Essuula 37
Embaati ez’ekikomo n’ebyawandiikibwa ebirala bikuumiddwa okuleeta emyoyo eri obulokozi; Abayaledi baazikirizibwa olw’obubi bwabwe; Ebirayiro byabwe eby’ekyama n’endagaano zaabwe birina okukwekebwa okuva eri abantu; Mwebuzenga ku Mukama mu byonna bye mukola; Nga Liyakona bwe yaluŋŋamya Abaneefi, bwe kityo ekigambo kya Kristo kiruŋŋamya abantu eri obulamu obutaggwaawo. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, mutabani wange Keramani, nkulagira otwale ebiwandiiko ebyankwasibwa;
2 Era ate nkukuutira okukuuma ekiwandiiko ku bantu bano, okusinziira nga bwe nkoze, ku mbaati za Neefi, era ebintu bino byonna byenkuumye, obikuume nga bitukuvu, ddala nga bwe mbikuumye; kubanga kigendererwa kya magezi okuba nti bikuumibwa.
3 Era n’embaati zino ez’ekikomo, eziriko ebyole bino, eziriko ebiwandiiko by’ebyawandiikibwa ebitukuvu, eziriko obuzaale bwa bajjajjaffe, okuviira ddala ku lubereberye;
4 Laba, kyawebwako obunnabbi bajjajjaffe, nti zirina okuterekebwa era ne zisikizibwa okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala, era ziterekebwe n’okukuumibwa omukono gwa Mukama okutuusa lwe zirituuka mu buli ggwanga, ekika, olulimi, era n’abantu, balyoke bamanye ebyekusifu ebiziriko.
5 Era kaakano laba, singa ziterekebwa zirina okusigaza okumasamasa kwazo; weewaawo, era zijja kusigaza okumasamasa kwazo; weewaawo, era ate n’embaati zonna eziriko ebyo ebyawandiikibwa ebitukuvu.
6 Kaakano wandirowooza nti buno busirusiru mu nze; naye laba nkugamba nti mu bintu ebitene era ebyangu ebintu ebikulu bituukirira; era mu bikolwa ebitene mu buli ngeri nnyingi biretera abagezigezi okusoberwa.
7 Era Mukama Katonda akola mu ngeri nnyingi okutuukiriza ebigendererwa bye ebikulu era eby’olubeerera; era mu bikolwa ebitene ddala Mukama aletera abagezigezi okusoberwa era n’aleeta obulokozi obw’emyoyo mingi.
8 Era kaakano, okutuusa kati gabadde magezi mu Katonda nti ebintu bino birina okukuumibwa; kubanga laba, bigaziyizza okumanya kw’abantu bano, weewaawo, era ne bimatiza bangi ku nsobi y’enneyisa yaabwe, ne bibaleetera okumanya Katonda waabwe okutuuka ku bulokozi obw’emyoyo gyabwe.
9 Weewaawo, nkugamba, singa si lwa bintu bino ebiri mu biwandiiko bino, ebiri ku mbaati zino, Amoni ne baganda be tebandisobodde okukkirizisa enkumi n’enkumi z’Abalamani ku bulombolombo obukyamu obwa bakitaabwe; weewaawo, ebiwandiiko bino n’ebigambo byabwe byabaleetera okwenenya; kwe kugamba, by’abatuusa ku kumanya Mukama Katonda waabwe, era n’okusanyukira mu Yesu Kristo Omununuzi waabwe.
10 Era ani amanyi oba nga biribeera ekkubo okuleeta enkumi n’enkumi zaabwe, weewaawo, era ate n’enkumi n’enkumi z’abaganda baffe ab’ensingo enkakanyavu, Abaneefi, kaakano abakakanyaza emitima gyabwe mu kibi n’okwonoona, eri okumanya Omununuzi waabwe?
11 Kaakano ebyekusifu bino tebinnantegeezebwa mu bujjuvu; n’olwekyo nja kukoma awo.
12 Era kyandimala singa ŋŋamba bugambi nti bikuumiddwa olw’ekigendererwa eky’amagezi, ekigendererwa ekimanyikiddwa eri Katonda kubanga aluŋŋamya mu magezi mu mirimu gye gyonna, era n’amakubo ge magolokofu, era n’ekkubo lye lya nkulungo emu ey’olubeerera.
