Essuula 61
Pakolani agamba Moloni ku buyeekera n’obujeemu eri obufuzi; Aboobwakabaka bawamba Zalakemula era bali mu mukago n’Abalamani; Pakolani asaba obuyambi obw’amagye okulwanyisa abayeekera. Nga mu mwaka gwa 62 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Laba, Kaakano olwatuuka amangu ddala nga Moloni amaze okuweereza ebbaluwa ye eri omufuzi ow’oku ntikko, yafuna ebbaluwa okuva ewa Pakolani, omufuzi ow’oku ntikko. Era bino bye bigambo bye yafuna:
2 Nze, Pakolani, nga nze mufuzi ow’oku ntikko ow’ensi eno, mpeereza ebigambo bino eri Moloni, ssenkulu ow’eggye. Laba, nkugamba, Moloni, nti sisanyukira bibonoobono byo ebingi, weewaawo, kinakuwaza emmeeme yange.
3 Naye laba, waliwo abo abasanyukira ebibonoobono byammwe, weewaawo, ddala okutuuka nti basituse mu bujeemu gye ndi, era eri n’abo abasajja bange ab’eddembe, weewaawo, era n’abo abewaggudde bangi nnyo.
4 Era be baabo abafubye okunziggyako entebe ey’obulamuzi abavuddeko obubi buno obw’amaanyi ennyo; kubanga bakozesezza okuwaaniriza okw’amaanyi, era babuzizza emitima gy’abantu bangi, ekijja okuba ensibuko ey’ebibonoobono ebikambwe ennyo mu ffe; balemedde obugabirizi bwaffe, era batiisizza abasajja baffe ab’eddembe nti tebazze gye muli.
5 Era laba, bangobye okuva mu maaso gaabwe, era ne nzirukira mu nsi ya Gidiyoni, n’abasajja bangi nga bwe nnali nsobola okubafuna.
6 Era laba, nsindise ekirangiriro mu kitundu kino kyonna eky’ensi; era laba, bajja gye tuli buli olukya, okunona ebyokulwanyisa byabwe, mu kulwanirira ensi yaabwe era ne ddembe lyabwe, era n’okuwoolera ebitusobezeddwako.
7 Era bazze gye tuli, mu ngeri nti abo abasituse mu bujeemu gye tuli basanze okuwakanyizibwa, weewaawo, ddala okutuuka nti batutya era tebasobola kwetantala kuvaayo kutulwanyisa mu lutalo.
8 Bafunye obuyinza ku nsi, oba ekibuga, eky’e Zalakemula; beerondedde kabaka, era awandiikidde kabaka w’Abalamani, mwe yegattidde mu mukago naye; omukago mw’akkiririzza okufuga ekibuga Zalakemula, okufuga kw’alowooza nti kujja kusobozesa Abalamani okuwangula ekitundu eky’ensi ekisigadde, era ajja kuteekebwawo okubeera kabaka eri abantu bano bwe baliba nga bawanguddwa okufugibwa Abalamani.
9 Era kaakano, mu bbaluwa yo onziggyemu obwesige, naye si kikulu; sinyiize, wabula nsanyukira mu bulungi bw’omutima gwo. Nze, Pakolani sinoonya buyinza, okuggyako okusigaza entebe yange ey’obulamuzi kyokka olwo nsobole okukuuma eddembe n’ebbeetu ly’abantu bange. Omwoyo gwange munywevu mu bbeetu eryo Katonda mw’atufuulidde ab’eddembe.
10 Era kaakano, laba, tujja kulwanyisa obubi ddala okutuusa okuyiwa omusaayi. Tetwandiyiye musaayi gwa Balamani singa basigala mu nsi yaabwe.
11 Tetwandiyiye musaayi gwa baganda baffe singa tebaasituka mu bujeemu ne bakwata ekitala okutulwanyisa.
12 Twandibadde twewaayo eri ekikoligo ky’obuddu singa kibadde kyetaagisibwa olw’obwenkanya bwa Katonda, oba singa atulagira okukikola.
13 Naye laba tatulagira kwewaayo wansi w’abalabe baffe, wabula nti tulina okuteeka obwesige bwaffe mu ye, era alitununula.
14 N’olwekyo, muganda wange omwagalwa, Moloni, tulwanyise obubi, era na buli kibi kyonna kye tutayinza kulwanyisa na bigambo byaffe, weewaawo, gamba nga obujeemu n’obutakkaanya, tubirwanyise n’ebitala byaffe, tusobole okusigaza eddembe lyaffe, olwo tulyoke tusanyukire mu ddembe ery’amaanyi ennyo ery’okuba n’ekkanisa yaffe, nemu kigendererwa eky’Omununuzi waffe era Katonda waffe.
15 N’olwekyo, jangu gye ndi mu bwangu n’abasajja bo abatonotono, era abasigadde obaleke mu buyinza obwa Leki ne Tiyankamu; bawe obuyinza okutambuza olutalo mu kitundu ekyo eky’ensi, okusinziira ku mwoyo wa Katonda, era nga ate ye mwoyo w’eddembe ali mu bo.
16 Laba mpeerezza obugabirizi butono gye bali, baleme okuzikirira okutuusa nga musobodde okujja gye ndi.
17 Mukuŋŋaanye amagye gonna ge musobola ku lugendo lwammwe wano, era tujja kugenda mu bwangu eri abo abaatwabulira, mu maanyi ga Katonda waffe okusinziira ku kukkiriza okuli mu ffe.
18 Era tujja kutwala ekibuga ky’e Zalakemula, olwo tusobole okufuna emmere endala ey’okuweereza eri Leki ne Tiyankamu; weewaawo, tujja kubalumba mu maanyi ga Mukama, era tujja kukomya obubi buno obw’amaanyi ennyo.
19 Era Kaakano, Moloni, nsanyuse nnyo okufuna ebbaluwa yo, kubanga mu ngeri emu nnali mweraliikirivu ku kiki kye tuteekeddwa okukola, oba nga kya bwenkanya ffe okugenda okulwanyisa baganda baffe.
20 Naye ogambye nti, okuggyako nga beenenyezza Mukama akulagidde obabonereze.
21 Laba nti ogumya Leki ne Tiyankamu mu Mukama; bagambe baleme kutya, kubanga Katonda ajja kubanunula, weewaawo, era ate n’abo bonna abayimiriddewo mu ddembe eryo Katonda mwabanunulidde. Era kaakano nkomekkereza ebbaluwa yange eri muganda wange omwagalwa, Moloni.