Scriptures
Aluma 39


Ebiragiro bya Aluma eri mutabani we Kolyantoni.

Mulimu essuula 39 okutuuka 42.

Essuula 39

Ekibi ky’obukaba kizira; Ebibi bya Kolyantoni byalemesa Abazolamu okufuna kigambo; Okununulibwa kwa Kristo kutandikira mu biseera ebyayita mu kununula abaakkiriza abaakusokawo. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano, mutabani wange, nnina eby’okwogera bingiko gyoli okusinga bye nnagambye muganda wo; kubanga laba, tonnetegereza bunywevu bwa muganda wo, obwesigwa bwe, era n’obunyiikivu bwe mu kukuuma ebiragiro bya Katonda? Laba, takuwadde ekyokulabirako ekirungi?

Kubanga tewafaayo nnyo ku bigambo byange nga muganda wo bwe yakola, mu bantu b’Abazolamu. Kaakano kino kye nkwemulugunyaako; wagenda mu maaso n’okwegulumiza mu maanyi go n’amagezi go.

Era bino si bye byokka, mutabani wange. Wakola ekyo ekyali kyennyamizza gye ndi; kubanga wasuulawo obuweereza, era n’ogenda mu nsi ya Sironi mu nsalo z’Abalamani, nga ogoberera omwenzi Isabeeri.

Weewaawo, yabba emitima gy’abangi; naye kino tekyali kya kwekwasa gy’oli, mutabani wange. Wandibadde onyiikirira ku kya buweereza obwa kukwasibwa.

Tomanyi, mutabani wange, nti ebintu ebyo bizira mu maaso ga Mukama; weewaawo, ebizira okusinga ebibi byonna okuggyako nga kya kuyiwa musaayi ogutalina musango oba okwegaana Omwoyo Omutukuvu?

Kubanga laba, singa wegaana Omwoyo Omutukuvu nga yali abaddeko n’ekifo mu ggwe, era nga okimanyi nti omwegaana, laba, kino kibi ekitasonyiyikika; weewaawo, era na buli yenna atemula ng’amanyi bulungi ekitangaala era n’okumanya Katonda, si kyangu gy’ali okufuna okusonyiyibwa; weewaawo, nkugamba, mutabani wange, nti si kyangu gy’ali okufuna okusonyiyibwa.

Era kaakano, mutabani wange, nandisaba Katonda nti singa obadde tosingibwa musango munene bwe gutyo. Ssandyesigamye nnyo ku bikolobero byo, okuleetera omwoyo gwo ennyiike, singa tekibadde ku lwa bulungi bwo.

Naye laba, toyinza kukweka Katonda bikolobero byo; era okuggyako nga wenenyezza bijja kuyimirirawo nga obujulizi ku ggwe ku lunaku olw’enkomerero.

Kaakano mutabani wange, njagala wenenye era oleke ebibi byo, era oleme kuddamu kugoberera kwegomba kw’amaaso go, naye wewale ebintu bino byonna; kubanga okuggyako nga okoze kino toyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Wattu, jjukira, era okikwate butiribiri, era wewale ebintu bino.

10 Era nkulagira okikwate butiribiri okwebuzaanga ku baganda bo abakulu mu by’okola byonna; kubanga laba, oli mu buvubuka bwo, era oli mu bwetaavu bw’okugabirirwa baganda bo. Era wuliriza okubuulirira kwabwe.

11 Tokkiriza kuwaba olw’ebintu eby’obutaliimu nsa oba eby’obusirusiru; tokkiriza setaani kuddamu kuwabya mutima gwo okugoberera abenzi abo ababi. Laba, wattu mutabani wange, nga kw’amaanyi okwonoona kwe waleeta ku Bazolamu; kubanga bwe baalaba enneeyisa yo tebakkiririza mu bigambo byange.

12 Era kaakano Omwoyo wa Mukama aŋŋamba nti: Lagira abaana bo okukola ebirungi, si kulwa nga bakyamya emitima gy’abantu bangi mu kuzikirira; n’olwekyo nkulagira, mutabani wange, mu kutya Katonda, nti okomye obubi bwo;

13 Nti odde eri Mukama n’endowooza yo yonna, obusobozi, era n’amaanyi; oleme okuddamu okuwabya emitima okukola obubi; wabula oddeyo gye bali, okkirize ensobi zo n’ebikyamu by’okoze.

14 Tonoonya bugagga newakubadde ebintu eby’ensi ebitaliimu nsa; kubanga laba, tosobola kugenda nabyo.

15 Era kaakano, mutabani wange, nandyagadde okukugamba ku bikwata ku kujja kwa Kristo. Laba, nkugamba, nti ye wuuyo mazima ddala alijja okuggyawo ebibi by’ensi; weewaawo, ajja okulangirira amawulire amalungi ag’obulokozi eri abantu be.

16 Era kaakano, mutabani wange, buno bwe bwali obuweereza bwe wali wayitibwamu, okulangirira amawulire gano amalungi eri abantu bano, okuteekateeka endowooza zaabwe; oba okusingawo nti obulokozi busobole okujja gye bali, olwo balyoke bateeketeeke endowooza z’abaana baabwe okuwulira ekigambo mu kiseera eky’okujja kwe.

17 Era kaakano nja kutebenkeza endowooza yo katono ku nsonga eno. Laba, weewuunya lwaki ebintu bino byandibadde bimanyibwa mangu nga tebinnabaawo. Laba, nkugamba nti, omwoyo mu kiseera kino si gwa muwendo eri Katonda nga omwoyo bwe gulibeera mu kiseera eky’okujja kwe?

18 Tekyetaagisa nti entegeka ey’okununulibwa erina okumanyisibwa eri abantu bano era nga bwe kiri eri n’abaana baabwe?

19 Si kyangu mu kiseera kino Mukama okutuma malayika we okulangirira amawulire gano ag’essanyu gye tuli era nga eri abaana baffe, oba n’oluvannyuma olw’ekiseera eky’okujja kwe?