Scriptures
Aluma 18


Essuula 18

Kabaka Lamoni alowooza nti Amoni ye Mwoyo ogw’Amaanyi; Amoni ayigiriza kabaka ku kutondebwa, enkolagana ya Katonda n’abantu, era n’okununulibwa okujja nga kuyita mu Kristo; Lamoni akkiriza era n’agwa ku ttaka ng’alinga afudde. Nga mu mwaka gwa 90 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka kabaka Lamoni n’alagira abaddu be bayimirire era bawe obujulizi ku bintu byonna bye baali balabye ebikwata ku nsonga eyo.

Era bonna nga bawadde obujulizi ku bintu bye baali balabye, era yali ategedde ku bwesigwa bwa Amoni mu kukuuma ebisibo bye, era n’amaanyi ge amangi mu kulwanagana n’abo abaali banoonya okumutta, ne yeewuunya nnyo, era n’agamba nti: Mazima ddala, ono asukkulumye ku kuba omuntu. Laba, ono si ye Mwoyo ogw’Amaanyi asindika ebibonerezo ebinene bwe bityo ku bantu bano, olw’ettemu lyabwe?

Era ne baddamu kabaka, ne bagamba: Kabeere Omwoyo ogw’Amaanyi oba omuntu, tetumanyi; naye kino kye tumanyi, nti tayinza kuttibwa balabe ba kabaka; newakubadde okusaasaanya bisibo bya kabaka ng’ali naffe, olw’obukugu bwe n’amaanyi amangi; n’olwekyo, tukimanyi nti mukwano gwa kabaka. Era kaakano, Ayi kabaka, tetukkiriza nti omuntu ayinza okuba n’amaanyi amangi bwe gatyo, kubanga tumanyi nti tayinza kuttibwa.

Era kaakano, kabaka bwe yawulira ebigambo bino, n’abagamba nti: Kaakano nkimanyi nti ye Mwoyo Ogw’amaanyi; era azze wansi mu kiseera kino okuwonya obulamu bwammwe, nti nneme okubatta nga bwe nnakola baganda bammwe. Kaakano ono ye Mwoyo ogw’Amaanyi bajjajjaaffe gwe baayogerako.

Kaakano kano ke kali akalombolombo ka Lamoni, ke yali afunye okuva ku kitaawe, nti waaliyo Omwoyo ogw’Amaanyi. Wadde nga baali bakkiririza mu Mwoyo ogw’Amaanyi, baali balowooza nti buli kyonna kye baakolanga kyali kituufu; wabula, Lamoni yatandika okutya ennyo, n’okutya nti oba oli awo yali akoze ekikyamu mu kutta abaweereza be;

Kubanga yali asse bangi ku bo olw’okuba baganda baabwe abaali babuzizza ebisibo byabwe eri mu kifo eky’amazzi; era bwe batyo, olw’okuba ebisibo byabwe byali bisaasaanyiziddwa battibwa.

Kaakano guno gwe gwali omuze gwa b’Abalamani bano okuyimirira ku mabbali g’amazzi ga Sebusi okusaasaanya ebisibo by’abantu, mu ngeri eyo basobole okugoba bingi ebyabanga bisaasaanyiziddwa ku ttaka lyabwe, nga guno gwe gwali omuze ye yali enkola ogw’okunyaga mu bo.

Era olwatuuka kabaka Lamoni n’abuuza abaddu be, ng’agamba nti: Aliwa omusajja ono alina amaanyi amangi bwe gatyo?

Era baamugamba: Laba, aliisa ndogoyi zo. Kaakano kabaka yali alagidde abaweereza be nga ekiseera eky’okweserera ebisibo byabwe tekinnatuuka, nti bategeke embalaasi ze n’amagaali, era bamutwale mu nsi ya Neefi; kubanga waaliyo embaga enkulu eyali etegekeddwa mu nsi ya Neefi, kitaawe wa Lamoni, eyali kabaka eri ensi yonna.

10 Kaakano kabaka Lamoni bwe yawulira nti Amoni yali ateekateeka mbalaasi ze n’amagaali yeewuunya nnyo, olw’obwesigwa bwa Amoni, ng’agamba: Mazima ddala tewabaddeewo muweereza yenna mu baweereza bange bonna abadde omwesigwa ennyo nga omusajja ono; kubanga ddala ajjukira ebiragiro byange byonna okubituukiriza.

