Scriptures
Aluma 46


Essuula 46

Amalikaya yekoobaana okubeera kabaka; Moloni ayimusa bendera ey’emirembe; Akuŋŋaanya abantu okulwanirira eddiini yaabwe; Abakkiriza abatuufu bayitibwa Abakristaayo; Abaaffikkawo okuva mu lunyiriri lwa Yusufu balikuumibwa; Amalikaya ne bakyewaggula baddukira mu nsi ya Neefi; Abo abataawagire nsonga ya ddembe battibwa. Nga mu mwaka gwa 73–72 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka abangi nga bwe bataatekayo mwoyo ku bigambo bya Keramani ne baganda be bakuŋŋaanira wamu okulwanyisa baganda baabwe.

Era kaakano laba, baali basunguwavu byansuso, mu ngeri nti baali bamalirivu okubatta.

Kaakano omukulembeze w’abo abaali basunguwalidde baganda baabwe yali musajja munene era nga wa maanyi; era erinnya lye yali Amalikaya.

Era Amalikaya yali ayagala nnyo okubeera kabaka; era n’abo abantu abaali basunguwadde nabo baali baagala nnyo abeere kabaka waabwe; era be baali ekitundu ekisinga obunene ku abo abalamuzi aba wansi ab’ensi, era baali banoonya buyinza.

Era baali bakulembeddwa okuwaniriza kw’Amalikaya, nti bwe banamuwagira ne bamuteekawo okubeera kabaka waabwe nti ajja kubafuula abafuzi eri bantu.

Bwe batyo bwe bakyamizibwa Amalikaya okwewaggula, wadde nga okubuulira kwaliwo okwa Keramani ne baganda be, weewaawo, wadde nga baalina okufaayo kungi nnyo eri ekkanisa, kubanga baali bakabona ab’oku ntikko eri ekkanisa.

Era mu kkanisa mwalimu bangi abakkiririza mu bigambo bya Amalikaya eby’okuwaaniriza, n’olwekyo ddala bewaggula okuva ku kkanisa; era bwe zityo ensonga z’abantu ba Neefi bwe zaalimu obunkenke obungi ennyo era nga za bulabe, wadde nga obuwanguzi bwabwe bwe baali bafunye eri Abalamani bwali bw’amaanyi, era n’okusanyuka kwabwe okw’amaanyi kwe baali bafunye olw’okununulibwa kwabwe olw’omukono gwa Mukama.

Bwe tutyo tulaba engeri abaana b’abantu gye beerabiramu Mukama Katonda waabwe amangu, weewaawo, engeri gye banguwa okwonoona, n’okukyamizibwa omubi.

Weewaawo, era ate tulaba obubi obw’amaanyi ennyo omusajja omu omubi ennyo bw’ayinza okukola ne bubuna mu baana b’abantu.

10 Weewaawo, tulaba nti Amalikaya, kubanga yali musajja ow’obukujjukujju era nga musajja wa bigambo bingi ebiwaaniriza, nti yakyamya emitima gy’abantu bangi okukola obubi; weewaawo, era n’okunoonya okuzikiriza ekkanisa ya Katonda, era n’okuzikiriza omusingi gw’eddembe Katonda lye yali abawadde, oba omukisa Katonda gwe yali asindise ku lukalu lw’ensi olw’obutuukirivu.

11 Era kaakano olwatuuka Moloni, eyali ssabadduumizi ow’amagye g’Abaneefi, bwe yali awulidde ku bwakyewaggula buno, yali munyiivu eri Amalikaya.

12 Era olwatuuka yayuzaamu ekizibawo kye; era n’aggyako ekitundu ku kyo, n’akiwandiikako; Mu kujjukira Katonda waffe, eddiini yaffe, era n’eddembe lyaffe, era n’emirembe gyaffe, bakazi baffe, era n’abaana baffe; era n’akisiba okukinywereza ku nkomerero y’omusituliro.

13 Era yasiba n’anyweza ku kyambalo kye ekyokumutwe gwe, ne ku kyambalo kye ekyomukifuba kye, n’engabo ze, n’anyweza n’ebyambalo bye mu kiwato kye; era n’atwala omusituliro, ogwaliko ekizibawo kye ekiyuze, (era n’agiyita bendera ey’emirembe) n’avunnama ku ttaka, era n’asaba nnyo eri Katonda we olw’emikisa egy’emirembe okubeera ku baganda be, kasita walibaawo ekibinja ky’abakristaayo abanasigala okubeera mu nsi eyo;

14 Kubanga bwe batyo bonna abakkiriza ba Kristo ab’amazima, abaali ab’ekkanisa ya Katonda, bwe bayitibwanga abo abataali ba kkanisa.

