Scriptures
Aluma 36


Ebiragiro bya Aluma eri mutabani we Kelamani.

Mulimu essuula 36 ne 37.

Essuula 36

Aluma awa Kelamani obujulizi obukwata ku kukyusibwa kwe oluvannyuma olw’okulaba malayika; Y’abonaabona n’obulumi obw’omwoyo ogukomezeddwa; yakowoola erinnya lya Yesu, era olwo yazaalibwa Katonda; Emmeeme ye yajjula essanyu eriwoomu; Yalaba ebibinja bya bamalayika nga bisinza Katonda; Abaakyuka bangi balozezzaako ne balaba era nga bwalozezaako era n’alaba. Nga mu mwaka gwa 74 nga Kristo tannazaalibwa.

Mutabani wange, tega okutu eri ebigambo byange; kubanga nkulayirira, nti bw’onakuumanga ebiragiro bya Katonda ojja kulaakulana mu nsi.

Nandyagadde okole nga bwe nkoze, mu kujjukira obusibe bwa bakitaffe; kubanga baali mu busibe, era tewali n’omu yali ayinza kubanunula okuggyako nga yali katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo; era mazima ddala yabanunula mu bibonoobono byabwe.

Era kaakano, ayi mutabani wange Kelamani, laba, ggwe oli mu buvubuka bwo, era n’olwekyo, nkwegayiridde owulirize ebigambo byange era oyigire ku nze; kubanga nkimanyi nti buli yenna aliteeka obwesige mu Katonda aliwanirirwa mu kugezesebwa kwe, era n’ebizibu bye, era n’ebibonoobono bye, era aliyimusibwa ku lunaku olw’enkomerero.

Era sandyagadde olowooze nti mbimanyi ku lwange; si lwa bya kiseera wabula bya mwoyo, si bya ndowooza ya mubiri wabula eya Katonda.

Kaakano, laba, nkugamba nti, singa nnali sizaaliddwa Katonda sanditegedde bintu bino; naye Katonda, olw’akamwa ka malayika we omutukuvu, ammanyisizza ebintu bino, so si lwa kuba nga nsaanidde;

Kubanga nnagenda ne batabani ba Mosiya, nga tugeezaako okuzikiriza ekkanisa ya Katonda; naye laba, Katonda yatuma malayika we omutukuvu okutukomya mu kkubo.

Era laba, ya yogera gye tuli, nga bwe kyalibadde eddoboozi ery’okubwatuka, era ensi yonna yakankana wansi w’ebigere byaffe; era fenna twagwa ku ttaka, kubanga okutya Mukama kwatukkako.

Naye laba, eddoboozi ne liŋŋamba: Situka. Era nnasituka ne nnyimirira, era ne ndaba malayika.

Era n’aŋŋamba nti: Singa ggwe ku lulwo wandyagadde okuzikirizibwa tokiddamu kugeezaako kuzikiriza ekkanisa ya Katonda nate.

10 Era olwatuuka nnagwa ku ttaka; era lyali ebbanga lya nnaku ssatu n’ebiro bisatu nga sisobola kwasamya akamwa kange, wadde okusobola okukozesa ebitundu eby’omubiri gwange.

11 Era malayika yayogera ebintu bingi gye ndi, ebyawulirwa baganda bange, naye nga saabiwulira; kubanga bwe nnawulira ebigambo; Singa ggwe ​wandyagadde okuzikirizibwa, tokiddamu kugeezaako kuzikiriza ekkanisa ya Katonda nate; nnatusibwako okutya okungi n’okwewuunya si kulwa ng’oba oli awo nzikirizibwa, nnagwa ku ttaka era saddamu kuwulira.

12 Naye nnatulugunyizibwa n’obulumi obw’olubeerera, kubanga emmeeme yange yajjula ennyiike ey’ekika ekya waggulu ennyo era nga ntulugunyiziddwa olw’ebibi byange byonna.

13 Weewaawo, nnajjukira ebibi byange byonna n’obutali butuukirivu, kubanga nnali bonyaabonyezebwa n’obulumi bwa ggeyeena; weewaawo, nnalaba nti nnali njeemedde Katonda wange, era nnali sikuumye biragiro bye ebitukuvu.

14 Weewaawo, era nnali ntemudde bangi ku baana be, nnandiki nnali mbakyamizza mu kuzikirizibwa; weewaawo, era mu bufunze obubi bwange bwali bungi nnyo, nti n’ekirowoozo kyennyini eky’okujja mu maaso ga Katonda wange kyatulugunya emmeeme yange n’entiisa etayinza kunnyonnyolekeka.

15 Abange, nnalowooza, nti wakiri nandigobeddwa era ne nsanyizibwawo ddala byombi emmeeme n’omubiri, olwo nsobole obutaleetebwa mu maaso ga Katonda wange, okulamulwa olw’ebikolwa byange.

16 Era kaakano, okumala ennaku ssatu era n’okumala ebiro bisatu nnatulugunyizibwa, ddala n’obulumi obw’emmeeme ekomezeddwa.

