Essuula 54
Amolooni ne Moloni bateesa ku kuwanyisiganya abasibe; Moloni ayagala Abalamani okuvaayo n’okukomya obulumbaganyi bwabwe obw’ettemu; Amolooni ayagala Abaneefi bateeke wansi ebyokulwanyisa byabwe era bafugibwe Abalamani. Nga mu mwaka gwa 63 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi abiri mu omwenda ogw’abalamuzi, olwo Amolooni yatuma eri Moloni ng’ayagala okuwanyisiganya abasibe.
2 Era olwatuuka Moloni yawulira essanyu lingi nnyo olw’okusaba kuno, kubanga yali ayagala obuyambi obwaweebwangayo olw’okujuna abasibe Abalamani bujune abantu be bennyini; era yayagala abantu be bennyini olw’okunyweza eggye lye.
3 Kaakano Abalamani baali batutte abakazi n’abaana bangi, era tewaaliwo mukazi wadde omwana mu basibe bonna aba Moloni, oba abasibe Moloni be yali atutte; n’olwekyo Moloni yasalawo okutetenkanya amagezi okufuna abasibe ab’Abaneefi okuva mu Balamani bangi nga bwe kyali kisoboka.
4 N’olwekyo yawandiika ebbaluwa, era n’agiweereza ng’ayita mu muweereza wa Amolooni, y’omu eyali aleese ebbaluwa eri Moloni. Kaakano bino bye bigambo bye yawandiikira Amolooni ng’agamba nti:
5 Laba, Amolooni, nkuwandiikidde ku bikwata ku lutalo luno lwe mwaggulawo eri abantu bange, oba ka tugambe muganda wo lwe yabaggulako, era lw’okyamaliridde okugenda na lwo maaso oluvannyuma lw’okufa kwe.
6 Laba, nandyagadde okukubuulira ebikwata ku bwenkanya bwa Katonda, era n’ekitala eky’obusungu bwe obw’amaanyi, ekibawanikiddwa okuggyako nga mwenenyezza ne muzza amagye gammwe mu nsi zammwe, oba ensi yaboobwe ey’obwannanyini, nga ye nsi ya Neefi.
7 Weewaawo, nandikugambye bino singa osobola okubiwuliriza; weewaawo, nandikugambye ku ggeyeena eyo ey’entiisa erindiridde okwaniriza abatemu nga ggwe ne muganda wo bwe mubadde, okuggyako nga mwenenyezza ne musazaamu ebigendererwa byammwe eby’obutemu, era ne muddayo n’amagye gammwe mu nsi zammwe.
8 Naye nga bwe mwagaana edda ebintu ebyo, era ne mulwanagana n’abantu ba Mukama, ddala bwe ntyo bwe nnyinza okusuubira nti mujja kuddamu okubikola.
9 Era kaakano laba, twetegese okubaaniriza; weewaawo, era okuggyako nga musazizzaamu ebigendererwa byammwe, laba, mujja kwetanuulira obusungu bwa Katonda oyo gwe mwagaana mu mmwe, ddala okutuusa ku kuzikirizibwa kwammwe okw’enkomeredde.
10 Naye, nga Mukama bw’ali omulamu, amagye gaffe gaakujja gye muli okuggyako nga muvuddeyo, era mu bwangu munaakyalirwa okufa, kubanga tujja kusigaza ebibuga byaffe n’ensi zaffe; weewaawo, era tujja kukuuma eddiini yaffe n’ensonga ya Katonda waffe.
11 Naye laba, kindowoozesa nti ebintu bino bye njogera naawe bya butaliimu nsa; oba kimpa okutebereza nti oli mwana wa ggeyeena; n’olwekyo nja kufundikira ebbaluwa yange nga nkugamba nti sijja kuwaanyisiganya basibe, okuggyako ku bukwakkulizo nti mujja kukomyawo omusajja ne mukazi we n’abaana be, olw’omusibe omu; singa eno y’ebeera ensonga nti mujja kukikola, nja kuwaanyisiganya.
12 Era laba, singa temukola kino, nja kubalumba n’amagye gange; weewaawo, ddala nja kuwa abakazi bange n’abaana bange ebyokulwanyisa, era nja kubalumba, era nja kubawondera ddala ne mu nsi yammwe, eyo nga y’ensi ey’obusika bwaffe obw’olubereberye; weewaawo, era kiribeera omusaayi olw’omusaayi, weewaawo, bulamu olw’obulamu; era nja kubeeŋŋanga mu lutalo okutuusa lwe munaazikirizibwa okuva ku nsi.
13 Laba, ndi munyiivu, era ate n’abantu bange; mufubye okututta, era ffe tusobodde kwerwanako kyokka. Naye laba, bwe munaanoonya okutuzikiriza okusingawo tujja kunoonya okubazikiriza; weewaawo, era tujja kufuna ensi yaffe, ensi ey’obusika bwaffe obw’olubereberye.
14 Kaakano nfundikira ebbaluwa yange. Nze Moloni; ndi mukulembeze w’abantu b’Abaneefi.
15 Kaakano olwatuuka Amolooni, olwafuna ebbaluwa eno, yali munyiivu; n’awandiika ebbaluwa endala eri Moloni, era bino bye bigambo bye yawandiika, ng’agamba nti:
16 Nze Amolooni, kabaka w’Abalamani; ndi muganda wa Amalikaya gwe mwatta. Laba, nja kuwoolera omusaayi gwe gye muli, weewaawo, era nja kukulumba n’amagye gange kubanga sitya kutiisatiisa kwo.
17 Kubanga laba, bajjajjammwe baasobya baganda baabwe, mu ngeri nti babanyagako eddembe lyabwe okusobola okwefuga so nga lyali lyabwe.
18 Era kaakano laba, bwe munassa wansi ebyokulwanyisa byammwe, ne mugondera okufugibwa abo bannyini bufuzi abatuufu, olwo lwe ndiragira abantu bange okussa wansi ebyokulwanyisa byabwe era tebajja kuddamu kulwana.
19 Laba, owandudde okutiisatiisa kungi gye ndi n’abantu bange; naye laba, tetutya kutiisatiisa kwo.
20 Wabula, nja kukkiriza okuwaanyisiganya abasibe nga okusaba kwo bwe kuli, n’essanyu, nsobole okukuuma emmere yange eri abasajja bange ab’olutalo; era tujja kuggulawo olutalo olulibeerera emirembe gyonna, oba okuteeka Abaneefi wansi w’obuyinza bwaffe oba okusaanawo kwabwe okw’emirembe gyonna.
21 Era ku bikwata ku Katonda oyo gw’ogamba nti twagaana, laba, tetumanyi kitonde kya mu ggulu nga ekyo; so nammwe bwe mutyo; naye bwe kiba nti waliwo ekitonde eky’omu ggulu nga ekyo, tetumanyi wabula nti ye yatutonda era nga mmwe.
22 Era singa kiba nti waliyo setaani ne ggeyeena, laba talikusindika eyo okubeera ne muganda wange gwe watta, oyo gwe wasinyizzaako nti agenze mu kifo nga ekyo? Naye laba ebintu bino tebirina makulu.
23 Nze Amolooni, era ndi muzzukulu wa Zolamu, bajjajjammwe gwe bawaaliriza ne bamuggya e Yerusaalemi.
24 Era laba kaakano, ndi Mulamani omuvumu; laba, olutalo luno lugguddwawo okwesasuza ebyabasobezebwako, era n’okukuuma n’okufuna eddembe lyabwe eri obufuzi; era nfundikira ebbaluwa yange eri Moloni.