15 Era abo abaali ab’ekkanisa baali beesigwa; weewaawo, abo bonna abaali abakkiriza ab’amazima mu Kristo bayitibwa, n’essanyu, erinnya lya Kristo, oba Abakristaayo nga bwe baayitibwanga, olw’okukkiriza kwabwe mu Kristo eyalina okujja.

16 Era n’olwekyo, mu kiseera kino, Moloni yasaba ensonga y’Abakristaayo, era n’eddembe ly’ensi bisobole okuwagirwa.

17 Era olwatuuka bwe yali amaze okuyiwa emmeeme ye eri Katonda, n’atuuma ensi yonna eyali mu bukiika obwa ddyo obw’ensi Matongo, weewaawo, era mu nkomerero, ensi yonna, zombi mu bukiika obwa kkono ne mu bukiika obwa ddyo; Ensi ennondemu, era ensi ey’eddembe.

18 Era n’agamba nti: Mazima Katonda tajja kutuleka ffe, abanyoomebwa kubanga tuyitibwa erinnya lya Kristo, okulinnyirirwa wansi ne tuzikirizibwa, okutuusa nga ffe tukyereeseko olw’ensobi zaffe.

19 Era Moloni bwe yamala okwogera ebigambo bino, n’agenda mu bantu, ng’awuuba ekiwero kye yayuza ku kyambalo kye mu bbanga, nti bonna basobole okulaba ebiwandiiko bye yali awandiise ku kiwero, era ng’alangirira n’eddoboozi ery’omwanguka, ng’agamba:

20 Laba, buli oyo yenna an’akuuma akabonero kano mu nsi, kale baveeyo mu maanyi ga Mukama, balagaane endagaano nti banaakuumanga eddembe lyabwe ery’obwebange, n’eddiini yaabwe, Mukama Katonda asobole okubawa omukisa.

21 Era olwatuuka Moloni bwe yali alangiridde ebigambo bino, laba, abantu ne bajja nga baddukira wamu n’ebyambalo byabwe eby’olutalo nga bisibiddwa mu biwato byabwe, nga bayuza ebyambalo byabwe ng’akabonero, oba nga endagaano, nti tebalirekulira Mukama Katonda waabwe; oba, mu ngeri endala, singa baba nga basobezza ebiragiro bya Katonda, oba okugwa mu nsobi, ne basonyiwala okuyitibwa erinnya lya Kristo, Mukama asaana okubayuza ddala nga bwe baali bayuzizza ebyambalo byabwe.

22 Kaakano eno ye yali endagaano gye baakola, ne basuula ebyambalo byabwe ku bigere bya Moloni, nga bagamba: Tulagaana ne Katonda waffe, nti tujja kuzikirizibwa, ddala nga baganda baffe mu nsi ey’obukiika obwa kkono, singa tunaagwa mu nsobi; weewaawo, atukasuke ku bigere by’abalabe baffe, ddala nga naffe bwe tukasuse ebyambalo byaffe ku bigere byo okulinnyirirwa wansi w’ekigere, singa tunaagwa mu nsobi.

23 Moloni n’abagamba nti: Laba, ffe abaafikkawo ku zzadde lya Yakobo; weewaawo, ffe tuli abaafikkawo ku zzadde lya Yusufu, ekizibawo kye ekyayuzibwa baganda be mu butundu tundu obungi; weewaawo, era kaakano laba, kale tujjukirenga okukuuma ebiragiro bya Katonda, oba ebyambalo byaffe bijja kuyuzibwa baganda baffe, era tusuulibwe mu kkomera, oba okutundibwa, oba okuttibwa.

24 Weewaawo, katukuumenga eddembe lyaffe ng’abaafikkawo ku zadde lya Yusufu; weewaawo, katujjukirenga ebigambo bya Yakobo, nga tannafa, kubanga laba, yalaba nti ekitundu ku baafikkawo ku kizibawo kya Yusufu kyakuumibwa era nga tekivundanga. Era n’agamba nti; Ddala nga kino ekyafikkawo ku kyambalo kya mutabani wange bwe kikuumiddwa, bwe batyo n’abalifikkawo ku zzadde lya mutabani wange bwe balikuumibwa omukono gwa Katonda, era batwalibwe gyali, ate nga abasigadde ku be zzadde lya Yusufu balizikirira, ddala nga ekyafikkawo eky’ekyambalo kye.

25 Kaakano laba, kino kiwa emmeeme yange ennaku; wabula, emmeeme yange erina essanyu mu mutabani wange, olw’ekitundu ekyo eky’ezzadde lye eriritwalibwa eri Katonda.

