Essuula 23
Eddembe ery’okusoma eddiini lirangiriddwa; Abalamani mu nsi musanvu n’ebibuga bakyusibwa; Beeyita b’Anti-Neefi-Leki era ne basumululwa okuva mu kikolimo; Abamaleki n’Abamulooni bagaana amazima. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Laba, kaakano olwatuuka kabaka w’Abalamani yasindika ekirangiriro mu bantu be bonna, nti tebalina kukwata ku Amoni, oba Alooni, oba Omuneeri, oba Kimuni, wadde n’omu ku baganda baabwe abaali bagenda okubuulira ekigambo kya Katonda, mu kifo kyonna gye banaabeera, mu kitundu kyonna eky’ensi yaabwe.
2 Weewaawo, yayisa ekiragiro mu bo, baleme kubakwatako okubasiba, oba okubasuula mu kkomera; wadde okubawandulira amalusu, newakubadde okubakuba, newakubadde okubagoba mu makuŋŋaaniro gaabwe, newakubadde okubakyunya; wadde okubakasukira amayinja, naye nti baleme okuziyizibwa okuyingira mu mayumba gaabwe, era ate ne mu yeekaalu zaabwe, era ne mu bifo byabwe ebitukuvu.
3 Era bwe batyo balyoke bagende era babuulire ekigambo nga bwe baagala, kubanga kabaka yali akyusiddwa okudda eri Mukama, n’ab’enju ye bonna; n’olwekyo kyeyava ayisa ekirangiriro kye mu nsi yonna eri abantu be, nti ekigambo kya Katonda kireme kuba na kiremya, wabula kigende mu nsi yonna, nti abantu be babakkirizise ebikwata ku bulombolombo bwa bajjajjaabwe, era babakkirizise nti bonna baali baluganda, era nti tebalina kutemula, wadde okunyaga, newakubadde okubba, newakubadde okukola obwenzi, newakubadde okukola obubi obw’engeri yonna.
4 Era kaakano olwatuuka kabaka nga ayisizza ekirangiriro kino, olwo Alooni ne baganda be ne bagenda nga bava kibuga ku kibuga, era n’okuva ku ssinzizo erimu okudda ku ddala, nga batandikawo amakanisa, era nga batongoza bakabona n’abasomesa mu nsi yonna mu Balamani, okubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda mu bo; era bwe batyo ne batandika okufuna obuwanguzi obw’amaanyi.
5 Era enkumi n’enkumi zaaleetebwa okumanya Mukama, weewaawo, enkumi n’enkumi zaaleetebwa okukkiririza mu bulombolombo bw’Abaneefi; era ne bayigirizibwa ebiwandiiko n’obunnabbi ebyasikizibwanga n’okutuusa mu kiseera kino.
6 Era nga bwe kikakasibwa nti Mukama mulamu, bwe kikakasibwa ddala nti nga bonna bwe bakkiriza, oba nga bonna bwe baleetebwa mu kumanya amazima, okuyita mu kubuulira kwa Amoni ne baganda be, okusinziira ku Mwoyo ogw’okubikkulirwa n’ogw’obunnabbi, n’amaanyi ga Katonda agaakola eby’amagero mu bo; weewaawo, mbagamba nti, nga Mukama bw’ali omulamu, nga bonna ku Balamani bwe bakkiririza mu kubuulira kwabwe, era ne bakyusibwa okudda eri Mukama, tebaaterebuka.
7 Kubanga baafuuka abantu abatuukirivu; baateeka wansi ebyokulwanyisa eby’obujeemu bwabwe, ne bataddiramu ddala kulwanyisa Katonda, wadde baganda baabwe bonna.
8 Kaakano, bano beebo abaakyuka okudda eri Mukama:
9 Abantu b’Abalamani abaali mu nsi ya Isimayiri;
10 Era n’abantu b’Abalamani abaali mu nsi y’e Middoni;
11 Era n’abantu b’Abalamani abaali mu kibuga kya Neefi;
12 Era n’abantu b’Abalamani abaali mu nsi ya Siroomu, era n’abaali mu nsi ya Semulooni, ne mu kibuga kya Lemweri, ne mu kibuga kya Simuniromu.
13 Era gano ge mannya g’ebibuga by’Abalamani ebyakyusibwa okudda eri Mukama; era bano beebo abaateeka wansi ebyokulwanyisa eby’obujeemu bwabwe, weewaawo, ebyokulwanyisa byabwe byonna eby’olutalo; era bonna baali Balamani.
14 Abamaleki tebaakyuka, okuggyako omu yekka; era tewaali n’omu ku Bamulooni; naye baakakanyaza emitima gyabwe, era n’emitima gy’Abalamani mu kitundu ekyo eky’ensi gye baabeeranga, weewaawo, era n’ebyalo byabwe byonna era n’ebibuga byabwe byonna.
15 N’olwekyo, tumenye amannya g’ebibuga byonna eby’Abalamani gye beenenya ne batuuka ku kumanya amazima, era nebakyusibwa.
16 Era kaakano olwatuuka kabaka era n’abo abaakyuka baayagala bafune erinnya, olwo basobole okwawulwa ku baganda baabwe; n’olwekyo kabaka kyeyava yeebuuza ku Alooni n’abangi ku bakabona baabwe, ku bikwata ku linnya lye baali bagenda okwetuuma, basobole okwawulwa.
17 Era olwatuuka baatuuma amannya gaabwe Anti-Neefi-Leki; era ne bayitibwa erinnya lino era nga tebakyayitibwa Balamani.
18 Era batandika okuba abantu abakozi ennyo; weewaawo, era baali ba mukwano n’Abaneefi; n’olwekyo, baggulawo empuliziganya nabo, era ekikolimo kya Katonda tekyaddamu kubagoberera.