Essuula 3
Abamulisi baali beeteekako akabonero okusinziira ku kigambo eky’obunnabbi; Abalamani baali bakolimiddwa olw’obujeemu bwabwe; Abantu bennyini bebeeretera ebikolimo byabwe; Abaneefi bawangula eggye ery’Abalamani eddala. Nga mu mwaka gwa 87–86 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka Abaneefi abatattibwa ebyokulwanyisa eby’olutalo, oluvannyuma lw’okuziika abo abaali battiddwa; kaakano omuwendo ogw’abattibwa tegwabalibwa, olw’obunene bw’omuwendo gwabwe; oluvannyuma olw’okumala okuziika abafu baabwe bonna baddayo mu nsi zaabwe, era ne mu nnyumba zaabwe, era n’eri bakazi baabwe, era n’abaana baabwe.
2 Kaakano abakazi era n’abaana bangi baali battiddwa n’ekitala, era n’ebisibo byabwe bingi n’amagana gaabwe; era n’ennimiro zaabwe nnyingi ez’emmere ey’empeke zazikirizibwa, kubanga zaalinnyirirwa eggye ly’abantu.
3 Era kaakano bonna Abalamani n’Abamulisi nga bwe baali battiddwa ku lubalama olw’omugga Sidoni baasuulibwa mu mazzi ga Sidoni; era laba amagumba gaabwe gali mu buziba obw’ennyanja, era mangi.
4 Era Abamulisi bayawulwanga ku Baneefi, kubanga baali beetaddeko akabonero akamyufu mu byenyi byabwe mu ngeri ey’Abalamani; wabula baali tebamwedde mitwe gyabwe ng’Abalamani.
5 Kaakano emitwe gy’Abalamani gyali mimwe; era baali bukunya, okuggyako obuliba obwali busibiddwa mu biwato byabwe, era n’ebyambalo byabwe, ebyabasibwa, era n’emitego gy’obusaale bwabwe, n’obusaale bwabwe, n’amayinja gaabwe, n’envuumuulo zaabwe, n’ebirala.
6 Era ensusu z’Abalamani zaali nzikivu, okusinziira ku kabonero akaateekebwa ku bajjajjaabwe, akali ekikolimo ku bo olw’okusobya kwabwe n’obujeemu bwabwe eri baganda baabwe, okwali Neefi, Yakobo, ne Yusufu, ne Saamu, abaali abasajja abenkanya era abatuukirivu.
7 Era baganda baabwe baafuba okubazikiriza, n’olwekyo kyebaava bakolimirwa; era Mukama Katonda n’abateekako akabonero, weewaawo, ku Lamani era ne ku Lemweri, era nate ne ku batabani ba Isimayiri, n’abakazi Abayisimayiri.
8 Era kino kyakolebwa ezzadde lyabwe lyawulwe ku zzadde lya baganda baabwe, olwo Mukama Katonda alyoke asobole okukuuma abantu be, baleme okutabulibwa ne bannabwe n’okukkiririza mu nnono ezitali ntuufu ekyandikakasizza okuzikirizibwa kwabwe.
9 Era olwatuuka buli eyatabula ezzadde lye n’ery’Abalamani yaleeta ekikolimo kye kimu ku zzadde lye.
10 N’olwekyo, buli eyakkiriza okutwalibwa Abalamani yayitibwa wansi w’omutwe ogwo, era waabangawo akabonero akamuteekebwangako.
11 Era olwatuuka na buli atakkiririzanga mu nnono y’Abalamani, naye nga akkiriza ebiwandiiko ebyo ebyaleetebwa okuva mu nsi ey’e Yerusaalemi, era ne mu nnono ya bajjajjaabwe, eyali entuufu, abakkiririzanga mu biragiro bya Katonda era ne babikuuma, beebaayitibwanga Abaneefi, oba abantu ba Neefi, okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo;
12 Era beebo abakuumye ebiwandiiko ebituufu ku bantu baabwe, era nate ne ku bantu b’Abalamani.
13 Kaakano tujja kuddayo nate eri Abamulisi, kubanga nabo baalina akabonero akaabateekebwako; weewaawo, beeteekako akabonero bo bennyini, weewaawo, ddala akabonero akamyufu ku byenyi byabwe.
