Essuula 56
Keramani aweereza ebbaluwa eri Moloni, ng’alombojja embeera ey’olutalo n’Abalamani; Antipasi ne Keramani bafuna obuwanguzi obw’amaanyi ku Balamani; Embulakalevu enkumi bbiri aba Keramani balwana n’amaanyi ag’ekyamagero, era ne wataba n’omu ku bo attibwa. Olunyiriri 1, nga mu mwaka gwa 62 nga Kristo tannazaalibwa; ennyiriri 2–19, nga mu mwaka gwa 66 nga Kristo tannazaalibwa; n’ennyiriri 20–57, nga mu mwaka gwa 65–64 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi asatu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, ku lunaku olw’okubiri mu mwezi ogw’olubereberye, Moloni yafuna ebbaluwa okuva ewa Keramani, ng’ekkaatiriza ensonga z’abantu mu kitundu ekyo eky’ensi.
2 Era bino bye bigambo bye yawandiika, ng’agamba nti: Muganda wange omwagalwa ennyo, Moloni, nga bwe kiri mu Mukama ne mu bunaku obw’olutalo lwaffe; laba, muganda wange omwagalwa, nnina kye nandyagadde okukugamba ekikwata ku lutalo lwaffe mu kitundu kino eky’ensi.
3 Laba, enkumi bbiri ku batabani b’abasajja abo Amoni be yaserengesa okuva mu nsi ya Neefi; kaakano otegedde nti bano baali bazzukulu ba Lamani, eyali omutabani omukulu owa kitaffe Leki;
4 Kaakano tekinnetaagisa kukubuulira bikwata ku bulombolombo bwabwe oba obutakkiriza bwabwe, kubanga ebintu bino byonna obimanyiiko;
5 N’olwekyo kimala okukugamba nti enkumi bbiri ku bavubuka embulakalevu bano bakutte ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, era baagadde mbeere omukulembeze waabwe; era tuvuddeyo okulwanirira ensi yaffe.
6 Era kaakano ate naawe omanyi ebikwata ku ndagaano bakitaabwe gye baalagaana, nti tebalikwata byakulwanyisa byabwe eby’olutalo okulwanyisa baganda baabwe okuyiwa omusaayi.
7 Naye mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga, bwe baalaba ebibonoobono byaffe n’obunaku bwaffe ku lwabwe, baali banaatera okumenya endagaano gye baali baalagaana, era bakwate ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo okutulwanirira.
8 Naye nnali siyinza kubaleka kumenya ndagaano eno gye baali baalagaana, nga ndowooza nti Katonda ajja kutugumya, okutuuka nti tetujja kubonaabona kisingawo olw’okutuukiriza ekirayiro kye baali bakoze.
9 Naye laba, wano waliwo ekintu kimu ekiyinza okutuwa essanyu. Kubanga laba, mu mwaka ogw’amakumi abiri mu mukaaga, nze, Keramani, nnatambula nga nkulembeddemu abavubuka bano enkumi ebbiri okutuuka mu kibuga eky’e Buyudaaya, okuyambako Antipasi, gwe mwali mulonze okubeera omukulembeze eri abantu ab’ekitundu ekyo eky’ensi.
10 Era nnegatta ku batabani bange enkumi ebbiri, (kubanga bagwanidde okuyitibwa abatabani) eri eggye lya Antipasi, amaanyi Antipasi ge yasanyukira ennyo; kubanga laba, eggye lye lyali likendeezeddwa Abalamani kubanga amagye gaabwe gaali gasse omuwendo munene nnyo ogw’abasajja baffe, ensonga gye tulina okukungubagira.
11 Wadde nga kiri kityo, tusobola okwekubagiza mu nsonga eno, nti bafiiriridde ebigendererwa eby’ensi yaabwe n’ebya Katonda waabwe, weewaawo, era basanyufu.
12 Era n’Abalamani nabo baali ate basigazza abasibe bangi, bonna nga bassenkulu ab’eggye, kubanga tewali mulala gwe balesse nga mulamu. Era tulowooza nti kaakano mu kiseera kino bali mu nsi ya Neefi; bwe kityo bwe kiri singa babeera nga tebannattibwa.