11 Kaakano mazima ddala nkimanyi nti ono ye Mwoyo ogw’Amaanyi, era nnandimwagadde ajje gye ndi, naye sseetantala.

12 Era olwatuuka Amoni bwe yali nga ateseteese embalaasi n’amagaali ga kabaka n’abaweereza be, n’ayingira eri kabaka, era yalaba ng’endabika ya kabaka yali ekyuse n’olwekyo yali anaatera okuddayo okuva mu maaso ge.

13 Era omu ku baweereza ba kabaka n’amugamba nti, Labbana, nga ekyo, kivvunulwa nti, ow’amaanyi oba kabaka ow’obuyinza, olw’okutwalanga bakabaka baabwe okuba ab’amaanyi; era bw’atyo bwe yamugamba nti, Labbana, kabaka ayagala osigalewo.

14 N’olwekyo Amoni yakyukira eri kabaka, era n’amugamba: Kiki kye wandyagadde nkukolere, Ayi kabaka? Era kabaka n’atamuddamu okumala akabanga ka ssaawa emu, okusinziira ku ssaawa zaabwe, kubanga yali tamanyi kiki kye yalina kwogera gyali.

15 Era olwatuuka Amoni yamugamba nate nti: Kiki kye wandyagadde okuva gye ndi? Naye kabaka n’atamuddamu.

16 Era olwatuuka Amoni, olw’okuba yali ajjudde Omwoyo wa Katonda, n’olwekyo yategeera ebirowoozo bya kabaka. Era namugamba nti: Kinaava ku kuba nga owulidde nti nalwaniridde abaweereza bo n’ebisibo byo, era ne nzitta baganda baabwe musanvu n’envuumuulo era n’ekitala, era n’abalala ne mbatemako emikono, okusobola okulwanirira ebisibo byo n’abaweereza bo; laba, kino kye kivaako okwewuunya kwo?

17 Nkugamba nti, kiki ekibadde, nti okwewuunya kwo kw’amaanyi nnyo? Laba, ndi muntu, era ndi muweereza wo; n’olwekyo, kyonna ky’oyagala, nga kituufu, ekyo kye nja okukola.

18 Kaakano kabaka bwe yawulira ebigambo bino, y’addamu okwewuunya, kubanga yalaba nti Amoni yali asobola okutegeera ebirowoozo bye; naye wabula, kabaka Lamoni yayasamya akamwa ke, n’amugamba nti: Ggwe ani? Ggwe Mwoyo ogwo ogw’Amaanyi, ogumanyi ebintu byonna?

19 Amoni yamuddamu n’amugamba: Si ye nze.

20 Era kabaka yagamba nti: Ojja otya okumanya ebirowoozo by’omutima gwange? Oyinza okwogera n’obuvumu, n’ombuulira ebikwata ku bintu bino; era nate ombuulire wakozesezza maanyi ki okutta era n’okutemako emikono gya baganda bange abasaasaanyizza ebisibo byange;

21 Era kaakano, singa onambuulira ebikwata ku bintu bino, kyonna ky’oyagala nja kukikuwa; era singa kyetaagisa, nnandikukuumye n’amagye gange; naye nkimanyi nti ggwe oli w’amaanyi okugasinga gonna; wadde nga kiri kityo, kyonna ky’oyagala okuva gye ndi nja kukikuwa.

22 Kaakano Amoni olw’okuba omugezi, ate nga talina bulabe, yagamba Lamoni: Onowuliriza ebigambo byange, bwe naakubuulira maanyi ki ge nkozesa ebintu bino? Era kino kye kintu kye njagala okuva gyoli.

23 Era kabaka n’amuddamu, n’agamba: Weewaawo, nja kukkiriza ebigambo byo byonna. Era bw’atyo bwe yakwatibwa mu lukujjukujju.