17 Era olwatuuka bwe nnali bwe ntyo nga ntulugunyizibwa n’okubonyabonyezebwa, bwe nnali mu buyinike obw’ebijjukizo by’ebibi byange ebingi, laba, nnajjukira nate nti nnawulirako kitange ng’awa obunnabi eri abantu ku bikwata ku kujja kw’omu oyo Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, okutangirira ebibi by’ensi.

18 Kaakano, endowooza yange bwe yali ewambiriziddwa n’ekirowoozo kino, nnakaaba munda mu mutima gwange nti: Ayi Yesu, ggwe Omwana wa Katonda, onkwatibwe ekisa, nga ndi mu mususa ogukaawa, era n’etooloddwa enjegere ez’olubeerera ez’okufa.

19 Era kaakano, laba, bwe nnalowooza kino, nnali sikyasobola kujjukira bulumi bwange; weewaawo, nnali si kyali mu nnyiike ey’okujjukizibwa ebibi byange.

20 Era abange, nga kyali kya ssanyu, era nga kyali kyewuunyisa ekitangaala kye nnalaba; weewaawo, emmeeme yange yali ejjudde essanyu erisukkiridde era nga n’obulumi bwange bwe bwali!

21 Weewaawo, nkugamba, mutabani wange, nti tewayinza kubaayo kintu kyonna kiruma nnyo era kitaabuukanya ng’obulumi bwange bwe bwali. Weewaawo, era nate nkugamba, mutabani wange, nti ku ludda olulala, tewayinza kubaayo kintu kyonna kya kitalo era nga ky’akaloosa nga essanyu lyange bwe lyali.

22 Weewaawo, nnalowooza nti nnalaba, nga ne kitaffe Leki bwe yalaba, Katonda ng’atudde ku nnamulondo ye, nga yeetooloddwa ebibinja bya bamalayika ebitabalika, mu mbeera ey’okuyimba n’okutendereza Katonda waabwe; weewaawo, era emmeeme yange yayayaana okubeera eyo.

23 Naye laba, ebitundu byange eby’omubiri byaddamu okufuna amaanyi gaabyo nate, era ne nnyimirira ku bigere byange, era nnalangirira eri abantu nti nnali nzaaliddwa Katonda.

24 Weewaawo, era okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano, nkoze nnyo nga sirekera awo, nsobole okuleeta emyoyo eri okwenenya; nsobole okugireeta okuloza ku ssanyu erisukkiridde ennyo lye nnalozzaako; olwo nabo bazaalibwe Katonda, era bajjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.

25 Weewaawo, era kaakano laba, wattu mutabani wange, Mukama ampa essanyu erisukkiridde olw’ebibala by’emirimu gyange;

26 Kubanga olw’ekigambo ky’ampadde, laba, bangi bazaaliddwa Katonda, era balozezzaako nga bwe nnalozzaako, era balabye liiso ku liiso nga bwe ndabye; n’olwekyo bamanyi ku bintu bino bye njogeddeko, nga bwe mmanyi; era okumanya kwe nnina kwa Katonda.

27 Era mpaniriddwa mu kugezesebwa n’ebizibu ebya buli ngeri, weewaawo, era ne mu kubonaabona okw’engeri zonna; weewaawo, Katonda ansumuludde okuva mu kkomera, ne mu busibe bwonna, n’okuva mu kufa; weewaawo, era nteeka obwesige bwange mu ye, era yadde ng’ajja kunnunula.

28 Era nkimanyi nti ali nzuukiza ku lunaku olusembayo, okubeera naye mu kitiibwa; weewaawo, era nja kumutendereza emirembe gyonna, kubanga aggyeyo bajjajjaffe mu Misiri, era n’amira Abamisiri mu nnyanja emmyufu; era y’abakulembera n’amaanyi ge mu nsi ensuubize; weewaawo, era abanunudde okuva mu busibe era n’obuwambe buli luvannyuma lwa kiseera.

29 Weewaawo, era ate y’aggyayo ba kitaffe mu nsi y’e Yerusaalemi; era, nate olw’amaanyi ge ag’olubeerera, y’abanunula okuva mu buddu n’obuwambe, buli luvannyuma lwa kiseera ddala n’okutuusa olunaku olwa leero; era bulijjo siresseeyo kujjukiranga buwambe bwabwe; weewaawo, era nammwe musaanidde obutalekaayo kujjukiranga, nange nga bwe nkoze, obuwambe bwabwe.

30 Naye laba, mutabani wange, kino si kye kyokka; kubanga osaanidde okumanya nga nange bwe mmanyi, nti bwonaakuumanga ebiragiro bya Katonda ojja kulaakulana mu nsi; era nate osaanidde n’okumanya, nti bwotaakuumenga biragiro bya Katonda oligobebwa okuva mu maaso ge. Kaakano kino bwe kiri okusinziira ku kigambo kye.