13 Wattu jjukira, ojjukire, mutabani wange Keramani, ebiragiro bya Katonda nga bwe biri ebikakali. Era y’agamba nti: Singa munaakuumanga ebiragiro byange mujja kukulaakulana mu nsi; naye singa temukuumenga biragiro bye muliboolebwa okuva mu maaso ge.
14 Era kaakano jjukira, mutabani wange, nti Katonda akukwasizza n’ebintu bino, ebitukuvu, byakuumye nga bitukuvu, era ate byajja okutereka n’okukuuma olw’ekigendererwa eky’amagezi mu ye, olwo alyoke alage amaanyi ge eri emirembe egirijja.
15 Era kaakano laba, nkugamba n’omwoyo ogw’obunnabbi, nti bwo n’amenya ebiragiro bya Katonda, laba, ebintu bino ebitukuvu bijja kukuggibwako olw’amaanyi ga Katonda, era oliweebwayo eri Setaani, alyoke akuwewe ng’ebisusunku mu mpewo.
16 Naye singa on’akuuma ebiragiro bya Katonda, era n’okola ekyo eri ebintu bino ebitukuvu okusinziira ku ekyo Mukama ky’akulagira, (kubanga olina okujuliza Mukama olw’ebintu byonna mu buli kyonna ky’obikozesa) laba, tewali maanyi ga nsi oba ggeyeena gayinza kubikuggyako, kubanga Katonda wa maanyi okutuukiriza ebigambo bye byonna.
17 Kubanga alituukiriza ebisuubizo bye byonna by’alikola gy’oli, kubanga atuukirizza ebisuubizo bye, bye yakola eri bajjajjaffe.
18 Kubanga yabasuubiza nti alikuuma ebintu bino olw’ekigendererwa eky’amagezi mu ye, alyoke alage amaanyi ge eri emirembe egirijja.
19 Era kaakano laba, ekigendererwa kimu kyatuukirizza, ddala n’eri okuzzibwawo kw’enkumi n’enkumi z’Abalamani mu kumanya amazima; era alaze amaanyi ge mu bo, era ate ajja kulaga amaanyi ge mu bo eri emirembe egirijja; n’olwekyo bijja kukuumibwa.
20 N’olwekyo nkulagira, mutabani wange Keramani, nti beera munyiikivu mu kutuukiriza ebigambo byange byonna, era nti beera munyiikivu mu kukuuma ebiragiro bya Katonda nga bwe biwandiikiddwa.
21 Era kaakano, nja kwogera gy’oli ku mbaati ezo abiri mu ennya, nti ozikuume, olwo ebyekusifu n’ebikolwa eby’ekizikiza, era n’ebikolwa byabwe eby’ekyama, oba ebikolwa eby’ekyama eby’abantu abo abaazikiriziddwa, bisobole okulabisibwa eri abantu bano; weewaawo, ettemu lyabwe lyonna, era n’obubbi bwabwe, n’okunyaga kwabwe, n’obubi bwabwe bwonna n’ebizira byabwe, bisobole okulagibwa eri abantu bano; weewaawo, era okuume ebivvuunuzi bino.
22 Kubanga laba, Mukama yalaba nti abantu be baatandika okukoleranga mu kizikiza, weewaawo, okukola ettemu ery’ekyama n’ebizira; n’olwekyo Mukama y’agamba nti, singa tebeenenya bandizikirizibwa okuva ku lukalu lw’ensi.
23 Era Mukama y’agamba: Nditegekera omuweereza wange Gazeremu, ejjinja, eryakaayakana mu kizikiza okuwa ekitangaala, olwo nsobole okulaga abantu bange abampeereza, olwo ndyoke mbalage ebikolwa bya baganda baabwe, weewaawo, ebikolwa byabwe eby’ekyama, ebikolwa byabwe eby’ekizikiza, era n’obubi bwabwe n’ebizira byabwe.
