Scriptures
Aluma 35


Essuula 35

Okubuulira kw’ekigambo kusaanyawo obulimba bw’Abazolamu; Bagoba abaakyuka, olwo bano ne beegatta ku bantu ba Amoni mu Yasoni; Aluma anakuwala olw’obubi bw’abantu. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.

Kaakano olwatuuka oluvannyuma Amuleki ng’amaliriza ebigambo bino, beeyawula okuva mu nkuyanja y’abantu era ne basomoka ne bajja mu nsi ya Yasoni.

Weewaawo, n’ab’oluganda abalala, oluvannyuma nga babuliidde ekigambo eri Abazolamu, nabo batambula ne bajja mu nsi ya Yasoni.

Era olwatuuka oluvannyuma lw’ekitundu ekisinga obumanyifu ekya Abazolamu nga beebuuzaganyizza ku bikwata ku bigambo ebyali bibuuliddwa gye bali, baali banyiivu olw’ekigambo, kubanga kyasaanyaawo obulimba bwabwe; n’olwekyo tebawuliriza bigambo.

Era batumya n’okukuŋŋaanyiza awamu abantu bonna mu nsi yonna, era ne babeebuuzako ku bikwata ku bigambo ebyali byogeddwa.

Kaakano abafuzi baabwe ne bakabona baabwe era n’abasomesa baabwe tebakkiriza bantu kumanya bikwata ku kigendererwa kyabwe; n’olwekyo baazuula mu ngeri ey’ekyama ebirowoozo by’abantu bonna.

Era olwatuuka oluvannyuma olw’okumanya ebirowoozo by’abantu bonna, abo abaali bawagira ebigambo ebyali byogeddwa Aluma ne baganda be, baagobebwa mu nsi; era baali bangi; era nabo basomoka ne bajja mu nsi ya Yasoni.

Era olwatuuka Aluma ne baganda be baweereza gye bali.

Kaakano abantu b’Abazolamu baali banyiivu eri abantu ba Amoni abaali mu Yasoni, era n’omufuzi omukulu ow’Abazolamu, olw’okuba yali musajja mubi nnyo, y’asindika obubaka eri abantu ba Amoni ng’ayagala abagobe okuva mu nsi yaabwe abo bonna abaava mu nsi yaabwe ne bagenda gye bali.

Era y’ayogera bingi eby’okutiisatiisa gye bali. Era kaakano abantu ba Amoni tebaatya bigambo byabwe; n’olwekyo tebaabagoba, naye bayaniriza abaavu bonna ab’Abazolamu abajjanga gye bali; era babagabirira, era ne babambaza, era ne babawa ettaka okuba ery’obusika bwabwe; era baabaweereza okusinziira ku byetaago byabwe.

10 Kaakano kino kyasiikuula Abazoramu okunyiigira abantu ba Amoni, era batandika okwegatta mu Balamani era n’okubasiikuula nabo ate okubanyiigira.

11 Era bwe batyo Abazoramu n’Abalamani ne batandika okukola enteekateeka ez’olutalo ku bantu ba Amoni, era n’okulwanyisa Abaneefi.

12 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

13 Era abantu ba Amoni baava mu nsi ya Yasoni, era basomoka ne bajja mu nsi ya Mereki, ne bawaayo ekifo mu nsi ya Yasoni eri amagye g’Abaneefi, gasobole okulwanagana n’amagye g’Abalamani era n’amagye g’Abazolamu; era bwe lutyo olutalo wakati w’Abalamani n’Abaneefi bwe lwatandika, mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi; era gye bujja enyinnyonnyolwa ejja kuweebwa ku ntalo zaabwe.

14 Era Aluma, ne Amoni, ne baganda baabwe, era ne batabani ba Aluma ababiri baddayo mu nsi y’e Zalakemula, oluvannyuma lw’okuba ebikozesebwa mu mikono gya Katonda eby’okuleeta Abazolamu bangi eri okwenenya; era bangi nga bwe baleetebwa eri okwenenya bwe baagobwa mu nsi yaabwe; naye balina ettaka ery’obusika bwabwe mu nsi ya Yasoni, era baakutte ebyokulwanyisa okwekuuma, era ne bakazi baabwe, era n’abaana, era n’ettaka lyabwe.

15 Kaakano Aluma, nga anakuwadde olw’obutali butuukirivu obw’abantu be, weewaawo olw’entalo, era n’okuyiwa omusaayi, era n’enkaayana ezaali mu bo; era nga yaakamaliriza okulangirira ekigambo, oba okutumwa okulangirira ekigambo, mu bantu bonna mu buli kibuga; era olw’okulaba ng’emitima gy’abantu gitandika yatandika okukakanyala, era nti baali baatandise okunyiiga olw’obukakali bw’ekigambo, omutima gwe gwali munakuwavu byansusso.

16 N’olwekyo, yalagira batabani be bakuŋŋaanire wamu, asobole okubawa buli omu obuvunanyizibwa bwe, mu ngeri ey’enjawulo, ku bikwata ku bintu ebyekuusa ku butuukirivu. Era tulina enyinnyonnyolwa y’ebiragiro bye, bye yabawa okusinziira ku kiwandiiko kye.