Scriptures
Aluma 4


Essuula 4

Aluma abatiza enkumi n’enkumi z’abaakyuka; Obubi buyingira mu kkanisa, era enkulaakulana y’ekkanisa eremesebwa; Nefayika alondebwa okuba ssabalamuzi; Aluma, nga kabona ow’oku ntikko, yeewaayo mu buweereza. Nga mu mwaka gwa 86–83 nga Kristo tannazaalibwa.

Kaakano olwatuuka mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri bantu ba Neefi, tewaaliwo nkaayana wadde entalo mu nsi ey’e Zalakemula;

Naye abantu baabonyaabonyezebwa, weewaawo, babonyaabonyezebwa nnyo olw’okufiirwa baganda baabwe, era nate olw’okufiirwa ebisibo byabwe n’amagana gaabwe, era nate n’olw’okufiirwa ennimiro zaabwe ez’emmere ey’empeke, ezaalinnyirirwa wansi w’ebigere ne zizikirizibwa Abalamani.

Era ebibonoobono byabwe byali bingi nnyo nti buli mwoyo gwalina ensonga okukungubaga; era bakikkiriza nti ebibonerezo bya Katonda byali bizze gye bali olw’obubi bwabwe n’ebikolobero byabwe; n’olwekyo bazuukusibwa okujjukira obuvunaanyizibwa bwabwe.

Era baatandika okunyweza ekkanisa mu bujjuvu; weewaawo, era bangi baabatizibwa mu mazzi ga Sidoni era ne bagattibwa ku kkanisa ya Katonda; weewaawo, baabatizibwa omukono gwa Aluma, eyali atongozeddwa okuba kabona ow’oku ntikko eri abantu b’ekkanisa, n’omukono gwa kitaawe Aluma.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi waaliwo abantu nga enkumi ssatu mu ebikumi bitaano abeegatta ku kkanisa ya Katonda era ne babatizibwa. Era bwe gutyo omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi bwe gwakomekkerezebwa eri abantu ba Neefi; era ne wabaawo emirembe egitatadde mu biseera ebyo byonna.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi, abantu b’ekkanisa ne batandika okwegulumiza, olw’obugagga bwabwe obusuffu, era ne liiri zaabwe ennungi, era ne bafuta zaabwe ennungi, era n’olw’ebisibo byabwe ebingi n’amagana, era ne zaabu waabwe ne ffeeza, era n’ebintu eby’omuwendo ebya buli ngeri, bye baali bafunye olw’okukola ennyo n’obunyiikivu; era mu bintu ebyo byonna ne bakulumbazibwa mu malala mu ndaba yaabwe, kubanga baatandika okwambala engoye ez’omuwendo omungi ennyo.

Kaakano kino kyaviirako ebibonoobono ebingi eri Aluma, weewaawo, era n’eri abantu bangi Aluma be yatukuza okubeera abasomesa, era ne bakabona, era n’abakadde b’ekkanisa; weewaawo, bangi ku bo naddala baanyolwa olw’obubi bwe baalaba nga butandise okubeera mu bantu baabwe.

Kubanga baalaba era n’ebekkaanya n’ennaku ennyingi ng’abantu b’ekkanisa batandise okwekulumbaza mu malala mu ndaba yaabwe, era n’okussa emitima gyabwe ku by’obugagga era ne ku bintu ebitaliimu nsa eby’ensi, ne batandika okubeera abanyoomi, buli omu eri munne, ne batandika okuyigganya abo abatakkirizanga okusinziira ku kwagala n’okusanyusibwa kwabwe.

Era bwe kityo, mu mwaka guno ogw’omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi, ne watandikawo enkaayana ez’amaanyi mu bantu b’ekkanisa; weewaawo, waaliwo obuggya, era n’obutabanguko, era n’obutayagaliza, era n’okuyigganyizibwa, era n’amalala, ddala okusukka amalala g’abo abataali mu kkanisa ya Katonda.

