Essuula 26
Amoni yenyumiriza mu Mukama; Abesigwa banywezebwa Mukama era ne baweebwa okumanya; Olw’okukkiriza abantu basobola okuleeta enkumi n’enkumi z’abantu eri okwenenya; Katonda alina amaanyi gonna era ategeera ebintu byonna. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, bino bye bigambo bya Amoni eri baganda be, ebigamba bwe biti: Baganda bange ne basseruganda bange, laba mbagamba nti, nga tulina ensonga ey’amaanyi ennyo okusanyuka; kubanga twakirowoozaako wetwatandikira okuva mu nsi y’e Zalakemula nti Katonda yali waakutuwa emikisa egy’amaanyi bwe giti?
2 Era kaakano, mbuuza, mikisa ki egy’amaanyi gy’atuwadde? Musobola okugyogera?
3 Laba, nnyanukula ku lwammwe; kubanga baganda baffe, Abalamani, baali mu kizikiza, weewaawo, ddala mu bunnya obusinga okuba obw’ekizikiza, naye laba, bameka ku bo abaleeteddwa okulaba ekitangaala kya Katonda eky’ekitalo! Era guno gwe mukisa ogutuweereddwa, nti tufuuliddwa ebikozesebwa mu mikono gya Katonda okutuukiriza omulimu guno omukulu.
4 Laba, enkumi n’enkumi ku bo basanyuka, era baleeteddwa mu kisibo kya Katonda.
5 Laba, ennimiro yali etuuse okukungula, era muli ba mukisa, kubanga mwakozesa ekiwabyo, ne mukungula n’amaanyi gammwe, weewaawo, olunaku lwonna mwakakaalukana; era laba omuwendo ogw’ebinywa byammwe! Era byakukuŋŋaanyizibwa mu byagi, bireme kwonooneka.
6 Weewaawo, tebirikubibwa muyaga ku lunaku olw’enkomerero; weewaawo, era tebiriyonoonebwa wadde akasoke; naye omuyaga bwe gulijja birikuŋŋaanyizibwa wamu mu kifo kyabyo, omuyaga nga teguyinza kubituukako; weewaawo, so tebiritwalibwa mpewo za maanyi zonna omulabe gy’ayagala okubitwala.
7 Naye laba, biri mu mikono gya Mukama w’amakungula, era bibye; era alibiyimusa ku lunaku olw’enkomerero.
8 Erinnya lya Katonda waffe lyebazibwe; katuyimbe amatendo ge, weewaawo, leka twebaze erinnya lye ettukuvu, kubanga akola obutuukirivu emirembe gyonna.
9 Kubanga singa tetwava mu nsi y’e Zalakemula, bano baganda baffe abaagalwa ennyo, abatwagadde ennyo, bandibadde bakyajjudde obukyayi gye tuli, weewaawo, era nabo bandibadde tebamanyi Katonda.
10 Era olwatuuka Amoni nga amalirizza okwogera ebigambo bino, muganda we Alooni n’amunenya, ng’agamba nti: Amoni, ntya nti essanyu lyo likutwala mu kwegulumiza.
11 Naye Amoni n’amugamba nti: Sseegulumiza mu maanyi gange, newakubadde mu magezi gange; naye laba, essanyu lyange lijjuvu, weewaawo, n’omutima gwange gujjudde essanyu, era nja kusanyukira mu Katonda wange.
12 Weewaawo, mmanyi nti sirina kye ndi; okusinziira ku maanyi gange ndi munafu; n’olwekyo sijja kwegulumiza, wabula nja kwenyumiriza mu Katonda wange, kubanga mu maanyi ge nsobola okukola ebintu byonna; weewaawo, laba, eby’amagero bingi eby’amaanyi bye tukoze mu nsi eno, olw’ebyo tunaatendereza erinnya lye emirembe gyonna.
13 Laba, baganda baffe enkumi mmeka z’asumuludde okuva mu bulumi bwa ggeyeena; era kibaviirideko okuyimba okwagala okununula, era kino olw’amaanyi g’ekigambo kye ekiri mu ffe, n’olwekyo tetulina nsonga y’amaanyi ey’okusanyuka?
14 Weewaawo, tulina ensonga okumutendereza olubeerera, kubanga ye Katonda ali waggulu ennyo, era asumuludde baganda baffe okuva ku njegere za ggeyeena.