14 Bwe kityo ekigambo kya Katonda kituukirizibwa, kubanga bino bye bigambo bye yagamba Neefi: Laba, Abalamani mbakolimidde, era nja kubateekako akabonero nti bo n’ezzadde lyabwe basobole okwawulwa ku ggwe n’ezzadde lyo, okuva mu kiseera kino era n’oluberera, okuggyako nga benenyezza obubi bwabwe era ne bakyuka okudda gye ndi ndyoke nsobole okubasaasira.
15 Era nate: Nditeeka akabonero ku oyo atabiikiriza ezzadde lye ne baganda bo, nti balyoke bakolimirwe nate.
16 Era nate: Nditeeka akabonero ku oyo akulwanyisa ggwe n’ezzadde lyo.
17 Era nate, ŋŋamba nti oyo alikwabulira taliddamu kuyitibwa zzadde lyo; era ndikuwa omukisa, era n’oyo yenna aliyitibwa ezzadde lyo, okuva mu kiseera kino era n’olubeerera; era bino bye byali ebisuubizo bya Mukama eri Neefi era n’eri ezzadde lye.
18 Kaakano Abamulisi tebaamanya nti baali batuukiriza ebigambo bya Katonda bwe baatandika okwessaako akabonero mu byenyi byabwe; wadde nga kyali kityo baali bavuddeyo mu bujeemu obw’olwatu eri Katonda; n’olwekyo kyali kigwanidde ekikolimo okubatuukako.
19 Kaakano nandyagadde mulabe nti beereetera ekikolimo; era ddala bwe kityo nti buli muntu akolimirwa yeyeeretera okusingisibwa omusango gwe.
20 Kaakano olwatuuka ennaku si nnyingi oluvannyuma lw’olutalo olwalwanibwa mu nsi ey’e Zalakemula, Abalamani n’Abamulisi, nti wabaawo eggye eddala ery’Abalamani eryayingirawo ne likkakkana ku bantu ba Neefi, mu kifo kye kimu eggye ery’olubereberye we lyasisinkanira Abamulisi.
21 Era olwatuuka waaliwo eggye eryasindikibwa okubagoba mu nsi yaabwe.
22 Kaakano Aluma ye ng’ababonyaabonyezebwa n’ekisago teyayambuka kulwana mu kiseera kino n’Abalamani;
23 Naye yasindika eggye eddene okubalwanyisa; ne bayambuka ne batta Abalamani bangi, era ne bagoba abaali basigaddewo okuva ku nsalo z’ensi yaabwe.
24 Era awo ne bakomawo nate ne batandika okuteekawo emirembe mu nsi, nga tebakyatawaanyizibwa okumala ekiseera n’abalabe baabwe.
25 Kaakano ebintu bino byonna byakolebwa, weewaawo, zino zonna entalo n’ennyombo zaatandikibwawo era ne zikoma mu mwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi.
26 Era mu mwaka gumu enkumi n’enkumi ez’emyoyo gyasindikibwa mu nsi ey’olubeerera, nti balyoke basobole okukungula empeera yaabwe okusinziira ku mirimu gyabwe, oba nga gyali mirungi oba nga gyali mibi, okukungula essanyu ery’olubeerera oba ennaku ey’olubeerera, okusinziira ku mwoyo gwe baasalawo okugondera, oba gubeera omwoyo omulungi oba omubi.
27 Kubanga buli muntu afuna empeera okuva eri oyo gw’asalawo okugondera, era kino okusinziira nga ebigambo eby’omwoyo ogw’obunnabbi bwe biri; n’olwekyo leka kibeere ng’amazima bwe gali. Era bwe kityo omwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi bwe gwakoma.