13 Era kaakano bino bye bibuga Abalamani bye bafunye olw’okuyiwa omusaayi gw’abasajja baffe abazira abangi ennyo:
14 Ensi ya Manti, oba ekibuga Manti, era n’ekibuga kya Zeziromu, n’ekibuga Kumeni, n’ekibuga Antipala.
15 Era bino by’ebibuga bye baalina we nnatuukira mu kibuga eky’e Buyudaaya; era nnasanga Antipasi n’abasajja be nga balafuubana n’amaanyi gaabwe okunyweza eby’okwerinda by’ekibuga.
16 Weewaawo, era baali banyigirizibwa mu mubiri ne mu mwoyo, kubanga baali balwanye n’obuzira emisana era ne balafuubananga ekiro okulabirira ebibuga byabwe; era bwe batyo baali bayise mu bibonoobono eby’amaanyi ebya buli ngeri.
17 Era kaakano baali bamalirivu okuwangula mu kifo kino oba okufa; n’olwekyo oyinza bulungi okuteebereza nti amagye gano amatono ge nnajja nago, weewaawo, batabani bange abo, baabawa essuubi ly’amaanyi n’essanyu lingi.
18 Era kaakano olwatuuka Abalamani bwe baalaba nga eggye lya Antipasi lyali lyeyongeddeko obunene, ne bawalirizibwa olw’ebiragiro bya Amolooni obutalumba kibuga eky’e Buyudaaya, oba okutulumba, okulwana.
19 Era bwe tutyo bwe twasaasirwa Mukama; kubanga singa baatulumba mu bunafu bwaffe buno osanga bandibadde bazikiriza eggye lyaffe ettono; naye bwe tutyo bwe twakuumibwa.
20 Baalagirwa Amolooni okukuuma ebibuga ebyo bye baali batutte. Era bwe gutyo omwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga bwe gwaggwako. Era ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu twali tutegese ekibuga kyaffe naffe ffennyini olw’eby’okwerinda.
21 Kaakano twali twagala Abalamani bebabeera batulumba; kubanga ffe twali tetwagala kubalumba mu bigo byabwe.
22 Era olwatuuka twakuumira abakessi ebweru okwetooloolawo, okwekkaanya entambula z’Abalamani, olwo baleme okutuyitako ekiro wadde emisana okukola obulumbaganyi ku bibuga byaffe ebirala ebyali ku luuyi olw’ebukiikakkono.
23 Kubanga twakimanya nti mu bibuga ebyo tebaali b’amaanyi kimala kubeŋŋanga; n’olwekyo twayagala, singa babeera batuyitako, okubalumba nga tubavudde emabega, era bwe tutyo tubalumbe okuva emabega era nga mu kiseera ky’ekimu nga balumbiddwa ne mu maaso. Twalowooza nti tusobola okubawangula; naye laba, twasaalirwa nnyo obutatuukiriza kigendererwa kyaffe kino.
24 Tebeetantala kutuyitako n’eggye lyabwe lyonna, wadde okwetantala n’ekitundu ku lyo, si kulwa nga si bamaanyi kimala era ne bawangulwa.
25 So era tebeetantala kuserengeta eky’emmanga okulumba ekibuga Zalakemula; so era tebeetantala kusomoka nsibuko ya Sidoni, okutuuka mu kibuga Nefayika.
26 Era bwe batyo, n’amagye gaabwe, baali bamalirivu okufuga ebibuga ebyo bye baali batutte.
27 Era kaakano olwatuuka mu mwezi ogw’okubiri ogw’omwaka guno, awo twaleeterwa obugabirizi bungi okuva eri bakitaabwe b’abatabani bange abo enkumi ebbiri.
28 Era ate waasindikibwayo abasajja enkumi bbiri gye twali okuva mu nsi ya Zalakemula. Era bwe tutyo twali twetegese n’abasajja omutwalo gumu, era n’obugabirizi obwabwe, era ne bakazi baabwe n’abaana baabwe.