15 Weewaawo, baali beetooloddwa ekizikiza ekitaggwaawo era n’okuzikirizibwa; naye laba, abaleese mu kitangaala kye ekitaggwaawo, weewaawo, mu bulokozi obutaggwaawo; era beetooloddwa obungi ’obw’okwagala kwe okutenkanika; weewaawo, era tubadde ebikozesebwa mu mikono gye okukola omulimu guno ogw’amaanyi era ogw’ekitalo.
16 N’olwekyo, twenyumirize, weewaawo, tujja kwenyumiriza mu Mukama; weewaawo, tujja kusanyuka, kubanga essanyu lyaffe lijjuvu; weewaawo, tujja kutendereza Katonda waffe olubeerera. Laba, ani ayinza okwenyumiriza ekisusse mu Mukama waffe? Weewaawo, ani ayinza okwogera ebingi ennyo ku maanyi ge amangi, era n’okusaasira kwe, n’okugumiikiriza kwe eri abaana b’abantu? Laba, mbagamba, siyinza kwogera kitundu ekisinga obutono ku kye mpulira.
17 Ani yandirowoozezza nti Katonda waffe yandibadde musaasizi nnyo olw’okutunnyulula mu mbeera yaffe ey’entiisa, ey’obwonoonyi, era embi ?
18 Laba, tweyongerayo ne mu busungu, n’okutiisibwatiisibwa okw’amaanyi okuzikiriza ekkanisa ye.
19 O kale, lwaki teyatusindika mu kuzikirizibwa okw’entiisa, weewaawo, lwaki teyaleka ekitala eky’obwenkanya bwe okutukkakkanako, era ne kitusiindika mu kuyaggayagga okw’olubeerera?
20 O, emmeeme yange, kyenkana nga bwe kyali, olw’ekirowoozo ekyo. Laba, teyakozesa bwenkanya bwe ku ffe, naye mu kusaasira kwe okungi atusomosezza ekiwonvu ekyo eky’olubeerera eky’okufa era n’ennaku, ddala okutuuka ku bulokozi bw’emyoyo gyaffe.
21 Era kaakano laba, baganda bange, muntu ki ow’obutonde ali eyo ng’amanyi ebintu bino? Mbagamba tewali amanyi bintu bino, okuggyako aboneredde.
22 Weewaawo, oyo eyeenenya n’alaga okukkiriza, era n’akola ebikolwa ebirungi, era n’asaba bulijjo obutalekaayo; oyo kimuweereddwa okumanya ebyekusifu bya Katonda; weewaawo, oyo kimuweereddwa okubikkulirwa ebintu ebitabikkulibwanga; weewaawo, era kiribaweebwa abalinga abo okuleeta enkumi n’enkumi z’emyoyo eri okwenenya, ddala nga bwe kituweereddwa okuleeta bano baganda baffe eri okwenenya.
23 Kaakano mujjukira, baganda bange, nti twagamba baganda baffe mu nsi y’e Zalakemula, tugenda mu nsi ya Neefi, okubuulira baganda baffe, Abalamani, era ne batusekerera n’okunyooma?
24 Kubanga baatugamba: Mulowooza nti musobola okuleetera Abalamani okumanya amazima? Mulowooza nti musobola okumatiza Abalamani obutali butuufu bwa bulombolombo obwa bajjajjaabwe, abantu abakakanyavu ab’ensingo nga bo; emitima gyabwe egisanyukira mu kuyiwa omusaayi; ennaku zaabwe zimaliddwa mu butali butuukirivu obusingira ddala obubi; amakubo gaabwe agabadde amakubo g’aboonoonyi okuva olubereberye? Kaakano baganda bange, mujjukira nti luno lwe lwali olulimi lwabwe.
25 Era n’ekirala baagamba: Ka tukwate ebyokulwanyisa tubalumbe, tubazikirize era n’obubi bwabwe okuva mu nsi, sikulwa nga batuwangula ne batuzikiriza.
26 Naye laba, baganda bange abaagalwa, twajja mu lukoola si na kigendererwa kya kuzikiriza baganda baffe, wabula n’ekigendererwa nti oba oli awo twanditaasa emitono ku gimu ku myoyo gyabwe.
27 Kaakano emitima gyaffe nga gyennyamidde, era nga twali tunaatera okudda emabega, laba, Mukama n’atukubagiza, era n’agamba: Mugende mu baganda bammwe, Abalamani, era mugumire ebibonoobono byammwe n’obugumiikiriza, era nja kubawa obuwanguzi.
