Scriptures
Aluma 34


Essuula 34

Amuleki awa obujulizi nti ekigambo kiri mu Kristo eky’obulokozi; Okuggyako ng’omutango gukoleddwa, abantu bonna balina okusaanawo; Amateeka gonna aga Musa gasonga ku ssaddaaka y’Omwana wa Katonda; Entegeka ey’okununulwa ey’olubeerera yesigamiziddwa ku kukkiriza n’okwenenya; Musabe olw’ebintu eby’ekiseera n’emikisa egy’obwomwoyo; Obulamu buno kye kiseera abantu mwe balina okwetegekera okusisinkana Katonda; Mukolerere obulokozi bwammwe n’okutya mu maaso ga Katonda. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka oluvannyuma lwa Aluma okwogera ebigambo bino gye bali n’atuula wansi, era Amuleki n’asituka n’atandika okubayigiriza, ng’agamba:

Baganda bange, ndowooza nti tekisoboka mmwe kuba nga temumanyi ku bintu ebibadde byogerwa ebikwata ku kujja kwa Kristo, oyo gwetuyigiriza okuba Omwana wa Katonda; weewaawo, nkimanyi nti ebintu bino by’abasomesebwa mu bungi nga temunna twawukanako.

Era nga bwe mwagadde muganda wange omwagalwa okubamanyisa ekyo kye mulina okukola olw’ebibonoobono byammwe; era ayogeddeko katono gye muli okuteekateeka ebirowoozo byammwe; weewaawo, era abakubirizza okuba n’okukkiriza era n’obugumiikiriza;

Weewaawo, ddala mubeere n’okukkiriza okungi ennyo nga okusimba ekigambo mu mitima gyammwe, olwo musobole okugezaako okugezesa obulungi bwakyo.

Era tulabye nti ekibuuzo ekikulu ekiri mu birowoozo byammwe kiri nti oba ekigambo kiri mu Mwana wa Katonda, oba nti tewalibaawo Kristo.

Era mulabye nti muganda wange abakakasizza, mu ngeri nnyingi, nti ekigambo kiri mu Kristo ekituusa eri obulokozi.

Muganda wange ayogedde ku ebigambo bya Zenosi, nti okununulwa kujja kuyita mu Mwana wa Katonda, era ate n’ebigambo bya Zenoka; Era ate n’ayogera ne ku Musa, okukakasa nti ebintu bino bya mazima.

Era kaakano, laba, nja kubawa obujulizi ku lwange nti ebintu bino bya mazima. Laba, mbagamba nti, nkimanyi nti Kristo alijja mu baana b’abantu, okwettika ebisobyo by’abantu be, era nti alitaangirira ebibi by’ensi; kubanga Mukama Katonda y’akyogedde.

Kubanga kyetaagisa nti omutango gulina okukolebwa; kubanga okusinziira ku ntegeka enkulu eya Katonda ow’Olubeerera wateekwa okubaawo omutango ogukolebwa, oba si ekyo abantu bonna balina okusaanawo mu ngeri eteewalika; weewaawo, bonna bakakanyavu; weewaawo, bonna bagudde era ne babula, era balina okusaanawo okuggyako nga kuyitira mu mutango guno ogwetaagisa okukolebwa.

10 Kubanga kyetaagisa wabeerewo ssaddaaka enkulu era ey’enkomeredde; weewaawo, nga si ssaddaaka ya muntu, wadde ey’ekisolo, wadde ey’ekinyonyi eky’engeri yonna; kubanga tejja kuba ssaddaaka ya muntu; naye eteekwa okuba ssaddaaka etaliiko kkomo era ey’olubeerera.

11 Kaakano tewali muntu yenna asobola kusaddaaka musaayi gwe gwennyini ogujja okutangirira ebibi eby’omulala. Kaakano, singa omuntu atta, laba etteeka lyaffe, ery’obwenkanya, linatwala obulamu bwa muganda we? Mbagamba nti, nedda.

12 Naye eteeka lyetaaga obulamu bw’oyo asse; n’olwekyo tewayinza kubaawo kintu kyonna ekitali mutango gutaliiko kkomo ekiyinza okuggyawo ebibi by’ensi.

