Essuula 48
Amalikaya akuma omuliro mu Balamani okulwanyisa Abaneefi; Moloni ateekateeka abantu be okulwanirira ensonga y’Abakristaayo; Asanyukira mu ddembe n’ebbeetu era musajja wa Katonda ow’amaanyi. Nga mu mwaka gwa 72 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka, amangu ddala nga Amalikaya amaze okufuna obwakabaka yatandika okusiikuula emitima gy’Abalamani okukyawa abantu ba Neefi; weewaawo, yalonda abasajja okwogera eri Abalamani okuva ku minaala gyabwe, obubi ku Baneefi.
2 Era bw’atyo yasiikuula emitima gyabwe okukyawa Abaneefi, ddala okutuusa nti ku nkomerero y’omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi, nga yali atuukirizza enteekateeka ze okutuuka awo, weewaawo, nga yali afuuliddwa kabaka eri Abalamani, so yagezaako okwagala okufuga ensi yonna, weewaawo, n’abantu bonna abaali mu nsi, Abaneefi n’Abalamani bonna wamu.
3 N’olwekyo yali atuukirizza enteekateeka ye, kubanga yali akakanyazza emitima gy’Abalamani era yaziba endowooza zaabwe, n’abasiikuula okusunguwala, ddala okutuusa nti yali akuŋŋaanyizza wamu amagye ag’enjawulo okugenda mu lutalo okulwanyisa Abaneefi.
4 Kubanga yali mumalirivu, olw’obunene bw’omuwendo gw’abantu be, okuwangula Abaneefi era n’okubaleeta mu buddu.
5 Era bw’atyo yalonda bassenkulu ab’eggye okuva mu Bazolamu, nga be baali basinga okumanyira ddala amaanyi g’Abaneefi, n’ebifo byabwe eby’ekiddukiro, era n’ebitundu ebyali bisinga obunafu mu bibuga byabwe; n’olwekyo yabalonda okuba bassenkulu ab’eggye eri amagye ge.
6 Era olwatuuka baggyawo enkambi yaabwe, era ne bagenda nga boolekera ensi y’e Zalakemula mu lukoola.
7 Kaakano olwatuuka Amalikaya bw’atyo bwe yali nga afuna obuyinza olw’obukuluppya n’obulimba, Moloni, so ku ludda olulala, yali ateekateeka ebirowoozo by’abantu okubeera abeesigwa eri Mukama Katonda waabwe.
8 Weewaawo, yali nga anyweza amagye g’Abaneefi, era ng’azimba ebigo ebitonotono, oba ebifo eby’ekiddukiro; ng’azimba emiziziko egy’ettaka okwetoloola abugirize amagye ge, n’okuzimba bbugwe w’amayinja okubetooloola wonna, okwetooloola ebibuga byabwe n’ensalo z’ebibanja byabwe; weewaawo, okwetooloola ensi yonna.
9 Era mu bigo byabwe ebyali bisingirayo ddala obunafu mwe yasinga okuteeka omuwendo gw’abasajja omunene; era bw’atyo yayongera obukuumi n’okunyweza ensi eyali ey’Abaneefi.
10 Era bw’atyo bwe yali ateekateeka okulwanirira ebbeetu lyabwe, ebibanja byabwe, bakazi baabwe, era n’abaana baabwe, era n’emirembe gyabwe, era olwo basobole okubeera abalamu eri Mukama Katonda waabwe, era basobole okukuuma ekyo abalabe baabwe kye baayita ensonga ey’obukristaayo.
11 Era Moloni yali musajja wa maanyi era nga wakiwago; yali musajja ow’okutegeera okutuukiridde; weewaawo, omusajja eyali tasanyukira mu kuyiwa musaayi; omusajja emmeeme ye eyasanyukiranga mu bbeetu n’eddembe ly’ensi ye, era ne baganda be okuva mu buddu ne mu busibe;
12 Weewaawo, omusajja omutima gwe ogwagejjanga n’okwebaza eri Katonda we, olw’eddembe n’emikisa emingi bye yawa abantu be; omusajja eyakola ekisukkiridde ennyo olw’obulungi n’obukuumi bw’abantu be.
13 Weewaawo, era yali musajja eyali omunywevu mu kukkiriza kwa Kristo, era yali alayidde n’ekirayiro eky’okulwanirira abantu be, eddembe lye, era n’ensi ye, era n’eddiini ye, ddala okutuusa okuyiwa omusaayi gwe.