10 Era bwe gutyo omwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi bwe gwakomekkerezebwa; era obubi bw’ekkanisa bwali ekyesittaza ekinene eri abo abataali ba kkanisa; era bwe kityo ekkanisa yatandika okulemererwa mu nkulaakulana yaayo.

11 Era olwatuuka mu ntandikwa ey’omwaka ogw’omwenda, Aluma yalaba obubi bw’ekkanisa, era nate yalaba nti eky’okulabirako ky’ekkanisa kyatandika okuwabya abo abataali bakkiriza okuva ku kitundu ekimu eky’obutali butuukirivu okudda ku kirala, bwe kityo ne kireetawo okuzikirizibwa kw’abantu.

12 Weewaawo, yalaba obutenkanankana bungi mu bantu, abamu nga beetwalira waggulu n’amalala gaabwe, nga banyooma abalala, nga balagajjalira abali mu bwetaavu era n’abali obukunya era n’abo abaali abayala, era n’abo abaali balumwa ennyonta, era n’abo abaali balwadde era n’ababonyaabonyezebwa.

13 Kaakano kino kyaviirako nnyo okukungubaga mu bantu, ate abalala nga beetoowaza, nga bayamba abo abaali bayimiridde mu bwetaavu bw’obuyambi bwabwe, gamba nga okugabira abaavu n’abali mu bwetaavu eby’obugagga byabwe, okuliisa abayala, era n’okugumira ebibonoobono ebya buli ngeri, ku lwa Kristo, agenda okujja okusinziira ku mwoyo ogw’obunnabbi;

14 Nga beesunga olunaku olwo, bwe batyo lwe basigaza okusonyiyibwa okw’ebibi byabwe; nga bajjudde essanyu eringi olw’okuzuukira kw’abafu, okusinziira ku kwagala era n’amaanyi era n’okununulibwa kwa Yesu Kristo okuva mu miguwa egy’okufa.

15 Era kaakano olwatuuka Aluma, bwe yalaba ebibonoobono by’abagoberezi ba Katonda abeetoowaze, n’okuyigganyizibwa okwabateekebwako abantu be abalala, era nga alaba okusosolebwa kwabwe kwonna, yatandika okunakuwala ennyo; wabula Omwoyo wa Mukama teyamwabulira.

16 Era y’alonda omusajja omugezi eyali mu bakadde b’ekkanisa, n’amuwa obuyinza okusinziira ku ddoboozi ly’abantu bwe lyali, alyoke abeere n’obuyinza okussaawo amateeka okusinziira ku mateeka agaali gaweereddwa, era n’okugateekesa mu nkola okusinziira ku bubi n’ebikolobero by’abantu.

17 Kaakano omusajja ono erinnya lye yali Nefayika, era n’alondebwa okuba ssabalamuzi; era n’atuula mu ntebe y’obulamuzi okulamula era n’okufuga abantu.

18 Kaakano Aluma teyamuwa buweereza obw’obwakabona obw’oku ntikko eri ekkanisa, naye yasigaza obuweereza obwa kabona ow’oku ntikko ye kennyini; era yawaayo entebe ey’obulamuzi eri Nefayika.

19 Era kino yakikola ye kennyini asobole okugenda mu bantu be, oba mu bantu ba Neefi, alyoke asobole okubabuulira ekigambo kya Katonda, okubasiikuula mu kujjukira obuvunaanyizibwa bwabwe, era asobole okukkakkanya, n’ekigambo kya Katonda, amalala gonna n’obukumpanya era n’enkaayana byonna ebyali mu bantu be, nga talaba ngeri yonna gy’ayinza kubakomyawo okuggyako mu kubakkakkanya n’obujulizi obw’amazima obubalumika.

20 Era bwe kityo mu ntandikwa ey’omwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, Aluma yawaayo entebe ey’obulamuzi eri Nefayika, era n’anyikirira kimu ku kya bwakabona obw’oku ntikko obw’entegeka entukuvu eya Katonda, eri obujulizi bw’ekigambo, okusinziira ku mwoyo ogw’okubikkulirwa n’obunnabbi.