13 N’olwekyo, kyetaagisa wabeerewo ssaddaaka enkulu era ey’enkomeredde, era olwo walibeerawo, oba kyetaagisa wabeerewo, ekkomo ku kuyiwa omusaayi; olwo amateeka ga Musa gatuukirizibwe; weewaawo, ganaatuukirizibwa, buli nnukuta n’akatonnyeze, era tewali nakimu kiriba kisanyeewo.

14 Era laba, gano ge makulu gonna ag’amateeka, buli kantu konna nga kasonga ku ssaddaaka eyo enkulu era ey’enkomeredde; era ssaddaaka eyo enkulu era ey’enkomeredde ejja kuba Mwana wa Katonda, weewaawo, etaliiko kkomo eraey’olubeerera.

15 Era bw’atyo bw’alireeta obulokozi eri abo bonna abalikkiririza mu linnya lye; kino nga kye kigendererwa ekya ssaddaaka eno ey’enkomeredde, ereetawo omutima ogw’ekisa, ogusukkuluma ku bwenkanya, n’ereetawo ekkubo eri abantu basobole okuba n’okukkiriza okuvaamu okwenenya.

16 Era bwe kutyo okusaasira kusobola okutuukiriza ebyetaago eby’obwenkanya, ne kubiwambaatira mu mikono egy’obukuumi, so nga ate oyo atakozesa kukkiriza kwonna okuvaamu okwenenya abeera talina bukuumi kuva eri tteeka lyonna ery’ebyetaago eby’obwenkanya; n’olwekyo eri oyo yekka alina okukkiriza okuvaamu okwenenya y’atuusibwako entegeka enkulu era ey’olubeerera ey’okununulwa.

17 N’olwekyo Katonda abawe, baganda bange, mutandike okukozesa okukkiriza kwammwe okuvaamu okwenenya, mutandike okuyita erinnya lye ettukuvu, olwo alyoke abeere n’okusaasira gye muli;

18 Weewaawo, mumuwanjagirenga olw’okusaasirwa; kubanga wamaanyi okuwonya.

19 Weewaawo, mwetoowazenga, era munyiikire okumusaba.

20 Mumuwanjagire nga muli mu nnimiro zammwe, weewaawo, ku lw’ebisibo byammwe byonna.

21 Mumuwanjagirenga mu mayumba gammwe, weewaawo, ku lw’ab’ennyumba zammwe bonna, wonna ku makya, mu ttuntu, n’olweggulo.

22 Weewaawo, mumuwanjagirenga okusobola okufuga amaanyi g’abalabe bammwe.

23 Weewaawo, mumuwanjagirenga okulwanyisa setaani, nga ye mulabe ow’obutuukirivu bwonna.

24 Mumuwanjagire olw’ebirime eby’ennimiro zammwe, mulyoke mukulaakulane mu ekyo.

25 Muwanjage ku lw’ebisibo by’amalundiro gammwe, bisobole okweyongera.

26 Naye kino si kye kyokka; mulina okuwaayo emyoyo gyammwe mu bisenge byammwe, n’ebifo byammwe eby’ekyama, ne mu lukoola lwammwe.

27 Weewaawo, era bwe mubanga temuwanjagira Mukama, emitima gyammwe kagijjule okusiima, nga gyeyongerayo mu kusaba gy’ali bulijjo olw’obulungi bwammwe, era n’olw’obulungi bw’abo ababeetoolodde.

28 Era kaakano laba, baganda bange abaagalwa, mbagamba nti, temulowooza nti kino kye kyokka; kubanga oluvannyuma nga mukoze ebintu bino byonna, singa munaagoba abali mu bwetaavu, era n’abali obukunya, era ne mutakyalira balwadde era n’ababonyaabonyezebwa, era n’emugaba ku by’obuggaga byammwe, singa mubeera nga mulina, eri abo abali mu bwetaavu; Mbagamba nti, singa temukola ekimu ku bintu bino, laba, essaala yammwe eba ya bwereere, era terina ky’ebagasa, era mulinga bannanfuusi abeegaana enjigiriza.

29 N’olwekyo, singa temujjukira kubeera bagabi, mulinga amasengere, abaweesi gebakasuka, (olw’obutaba na mugaso) era nga galinnyirirwa wansi w’ekigere ky’abantu.