29 Era Abalamani, bwe batyo bwe baalaba amagye gaffe nga geeyongera mu bungi buli lunaku, era n’obugabirizi nga butuuka okutuzaamu amaanyi, baatandika okutya, era ne batandika okulumba, singa kyali kisoboka okussa ekkomo ku kufuna kwaffe obugabirizi n’abalwanyi.
30 Kaakano bwe twalaba ng’Abalamani batandise okusoberwa mu ngeri eno, twayagala okusala amagezi mu bukujjukujju gakole gye bali; n’olwekyo Antipasi yalagira ŋŋende ne batabani bange embulakalevu mu kibuga ekirinaanyewo, tubeere nga abatwala obugabirizi mu kibuga ekirinaanyewo.
31 Era twali tulina okutambulira okumpi n’ekibuga ky’e Antipala, nga tulinga abagenda mu kibuga emitala, ku nsalo ku lubalama lw’ennyanja.
32 Era olwatuuka twatambula okugenda mu maaso, nga tulinga abalina obugabirizi bwaffe okwolekera ekibuga ekyo.
33 Era olwatuuka Antipasi yatambula okugenda n’ekitundu ku ggye lye, n’aleka abaali abasigaddewo okukuuma ekibuga. Naye yalindako mmale okugenda n’eggye lyange ery’abato, era ne tujja okumpi n’ekibuga Antipala.
34 Era kaakano, mu kibuga Antipala eyo we waali wateereddwa eggye erisinga amaanyi ery’Abalamani; weewaawo, abasinga obungi.
35 Era olwatuuka bwe baamala okutegeezebwa abakessi baabwe, bajja n’eggye lyabwe ne batambula okutulumba.
36 Era olwatuuka twabaddukako, okudda mu bukiikakkono. Era bwe tutyo bwe twakulemberamu eggye erisinga amaanyi mu Balamani;
37 Weewaawo, ddala okutuuka ewala ennyo, ddala okutuusa nti bwe baalaba eggye lya Antipasi nga libawondera, n’amaanyi gaabwe, tebaaweta ku ddyo wadde ku kkono, wabula baatambula butereevu nga batugoberera; era, nga bwe twalowooza, kyali kigendererwa kyabwe okututta nga Antipasi tannabatuukako, era kino baakikola baleme okuzingizibwa abantu baffe.
38 Era kaakano Antipasi, bwe yalaba omutawaana gwaffe, yayanguwa okujja n’eggye lye. Naye laba, bwali bwa kiro; n’olwekyo tebaatutuukako, so ne Antipasi teyabatuukako; n’olwekyo twakubawo enkambi ekiro ekyo.
39 Era olwatuuka nga obudde tebunnakya, laba, Abalamani baali batugoberera. Kaakano tetwali baamaanyi kimala kulwana nabo; weewaawo, nnali siyinza kukkiriza batabani bange abato okugwa mu mikono gyabwe; n’olwekyo kyetwava tweyongerayo n’okutambula kwaffe, era twatambulira ddala okutuuka mu lukoola.
40 Kaakano tebeetantala kukyuka ku ddyo wadde ku kkono si kulwa nga bazingizibwa; so nange nga sisobola kukyuka ku ddyo wadde ku kkono si kulwa nga baantuukako, era ate nga tetusobola kubaŋŋanga, okuggyako okuttibwa, era baalifunye webatolokera; era bwe tutyo twadduka olunaku olwo lwonna mu lukoola, okutuusa obudde bwe bwaziba.
41 Era olwatuuka nate, ng’ekitangaala eky’oku makya kizze twalaba Abalamani nga banaatera okututuukako, era twabadduka.
42 Naye olwatuuka tebatugoberera kugenda wala nga tebannayimirira; era obudde bwali bwa ku makya ku lunaku olw’okusatu mu mwezi ogw’omusanvu.
43 Era kaakano, oba Antipasi yabatuukako tetwamanya, naye nnagamba abasajja bange: Laba, tetumanyi naye tulowooza nti kisoboka okuba nga bayimiridde olw’ekigendererwa ffe tubalumbe, balyoke batukwatire mu katego kaabwe;
44 N’olwekyo mugamba ki, batabani bange, munaagenda okubalwanyisa?
45 Era kaakano nkugamba, muganda wange omwagalwa Moloni, nti sirabangako buvumu bungi bwe butyo, nedda, si mu Baneefi bonna.
