lamoni n’amugamba nti: Sijja kutta Amoni, era sijja kudda mu nsi ya Isimayiri, naye ŋŋenda mu nsi y’e Middoni nsobole okuyimbula ab’oluganda lwa Amoni, kubanga mmanyi nti basajja benkanya era bannabbi abatuukirivu aba Katonda ow’amazima.

16 Kaakano kitaawe bwe yawulira ebigambo bino, yali musunguwavu gyali, era n’asowolayo ekitala kye asobole okumukuba agwe ku ttaka.

17 Naye Amoni n’ayimirira n’amugamba, Laba, tojja kutta mutabani wo; wabula, kyandibadde kisingako ye okufa okusinga ggwe, kubanga laba, yeenenyezza ebibi bye; naye singa gwe ofa mu kiseera kino, mu busungu bwo, omwoyo gwo tegusobola kulokolebwa.

18 Era nate, kisaanye obizibikirize; kubanga singa otta mutabani wo, omusajja ono atalina musango, omusaayi gwe gwandikaabirira Mukama Katonda we okuva mu ttaka, olwo okuwoolera kujje gyoli; era oba oli awo wandifiirwa obulamu bwo.

19 Kaakano Amoni nga amaze okwogera ebigambo bino gyali, n’amuddamu, ng’agamba: Nkimanyi nti singa nzita mutabani wange, mba ngiye omusaayi ogutalina musango; kubanga ye ggwe anoonya okumuzikiriza.

20 Era n’agolola omukono gwe okutta Amoni. Naye Amoni yaziyiza okukubwa kwe, era ate y’akuba omukono gwe nti yali takyasobola kugukozesa.

21 Kaakano kabaka bwe yalaba nga Amoni yali ayinza okumutta, yatandika okwegayirira Amoni atalize obulamu bwe.

22 Naye Amoni n’ayimusa ekitala kye, n’amugamba: Laba, nja ku kukuba okuggyako ng’okkiriza nti baganda bange bayimbulwe okuva mu kkomera.

23 Kaakano kabaka, olw’okutya okufiirwa obulamu bwe, yagamba: Singa on’ansonyiwa nja kukuwa kyonna ky’ononsaba, ne bwe kinabeera kitundu ku obwakabaka.

24 Kaakano Amoni bwe yalaba nga kabaka amufunzizza nga okwagala kwe bwe kwali, n’amugamba nti: Singa onokkiriza baganda bange bayimbulwe okuva mu kkomera, era ate nti ne Lamoni asigaze obwakabaka bwe, era oleme kumunyiigira, naye omukkirize akolenga ebyo byayagala mu buli kintu kyonna kyalowooza, olwo nja kukusonyiwa; bwe kitaba ekyo nja kukuba ggwe ku ttaka.

25 Kaakano Amoni bwe yayogera ebigambo bino, kabaka yatandika okusanyuka olw’obulamu bwe.

26 Era bwe yalaba nga Amoni teyalina kigendererwa kumuzikiriza, era ate bwe yalaba okwagala okw’amaanyi ennyo kwe yalina eri mutabani we Lamoni, kyamwewuunyisa ekisukkiridde, era n’agamba nti: Olw’okuba kino kye kyokka kyobadde oyagala, nti nsaana okuyimbula baganda bo, era ndeke ne mutabani wange Lamoni asigaze obwakabaka bwe, laba, nja kukkiriza mutabani wange asigaze obwakabaka bwe okuva mu kiseera kino era n’olubeerera; era sijja kuddamu kumufuga;

27 Era ate nja kukkiriza ekya baganda bo okuggibwa mu kkomera, era ggwe ne baganda bo musaana okujja gye ndi, mu bwakabaka bwange; kubanga nnandyagadde nnyo okubalaba. Kubanga kabaka yeewuunya nnyo ebigambo bye yali ayogedde, era ate n’ebigambo ebyali byogeddwa mutabani we Lamoni, n’olwekyo yali ayagala okubiyiga.

28 Era olwatuuka Amoni ne Lamoni ne beyongerayo ku lugendo lwabwe okwolekera ensi y’e Middoni. Era Lamoni n’afuna okuganja mu maaso ga kabaka ow’ensi; n’olwekyo ab’oluganda ba Amoni baaleetebwa okuva mu kkomera.

29 Era Amoni bwe yabasisinkana yali munakuwavu ekisusse, kubanga laba baali bukunya, era nga n’ensusu zaabwe zaali zikulubuse ekisukkiridde olw’okusibibwa n’emiguwa egyali emigumu. Era baali balumiziddwa olw’enjala, ennyonta, era n’ebibonoobono ebya buli ngeri; wadde nga kyali kityo baali bagumiikiriza mu kubonaabona kwabwe kwonna.

30 Era, nga bwe kyatuukawo, ye yali ntuuko yabwe okugwa mu mikono egy’abantu abakalubo ennyo era nga bantu ab’ensingo enkakanyavu ennyo; n’olwekyo tebaawuliriza bigambo byabwe, era baali babagobeddwa, era nga babakubye, era nga babagobaganyizza okuva nju ku nju, era n’okuva kifo ku kifo, okutuusiza ddala nga batuuse mu nsi y’e Middoni; era eyo gye baatwalibwa ne basuulibwa mu kkomera, era ne basibibwa n’emiguwa egy’amaanyi, ne bakuumibwa mu kkomera okumala ennaku nnyingi, era ne banunulibwa Lamoni ne Amoni.