26 Kaakano laba, eno yeyali enjogera ya Yakobo.

27 Era kaakano ani amanyi oba mpozzi ng’abaafikkawo ku zzadde lya Yusufu, abanazikirira nga ekyambalo kye, beebo abatwewagguddeko? Weewaawo, era ddala bajja kuba ffe fennyini bwe tutanywerera mu kukkiriza kwa Kristo.

28 Era kaakano olwatuuka Moloni bwe yamaliriza okwogera ebigambo bino n’agenda mu maaso, era n’atuma ababaka mu bitundu byonna eby’ensi awaali okwewaggula, n’akuŋŋaanya wamu abantu bonna abaali baagala okukuuma eddembe lyabwe, okuwakanya Amalikaya n’abo abaali baabeewaggulako, abaali bayitibwa Abamalikaya.

29 Era olwatuuka Amalikaya bwe yalaba abantu ba Moloni nga bayitirivu okusinga Abamalikaya; era n’alaba ng’abantu be baali babuusabuusa ku bikwata ku bwenkanya bw’ekigendererwa kye baali bewaddeyo okutuukiriza; n’olwekyo, ng’atya nti ayinza obutafuna kigendererwa kye, yatwala abo ku bantu be abaali basobola ne boolekera mu nsi ya Neefi.

30 Kaakano Moloni yalowooza nti kyali tekyetaagisa Abalamani okuba nga balina amaanyi amalala gonna; n’olwekyo yalowooza okukomya abantu ba Amalikaya, oba okubatwala n’okubakomyawo, era atte Amalikaya; weewaawo, kubanga yali akimanyi nti ajja kusiikuula Abalamani okubasunguwalira, era abalagire okujja okubalwanyisa; era kino yakimanya nti Amalikaya yandikola ekyo okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye.

31 N’olwekyo Moloni yalowooza nti kyali kimwetaagisa okutwala amagye ge, agaali geekuŋŋaanyizza awamu, era nga gakute ebyokulwanyisa, era nga gaalagaana endagaano okukuuma emirembe; era olwatuuka y’atwala eggye lye ne lifulumayo ne weema ze okudda mu lukoola, okukomya olugendo lw’Amalikaya mu lukoola.

32 Era olwatuuka y’akola nga bwe yali ayagadde, era y’agenda mu lukoola, era n’akulembera amagye ga Amalikaya.

33 Era olwatuuka Amalikaya y’adduka n’omuwendo mutono ku basajja be, era abasigalawo baweebwayo mu mikono gya Moloni era ne bazibwayo mu nsi y’e Zalakemula.

34 Kaakano, Moloni kubanga yali musajja eyalondebwa bassabalamuzi n’eddoboozi ly’abantu, n’olwekyo yalina obuyinza okusinziira ku kwagala kwe wamu n’amagye g’Abaneefi, okuteekawo n’okukozesa obuyinza ku bo.

35 Era olwatuuka oyo yenna ku Bamalikaya abagaana okulagaana endagaano okuwagira ensonga ey’eddembe, basobole okukuuma obufuzi obw’eddembe, yalagira battibwe; era waaliwo naye batono nnyo abagaana endagaano ey’eddembe.

36 Era olwatuuka, n’alagira bendera ey’emirembe okuwanikibwa ku buli munaala ogwali mu nsi yonna, ogwali ogw’Abaneefi; era bwatyo Moloni bwe yassawo omutindo ogw’eddembe mu Baneefi.

37 Era batandika okuddamu okufuna emirembe mu nsi; era bwe batyo baakuuma emirembe mu nsi kumpi okutuusa ku nkomerero ey’omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

38 Era Keramani ne bakabona ab’oku ntikko nabo baaleetawo obutebenkevu mu kkanisa; weewaawo, ddala okumala ebbanga lya myaka ena baalina emirembe mingi era n’okusanyuka mu kkanisa.

39 Era olwatuuka waaliwo bangi abaafa, nga bakkiririza ddala nti emyoyo gyabwe gyanunulibwa Mukama Yesu Kristo; bwe batyo baava mu nsi nga basanyufu.

40 Era waaliwo abamu abaafa olw’omusujja, nga guno mu biseera ebimu eby’omwaka gwabeerangawo nnyo mu nsi; naye nga si nnyo n’omusujja, olw’embeera ennungi ennyo ez’ebimera n’emirandira ebingi Katonda bye yali ategese okuggyawo ensibuko y’endwadde, abantu ze baali bayitamu olw’embeera y’obudde;

41 Naye waaliwo bangi abaafa nga bakaddiye; era abo abaafiira mu kukkiriza Kristo basanyufu mu ye, nga bwe tulina okuteebereza.