24 Era kaakano, mutabani wange, ebivvuunuzi bino byategekebwa olwo ekigambo kya Katonda kiryoke kituukirire, kye yayogera, ng’agamba:
25 Ndiggyayo mu kizikiza okuteeka mu kitangaala ebikolwa byabwe byonna eby’ekyama n’ebizira byabwe; era okuggyako nga beenenyezza ndibazikiriza okuva ku lukalu lw’ensi; era nditeeka mu lwatu ebyama byabwe byonna n’ebizira, eri buli ggwanga okuva kaakano eririsenga ensi.
26 Era kaakano, mutabani wange, tulaba nti tebeenenya; n’olwekyo bazikiriziddwa, era bwe kityo ekigambo kya Katonda kituukiriziddwa; weewaawo, ebizira byabwe eby’ekyama biggiddwa mu kizikiza ne bitumanyisibwa.
27 Era kaakano, mutabani wange, nkulagira obuterabiranga birayiro byabwe byonna, era n’endagaano zaabwe, era n’emikago gyabwe mu bizira byabwe eby’ekyama; weewaawo, n’obubonero bwabwe bwonna n’ebyewuunyisa byabwe by’olikweka okuva eri bantu bano, baleme okubimanya, si kulwa oba oli awo nabo bagwa mu kizikiza ne bazikirizibwa.
28 Kubanga laba, waliwo ekikolimo ku nsi eno yonna, nti okuzikirizibwa kulituuka kw’abo bonna abakozi ab’eby’ekizikiza, okusinziira ku maanyi ga Katonda, bwe banaaba nga bengereredde; n’olwekyo njagala abantu bano baleme okuzikirizibwa.
29 N’olwekyo olikuuma enteekateeka zino ez’ekyama ez’ebirayiro byabwe n’endagaano zaabwe okuva eri abantu bano, era obubi bwabwe n’ettemu lyabwe n’ebizira byabwe byokka by’onategeeza; era on’abayigiriza okukyawa obubi n’ebizira n’ettemu nga ebyo; era ojja kubayigiriza nti abantu bano baazikirizibwa olw’obubi bwabwe n’ebizira byabwe n’ettemu lyabwe.
30 Kubanga laba, batta bannabbi ba Mukama bonna abajjanga mu bo okulangirira gye bali ebikwata ku kwonoona kwabwe; era omusaayi gw’abo be batta gwakaabirira Mukama Katonda waabwe okuwoolera ku abo ababakolako ettemu; era bwe bityo ebibonerezo bya Katonda byajja ku bano abakozi ab’eby’ekizikiza n’emikago egy’ekyama.
31 Weewaawo, era ensi ekolimibwe olubeerera ddala eri abo abakozi be by’ekizikiza n’emikago egy’ekyama, ddala eri okuzikirizibwa, okuggyako nga benenyezza nga tebannaba kutwakaala.
32 Era kaakano, mutabani wange, jjukira ebigambo bye nkugambye; tosigira nteekateeka ezo ez’ekyama eri abantu bano, naye bayigirize obukyayi obwenkomeredde eri ekibi n’okwonoona.
33 Babuulire okwenenya, era n’okukkiriza mu Mukama Yesu Kristo; bayigirize okwetoowaza n’okuba abawombeefu era abakkakkamu mu mutima; bayigirize okugumira buli kukemebwa okwa setaani, n’okukkiriza kwabwe mu Mukama Yesu Kristo.
34 Bayigirize obutakoowanga kukola bikolwa birungi, wabula okuba abawombeefu era abakkakkamu mu mutima; kubanga ab’engeri eyo balifuna ekiwummulo eri emyoyo gyabwe.
35 Wattu, jjukira, mutabani wange, era oyige amagezi mu buvubuka bwo; weewaawo, yiga mu buvubuka bwo okukuuma ebiragiro bya Katonda.
36 Weewaawo, era owanjagire Katonda olw’okweyimirizaawo kwo kwonna; weewaawo, leka ebikolwa byo byonna biruŋŋamizibwe Mukama, era na buli gy’onaagendanga leka wabenga mu Mukama; weewaawo, ssa ebirowoozo byo byonna eri Mukama; weewaawo, leka okwagala kw’omutima gwo kuteekebwe ku Mukama olubeerera.