46 Kubanga nga bwe nnabayitanga batabani bange (kubanga bonna baali bato nnyo) ddala bwe batyo ne baŋŋamba nti: Kitaffe, laba Katonda waffe ali naffe, era tajja kutuleka kuttibwa; kale katugende mu maaso; tetwandisse baganda baffe singa batuleka fekka; kale tugende, si kulwa nga bawangula eggye lya Antipasi.
47 Kaakano baali tebalwanangako, naye nga tebatya kufa; era okusinga baalowooza ku ddembe lya bakitaabwe okusinga bwe baalowooza ku bulamu bwabwe; weewaawo, baali bayigiriziddwa bannyaabwe, nti singa tebabuusabuusa, Katonda yali wakubanunula.
48 Era baantegeeza ebigambo bya bannyaabwe nga bagamba nti: Tetubuusabuusa bannyaffe baali bakimanyiko.
49 Era olwatuuka nnakomawo n’enkumi zange ebbiri okulwanyisa Abalamani bano abaali batugoberedde. Era kaakano laba, amagye ga Antipasi gaali gabatuuseko, era olutalo olw’entiisa lwali lutandise.
50 Eggye lya Antipasi nga likooye, olw’okutambula kwabwe okuwanvu mu bbanga ettono ennyo, lyali linaatera okugwa mu mikono gy’Abalamani; era singa ssaakomawo n’enkumi zange ebbiri bandifunye kye baali baluubirira.
51 Kubanga Antipasi yali attiddwa n’ekitala, era nga bangi ku bakulembeze be, olw’obukoowu bwabwe, obwava ku bwangu bw’okutambula kwabwe; n’olwekyo abasajja ba Antipasi, nga basobeddwa olw’okufa kw’abakulembeze baabwe, baatandika okudduka okuviira Abalamani.
52 Era olwatuuka Abalamani baaguma, era baatandika okubawondera; era bwe batyo Abalamani bwe baali babawondera n’amaanyi mangi olwo Keramani we yabalumbira okuva e mabega wabwe n’enkumi ze ebbiri, n’atandika okubatta ennyo, ddala okutuusa nti eggye lyonna ery’Abalamani lyayimirira ne likyukira Keramani.
53 Kaakano abantu ba Antipasi bwe baalaba ng’Abalamani babakubye amabega, baakuŋŋaanya abasajja baabwe ne baddamu nate okulumba Abalamani nga babava e mabega.
54 Era kaakano olwatuuka ffe, abantu ba Neefi, abantu ba Antipasi, era nange n’enkumi zange ebbiri, twazingiza Abalamani, era ne tubatta; weewaawo, okutuusa nga baawalirizibwa okuwaayo ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo era nabo bennyini ng’abasibe ab’olutalo.
55 Era kaakano olwatuuka bwe baamala okwewaayo gye tuli, laba, nnabala abavubuka abo abaali balwanye wamu nange, nga ntya nti wandibeerawo bangi ku bo abattiddwa.
56 Naye laba, ku lwe essanyu lyange eringi, tewaaliwo wadde muntu n’omu ku bo eyali afudde; weewaawo, era baali balwanye nga balinga abaalina amaanyi ga Katonda; weewaawo, abantu tebamanyibwangako kulwana n’amaanyi ag’ekyamagero bwe gatyo; era n’amaanyi ag’ekitalo bwe gatyo balumba Abalamani, nti babaleetera okutya; era olw’ensonga eno Abalamani beewaayo bo bennyini ng’abasibe b’olutalo.
57 Era nga bwe tutaalina kifo kya basibe baffe, okusobola okubakuuma obutatwalibwa magye g’Abalamani, n’olwekyo twabaweereza mu nsi y’e Zalakemula, era n’ekitundu ku basajja abo abatattibwa Antipasi, awamu nabo; era abaasigalawo nnabatwala ne mbagatta ku mbulakalevu zange Abamooni, era twakwata olugendo lwaffe okuddayo mu kibuga eky’e Buyudaaya.