24 Era Amoni yatandika okwogera gyali n’obuvumu, n’amugamba: Okkiriza nti waliyo Katonda?

25 Era n’addamu, n’amugamba: Ekyo simanyi kye kitegeeza.

26 Era awo Amoni n’agamba: Okkiriza nti waliyo Omwoyo ogw’Amaanyi?

27 Era n’agamba, Weewaawo.

28 Era Amoni n’agamba: Ono ye Katonda. Era Amoni n’addamu n’amugamba: Okkiriza nti Omwoyo guno ogw’Amaanyi, nga ye Katonda, eyatonda ebintu byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi?

29 Era n’agamba: Weewaawo, nzikiriza nti yatonda ebintu byonna ebiri mu nsi; naye simanyi ggulu.

30 Era Amoni n’amugamba: Eggulu kye kifo Katonda gy’abeera ne bamalayika be bonna abatukuvu.

31 Era kabaka Lamoni n’agamba: Liri waggulu w’ensi?

32 Era Amoni n’agamba: Weewaawo, era atunula wansi ku baana b’abantu bonna; era amanyi ebirowoozo byonna n’ebigendererwa eby’omutima; ku lw’omukono gwe ebintu byonna byatondebwa okuva ku ntandikwa.

33 Era kabaka Lamoni n’agamba: Nzikiriza ebintu byonna by’oyogedde. Otumiddwa kuva eri Katonda?

34 Amoni yamugamba: Ndi muntu; era omuntu ku lubereberye yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, era mpitiddwa Omwoyo we Omutukuvu okuyigiriza ebintu bino eri abantu bano, basobole okuleetebwa mu kumanya kw’ekyo eky’obwenkanya era eky’amazima;

35 Era ekitundu ky’Omwoyo oyo kibeera mu nze, ekimpa okumanya, era n’amaanyi okusinziira ku kukkiriza kwange era n’okwagala ebiri mu Katonda.

36 Kaakano Amoni bwe yamala okwogera ebigambo bino, yatandikira ku kutondebwa kw’ensi, era n’okutondebwa kwa Adamu, era n’amubuulira ebintu byonna ebikwata ku kugwa kw’omuntu, era yalambulula n’ayanja mu maaso ge ebiwandiiko n’ebyawandiikibwa ebitukuvu eby’abantu, ebyali byayogerwa bannabbi, ddala n’okutuuka mu kiseera ekyo kitaabwe, Leki lwe yava e Yerusaalemi.

37 Era yabalambululira (kubanga kyali eri kabaka era n’eri abaweereza be) eŋŋendo zonna eza bakitaabwe mu lukoola, era n’okubonaabona kwabwe kwonna n’enjala n’ennyonta, era n’okutawaana kwabwe, era n’ebirala.

38 Era yabalambululira ebikwata ku bujeemu bwa Lamani ne Lemweri, ne batabani ba Isimayiri, weewaawo, obujeemu bwabwe bwonna yabugeraageranya gye bali; era n’abannyonnyola ebiwandiiko byonna n’ebyawandiikibwa okuva mu kiseera Leki lwe yava e Yerusaalemi okutuuka mu biseera bino.

39 Naye kino si kye kyokka; kubanga yabannyonnyola enteekateeka y’okununulibwa, eyategekebwa okuviira ddala ku musingi gw’ensi; era ate y’abamanyisa ebikwata ku kujja kwa Kristo, era n’emirimu gyonna egya Mukama yagibamanyisa.

40 Era olwatuuka oluvannyuma lw’okwogera ebintu bino byonna, era n’abinnyonnyola kabaka, olwo kabaka yakkiriza ebigambo bye byonna.

41 Era yatandika okuwanjagira Mukama, ng’agamba: Ayi Mukama, beera musaasizi; Okusinziira ku kusaasira kwo okungi kw’obadde nakwo eri abantu ba Neefi, kw’olina gye ndi, era n’abantu bange.

42 Era kaakano, bwe yamala okwogera bino, n’agwa ku ttaka, ng’alinga eyali afudde.

43 Era olwatuuka abaweereza be ne bamutwala era baamusitula okumuyingiza eri mukazi we, ne bamuteeka ku kitanda; era n’agalamira ng’alinga afudde okumala akabanga ka nnaku bbiri n’ebiro bibiri; era mukazi we, ne batabani be, ne bawala be baamukungubagira, ng’enkola y’Abalamani, nga bakungubagira nnyo okufa kwe.