37 Webuuzenga ku Mukama mu byokola byonna, era ajja kukuluŋŋamyanga olw’obulungi; weewaawo, bw’ogalamira ekiro galamirira eri Mukama, olwo alyoke akukuume mu tulo two; era bw’ozuukukanga ku makya leka omutima gwo gujjule okwebaza eri Katonda; era singa okola ebintu bino, oliyimusibwa ku lunaku olw’enkomerero.
38 Era kaakano, mutabani wange, nnina kye njogera ku kintu bakitaffe kye bayita omupiira, oba endagirizi; oba bakitaffe kye baayitanga Liyakona, nga kino, bwe kivvuunulwa, endagabwolekero; era Mukama y’agiteekateeka.
39 Era laba, tewali muntu yenna akola mu ngeri oy’obwegendereza mu mpunda n’enjoyoota bw’etyo. Era laba, kyategekebwa okulaga bajjajjaffe ekkubo mwe baalina okutambulira mu lukoola.
40 Era yabakoleranga okusinziira ku kukkiriza kwabwe mu Katonda; n’olwekyo, singa baalinanga obwesige okukkiriza nti Katonda yali asobola okuletera obulimi obwo okusonga eri ekkubo gye baalina okugenda, laba, kyakolebwanga; n’olwekyo baalina eky’amagero kino, era n’ebyamagero ebirala bingi ebyakolebwanga amaanyi ga Katonda, lunaku ku lunaku.
41 Naye, olw’okuba ebyamagero ebyo byatuukirizibwanga mu bikolwa ebitene yabalaganga ebikolwa eby’ekitalo. Baali bagayaavu, era ne beerabira okukozesa okukkiriza kwabwe n’obunyiikivu bwabwe era olwo emirimu egyo egy’ekitalo gyakoma, era tebeyongerayo mu lugendo lwabwe;
42 N’olwekyo, baalwa mu lukoola, oba beekoloobya, era baabonyaabonyezebwa enjala n’ennyonta, olw’ebisobyo byabwe.
43 Era kaakano, mutabani wange, nandyagadde otegeere nti ebintu bino birina ekigendererwa; kubanga nga bajjajjaffe bwe baali abagayaavu okussaayo omwoyo ku ndagabwolekero eno (kaakano ebintu bino byali bya kiseera) teebasenvula; era bwe kityo bwe kiri ne ku bintu eby’omwoyo.
44 Kubanga laba, nga bwe kiri ekyangu ennyo okussaayo omwoyo eri kigambo kya Kristo, ekijja okukulaga ekkubo eggolokofu erigenda mu ssanyu ery’olubeerera, nga bwe kyali eri bajjajjaffe okussaayo omwoyo ku ndagabwolekero eno, eyabalaganga ekkubo eggolokofu erigenda mu nsi ensuubize.
45 Era kaakano ngamba nti, tewali kabonero mu kintu kino? Kubanga ddala ng’endagirizi eno bwe yaleeta bajjajjaffe, nga bagoberera ekkubo lyayo, mu nsi ensuubize, bwe bityo n’ebigambo bya Kristo, singa tunaagoberera ekkubo lyabyo, okututwala okusomoka ekiwonvu kino eky’ennaku okutuuka eri ensi ensuubize esingira ddala obulungi.
46 Wattu mutabani wange, totulekanga kubeera bagayaavu olw’ekkubo eryangu; kubanga bwe kityo bwe kyali ne bajjajjaffe; kubanga bwe kityo bwe kyabategekerwa, nti singa balitunula bandibeera abalamu; ddala bwe kityo bwe kiri naffe. Ekkubo litegekeddwa, era singa tunaatunula tulibeera balamu olubeerera.
47 Era kaakano, mutabani wange, laba nga olabirira ebintu bino ebitukuvu, weewaawo, laba nga otunuulira Katonda era obeere mulamu. Genda eri abantu bano olangirire ekigambo, era beera wa mazima. Mutabani wange, weeraba.