14 Kaakano Abaneefi baayigirizibwa okwerwanako okuva eri abalabe baabwe, ddala okutuuka okuyiwa omusaayi singa kiba nga kyetaagisa; weewaawo, era baayigirizibwa obutawakulanga ntalo, weewaawo, era obutasitulanga kitala okuggyako nga kya kulwanyisa mulabe, okuggyako nga kya kutaasa bulamu bwabwe.
15 Era kuno kwe kwali okukkiriza kwabwe, nti mu kukola ekyo Katonda asobole okubakulaakulanya mu nsi, oba mu ngeri endala, singa baali beesigwa mu kukuuma ebiragiro bya Katonda yandibakulaakulanyizza mu nsi; weewaawo, okubalabula okudduka, oba okwetegekera olutalo, okusinziira ku kabi akaboolekedde;
16 Era, nti ne Katonda yandikimanyisa gye bali oba bagende berwaneko okuva eri abalabe baabwe, era mu kukola ekyo, Mukama yandibanunula; era kuno kwe kwali okukkiriza kwa Moloni, era omutima gwe gwa kisanyukirangamu; si mu kuyiwa musaayi wabula mu kukola ebirungi, mu kukuuma abantu be, weewaawo, mu kukuuma ebiragiro bya Katonda, weewaawo, n’okuziyiza obubi.
17 Weewaawo, ddala, ddala mbagamba nti, singa abantu bonna baali, era nga babadde, era nga balibeera bulijjo, nga Moloni, laba, amaanyi gennyini aga ggeyeena galibadde gakankanyiziddwa emirembe gyonna; weewaawo, setaani teyalibadde n’amaanyi ku mitima gy’abaana b’abantu.
18 Laba, yali omusajja alinga Amoni, mutabani wa Mosiya, weewaawo, era ne batabani ba Mosiya abalala, weewaawo, era ne Aluma ne batabani be, kubanga bonna baali basajja ba Katonda.
19 Kaakano laba, Kelamani ne baganda be baali baweereza balungi eri abantu ddala nga Moloni bwe yali; kubanga baabuuliranga ekigambo kya Katonda, era babatizanga olw’okwenenya eri abantu bonna eri buli oyo yenna eyawulirizanga ebigambo byabwe.
20 Era bwe batyo bwe bagenda mu maaso, era abantu ne beetoowazanga olw’ebigambo byabwe, ddala okutuuka nti baganja nnyo eri Mukama, era bwe batyo tebaddamu kufuna ntalo na nkayaana mu masekkati gaabwe, weewaawo, ddala okumala ebbanga lya myaka ena.
21 Naye, nga bwe ŋŋambye, nga omwaka ogw’ekkumi n’omwenda gunaatera okuggwako, weewaawo,nga oggyeko emirembe gyabwe masekkati gaabwe, baawalirizibwa awataali kweyagalira okulwanagana ne baganda baabwe, Abalamani.
22 Weewaawo, era mu nkomerero, entalo zaabwe tezaakoma okumala ebbanga lya myaka mingi n’Abalamani, wadde nga si kye baali baagala.
23 Kaakano, baali bennyamivu okukwata ebyokulwanyisa okulwanagana n’Abalamani, kubanga tebaasanyukiranga kuyiwa musaayi; weewaawo, era kino si kye kyokka; baali bennyamivu okubeera nga be baali ekkubo ery’okusindika baganda baabwe abangi ennyo okuva mu nsi eno okudda mu nsi ey’olubeerera, nga tebeetegese kusisinkana Katonda waabwe.
24 Wadde nga kyali kityo, baali tebayinza kukkiriza kufiirwa bulamu bwabwe, olwo bakazi baabwe n’abaana baabwe battibwe mu bukambwe obuyitirivu ennyo obw’abo abaali babaddeko baganda baabwe, weewaawo, era nga baali baayabulira ekkanisa yaabwe, era nga baali babeyawuddeko nga bagenze okubasanyaawo nga begatta ku Balamani.
25 Weewaawo, baali tebasobola kukigumira nti baganda baabwe basaana okujaganya olw’omusaayi gw’Abaneefi, kasita waba nga waaliwo omuntu yenna eyali asobola okukuuma ebiragiro bya Katonda, kubanga ekisuubizo kya Mukama kyali nti, bwe balikuuma ebiragiro bye balikulaakulana mu nsi.