30 Era kaakano, baganda bange, nandyagadde, oluvannyuma nga mufunye abajulizi abangi ennyo, nga bwe mulaba nti ebyawandiikibwa ebitukuvu biwa obujulizi ku bintu bino, mujje mubale ebibala ebituukagana n’okwenenya.

31 Weewaawo, nandyagadde mujje era muleme kwongera kukakanyaza mitima gyammwe; kubanga laba, kaakano kye kiseera n’olunaku olw’obulokozi bwammwe; era n’olwekyo, singa muneenenya era ne mutakakanyaza mitima gyammwe, amangu ddala entegeka enkulu ey’okununulwa ejja kuleetebwa gye muli.

32 Kubanga laba, obulamu buno kye kiseera abantu kye balina okwetegekeramu okusisinkana Katonda; weewaawo, laba olunaku olw’obulamu buno lwe lunaku abantu lwe balina okukoleramu emirimu gyabwe.

33 Era kaakano, nga bwe nnabagambye e mabegako, nga bwe mubadde n’abajulizi abangi ennyo, n’olwekyo, mbegayirira obutayongezaayo lunaku lwa kwenenya kwammwe okutuusa ku nkomerero; kubanga oluvannyuma lw’olunaku luno olw’obulamu, olutuweereddwa okwetegekera olubeerera, laba, singa tetukozesa bulungi biseera byaffe nga tuli mu bulamu buno, olwo walijja ekiro eky’ekizikiza ekitasobola kukolerwamu mirimu.

34 Temuyinza kugamba nti, bwe muleetebwa mu mbeera eyo enzibu ennyo, nti nja kwenenya, nti nja kudda eri Katonda wange. Nedda, temuyinza kwogera kino; kubanga Omwoyo ogwo gwennyini gwe gw’ambala emibiri gyammwe mu kiseera nga muva mu bulamu buno, omwoyo ogwo gwe gumu gujja kuba n’amaanyi okwambala omubiri gwammwe mu nsi eyo ey’olubeerera.

35 Kubanga laba, singa muba mwongezzaayo olunaku lw’okwenenya kwammwe ddala okutuusa okufa, laba, mubeera mufuuliddwa abagoberezi b’omwoyo wa setaani, era n’abafuula babe lubeerera; n’olwekyo, Omwoyo wa Mukama abavuddeko, era talina kifo mu mmwe, era setaani alina obuyinza bwonna ku mmwe; era eno y’embeera esembayo ey’ababi.

36 Era kino nkimanyi, kubanga Mukama agambye nti tabeera mu yeekaalu ezitali ntukuvu, wabula mu mitima gy’abatuukirivu mw’abeera; weewaawo, era ate agambye nti abatuukirivu balituula mu bwakabaka bwe, obutaddamu kufuluma nate; naye ebyambalo byabwe birina okufuulibwa ebyeru okuyitira mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.

37 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, njagala mujjukire ebintu bino, era mukolerere obulokozi bwammwe n’okutya mu maaso ga Katonda, era temuddangamu nate okuwakanya okujja kwa Kristo;

38 Nti muleme kuddamu kuwakanya Mwoyo Mutukuvu, naye nti mumwanirize, era muyitibwe erinnya lya Kristo; olwo mwetoowalize ddala n’okutuuka mu nfuufu, era musinze Katonda, mu buli kifo kyonna kye munabeerangamu, mu mwoyo ne mu mazima; era mubeeranga mu kwebaza buli lunaku, olw’okusaasira okungi n’emikisa by’abawa.

39 Weewaawo, era mbakubiriza, baganda bange, mujjukirenga okusaba bulijjo, olwo muleme okukyamiizibwa n’ebikemo bya setaani, aleme okubawangula, muleme kufuuka abagoberezi be ku lunaku olw’enkomerero; kubanga laba, talina mpeera nnungi gye muli.

40 Era kaakano baganda bange abaagalwa, mbakubiriza okubeera n’obugumiikiriza, era nti mugumire ebibonoobono eby’engeri zonna; olwo muleme kuvuma abo ababagobaganya olw’obwavu bwammwe obusukkiridde, si kulwa nga mufuuka aboonoonyi nga bo;

41 Naye mubeere n’obugumiikiriza, era mugumire ebibonoobono ebyo, n’essuubi erinywevu nti olunaku lumu muliwummula okuva mu bibonoobono byammwe byonna.