28 Era kaakano laba, tuzze, era tubabaddemu; era tubadde bagumiikiriza mu kubonaabona kwaffe, era tubonyebonye okummibwa ebyetaago ebya buli ngeri; weewaawo, tutambudde kuva nju ku nju, nga twesigama ku kusaasira kw’ensi; si ku kusaasira kw’ensi kwokka wabula ku kusaasira kwa Katonda.
29 Era tuyingidde mu mayumba gaabwe ne tubayigiriza, era tubayigirizza mu nguudo zaabwe; weewaawo, era tubayigirizza ku busozi bwabwe; era tuyingidde ne mu yeekaalu zaabwe ne mu makuŋŋaaniro gaabwe ne tubayigiriza; era tugobeddwa, era tusekereddwa, era ne tuwandulirwa amalusu, era tukubiddwa empi ku matama gaffe; era tukubiddwa amayinja, era tutwaliddwa ne tusibibwa n’emiguwa emigumu, era twasuulibwa mu kkomera; era olw’amaanyi n’amagezi ga Katonda tununuliddwa nate.
30 Era tuyise mu bibonoobono ebya buli ngeri, era bino byonna, nti oba oli awo tusobole okubeera ekkubo ery’okulokola kw’emyoyo egimu; era twalowooza nti essanyu lyaffe lijja kuba lijjuvu singa oba oli awo tusobola okubeera ekkubo ery’okulokola abamu.
31 Kaakano laba, tusobola okutunula ne tulaba ebibala eby’emirimu gyaffe; era bitono? Mbagamba, nedda, bingi; weewaawo, era tusobola okujulira olw’amazima gaabwe, olw’okwagala kwabwe eri baganda baabwe n’eri ffe.
32 Kubanga laba, wakiri bandisaddaaka obulamu bwabwe okusinga okutwala obulamu bw’omulabe waabwe; era baziise wala mu ttaka ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, olw’okwagala kwabwe eri baganda baabwe.
33 Era kaakano laba mbagamba, waali wabaddewo okwagala okw’amaanyi ennyo mu nsi yonna? Laba, mbagamba, nedda, tewabadde, wadde mu Baneefi.
34 Kubanga laba, baakwatanga ebyokulwanyisa okulwanyisa baganda baabwe; tebakkirizanga kuttibwa. Naye laba bameka ku bano abawaddeyo obulamu bwabwe; era tumanyi nti bagenze eri Katonda waabwe, olw’okwagala kwabwe era n’obukyayi bwabwe eri ekibi.
35 Kaakano tetulina nsonga okusanyuka? Weewaawo, mbagamba, tewabangawo basajja baali babadde na nsonga y’amaanyi ennyo okusanyuka nga ffe, okuva ensi lwe yatandika; weewaawo, era n’essanyu lyange linsukkiriddeko, ddala n’okutuuka okwenyumiriza mu Katonda wange; kubanga alina amaanyi gonna, amagezi gonna, era n’okutegeera kwonna; ategeera ebintu byonna, era ajjudde ekisa, ddala n’eri obulokozi, eri abo abalyenenya era ne bakiririza mu linnya lye.
36 Kaakano kuno bwe kuba nga kwegulumiza, ddala bwe ntyo nja kwegulumiza; kubanga buno bwe bulamu bwange era n’ekitangaala kyange, essanyu lyange n’obulokozi bwange, era n’okununulibwa kwange okuva mu biwoobe eby’olubeerera. Weewaawo, lyebazibwe erinnya lya Katonda wange, abadde ajjukira abantu bano, nga bbo ly’ettabi ly’omuti gwa Isiraeri, era nga libadde lyabula okuva ku mubiri gwalyo mu nsi etamanyikiddwa; weewaawo, ŋŋamba, erinnya lya Katonda wange lyebazibwenga, oyo abadde ng’atujjukira ffe, abatambuze mu nsi etamanyikiddwa.
37 Kaakano baganda bange, tulaba nga Katonda ajjukira buli muntu, mu nsi yonna gye basobola okubeeramu; weewaawo, abala abantu be, era n’omwoyo we ow’okusaasira ali ku nsi yonna. Kaakano lino lye ssanyu lyange, era n’okwebaza kwange okw’amaanyi; weewaawo, era nja kwebaza Katonda wange olubeerera. Amiina.